Yakuwa Alaga Okusiima
“Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.”—ABAEBBULANIYA 6:10.
1. Yakuwa yalaga atya nti yasiima ekyo Luusi Omumowaabu kye yakola?
YAKUWA asiima nnyo abantu abanyiikira okukola by’ayagala era abawa emikisa gye. (Abaebbulaniya 11:6) Bowaazi omusajja eyalina okukkiriza yali amanyi bulungi engeri ya Yakuwa eno ennungi, kubanga yagamba Luusi Omumowaabu eyali alabiridde obulungi nnyazaala we nnamwandu nti: “Mukama akusasulire emirimu gyo era oweebwe empeera etebulako.” (Luusi 2:12) Luusi Katonda yamuwa omukisa? Awatali kubuusabuusa! Gwe ate oba n’ebimukwatako byawandiikibwa mu Baibuli! Ate era yafumbirwa Bowaazi bw’atyo n’afuuka jjajja wa Kabaka Dawudi ne Yesu Kristo. (Luusi 4:13, 17; Matayo 1:5, 6, 16) Ekyo kye kimu ku by’okulabirako ebingi ebiri mu Baibuli ebiraga nti Yakuwa asiima abaweereza be.
2, 3. (a) Lwaki kyewunyisa nti Yakuwa alaga okusiima? (b) Lwaki Yakuwa asobola okulaga okusiima okwa nnamaddala? Waayo ekyokulabirako.
2 Yakuwa akitwala nga kya butali butuukirivu bw’atalaga kusiima. Abaebbulaniya 6:10 wagamba nti: “Kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.” Ekyewuunyisa ku bigambo ebyo kiri nti Katonda asiima abaweereza be wadde nga boonoonyi.—Abaruumi 3:23.
3 Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okuwulira nti obuweereza bwaffe butono nnyo era nti Katonda tayinza kutuwa mikisa gye. Naye Yakuwa ategeera ebiruubirirwa byaffe n’embeera yaffe era bwe tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna atusiima. (Matayo 22:37) Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi nga maamaasanze ku mmeeza ye akakuufu ak’essente entono nga kaamuwereddwa ng’ekirabo. Mu kusooka ayinza obutakatwala ng’eky’omuwendo. Naye bw’asoma akabaluwa akaliko, akizuula nti ekirabo ekyo kivudde wa kawala ke akato era ng’obusente bwako bwonna kwe kaabumalidde. Maama ono akyusa engeri gy’abadde atwalamu ekirabo ekyo. Oboolyawo nga bw’ajja n’amaziga, yeebaza akaana ke kano nga bw’akagwa ne mu kifuba okulaga bw’asiimye.
4, 5. Mu ngeri ki Yesu gye yakoppa Yakuwa mu kulaga okusiima?
4 Olw’okuba Yakuwa amanyi bulungi ebiruubirirwa byaffe era n’obusobozi bwaffe, asiima bye tumuwa ka bibeere bitono bitya, kasita tuba nga tukikoze n’omutima gwaffe gwonna. Ku nsonga eno, Yesu yalina endowooza efaananira ddala eya Kitaawe. Jjukira Baibuli by’eyogera ku nnamwandu eyawaayo obusente obutono. “Awo [Yesu] n’ayimusa amaaso, n’alaba abagagga abaali basuula ebirabo byabwe mu ggwanika. N’alaba nnamwandu omu omwavu ng’asuula omwo ebitundu by’eppeesa bibiri. N’agamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna: kubanga abo bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by’ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.”—Lukka 21:1-4.
5 Yee, olw’okuba Yesu yali amanyi nti omukazi oyo yali nnamwandu era nga mwavu, yatwala ekirabo kye okuba nga kya muwendo nnyo bw’atyo n’alaga okusiima. Yakuwa naye bw’atyo bwe yakitwala. (Yokaana 14:9) Tekikuzzaamu amaanyi okukimanya nti embeera yo k’ebeere etya, osobola okusiimibwa Katonda era n’Omwana we?
Yakuwa Awa Empeera Omuwesiyopiya Eyali Atya Katonda
6, 7. Lwaki Yakuwa yalaga okusiima kwe eri Ebedumereki era yakikola atya?
