LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w20 Jjuuni lup. 17
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Similar Material
  • ‘Oneeyongera Okutambulira mu Mwoyo’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Okkiriza Omwoyo gwa Katonda Okukukulembera?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Weeyongere ‘Okubala Ebibala Bingi’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Weeyongere Okwambala “Omuntu Omuggya” n’Oluvannyuma lw’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
w20 Jjuuni lup. 17

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Engeri ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 ze ngeri zokka eziri mu “kibala eky’omwoyo”?

  • OKWAGALA

  • ESSANYU

  • EMIREMBE

  • OBUGUMIIKIRIZA

  • EKISA

  • OBULUNGI

  • OKUKKIRIZA

  • OBUKKAKKAMU

  • OKWEFUGA

Ennyiriri ezo zimenya engeri mwenda Abakristaayo ze balina okwoleka: “Ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.” Kyokka tetusaanidde kukitwala nti ezo zokka ze ngeri omwoyo gwa Katonda ze gusobola okutuyamba okukulaakulanya.

Weetegereza ebyo omutume Pawulo bye yayogera nga tannayogera ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo: “Ebikolwa eby’omubiri . . . bye bino: ebikolwa eby’obugwenyufu, obutali bulongoofu, obugwagwa, okusinza ebifaananyi, eby’obusamize, empalana, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawulamu, okwekutulamu obubiina, ensaalwa, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiringa ebyo.” (Bag. 5:19-21) N’olwekyo, waliwo n’ebikolwa ebirala eby’omubiri Pawulo bye yali asobola okumenya, gamba ng’ebyo ebyogerwako mu Abakkolosaayi 3:5. Mu ngeri y’emu, bwe yamala okumenya engeri mwenda ennungi, yagamba nti: “Ebiri ng’ebyo tebiriiko tteeka libikugira.” N’olwekyo, Pawulo teyayogera ku ngeri zonna ennungi omwoyo omutukuvu ze gusobola okutuyamba okukulaakulanya.

Ekyo kyeyoleka bulungi bwe tugeraageranya ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo n’ebibala by’ekitangaala Pawulo bye yayogerako bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Efeso. Yagamba nti: “Ebibala by’ekitangaala bibaamu obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.” (Bef. 5: 8, 9) Mazima ddala, “obulungi,” awamu n’obutuukirivu n’amazima bye bimu ku ‘bibala by’ekitangaala,’ kyokka era bye bimu ku biri mu “kibala eky’omwoyo.”

Ate era Pawulo yakubiriza Timoseewo okufuba okwoleka engeri mukaaga ennungi era nga ze zino: “obutuukirivu, okwemalira ku Katonda, okukkiriza, okwagala, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.” (1 Tim. 6:11) Ku ngeri ezo, nnya zokka (okukkiriza, okwagala, obugumiikiriza, n’obukkakkamu) Pawulo ze yayogerako bwe yali amenya engeri eziri mu ‘kibala ky’omwoyo.’ Kyokka Timoseewo era yali yeetaaga obuyambi bw’omwoyo mutukuvu okukulaakulanya engeri zino endala ezimenyeddwa: obutuukirivu n’okwemalira ku Katonda.​—Geraageranya Abakkolosaayi 3:12; 2 Peetero 1:5-7.

N’olwekyo, engeri ezoogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 si ze zokka Abakristaayo ze balina okukulaakulanya. Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okukulaakulanya engeri omwenda ezimenyembwa mu “kibala eky’omwoyo.” Naye waliwo n’engeri endala nnyingi ze tusaanidde okukulaakulanya okusobola okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, n’okusobola okwambala “omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.”​—Bef. 4:24.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share