Gulumiza Yakuwa n’Ebikolwa Ebirungi
1 Bwe weesanga ng’oli mu nkuba erimu omuyaga ogw’amaanyi, nga kiba kirungi okufuna w’osobola okweggama! Bwe kiba nti munda mulimu ebbugumu, nga temuli kabi era nga n’ababeerawo baaniriza abagenyi, oba musanyufu okubeerawo. Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gulagirira abantu eri ebifo ng’ebyo eby’okweggamamu okuva mu nteekateeka ya Setaani. Empisa zaffe eza buli lunaku ziyinza okuyamba abantu abalala okulaba engeri ekifo kino eky’okweggamamu ekitaliimu kabi gye kisikirizaamu? Yee, kubanga Yesu yagamba nti abantu ‘bandirabye ebikolwa byaffe ebirungi ne bagulumiza Kitaffe ali mu ggulu.’—Mat. 5:16.
2 Tuyinza kweyisa tutya ebikolwa byaffe bisobole okusikiriza abalala eri Yakuwa n’entegeka ye? Nga tuleka ebigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 6:31 ne 10:27 okukyusa obulamu bwaffe buli lunaku. Kino kijja kutuleetera okufaayo ku bantu bannaffe, kitwawule ku nsi eno etaliimu kwagala era etafaayo.
3 Mwannyinaffe eyali asaabala ekidyeri yalaba omukyala omuto eyali alwadde ennyo olw’okusaabala ennyanja ne kiba nti yali tasobola kulabirira mwana we omuto. Mwannyinaffe yeewaayo okulabirira omwana. Omukyala bwe yabuuza engeri gye yandirazeemu okusiima kwe, mwannyinaffe yamugamba: ‘Nkusaba owulirize Abajulirwa ba Yakuwa omulundi omulala nga bakukyalidde.’ Omukyala bwatyo bwe yakola, era kati ye n’omwami we Bajulirwa. Ebikolwa ebirungi birina eky’enjawulo kye byakolawo ku ngeri gye baayanukulamu obubaka bw’Obwakabaka.
4 Obulamu Bwaffe Bwonna Bukwatibwako: Empisa zaffe ku muliraano, nga tuli ku mulimu oba ku ssomero, ne mu biseera eby’okwesanyusaamu zireetera abalala okuba ne kye batulowoozaako awamu n’eddiini yaffe. N’olwekyo, tulina okwebuuza: ‘Abalabi bantunuulira batya n’ab’omu maka gange? Ab’oku muliraano batwala ennyumba yaffe n’oluggya okuba ebiyonjo era ebikuumibwa obulungi? Bakozi bannaffe ne be tusoma nabo batutunuulira ng’abakwasi b’ebiseera era abanyiikivu? Abalala endabika yaffe banaagiraba nga nnungi era eweesa ekitiibwa? ’Ebikolwa byaffe ebirungi biyinza okuleetera okusinza kwa Yakuwa okuba nga kusikiriza abalala.
5 Peetero yalabula nti Abakristaayo bajja kusekererwa. (1 Peet. 4:4) Tuteekwa okukakasa nti enneeyisa yaffe si y’ereetera abantu okutwogerako obubi. (1 Peet. 2:12) Singa ebikolwa byaffe ebya buli lunaku bigulumiza Katonda gwe tusinza, olwo nno tujja kubeera ng’ettabaaza eziteekeddwa waggulu, nga zisikiriza abalala eri ebifo eby’okwegamamu Yakuwa by’atuwa.—Mat. 5:14-16.