Abakadde—Muzzeemu Amaanyi “Emmeeme Ekooye”
Mwannyinaffe Angelaa ali bwannamunigina era ali mu myaka 30 egy’obukulu. Abakadde bagenda kumukyalira boogereko naye kyokka mweraliikirivu. Yeebuuza: ‘Oba bagenda kuŋŋamba ki? Nkimanyi nti waliwo ennaku ze saasobola kugenda mu nkuŋŋaana, naye omulimu gwe nkola ogw’okulabirira bannamukadde gunkooya nnyo. Okugatta ku ekyo, nnina okulabirira maama wange omulwadde.’
Singa obadde wa kukyalira Angela, kiki kye wandikoze okumuzzaamu amaanyi? (Yer. 31:25) Ka tusooke tulabe engeri gye tuyinza okweteekateeka okukyalira abantu abalinga Angela.
LOWOOZA KU MBEERA YA BAGANDA BO
Ebiseera ebimu emirimu gyaffe oba obuvunaanyizibwa bwe tuba nabwo mu kibiina bitukooya. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Danyeri yaggwaamu amaanyi bwe yafuna okwolesebwa kw’ataategeera. (Dan. 8:27) Kyokka malayika Gabulyeri bwe yamulabikira, yaddamu amaanyi. Gabulyeri yamuyamba okutegeera amakulu g’okwolesebwa kwe yali afunye, n’amukakasa nti okusaba kwe kwali kuwuliddwa, era n’amugamba nti yali “mwagalwa nnyo.” (Dan. 9:21-23) Ate ku mulundi omulala, waliwo malayika omulala eyalabikira Danyeri n’amuzzaamu amaanyi.—Dan. 10:19.
Bw’oba tonnakyalira mukkiriza munno aba aweddemu amaanyi, sooka olowooze ku mbeera ye
Bw’oba tonnakyalira mukkiriza munno aba aweddemu amaanyi, sooka olowooze ku mbeera ye. Oyinza okwebuuza: Bizibu ki by’alina? Bimumazeemu bitya amaanyi? Ngeri ki ennungi z’alina? Ow’oluganda Richard amaze emyaka 20 ng’aweereza ng’omukadde agamba nti, “Bwe mba sinnakyalira bakkiriza bannange, nsooka kulowooza ku ngeri ennungi ze balina. Ekyo kinnyamba okulaba engeri gye nnyinza okubazzaamu amaanyi.” Bw’oba onoogenda n’omukadde omulala okukyalira ow’oluganda, kiba kya magezi ne musooka okwogera ku mbeera ye nga temunnaba kumukyalira.
BAYAMBE OBUTATYA KWOGERA NAAWE
Ebiseera ebimu tekiba kyangu kubuulira muntu mulala ekyo ekikuli ku mutima. Bwe kityo ow’oluganda ayinza okukaluubirirwa okukubuulira ekyo ekimuli ku mutima. Kati olwo oyinza otya okumuyamba obutatya kukubuulira ekyo ekimuli ku mutima? Okussaako akamwenyumwenyu n’okwogera naye mu ngeri ey’ekisa biyinza okumuyamba. Ow’oluganda Michael, amaze emyaka egissuka mu 40 ng’aweereza ng’omukadde bw’aba atandika okunyumya n’ab’oluganda b’aba akyalidde, atera okubagamba nti: “Emu ku nkizo abakadde gye balina kwe kukyalira ab’oluganda mu maka gaabwe ne beeyongera okubategeera obulungi. N’olwekyo mbadde nneesunga nnyo okukukyalirako.”
Bw’oba okyalidde ow’oluganda, osobola okutandika n’okusaba. Omutume Pawulo bwe yali asabira bakkiriza banne, yayogera ku kukkiriza kwabwe, okwagala kwabwe, n’obugumiikiriza bwabwe. (1 Bas. 1:2, 3) Bw’oba osaba n’oyogera ku ngeri ennungi muganda wo z’alina, kiyamba mu kuteekateeka omutima gwo n’ogugwe, era ebigambo by’okozesa bisobola okumuyamba okukkakkana, ekyo ne kivaamu ebirungi. Ow’oluganda Ray, amaze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde agamba nti, “Oluusi twerabira ebintu ebirungi bye tukola. Naye bwe wabaawo atujjukiza ebintu ebyo, kituzzaamu nnyo amaanyi.”
