Weeyongere ‘Okubala Ebibala Bingi’
1 Ng’akozesa olulimi olw’akabonero, Yesu yeegeraageranya ku muzabbibu, n’ageraageranya Kitaawe ku Mulimi, era n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta n’abageraageranya ku matabi g’omuzabbibu. Ng’annyonnyola omulimu gw’Omulimi ow’akabonero, Yesu yaggumiza obukulu bw’okusigala nga tunyweredde ku muzabbibu. (Yok. 15:1-4) Eky’okuyiga kiri nti, buli muntu alina enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa ateekwa okuba ng’ettabi eribala ebibala ‘ery’omuzabbibu ogw’amazima,’ Yesu Kristo. Tuteekwa okweyongera okubala mu bungi “ebibala eby’omwoyo” n’eby’Obwakabaka.—Bag. 5:22, 23; Mat. 24:14; 28:19, 20.
2 Ebibala eby’Omwoyo: Okusingira ddala, okukulaakulana kwaffe okw’eby’omwoyo kupimibwa ku ngeri gye twolekamu ebibala eby’omwoyo. Ofuba okukulaakulanya ebibala eby’omwoyo gwa Katonda nga weesomesa era ng’ofumiitiriza ku Kigambo kya Katonda obutayosa? (Baf. 1:9-11) Tolonzalonza kusaba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu, ogunaakuyamba okuba n’engeri ezimugulumiza era ezijja okukusobozesa okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.—Luk. 11:13; Yok. 13:35.
3 Okukulaakulanya ebibala eby’omwoyo era kijja kutuyamba okuba abaweereza abanyiikivu era abalungi. Ng’ekyokulabirako, okwagala n’okukkiriza bituleetera okuffisaawo akadde okusobola okwenyigira obutayosa mu buweereza. Engeri endala gamba ng’emirembe, obugumiikiriza, ekisa,obuwombeefu, n’okwefuga bituyamba okukwata obulungi abo ababa batuwakanya. Essanyu litusobozesa okufuna obumativu mu buweereza, abantu ne bwe baba nga tebeefiirayo.
4 Ebibala eby’Obwakabaka: Era twagala okubala ebibala eby’Obwakabaka. Kino kizingiramu okuwaayo “ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye [Yakuwa].” (Beb. 13:15) Kino tukikola nga tubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu era awatali kusagaasagana. Ofuba okubala ebibala bingi eby’Obwakabaka nga weeyongera okulongoosa mu buweereza bwo?
5 Yesu yakiraga nti abagoberezi be abeesigwa tebandibaze bibala bye bimu. (Mat. 13:23) N’olwekyo, tetusaanidde kwegeraageranya na balala naye tusaanidde okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. (Bag. 6:4) Bwe twekenneenya embeera zaffe mu bwesimbu nga tukozesa Ekigambo kya Katonda, tujja kusobola okweyongera okutendereza Yakuwa nga ‘tubala ebibala bingi’—Yok. 15:8.