Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Maayi 14
Oluyimba 25
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri ey’okugabamu Watchtower eya Apuli 15 ne Awake! eya Apuli.
Ddak. 20: Okuwagira Emirimu gy’Obwakabaka mu Kitundu kyo ne mu Nsi Yonna. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamye ku katabo Organized to Do Jehovah’s Will, essuula 12.
Ddak. 15: “Awa Amaanyi Abakooye.”a Obudde bwe bubaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 22 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 21
Oluyimba 62
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku ebyo ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo.
Ddak. 15: Osobola Okuyiga Olulimi Olulala! Kwogera okwesigamiziddwa ku Awake! eya Maaki 2007, olupapula 10-12. Yogera ku miganyulo gye tuyinza okufuna bwe tuyiga olulimi olulala nga tulina ekigendererwa eky’okwongera okubunyisa amawulire amalungi.
Ddak. 20: “Owagira Ekigambo kya Katonda?”b Yogera ne ku ebyo ebiri mu busanduuko obuli ku lupapula 143-4 mu kitabo Ssomero ly’Omulimu.
Oluyimba 33 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 28
Oluyimba 21
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maayi. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 4 oba endala ezituukagana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Maayi 1 ne Awake! eya Maayi.
Ddak. 20: Mugabe akatabo Creator oba Essanyu mu Maka mu mwezi gwa Jjuuni. Nokolayo ebimu ku birungi ebiri mu butabo buno era olage n’engeri y’okugabamu buli kamu ku bwo, ng’okozesa ennyanjula ezituukirawo mu kitundu kyammwe. Obudde bwe bubaawo, saba abawuliriza boogere ku birungi ebyava mu kukozesa obutabo buno nga babuulira mikwano gyabwe oba ab’omu maka gaabwe.
Ddak. 15: Ebyokulabirako eby’Omu Nnimiro. Yogera ku byokulabirako ebirungi ebyafunibwa bapayoniya abawagizi n’ababuulizi abalala abaafuba ennyo okugaziya ku buweereza bwabwe mu mwezi ogwa Maaki, Apuli, ne Maayi. Era yogera ne ku byokulabirako eby’abo abaddayo eri abo be baawa magazini nga balina ekiruubirirwa eky’okutandika okusoma nabo Baibuli. Ekyokulabirako kimu oba bibiri ebirungi biyinza okulagibwa ddala nga bwe byali.
Oluyimba 43 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 4
Oluyimba 68
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Yigiriza Abaana Bo Okutendereza Yakuwa.”c Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, yogera ku ebyo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi 2005, olupapula 7.
Oluyimba 75 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.