‘Ekigambo kya Katonda kya Maanyi’
1 ‘Ekigambo kya Katonda kiramu, era kya maanyi,’ bw’atyo omutume Pawulo bwe yawandiika. (Beb. 4:12) Yali ategeeza ki? Ekigambo kya Katonda oba obubaka obuli mu Baibuli, bulina eky’amaanyi kye buyinza okukola ku bantu. Amagezi agali mu Baibuli gasobola okulongoosa obulamu bw’omuntu. Okubudaabuda n’essuubi Baibuli by’ewa bisikiriza abantu eri oyo Atuwa Obulamu, Yakuwa Katonda. Obubaka obugirimu buyinza okukulembera abantu ab’emitima emyesigwa mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Kyokka, okusobola okulaba emiganyulo egyo, tuteekwa okukozesa Baibuli nga tuwa abalala obujulirwa.
2 Soma Ekyawandiikibwa Buli lw’Ofuna Omukisa: Kirabika nti ababuulizi bangi tebatera kukozesa Baibuli nga bali mu maka g’abantu. Bwe kityo bwe kiri gy’oli? Olw’okuba kirabika nti abantu bangi tebaba na biseera biwanvu okunyumyamu, oboolyawo kati naawe otandise enkola ey’okuwaayo obuwi ebitabo byokka, oba okuwumbawumba obuwumbiwumbi ebiri mu byawandiikibwa. Tukubiriza ababuulizi bonna okufuba ennyo waakiri okusomayo olunyiriri lumu lwokka mu Baibuli nga babuulira amawulire amalungi. Mu ngeri eyo, omuntu ajja kukitegeera nti obubaka bwaffe buva mu Kigambo kya Katonda. Mu bitundu bingi bye tubuuliramu, tusobola okusoma ebyawandiikibwa bibiri oba bisatu. Naye ate tolwawo ekiyitiridde mu maka g’omuntu.
3 Wadde ng’abantu batono nnyo abagifuula empisa okusoma Baibuli, okutwalira awamu ekyassibwamu ekitiibwa. Wadde n’abantu abakola ennyo bajja kuwaayo eddakiika emu oba bbiri okuwuliriza obubaka obusomebwa obuteerevu okuva mu Kigambo kya Katonda, ekyawandiikibwa ekituukirawo obulungi bwe kisomebwa n’ebbugumu era ne kinnyonnyolebwa mu bufunze, amaanyi g’ekigambo kya Yakuwa gayinza okubaako ekirungi ge kikola ku muntu awuliriza. Naye oyinza otya okukwataganya ennyanjula yo n’okusoma ekyawandiikibwa okuva mu Baibuli?
4 Kino Kigezeeko ng’Ogaba Magazini: Omulabirizi atambula akozesa bulungi Ebyawandiikibwa nga yenyigidde mu mulimu gw’okugaba magazini. Abeera ne ka-Baibuli akatono mu nsawo ye. Ng’amaze okulaga omuntu magazini era n’okubaako ky’annyonnyola mu bufunze, mangu ddala abikkula Baibuli n’asoma ekyawandiikibwa ekituukagana obulungi n’ekitundu ekyo. Kino ayinza okukikola ng’abuuza ekibuuzo, “Kiki ky’olowooza ku kisuubizo kino ekizzaamu amaanyi?” Oluvannyuma n’alyoka asoma ekyawandiikibwa ky’aba alonze.
5 Ka kibeere kiruubirirwa kyo okusomera buli muntu akuwuliriza ekyawandiikibwa kimu oba bibiri okuva mu Baibuli. Amaanyi gaayo gayinza okusikiriza abantu abalala bangi eri Katonda.—Yok. 6:44.