Yigiriza Ekyo Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza
“Mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza.”—MATAYO 28:19, 20.
1. Baibuli ebunyisiddwa kwenkana wa?
EKIGAMBO KYA YAKUWA, Baibuli, kye kimu ku bitabo ebisingayo okuba ebikadde era ebikyasinze okubunyisibwa ennyo mu nsi. Evvuunuddwa mu nnimi ezisukka mu 2,300, ekitegeeza nti abantu nga 90 ku 100 mu nsi basobola okusoma Baibuli mu lulimi lwabwe.
2, 3. (a) Lwaki waliwo okukontana ku ebyo Baibuli by’eyigiriza? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
2 Abantu bukadde na bukadde basoma Baibuli buli lunaku. Abamu bagisomye emirundi egiwera okuva ku ddiba okutuuka ku ddiba. Amadiini nkumi na nkumi gagamba nti enjigiriza zaago zeesigamye ku Baibuli, kyokka tegakkiriziganya na ky’eyigiriza. Ng’oggyeko ekyo, n’abantu abali mu ddiini y’emu tebakkaanya ku ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Abamu balina endowooza enkyamu ku nsibuko yaayo, n’omugaso gwayo. Ate bangi Baibuli bagitwala ng’ekitabo ekitukuvu ekikozesebwa obukozesebwa ku mikolo gamba ng’okulayiza omuntu mu kkooti.
3 Ekituufu kiri nti Baibuli erimu obubaka bwa Katonda obw’amaanyi eri abantu. (Abaebbulaniya 4:12) N’olwekyo ng’Abajulirwa ba Yakuwa, twagala abantu okuyiga ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Tuli basanyufu okukola omulimu Yesu Kristo gwe yalagira abagoberezi be bwe yagamba nti: “Mugende . . . mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza.” (Matayo 28:19, 20) Bwe tuba tubuulira, tusanga abantu ab’emitima emirungi abenyamivu olw’enjigiriza ezikontana ezibunye mu nsi. Baagala okumanya ebikwata ku Katonda, n’ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku kigendererwa ky’obulamu. Ka twetegereze ebibuuzo bisatu abantu bangi bye beebuuza. Ku buli kibuuzo tujja kulaba ebikyamu abakulembeze b’eddiini bye bayigiriza, ate era tulabe n’ekyo ddala Baibuli ky’eyigiriza. Bino bye bibuuzo: (1) Katonda atufaako? (2) Lwaki tuli wano? (3) Kiki ekibaawo nga tufudde?
Katonda Atufaako?
4, 5. Lwaki abantu balowooza nti Katonda tatufaako?
4 Ka tutandike n’ekibuuzo ekisooka, Katonda atufaako? Eky’ennaku, abantu bangi balowooza nti tatufaako. Lwaki balowooza bwe batyo? Ensonga emu eri nti, ensi mwe bali ejjudde ntalo, bukyayi na kubonaabona. Bagamba nti, ‘singa ddala Katonda atufaako yandibadde aziyiza ebintu ebibi nga bino okubaawo.’
5 Ensonga endala ereetedde abantu okulowooza nti Katonda tatufaako evudde ku bakulembeze b’amadiini bennyini. Kiki abakulembeze b’amadiini kye batera okwogera nga waguddewo akabi? Omukyala omu bwe yafiirwa abaana be abato babiri mu kabenje, omukulembeze w’eddiini yamugamba nti, “Bw’atyo Katonda bw’ayagadde. Abadde yeetaagayo bamalayika abalala babiri.” Abakulembeze b’amadiini bwe boogera bwe batyo, mazima ddala baba banenya Katonda olw’ebintu ebibi ebiriwo. Kyokka, omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Omuntu yenna bw’akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema: kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna.” (Yakobo 1:13) Yakuwa si y’aleeta obubi. Mu butuufu tusoma nti: “Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi.”—Yobu 34:10.
6. Ani ali emabega w’obubi n’okubonaabona okuliwo mu nsi eno?
6 Kati olwo, lwaki waliwo obubi bungi n’okubonaabona? Ensonga emu eri nti abantu okutwalira awamu tebaagala Katonda kuba Mufuzi waabwe, era tebaagala kugondera mateeka ge n’emisingi gye egy’obutuukirivu. Tebakimanyi nti bwe bakola bwe batyo baba beeteeka wansi w’obuyinza bw’Omulabe wa Katonda, Setaani, kubanga ‘ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ (1 Yokaana 5:19) Kino kituyamba okutegeera lwaki waliwo ebintu ebibi. Setaani alina obukyayi bungi, mulimba era mukambwe. N’olwekyo, twandisuubidde ensi okwoleka engeri z’omufuzi waayo. Tekyewuunyisa nti leero waliwo obulumi bungi n’okubonaabona!
