Okuwa Obujulirwa Awatali Kigambo
1 Awatali kwogera kigambo kyonna, ebitonde bya Yakuwa biwa obujulirwa ku ngeri ze. (Zab. 19:1-3; Bar. 1:20) Mu ngeri y’emu, empisa zaffe ennungi, engeri zaffe ez’Ekikristaayo n’endabika yaffe ennungi, biwa obujulirwa awatali kigambo kyonna. (1 Peet. 2:12; 3:1-4) N’olwekyo, buli omu ku ffe yandibadde n’ekiruubirirwa ‘eky’okuyonja okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu byonna’ okuyitira mu ngeri gye yeeyisaamu.—Tito 2:10.
2 Abantu abatatuukiridde basobola batya okuyonja enjigiriza za Baibuli? Kino basobola okukikola okuyitira mu bulagirizi bw’Ekigambo kya Katonda n’amaanyi ag’omwoyo omutukuvu. (Zab. 119:105; 143:10) Ekigambo kya Katonda “kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri.” (Beb. 4:12) Kituukira ddala mu mitima gyaffe ne kitusobozesa okwambala omuntu omuggya. (Bak. 3:9, 10) Omwoyo omutukuvu gutusobozesa okuba n’engeri ennungi, gamba ng’ekisa, obulungi, obuteefu n’okwefuga. (Bag. 5:22, 23) Ng’abantu kinnoomu, tukkiriza Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe okubaako kye bikola mu bulamu bwaffe?—Bef. 4:30; 1 Bas. 2:13.
3 Abalala Batulaba: Bwe tutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Yakuwa era ne tufuba okwoleka engeri ze, abalala bakiraba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku musajja omu eyajeregebwanga bakozi banne olw’okuba yali mumpi. Kyokka, mwannyinaffe eyali akola naye mu ofiisi y’emu, yamussangamu ekitiibwa. Kino kyaleetera omusajja oyo okumubuuza ensonga lwaki yali wa njawulo ku balala. Yamunnyonnyola nti awa abalala ekitiibwa olw’okuba agoberera emisingi gya Baibuli. Ate era yamubuulira ne ku ssuubi ery’ekitalo erikwata ku Bwakabaka. Omusajja oyo yatandika okusoma Baibuli era oluvannyuma yakulaakulana n’abatizibwa. Bwe yaddayo mu nsi y’ewaabwe, ab’eŋŋanda ze baakwatibwako nnyo olw’empisa ze ennungi era bangi ku bo bakkiriza amazima.
4 Nga tuli ku ssomero, ku mirimu oba nga tukolagana n’ab’eŋŋanda zaffe, empisa zaffe ennungi awamu n’okubuulira kwaffe bisobola okuleetera abalala okuwa Katonda ekitiibwa.—Mat. 5:16.