6 Emirundi mingi Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa awa empeera abo abakola by’ayagala. Fumiitiriza ku ekyo kye yakolera Ebedumereki Omuwesiyopya eyali atya Katonda, eyaliwo mu biseera bya Yeremiya era nga muweereza mu nnyumba ya Kabaka Zeddekiya owa Yuda ataali mwesigwa. Ebedumereki yakitegeera nti abalangira ba Yuda baali basibye ku Yeremiya omusango gw’okujeemesa eggwanga era nga bamusudde mu bunnya afiire omwo enjala. (Yeremiya 38:1-7) Bwe yakimanya nti ekiwalanya ennyo Yeremiya bwe bubaka bwe yalangirira, Ebedumereki yatuukirira kabaka wadde nga kino kyali kissa obulamu bwe mu kabi. N’obuvumu, Omuwesiyopiya oyo yagamba nti: “Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze Yeremiya nnabbi gwe basudde mu bunnya; era ayagala kufiira mu kifo mw’ali olw’enjala.” Kabaka yalagira Ebedumereki okutwala abasajja 30 baggyeyo nnabbi wa Katonda mu kinnya.—Yeremiya 38:8-13.
7 Yakuwa yakiraba nti Ebedumereki yalina okukkiriza okw’amaanyi, era nga kwe kwamuyamba okuggwaamu okutya. N’olwekyo, Yakuwa yasiima nnyo Ebedumereki kye yakola era n’amugamba ng’ayitira mu Yeremiya nti: “Ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw’obubi so si lwa bulungi . . . Naye ndikuwonyeza ku lunaku luli . . . so toliweebwayo mu mukono gw’abasajja b’otya. Kubanga sirirema kukulokola . . . naye obulamu bwo buliba munyago gy’oli: kubanga weesize nze.” (Yeremiya 39:16-18) Yee, Yakuwa yalokola Ebedumereki wamu ne Yeremiya okuva mu mikono gy’abalangira ba Yuda ababi era n’oluvannyuma mu mikono gy’Ababulooni abazikiriza Yerusaalemi. Yakuwa “akuuma emmeeme z’abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw’omubi” bw’etyo Zabbuli 97:10 bw’egamba.
“Kitammwe Alaba mu Kyama Alibawa Empeera”
8, 9. Nga Yesu bwe yalaga, kusaba kwa ngeri ki Yakuwa kw’asiima?
8 Baibuli ky’eyogera ku kusaba nakyo kiraga nti Yakuwa asiima era nti atwala obuweereza bwaffe nga bwa muwendo. Omusajja omugezi yagamba nti ‘Katonda asanyukira okusaba kw’abagolokofu.’ (Engero 15:8) Mu biseera bya Yesu bannaddiini bangi baasabiranga mu bifo ebya lukale abantu basobole okubalaba. Yesu yagamba nti: ‘Baba bamaze okuweebwa empeera yaabwe.’ Yakubiriza abagoberezi be nti: “Naye gwe bw’osabanga, yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi, olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera.”—Matayo 6:5, 6.
9 Kya lwatu Yesu yali tavumirira kusaba mu lujjudde, kubanga naye ebiseera ebimu yakikolanga. (Lukka 9:16) Yakuwa asiima nnyo bwe tusaba n’omutima omwesimbu nga tetulina kiruubirirwa kya kweraga. Mu butuufu bwe tusaba nga tuli ffekka, kiba kiraga nti Katonda tumwagala nnyo era tumwesiga. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yesu yateranga okusaba ng’ali yekka. Lumu kino yakikola “ku makya ennyo, nga bukyali kiro.” Olulala, ‘yalinnya ku lusozi yekka okusaba.’ Ate bwe yali agenda okulonda abatume be 12, Yesu yamala ekiro kyonna yekka ng’asaba.—Makko 1:35; Matayo 14:23; Lukka 6:12, 13.