7. Ezimu ku nsonga ezituviirako okubonaabona ze ziruwa?
7 Ensonga endala eviirako okubonaabona kwe kuba nti abantu tebatuukiridde. Bwe kityo, baagala nnyo okuba n’obuyinza ku balala, era ekyo emirundi mingi kivaako entalo, okunyigirizibwa, n’okubonaabona. Omubuulizi 8:9 kye wava wagamba nti: ‘Omuntu aba n’obuyinza ku mulala okumukola obubi.’ Ng’ogyeko ekyo, okubonaabona era kuva ku ‘biseera n’ebintu ebigwawo obugwi.’ (Omubuulizi 9:11) Emirundi mingi abantu batuukibwako emitawaana olw’okubeera mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu.
8, 9. Tukimanya tutya nti ddala Yakuwa atufaako?
8 Kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa si y’aleeta okubonaabona. Naye ddala Katonda afaayo ku bitutuukako mu bulamu bwaffe? Yee, afaayo. Kino tukimanyi kubanga Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa kituwa ensonga lwaki Yakuwa alese abantu okugoberera ekkubo ekkyamu. Alina ensonga bbiri: obufuzi bwe era n’obwesigwa bw’abantu. Olw’okuba Yakuwa ye muyinza w’ebintu byonna, tateekeddwa kutubuulira nsonga lwaki aleseewo okubonaabona. Kyokka, olw’okuba atufaako, agitubuulira.
9 Weetegereze obukakafu obulala obulaga nti Katonda atufaako. ‘Yanakuwala mu mutima’ bwe yalaba ng’obubi bujjudde ensi mu nnaku za Nuuwa. (Olubereberye 6:5, 6) Awulira bulala leero? Nedda, kubanga Yakuwa takyuka. (Malaki 3:6) Mu butuufu, akyawa obutali bwenkanya era tayagala kulaba abantu nga babonaabona. Baibuli eyigiriza nti, mu bbanga ttono, Katonda agenda kuggyawo ebintu byonna ebibi ebivudde ku bufuzi bw’abantu ne ku nteekateeka z’Omulyolyomi. Obwo si bukakafu obulaga nti Katonda atufaako?
10. Yakuwa awulira atya bw’alaba abantu nga babonaabona?
10 Abakulu b’amadiini baba teboogera kituufu bwe bagamba nti Katonda y’aleeta ebizibu. Naye ekituufu kiri nti Yakuwa ayagala nnyo okukomya okubonaabona. Mu 1 Peetero 5:7 (NW), walaga nti ‘atufaako.’ Ekyo kye nnyini Baibuli ky’eyigiriza!
Lwaki Tuli Wano?
11. Kiki amadiini kye gatera okuyigiriza ku nsonga lwaki tuli wano?
11 Ka twekenneenye ekibuuzo eky’okubiri abantu bangi kye beebuuza, Lwaki tuli wano? Amadiini gatera okuyigiriza nti omuntu ku nsi alina kubeerako kiseera kitono. Ensi bagitwala ng’ekifo we tuyitirako obuyitizi nga tulina ewalala gye tulaga. Bannaddiini abamu bayigiriza eby’obulimba nti lumu Katonda ajja kuzikiriza ensi eno. Enjigiriza ng’ezo zireetedde abantu okulowooza nti balina okweyagalira mu bulamu buno nga bwe basobola nga bakyali balamu. Kiki ddala Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga lwaki tuli wano?
12-14. Kiki Baibuli ky’eyigiriza ku kigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu?
12 Katonda alina ekigendererwa ekirungi eri ensi n’olulyo lw’omuntu. Ensi ‘teyagitonda kubeera ddungu wabula yagitonda okutuulwamu.’ (Isaaya 45:18) Ate era Yakuwa ‘yasimba emisingi gy’ensi, ereme okusagaasagananga emirembe gyonna.’ (Zabbuli 104:5) Bwe tumanya ekigendererwa kya Katonda eri abantu, kijja kutuyamba okutegeera ensonga lwaki tuli wano.
13 Olubereberye essuula 1 ne 2 ziraga nti Yakuwa yateekateeka bulungi ensi abantu basobole okugibeeramu. Oluvannyuma lw’ekyo, ‘buli kintu kyali kirungi.’ (Olubereberye 1:31) Katonda yateeka Adamu ne Kaawa, abantu abasooka, mu lusuku olulungi Adeni, era n’abawa eby’okulya ebirungi bingi. Katonda yabagamba nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” Baali baakuzaala abaana abatuukiridde, okugaziya ennimiro era n’okufuga ebisolo.—Olubereberye 1:26-28.