BAWE EKIRABO EKY’EBY’OMWOYO
Okufaananako Pawulo, naawe osobola okuwa bakkiriza banno “ekirabo eky’eby’omwoyo” ng’obaako ebyawandiikibwa by’obasomera, ne bwe kiba kimu kyokka. (Bar. 1:11) Ng’ekyokulabirako, singa wabaawo ow’oluganda omwennyamivu era awulira ng’atakyalina mugaso, oyinza okusoma naye ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli eyali awulira ng’afuuse ‘ng’eddiba eriwanikiddwa mu mukka.’ (Zab. 119:83, 176) Oluvannyuma lw’okumunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebyo, muyambe okukitegeera nti oli mukakafu nti ‘teyeerabidde’ mateeka ga Katonda.
Oyinza otya okuzzaamu amaanyi mwannyinaffe atakyajja mu nkuŋŋaana oba addiridde mu buweereza bwe? Oyinza okukozesa olugero olukwata ku mukazi eyabuza ekinusu ekya ffeeza. (Luk. 15:8-10) Ekinusu ekyo kiyinza okuba nga kyali kivudde ku mukuufu egw’ebbeeyi ogwali gukoleddwa mu binusu ebya ffeeza. Bw’okubaganya naye ebirowoozo ku kyokulabirako ekyo, oyinza okumuyamba okukiraba nti wa mugaso nnyo mu kibiina. Ate era osobola okumuyamba okukiraba nti Yakuwa amutwala ng’emu ku ndiga ze era amufaako nnyo.
Bakkiriza bannaffe baagala nnyo okubaako kye boogera ku byawandiikibwa bye baba basomye. N’olwekyo teweefuga mboozi! Oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa n’ow’oluganda, osobola okunokolayo ekigambo oba ebigambo mu kyawandiikibwa ekyo n’omusaba abeeko ky’abyogerako. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okusoma 2 Abakkolinso 4:16, omukadde ayinza okubuuza ow’oluganda nti, “Mu bulamu bwo olina engeri yonna gy’olabye Yakuwa ng’akuzza buggya?” Singa abakadde bakola bwe batyo, bajja kusobola okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi.—Bar. 1:12.
Bakkiriza bannaffe baagala nnyo okubaako kye boogera ku byawandiikibwa bye baba basomye
Ate era osobola okukubaganya ebirowoozo ne mukkiriza munno ku omu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli eyali mu mbeera ng’eyo gy’alimu. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda bw’aba omwennyamivu, osobola okukubaganya naye ebirowoozo ku bantu, gamba nga Kaana ne Epafuloddito, abaafuna ebintu ebyabennyamiza naye ne basigala nga ba muwendo mu maaso ga Katonda. (1 Sam. 1:9-11, 20; Baf. 2:25-30) Waliwo n’ebyokulabirako ebirala bingi okuva mu Bayibuli by’osobola okukozesa okuzzaamu bakkiriza banno amaanyi.
WEEYONGERE OKUFAAYO KU BAKKIRIZA BANNO
Oluvannyuma lw’okukyalira ow’oluganda, weeyongere okulaga nti omufaako. (Bik. 15:36) Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okumukyalira, oyinza okukola enteekateeka okubuulirako naye. Bernard, ow’oluganda amaze ebbanga eddene ng’aweereza ng’omukadde, bw’asisinkana mukkiriza munne gwe yakyalirako, atera okumubuuza, “Amagezi ge nnakuwa gaakola?” Singa naawe okola bw’otyo, ojja kusobola okumanya obanga waliwo ekintu ekirala kye weetaaga okukola okuyamba mukkiriza munno.
Leero, okusinga bwe kyali kibadde, bakkiriza bannaffe beetaaga okuwulira nti tubafaako, tubategeera bulungi, era nti tubaagala. (1 Bas. 5:11) N’olwekyo, bw’oba tonnakyalira mukkiriza munno, sooka olowooze ku mbeera ye, osabe Yakuwa, era onoonye ebyawandiikibwa ebituukana n’embeera ye. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna ebigambo ebirungi ebisobola okuzzaamu amaanyi “emmeeme ekooye”!
a Amannya gakyusiddwa.