Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana Ekitundu 3: Okukozesa Obulungi Ebyawandiikibwa
1. Lwaki tulina okwesigama ku Byawandiikibwa nga tuyigiriza abayizi ba Baibuli?
1 Ekigendererwa kyaffe mu kuyigiriza abayizi ba Baibuli kwe ‘kufuula abantu abayigirizwa’ nga tubayamba okutegeera n’okukkiriza enjigiriza eziri mu Kigambo kya Katonda era n’okuzissa mu nkola mu bulamu bwabwe. (Mat. 28:19, 20; 1 Bas. 2:13) N’olwekyo, bye tuyigiriza byandyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Mu kusooka, kiyinza okuba eky’omuganyulo okulaga abayizi engeri y’okuzuulamu ebyawandiikibwa mu Baibuli zaabwe. Kati olwo, tuyinza tutya okukozesa Ebyawandiikibwa okubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo?
2. Tumanya tutya ebyawandiikibwa eby’okusoma n’eby’okukubaganyaako ebirowoozo?
2 Londa Ebyawandiikibwa eby’Okusoma: Bw’oba otegeka, manya engeri buli kyawandiikibwa ekiri mu ssomo gye kikwataganamu n’ensonga gye munaayogerako era osalewo ebyo bye munaasoma era ne bye munaakubaganyaako ebirowoozo. Kiba kirungi okusoma ebyo ebyesigamiziddwako enzikiriza zaffe. Kiyinza obuteetaagisa kusoma byawandiikibwa ebitakwata butereevu ku nsonga eyogerwako. Lowooza ku byetaago n’embeera ya buli muyizi.
3. Muganyulo ki oguli mu kukozesa ebibuuzo, era tuyinza kubikozesa tu-tya?
3 Kozesa Ebibuuzo: Mu kifo ky’okunnyonnyola omuyizi ebyawandiikibwa, muleke ye abikunnyonnyole. Osobola okumuyamba okubinnyonnyola ng’okozesa ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi. Amakulu g’Ekyawandiikibwa bwe gaba nga geeyoleka lwatu, oyinza okumubuuza engeri gye kiwagiramu ebyo ebyogeddwako mu katundu. Oluusi kiyinza okukwetaagisa okubuuza omuyizi ekibuuzo oba ebibuuzo ebimuyamba okuddamu ekituufu. Bwe kiba kyetaagisa okwongera okunnyonnyola ensonga, kiyinza okukolebwa ng’omuyizi amaze okuddamu ebibuuzo by’omubuuzizza.
4. Ebyawandiikibwa bye tusoma birina kunnyonnyolwa bitya?
4 Yigiriza mu Ngeri Ennyangu: Omulasi w’akasaale alina obumanyirivu yeetaaga akasaale kamu kokka okuteeba kyaluubirira. Mu ngeri y’emu omusomesa alina obumanyirivu teyeetaaga kwogera bingi okusobola okuggyayo ensonga. Asobola okunnyonnyola ensonga mu ngeri ennyangu, etegeerekeka obulungi era entuufu. Emirundi egimu, kiyinza okukwetaagisa okukola okunoonyereza mu bitabo eby’Ekikristaayo osobole okutegeera obulungi ekyawandiikibwa era okinnyonnyole mu ngeri entuufu. (2 Tim. 2:15) Naye, weewale okugezaako okunnyonnyola buli ekyogerwako mu kyawandiikibwa ekiri mu ssomo. Nokolayo ebyo byokka ebyetaagisa okuggyayo ensonga gye mwogerako.
5, 6. Tuyinza tutya okuyamba abayizi okussa mu nkola Ekigambo kya Katonda mu bulamu bwabwe, naye kiki kye tulina okwewala?
5 Laga Engeri y’Okubissa mu Nkola: Bwe kiba kisaanira, yamba omuyizi okulaba engeri ebyawandiikibwa gye bimukwatako kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, bwe muba mwekenneenya Abaebbulaniya 10:24, 25 n’omuyizi atannatandika kujja mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, oyinza okwogera ku lumu ku nkuŋŋaana era n’omukubiriza okulubeeramu. Naye weewale okumukaka. Leka Ekigambo kya Katonda kimukubirize okubaako kyakolawo okusobola okusanyusa Yakuwa.—Beb. 4:12.
6 Nga tutuukiriza omulimu ogw’okufuula abayigirizwa, ka tubayambe okuba ‘abawulize olw’okukkiriza’ nga tukozesa bulungi Ebyawandiikibwa.—Bar. 16:26.