Kubiriza Abalala Okukola Ebikolwa Ebirungi
Mu Abebbulaniya 10:24, tukubirizibwa okulowooza ku bannaffe ‘n’okubakubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.’ Tusobola okukubiriza baganda baffe nga tubateerawo ekyokulabirako ekirungi era nga twogera nabo mu ngeri eraga nti twesiga Yakuwa. Buulirako abalala ebirungi by’ofunye mu kuweereza Yakuwa era ka bakirabe nti ofuna essanyu lingi mu kumuweereza. Naye weewale okubageraageranya n’abalala. (Bag. 6:4) Ekigendererwa kyaffe kisaanidde kuba kya kukubiriza balala “okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi,” so si kubaleetera kuwulira nti si ba mugaso. (Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 158, kat. 4.) Bwe tukubiriza abalala okwagala, kijja kubanguyira okukola ebikolwa ebirungi gamba ng’okuyamba abalala mu by’omubiri n’okubuulira.—2 Kol. 1:24.