14 Yakuwa alina ekigendererwa eky’abantu abatuukiridde okubeera ku nsi emirembe gyonna. Ekigambo kye kigamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Yee, abantu baali ba kunyumirwa bulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Ekyo kye kigendererwa kya Katonda era ekyo ddala Baibuli ky’eyigiriza!
Kiki Ekibaawo nga Tufudde?
15. Kiki amadiini agasinga kye gayigiriza ku kibaawo ng’omuntu afudde?
15 Kati ate ka twekenneenye ekibuuzo eky’okusatu abantu bangi kye beebuuza: Kiki ekibaawo bwe tufa? Amadiini agasinga obungi mu nsi gayigiriza nti waliwo ekintu ekiwonawo oluvannyuma lw’omubiri okufa. Amadiini agamu gayigiriza nti abantu ababi Katonda ababonereza emirembe n’emirembe mu muliro ogutazikira. Naye ekyo kituufu? Kiki ddala Baibuli ky’eyigiriza ku ekyo ekibaawo nga tufudde?
16, 17. Okusinziira ku Baibuli, abafu bali mu mbeera ki?
16 Ekigambo kya Katonda kigamba: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera.” Olw’okuba abafu “tebaliiko kye bamanyi,” tebasobola kuwulira, kulaba, kwogera, oba okulowooza. Tebakyayinza kufuna mpeera. Lwaki? Kubanga tebakyayinza kukola mulimu gwonna! Ate era, ‘okwagala kwabwe n’okukyawa n’obuggya biba tebikyaliwo’ ekitegeeza nti tebakyasobola kwoleka nneewulira yonna.—Omubuulizi 9:5, 6, 10.
17 Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno kitegeerekeka bulungi—abafu tebabaako we balaga oluvannyuma lw’okufa. Era tewali kiwonawo ekiyinza okuddamu okuzaalibwa mu mubiri omulala, gamba ng’abo abakkiririza mu njigiriza y’okubbulukukira mu kintu ekirala bwe bagamba. Ekibaawo nga tufudde tuyinza okukinnyonnyola nga tukozesa ekyokulabirako kino: Obulamu bwaffe bulinga akaliro akali ku musubbaawa. Akaliro ako bwe kazikira, tekabaako walala wonna we kaba kalaze. Kaba kazikidde buzikizi.
18. Omuyizi wa Baibuli bw’akimanyi nti abafu tebaliiko kye bamanyi, asobola kuba mukakafu ku ki?
18 Lowooza ku ngeri omuntu gy’asobola okuganyulwa mu njigiriza eyo ennyangu okutegeera ate nga nkulu nnyo. Omuyizi wa Baibuli bw’ategeera nti abafu tebaliiko kye bamanyi aba asobola okuba omukakafu nti abantu be abaafa ka babe nga baali baamukyawa kwenkana wa, tewali kabi konna ke bayinza kumukola. Ate era kisobola okumwanguyira okutegeera nti abantu be abaafa tebakyasobola kuwulira, kulaba, kwogera, oba okulowooza. N’olwekyo, tebasobola kuba nga babonaabonera mu puligaatooli oba mu muliro ogutazikira. Kyokka Baibuli eyigiriza nti abafu Katonda bajjukira bajja kuzuukizibwa. Lino nga ssuubi lya kitalo!—Yokaana 5:28, 29.
Akatabo Akapya Ke Tukozesa
19, 20. Ng’Abakristaayo, buvunaanyizibwa ki bwe tulina, era katabo ki akatuyamba mu mulimu gw’okubuulira?
19 Twetegerezzaako ebibuuzo bisatu byokka ku ebyo abantu bangi bye beebuuza. Baibuli ky’eyigiriza ku buli kimu ku byo kitegeerekeka bulungi. Nga kya ssanyu nnyo okuyamba abantu okutegeera Baibuli ky’eyigiriza! Naye waliwo ebibuuzo ebirala ebikulu bingi abantu ab’emitima emirungi bye baagala okuddibwamu. Ng’Abakristaayo, tulina okuyamba abantu ng’abo okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo.