10. Bwe tusaba nga tuli beesimbu era nga twogera ebituli ku mutima, tuyinza kuba bakakafu ku ki?
10 Fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yawulirizaamu essala z’Omwana we ezaali ziviira ddala ku mutima! Mazima ddala, Yesu ebiseera ebimu yasaba ‘n’okukaaba ennyo n’amaziga, era n’awulirwa olw’okutya kwe Katonda.’ (Abaebbulaniya 5:7; Lukka 22:41-44) Bwe tusaba n’obwesimbu tuyinza okuba abakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu awuliriza era asiima essaala zaffe. Yee, “[Yakuwa] aba kumpi abo bonna . . . abamukaabirira n’amazima.”—Zabbuli 145:18.
11. Bye tukola nga tewali atulaba Yakuwa abitwala atya?
11 Obanga Yakuwa asiima bwe tumusaba mu kyama ateekwa okuba ng’asiima bwe tumugondera mu kyama! Yee, Yakuwa alaba bye tukola nga tuli ffekka. (1 Peetero 3:12) Bwe tumugondera era ne tuba beesigwa nga tewali muntu atulaba, kiba kiraga nti tulina “omutima ogutuukiridde” eri Yakuwa, omutima omulongoofu era ogumaliridde okukola ekituufu. (1 Ebyomumirembe 28:9) Nga kisanyusa omutima gwa Yakuwa bwe tweyisa bwe tutyo!—Engero 27:11; 1 Yokaana 3:22.
12, 13. Tuyinza tutya okukuuma ebirowoozo n’omutima nga biyonjo ne tubeera nga Nassanayiri?
12 N’olwekyo, Abakristaayo beewala ebibi ebikolebwa mu kyama gamba ng’okulaba ebifaananyi ebiraga eby’obukaba n’ettemu, ebyonoona ebirowoozo byabwe n’omutima. Wadde ng’ebibi ebimu biyinza okukwekebwa, tukimanyi bulungi nti “ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g’oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.” (Abaebbulaniya 4:13; Lukka 8:17) Bwe tufuba okwewala okukola ebintu ebinyiiza Yakuwa, tuba n’omuntu ow’omunda omulungi era kituwa essanyu okumanya nti Katonda asiima bye tukola. Yee, tewali kubuusabuusa nti Yakuwa asiima omuntu “atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, era ayogera eby’amazima mu mutima gwe.”—Zabbuli 15:1, 2.
13 Kati olwo tuyinza tutya okukuuma ebirowoozo n’omutima nga biyonjo mu nsi ejjudde ebikolwa ebibi? (Engero 4:23; Abaefeso 2:2) Ng’ogyeko okukozesa mu bujjuvu byonna Yakuwa by’atuwadde okunyweza okukkiriza kwaffe, tuteekwa okufuba ennyo okwewala ebibi era tukole ebirungi, nga tetuganya birowoozo bibi kubeera mu mitima gyaffe kutuviiramu kukola kibi. (Yakobo 1:14, 15) Lowooza ku ssanyu lye wandiwulidde nga Yesu akwogeddeko nga bwe yayogera ku Nassanayiri nti: “Laba [Omusajja] ataliimu bukuusa!” (Yokaana 1:47) Nassanayiri, era eyali ayitibwa Battolomaayo, oluvannyuma yaweebwa enkizo okuba omu ku batume ba Yesu 12.—Makko 3:16-19.
“Kabona Asinga Obukulu ow’Ekisa era Omwesigwa”
14. Engeri Yesu gye yatunuuliramu ekikolwa kya Malyamu yayawukana etya ku y’abalala?
14 Olw’okuba Yesu “kye kifaananyi kya [Yakuwa] Katonda atalabika,” yakopperanga ddala Kitaawe mu kulaga okusiima kwe eri abo abaweereza Katonda n’omutima omulongoofu. (Abakkolosaayi 1:15) Ng’ekyokulabirako, ng’esigaddeyo ennaku ttaano alyoke aweeyo obulamu bwe, Yesu wamu n’abamu ku bayigirizwa be baakyala mu maka ga Simooni ow’e Bessaniya. Akawungeezi Malyamu, mwannyina Lazaalo era muganda wa Maliza, ‘yaddira laatiri ey’amafuta ag’omugavu, ag’omuwendo omungi ennyo’ (nga gagula ssente omuntu ze yali afuna omwaka omulamba), n’agasiiga ku mutwe gwa Yesu n’ebigere bye. (Yokaana 12:3) Abamu baagamba nti: “Gafudde ki gano?” Naye Yesu ekikolwa kya Malyamu yakitunuulira mu ngeri ya njawulo. Yakitwala nga kikolwa kya bugabi nnyo era nga kya makulu nnyo olw’okuba yali anaatera okuttibwa aziikibwe. N’olwekyo, mu kifo ky’okunenya Malyamu, Yesu yamutendereza n’agamba nti: “Enjiri eno buli gy’eneebuulirwanga mu nsi zonna, n’ekyo omukazi ono ky’akoze kinaayogerwangako okumujjukira.”—Matayo 26:6-13.
15, 16. Eky’okuba nti Yesu yabeera era n’aweereza Katonda ku nsi kituganyula kitya?
15 Nga twesiimye okuba nti tulina Omukulembeze alaga okusiima okwenkanidde awo! Mu butuufu, obulamu bwa Yesu ku nsi bwamuteekateeka okusobola okuweereza nga Kabona Omukulu era Kabaka, okusooka ow’abaafukibwako amafuta n’oluvannyuma ow’ensi.—Abakkolosaayi 1:13; Abaebbulaniya 7:26; Okubikkulirwa 11:15.
16 Yesu yali ayagala nnyo olulyo lw’omuntu nga tannajja na ku nsi. (Engero 8:31) Okuggya ku nsi kyamuyamba okutegeerera ddala ebizibu bye tuyitamu nga tuweereza Katonda. Omutume Pawulo yawandiika nti: ‘Yesu kyamugwanira okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow’ekisa omwesigwa. Kubanga olw’okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng’akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.’ Yesu asobola ‘okulumirirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe kubanga yakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga talina kibi.’—Abaebbulaniya 2:17, 18; 4:15, 16.
17, 18. (a) Ebbaluwa za Yesu eri ebibiina eby’omu Asiya Omutono ziraga zitya nti Yesu alina okusiima kungi? (b) Abakristaayo abaafukibwako amafuta baateekebwateekebwa kukola ki?
17 Eky’okuba nti Yesu ategeerera ddala ebizibu abagoberezi be bye bayitamu, kyeyongera okweyoleka oluvannyuma lw’okuzuukizibwa. Weetegereze ebbaluwa ze eri ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono omutume Yokaana ze yawandiika. Eri ekibiina ky’omu Sumuna, Yesu yagamba: “Mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo.” Mu ngeri endala Yesu yali agamba nti, ‘Ebizibu byo mbitegeera bulungi.’ Olw’okuba yayitako mu kubonaabona n’asigala nga mwesigwa okutuuka ku kufa, Yesu yali asobola okubagumya nti: “Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.”—Okubikkulirwa 2:8-10.
18 Ebbaluwa ze eri ebibiina omusanvu zirimu ebigambo bingi ebiraga nti Yesu amanyi bulungi nnyo ebizibu abayigirizibwa be bye boolekagana nabyo era nti abasiima nnyo olw’okukuuma obugolokofu bwabwe. (Okubikkulirwa 2:1–3:22) Jjukira nti abo Yesu be yawandiikira obubaka buno baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta abaalina essuubi ery’okufugira awamu naye mu ggulu. Okufaananako Mukama waabwe, okubonaabona kuno kwali kubateekateeka okukwata abantu n’ekisa nga babatuusaako emiganyulo gya ssaddaaka ya Kristo.—Okubikkulirwa 5:9, 10; 22:1-5.
19, 20. ‘Ab’ekibiina ekinene’ balaga batya okusiima kwabwe eri Yakuwa n’Omwana we?
19 Kya lwatu Yesu okwagala kwe takulaga Bakristaayo abaafukibwako amafuta bokka, wabula akulaga n’abaweereza be abeesigwa ‘ab’endiga endala,’ nga bangi nnyo ku bo bali mu ