Buli Omu Alowoozenga Ku Munne Era Amuzzeemu Amaanyi
“Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.”—BEB. 10:24.
1, 2. Kiki ekyayamba Abajulirwa ba Yakuwa 230 obutafiira mu kkubo nga batwalibwa ku myalo egy’enjawulo?
SSEMATALO II bwe yali anaatera okuggwa, Abanazi baayisa ekiragiro okutta abasibe bonna abaali mu nkambi z’abasibe. Abasibe abaali mu nkambi y’e Sachsenhausen baali ba kutwalibwa ku myalo egy’enjawulo babatikke ku mmeeri oluvannyuma ezandibbidde bafe.
2 Mu basibe abaali mu nkambi y’e Sachsenhausen, 33,000 ku bo baali ba kutambula olugendo lwa mayiro 155 okugenda e Lübeck, ogumu ku myalo egiri mu Bugirimaani. Mu bantu abo mwalimu n’Abajulirwa ba Yakuwa 230 okuva mu nsi mukaaga. Bonna baali banafuye olw’enjala n’obulwadde ebyali bibaluma. Baganda baffe abo baasobola batya okutambula ne batuuka? Omu ku bo yagamba nti: “Buli omu yazzangamu munne amaanyi.” Okwagala buli omu kwe yalina eri munne awamu ‘n’amaanyi agasinga ku ga bulijjo’ Katonda ge yabawa, byabayamba obutafiira mu kkubo.—2 Kol. 4:7.
3. Lwaki twetaaga okuzziŋŋanamu amaanyi?
3 Leero, tetutambula lugendo ng’olwo, naye naffe tufuna ebizibu bingi. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwatandika okufuga mu 1914, Sitaani yagobebwa mu ggulu n’asuulibwa ku nsi, ng’alina “obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.” (Kub. 12:7-9, 12) Nga Kalumagedoni agenda yeeyongera okusembera, Sitaani atuleetera ebizibu ebitali bimu ng’ayagala okutunafuya mu by’omwoyo. Okugatta ku ekyo, waliwo ebintu bingi ebitweraliikiriza mu bulamu. (Yob. 14:1; Mub. 2:23) Oluusi ebizibu bye tufuna biyinza okutumalamu ennyo amaanyi ne kiba nti ebintu byonna bye tukola okusobola okuddamu amaanyi tuwulira nga tebituyamba. Ng’ekyokulabirako, waliwo ow’oluganda omu eyali ayambye ab’oluganda bangi okuddamu amaanyi era ekyo yali amaze emyaka mingi ng’akikola. Kyokka, bwe yagenda akaddiwa, ye ne mukyala we baalwala era ekyo kyamumalamu nnyo amaanyi. Ekyo kiraga nti ffenna twetaaga “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” agava eri Yakuwa era twetaaga okuzziŋŋanamu amaanyi.
4. Bwe tuba ab’okuzzaamu abalala amaanyi, bigambo ki eby’omutume Pawulo bye tulina okukolerako?
4 Bwe tuba ab’okuzzaamu abalala amaanyi, twetaaga okukolera ku bigambo omutume Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya. Yagamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Beb. 10:24, 25) Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebyo?
‘BULI OMU ALOWOOZENGA KU MUNNE’
5. ‘Okulowooza ku balala’ kitegeeza ki, era ekyo tuyinza kukikola tutya?
5 ‘Okulowooza ku balala’ kitegeeza okufaayo ku byetaago byabwe. Tetusobola kumanya byetaago bya baganda baffe singa tukoma ku kubabuuza bubuuza nga tuzze mu nkuŋŋaana oba ku kwogera nabo ku bintu ebitali bikulu nnyo. Kya lwatu nti tetwagala ‘kweyingiza mu nsonga z’abalala.’ (1 Tim. 5:13; 1 Bas. 4:11) Wadde kiri kityo, bwe tuba twagala okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi twetaaga okubategeera obulungi. Twetaaga okumanya embeera y’obulamu bwabwe, engeri zaabwe, bye basobola okukola ne bye batasobola kukola, era twetaaga okumanya n’embeera yaabwe ey’eby’omwoyo. Beetaaga okukimanya nti tuli mikwano gyabwe era nti tubaagala. Ekyo okusobola okukikola, twetaaga okubeerako awamu nabo, ne mu biseera ebirala, so si mu biseera ebyo byokka nga balina ebizibu oba nga baweddemu amaanyi.—Bar. 12:13.
6. Kiki ekisobola okuyamba omukadde ‘okulowooza’ ku bakkiriza banne?
6 Bayibuli egamba nti abakadde balina ‘okulundanga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa’ kyeyagalire. (1 Peet. 5:1-3) Abakadde basobola batya okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe obwo singa baba tebamanyi bulungi kisibo? (Soma Engero 27:23.) Abakadde bwe bawaayo ebiseera okubeerako ne bakkiriza bannaabwe era ne bakiraga nti baagala nnyo okubeerako awamu nabo, bakkiriza bannaabwe kijja kubanguyira okubatuukirira nga beetaaga obuyambi. Ate era kijja kubanguyira okubuulira abakadde ebizibu byabwe n’ebintu ebibeeraliikiriza. Bwe kityo, abakadde bajja kusobola okubayamba.
7. Twanditutte tutya ebigambo “eby’okwanguyiriza” abo ababa baweddemu amaanyi bye boogera?
7 Pawulo yakubiriza ab’oluganda mu Ssessaloniika “okuyamba abanafu.” (Soma 1 Abassessaloniika 5:14.) Mu abo mwe muli abantu “abennyamivu” n’abo ababa baweddemu amaanyi. Engero 24:10 wagamba nti: “Bw’ozirika ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go nga matono.” Omuntu aba aweddemu amaanyi oluusi ayogera ebigambo “eby’okwanguyiriza.” (Yob. 6:2, 3) Tusaanidde okukijjukira nti ebigambo omuntu aba aweddemu amaanyi by’ayogera oluusi aba tabitegeeza. Rachelle, alina maama we eyennyamira ennyo, kino yakyerabirako. Agamba nti: “Emirundi mingi maama yayogeranga ebigambo ebirumya. Naye bwe yabyogeranga nnafubanga okulowooza ku ngeri ennungi maama z’alina, gamba ng’okwagala, ekisa, n’okuba nti mugabi. Nnakiraba nti omuntu aba yennyamidde ebiseera bingi ayogera ebintu by’atategeeza. Omuntu ng’oyo bw’ayogera naawe obubi, tekiba kya magezi naawe okwogera naye obubi.” Engero 19:11 wagamba nti: “Okuteesa kw’omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.”
8. Okusingira ddala baani abeetaaga okulagibwa nti tubaagala, era lwaki?
8 Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku muntu aba aweddemu amaanyi olw’ekibi kye yakola? Wadde nga yeenenya mu bwesimbu, omuntu ng’oyo ayinza okuba ng’akyawulira obuswavu olw’ebyo bye yakola. Ng’ayogera ku mwonoonyi omu mu kibiina ky’Ekkolinso eyali yeenenyezza, Pawulo yagamba ab’oluganda nti: “Mubeere beetegefu okumusonyiwa n’okumubudaabuda, aleme kusaanyizibwawo olw’okunakuwala ennyo. N’olwekyo, mbakubiriza okumulaga okwagala.” (2 Kol. 2:7, 8) Ow’oluganda aba yeenenyezza tasobola kukitegeera nti tumwagala era nti tumufaako okuggyako nga tukimulaze mu bigambo ne mu bikolwa.
“OKUMUKUBIRIZA OKWAGALA N’OKUKOLA EBIKOLWA EBIRUNGI”
9. Kitegeeza ki ‘okukubiriza abalala okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi’?
9 Pawulo yagamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.” Ekyo tukikola nga tuyamba bakkiriza bannaffe okwoleka okwagala n’okukola ebintu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, omuliro bwe guba gwaka naye nga tetwagala guzikire, tuba tulina okuguseesaamu. (2 Tim. 1:6) Mu ngeri y’emu, waliwo ebintu bye tusobola okukola okuyamba baganda baffe okwongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ekimu ku bintu ebyo kwe kubasiima olw’ebirungi bye bakola.
Buulirako n’ab’oluganda abalala
10, 11. (a) Baani abeetaaga okusiimibwa? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okusiima omuntu gye kiyinza okumuyamba okutereeza amakubo ge?
10 Ffenna twetaaga okusiimibwa, ka tube nga tuweddemu amaanyi oba nedda. Ow’oluganda omu aweereza ng’omukadde yagamba nti: “Sijjukira mulundi na gumu taata lwe yansiima nga nnina ekintu ekirungi kye nkoze. Bwe kityo, nnakula ndowooza nti sirina kintu kirungi kyonna kye nsobola kukola. . . . Wadde nga kati nnina emyaka 50, kinsanyusa nnyo abalala bwe bansiima olw’ebintu ebirungi bye nkola mu kibiina. . . . Ekyo kinnyambye okukiraba nti kikulu nnyo okusiima abalala era nfuba okukikola.” Buli omu, k’abe payoniya, nnamukadde, oba oyo aba anafuye, addamu amaanyi abalala bwe bamusiima.—Bar. 12:10.
11 ‘Abo abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo bwe baba bagezaako okutereeza omuntu aba akutte ekkubo ekyamu,’ okumusiima olw’ebintu ebirungi bye yakola mu biseera eby’emabega kiyinza okumuyamba okutereeza amakubo ge. (Bag. 6:1) Ekyo kyennyini kye kyayamba mwannyinaffe ayitibwa Miriam. Agamba nti: “Nnayisibwa bubi nnyo nga mikwano gyange bagobeddwa mu kibiina ate mu kiseera kye kimu taata n’afuna obulwadde obw’amaanyi. Nnennyamira nnyo. Nnasalawo okufuna omusajja atali mukkiriza nga ndowooza nti ekyo kyandinnyambye okuvvuunuka embeera eyo enzibu gye nnalimu.” Kyokka ekyo kyamuleetera okuwulira nga takyasaanira mu maaso ga Yakuwa, era n’alowooza ne ku ky’okuva mu mazima. Naye omukadde bwe yamujjukiza ebintu ebirungi bye yali akoze emabega, kyamuyamba okuddamu amaanyi. Abakadde baamukakasa nti Yakuwa yali akyamwagala. N’ekyavaamu, mwannyinaffe oyo yaddamu okwagala Yakuwa. Yeekutula ku musajja atali mukkiriza ne yeeyongera okuweereza Yakuwa.
Kubiriza abalala okwagala n’okukola ebintu ebirungi
12. Kiki ekiyinza okubaawo singa tugezaako okukubiriza bakkiriza bannaffe mu ngeri enkyamu?
12 Okugezaako okukubiriza omuntu nga tumuswaza, nga tumugeraageranya ku balala, oba nga tumuleetera okuwulira obubi olw’okukola ekitono mu buweereza bwe, kiyinza okumuleetera okwongera ku buweereza bwe, naye ekyo ayinza obutakikola kumala kiseera kiwanvu. Engeri esingayo obulungi ‘ey’okukubirizaamu’ bakkiriza bannaffe okwoleka okwagala n’okukola ebintu ebirungi kwe kubasiima n’okubayamba okukiraba nti okwagala Katonda ye nsonga esinga obukulu eyanditukubirizza okukola ekisingayo obulungi mu buweereza bwaffe.—Soma Abafiripi 2:1-4.
‘OKUZZIŊŊANAMU AMAANYI’
13. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuzzaamu abalala amaanyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)
13 Twetaaga ‘okuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe tulaba nti olunaku lwa Yakuwa lusembedde.’ Tusobola okuzzaamu abalala amaanyi nga tubakubiriza okweyongera okuweereza Katonda. Okukubiriza abalala okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi kiyinza okugeraageranyizibwa ku kuseesa mu muliro oguba gunaatera okuzikira, ate okuzzaamu abalala amaanyi kisobola okugeraageranyizibwa ku kwongera enku mu kyoto omuliro gusobole okweyongera okwaka. Okuzzaamu abalala amaanyi kizingiramu okubudaabuda abo ababa baweddemu amaanyi. Bwe tufuna akakisa okuzzaamu abantu ng’abo amaanyi, tusaanidde okwogera nabo mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. (Nge. 12:18) Ate era, tusaanidde ‘okuba abangu okuwuliriza’ era nga ‘tulwawo okwogera.’ (Yak. 1:19) Singa tuwuliriza bulungi bakkiriza bannaffe, tujja kusobola okutegeera ebintu ebyabamalamu amaanyi era tujja kumanya ebintu bye tusaanidde okwogera okusobola okubazzaamu amaanyi.
Funayo ebiseera okubeerako awamu ne bakkiriza banno
14. Omukadde omu yayamba atya ow’oluganda eyali aweddemu amaanyi?
14 Lowooza ku ngeri omukadde omu gye yayambamu ow’oluganda eyali amaze emyaka egiwerako nga tabuulira. Omukadde bwe yawuliriza ow’oluganda oyo, yakiraba nti yali akyayagala Yakuwa. Yali asoma buli magazini y’Omunaala gw’Omukuumi era ng’afuba okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Kyokka, waliwo ab’oluganda abamu mu kibiina abaali bakoze ebintu ebyamunyiiza ne bimumalamu amaanyi. Omukadde yamuwuliriza bulungi, n’agezaako okutegeera ensonga ye, era n’amukakasa nti ab’oluganda mu kibiina baali bamwagala nnyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, ow’oluganda oyo yatandika okukiraba nti yali akkirizza ebintu ebyayita okumulemesa okuweereza Katonda we gwe yali ayagala. Omukadde yakola enteekateeka okubuulirako n’ow’oluganda oyo. N’ekyavaamu, ow’oluganda oyo yaddamu okubuulira era oluvannyuma lw’ekiseera yaddamu okuweereza ng’omukadde.
Wuliriza bulungi omuntu aba yeetaaga okuzzibwamu amaanyi (Laba akatundu 14, 15)
15. Bwe kituuka ku kuzzaamu amaanyi abo ababa banafuye, tuyinza tutya okukoppa Yakuwa?
15 Oluusi omuntu aba aweddemu amaanyi ayinza obutayanguwa kuddamu maanyi ne bwe tuba nga tufubye okumuyamba. Kiyinza okutwetaagisa okumala ekiseera ekiwerako nga tumuyamba. Pawulo yagamba nti: “Mweyongere okuwanirira abanafu, mube bagumiikiriza eri buli omu.” (1 Bas. 5:14, An American Translation) Mu kifo ky’okukoowa amangu okuyamba abantu ababa banafuye, tusaanidde ‘okweyongera okubawanirira’ n’okubayamba. Mu biseera by’edda, Yakuwa yayoleka obugumiikiriza eri abaweereza be abaali baweddemu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Katonda yagumiikiriza nnyo Eriya era yalaga nti yali afaayo ku nneewulira ye. Yamuwa byonna bye yali yeetaaga okusobola okweyongera okumuweereza. (1 Bassek. 19:1-18) Olw’okuba Dawudi yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa yamusonyiwa. (Zab. 51:7, 17) Ate era Katonda yayamba omuwandiisi wa Zabbuli 73, eyali abulako akatono okulekera awo okumuweereza. (Zab. 73:13, 16, 17) Yakuwa atulaga ekisa era atugumiikiriza, naddala bwe tuba nga tuweddemu amaanyi. (Kuv. 34:6) Ekisa kye kidda ‘buggya buli nkya,’ era “tekiggwaawo.” (Kung. 3:22, 23) Yakuwa ayagala tumukoppe nga tulaga ekisa abo ababa baweddemu amaanyi.
BULI OMU AKUBIRIZE MUNNE OKUSIGALA MU KKUBO ERY’OBULAMU
16, 17. Ng’enkomerero y’enteekateeka ya Sitaani egenda esembera, kiki kye tulina okukola, era lwaki?
16 Ku basibe 33,000 abaava mu nkambi y’e Sachsenhausen, nkumi na nkumi baafiira mu kkubo. Kyokka Abajulirwa ba Yakuwa 230 abaava mu nkambi eyo bonna baawonawo. Ekyo kyali kityo kubanga bazziŋŋanamu amaanyi nga bali ku lugendo olwo olwafiiramu abantu abangi ennyo.
17 Leero, tuli mu ‘kkubo eridda mu bulamu.’ (Mat. 7:14) Mu kiseera ekitali kya wala, abaweereza ba Yakuwa bonna bajja kuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu. (2 Peet. 3:13) Ka ffenna tube bamalirivu okuyambagana tusobole okweyongera okutambulira mu kkubo eridda mu bulamu.