20 Si kyangu kuyigiriza bantu mazima ga Baibuli mu ngeri ematiza era etegeerekeka. Okutuyamba okukola kino, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ yafulumya akatabo ng’okusingira ddala ka kutuyamba mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. (Matayo 24:45-47) Akatabo kano ak’empapula 224 kalina omutwe Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
21, 22. Bintu ki ebirungi ebiri mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
21 Akatabo kano akaafulumizibwa mu 2005 mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti “Obuwulize Eri Katonda” olw’Abajulirwa ba Yakuwa, kalina ebintu ebirungi bingi. Ng’ekyokulabirako ebiri mu nnyanjula ey’empapula ettaano birungi nnyo mu kutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Ojja kwanguyirwa okukubaganya ebirowoozo ku bifaananyi n’ebyawandiikibwa ebiri mu nnyanjula eyo. Era oyinza okukozesa ebimu ku biri mu kitundu kino okulaga omuyizi engeri gy’asobola okuzuulamu essuula n’ennyiriri mu Baibuli.
22 Akatabo kano kaawandiikibwa mu ngeri ennyangu okutegeera ne kiba nti omuyizi bw’akasoma awulira nti by’asoma bimukwatako. Ku ntandikwa ya buli ssuula waliwo ebibuuzo ate nga ku nkomerero yaayo waliwo akasanduuko akalina omutwe “Baibuli Ky’Eyigiriza.” Akasanduuko ako kalimu eby’okuddamu ebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa mu bibuuzo ebiri ku ntandikwa y’essuula. Ebifaananyi ebirungi n’obugambo obubyogerako wamu n’ebyokulabirako ebiri mu katabo kano bijja kuyamba omuyizi okutegeera obulungi ensonga. Wadde ng’essuula z’akatabo kano ziwandiikiddwa mu ngeri ennyangu, waliwo ebirala ebyongerezeddwako ebijja okukuyamba mu kwekenneenya enjigiriza enkulu 14 singa omuyizi aba ayagala okumanya ebisingawo.
23. Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza tuyinza tutya okukakozesa obulungi okuyigiriza abalala Baibuli?
23 Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kaategekebwa okutuyamba okuyigiriza abantu abalina obuyigirize obw’enjawulo era nga bava mu madiini ag’enjawulo. Omuyizi bw’aba nga talina ky’amanyi ku Baibuli, kiyinza okwetaagisa okusoma essuula emirundi egisukka mu gumu okusobola okugimalako. Toluubirira kumalako bumazi ssuula, wabula fuba okutuuka omuyizi ku mutima. Bwe mubaamu ekyokulabirako ky’atategeera, kimunnyonnyole oba kozesa ekirala ky’anaategeera. Tegeka bulungi, fuba okukozesa akatabo bulungi, era saba Katonda akuyambe ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’—2 Timoseewo 2:15.
Siima Enkizo ez’Omuwendo Ennyo z’Olina
24, 25. Nkizo ki ez’amaanyi Yakuwa z’awadde abantu be?
24 Yakuwa awadde abantu be enkizo ez’omuwendo ennyo. Atusobozesezza okuyiga amazima agamukwatako. Kino tulina okukitwala nga kikulu nnyo! Gw’ate oba, ebigendererwa bye yabikweka ab’amalala n’abibikkulira abawombeefu. Ku nsonga eno Yesu yagamba: “Nkwebaza, Kitange Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab’amagezi n’abakabakaba n’obibikkulira abaana abato.” (Matayo 11:25) Okuba omu ku bawombeefu abaweereza Yakuwa Omufuzi w’Obutonde Bwonna, nkizo ya maanyi nnyo.
25 Ate era Katonda atuwadde enkizo ey’okuyigiriza abalala ebimukwatako. Jjukira nti waliwo eby’obulimba bingi ebimwogeddwako. N’ekivuddemu, abantu bangi bafunye endowooza enkyamu ennyo nti Yakuwa tafaayo abantu bwe babonaabona. Oli mweteefuteefu okuyamba abantu okutegeera ekituufu? Oyagala abantu bonna ab’emitima emirungi okumanya amazima agakwata ku Katonda? Bwe kiba bwe kityo, mu buli ngeri kirage nti ogondera Katonda ng’onyiikirira okubuulira n’okuyigiriza abalala Ebyawandiikibwa kye bigamba ku nsonga enkulu. Abanoonya amazima beetaaga okuyiga kiki ddala Baibuli ky’eyigiriza.
Oyinza Kuddamu Otya?
• Tumanya tutya nti Katonda atufaako?
• Lwaki tuli wano?
• Kiki ekibaawo nga tufudde?
• Biki ebiri mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza by’osinga okwagala?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Baibuli eyigiriza nti okubonaabona kujja kuggwaawo
[Ensibuko y’ebifaananyi]
Top right, girl: © Bruno Morandi/age fotostock; left, woman: AP Photo/Gemunu Amarasinghe; bottom right, refugees: © Sven Torfinn/Panos Pictures
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Abatuukirivu bajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna