Kozesa Bulungi Baibuli
1. Kiki ky’oyinza okukola nga weeteekerateekera obuweereza bw’ennimiro?
1 Ka kibe kitabo ki kye tuteeseteese okugaba mu nnimiro, kiba kirungi okufunayo ekyawandiikibwa eky’okukubaganyaako ebirowoozo n’abakuwuliriza. (Beb. 4:12) Singa okozesa ekyawandiikibwa ekiri mu kitabo ky’ogenda okugaba, kijja kukwanguyira okukigaba. Mu nsi ezimu, ababuulizi bakisanze nga kya muganyulo okukwata Baibuli mu ngalo nga batuukirira omuntu okumuwa obujulirwa oba nga babuulira nnyumba ku nnyumba.
2. (a) Tuyinza tutya okutandika ennyanjula yaffe n’ekyawandiikibwa? (b) Nsonga ki ezeesigamiziddwa ku byawandiikibwa ezisikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe?
2 Tandika n’Ekyawandiikibwa: Ababuulizi abamu batandika okukubaganya ebirowoozo ne nnyinimu nga bamubuuza ekibuuzo okusobola okumanya endowooza gy’alina ku kyawandiikibwa kye bagenda okumusomera. Okukola ekyo kisobozesa omuntu okuteeka ebirowoozo bye ku Kigambo kya Katonda. Ezimu ku nnyanjula eziddirira ziyinza okukola obulungi mu kitundu kyammwe?
◼ “Singa walina obusobozi, wandireeseewo enkyukakyuka zino?” Soma Okubikkulirwa 21:4.
◼ “Lwaki tuli mu biseera ebizibu ennyo bwe biti?” Soma 2 Timoseewo 3:1-5.
◼ “Olowooza ekitundu kyaffe kyandibadde kirungi okusingawo singa buli omu yali agoberera amagezi gano?” Soma Matayo 7:12.
◼ “Olowooza abaana bo banaasobola okubeera mu mbeera eyogerwako wano?” Soma Zabbuli 37:10, 11.
◼ “Olowooza ekiseera kirituuka ebigambo bino ne bituukirira?” Soma Isaaya 33:24.
◼ “Omanyi gavumenti eyogerwako wano?” Soma Danyeri 2:44.
◼ “Wali oyagaddeko okubuuza Katonda ekibuuzo kino?” Soma Yobu 21:7.
◼ “Kinaasoboka okuddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa?” Soma Yokaana 5:28, 29.
◼ “Abafu basobola okumanya abalamu kye bakola?” Soma Omubuulizi 9:5.
3. Tuyinza tutya okuyamba abantu okutegeera ebyawandiikibwa bye tubasomera?
3 Nnyonnyola, Wa Ekyokulabirako, Laga Engeri gye Kiyinza Okussibwa mu Nkola: Omuntu bw’aba nga mwetegefu okukubaganya naawe ebirowoozo, twala ebiseera okumunnyonnyola ekyawandiikibwa, muwe ekyokulabirako era mulage engeri gye kiyinza okussibwa mu nkola asobole okukitegeera obulungi. (Nek. 8:8) Abantu bwe bategeera era ne bakkiriza ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, basobola okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe.—1 Bas. 2:13.
4. Tuyinza tutya okukozesa obulungi Baibuli nga tuzzeeyo eri omuntu ayagala okuyiga?
4 Weeyongere okukozesa obulungi Baibuli ng’ozzeeyo eri abantu abaagala okuyiga. Osobola okukozesa enkola y’emu mu kuddiŋŋana: (1) Funa ekyawandiikibwa ekituukirawo ky’onookozesa. (2) Mubuuze ekibuuzo osobole okumanya endowooza gy’alina ku kyawandiikibwa ekyo. Oluvannyuma soma ekyawandiikibwa ekyo. (3) Kinnyonnyole, wa ekyokulabirako era laga engeri gye kiyinza okussibwa mu nkola. Buli lw’oba ozzeeyo okukyalira omuntu, fuba okulaba nti obaako ekippya ky’omuyigiriza okuva mu Kigambo kya Katonda. Mu kiseera kitono ajja kufuuka omuyizi wa Baibuli.