Owagira Ekigambo kya Katonda?
1 Mu nsi eno etassa kitiibwa mu Baibuli, Abakristaayo ab’amazima bafuba nnyo okulaba nti bawagira Ekigambo kya Katonda. Olw’okuba tuli bakakafu nti “buli Ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda,” tukkiriziganya n’ebyo Yesu Kristo bye yayogera mu kusaba kwe eri Yakuwa nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (2 Tim. 3:16; Yok. 17:17) Tusobola tutya okuwagira obulungi Ekigambo kya Katonda?
2 Manya Ebyawandiikibwa: Awatali kubuusabuusa Yesu yanyiikira okuyiga Ekigambo kya Katonda. Kino kyamusobozesa okukozesanga Ebyawandiikibwa ng’ayigiriza abantu mu buweereza bwe. (Luk. 4:16-21; 24:44-46) Tusobola tutya okumanya era n’okujjukira ebyawandiikibwa ebisobola okutuyamba? Ekyo tukikola nga tusoma Baibuli buli lunaku era nga tufumiitiriza ku lunyiriri oluba lutuzizzaamu amaanyi oba oluyinza okuba olw’omuganyulo mu buweereza bwaffe. Bwe tuba tutegeka enkuŋŋaana, tusaanidde okusoma butereevu mu Baibuli ebyawandiikibwa ebiba biweereddwa era oboolyawo ne tutegekawo ne bye tuyinza okwogera ku byawandiikibwa ebyo. Bwe tuba mu nkuŋŋaana, tusaanidde okugoberera mu Baibuli zaffe ng’omwogezi asoma ebyawandiikibwa. Okumanya Ebyawandiikibwa kijja kutuyamba ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’—2 Tim. 2:15.
3 Leka Baibuli y’Eba Eyogera: Bwe tuba mu buweereza bw’ennimiro, tusaanidde okuleka Baibuli eyogere. Ng’ekyokulabirako, embeera bwe ziba zitusobozesa, tusaanidde okusomera nnyinimu ekyawandiikibwa era ne tukikubaganyaako ebirowoozo naye. Singa abuuza ekibuuzo oba abaako ky’awakanya, kiba kirungi okukozesa Baibuli okumuddamu. Nnyinimu bw’aba ng’alina eby’okukola bingi, era tuyinza okubaako ekirowoozo kye tumulekera okuva mu Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okumugamba: “Nga sinnagenda, nzikiriza nkusomereyo ekyawandiikibwa kimu kyokka.” Bw’aba akkirizza, musomere butereevu mu Baibuli, era omusabe agoberere ng’osoma.
4 Omuntu omu bwe yalagibwa ebyawandiikibwa ebiraga nti enjigiriza ya Tiriniti si ntuufu, yagamba nti, “Obulamu bwange bwonna mbadde ŋŋenda mu kkanisa, naye mu butuufu mbadde simanyi Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno!” Awatali kulonzaalonza, yakkiriza okuyigirizibwa Baibuli. Yesu yagamba nti endiga ze zandiwulidde eddoboozi lye. (Yok. 10:16, 27) Engeri esingayo obulungi ey’okuyambamu abeesimbu okutegeera amazima, kwe kubalaga butereevu Ebyawandiikibwa kye bigamba. N’olwekyo, ka tweyongere okuwagira Ekigambo kya Katonda eky’amazima!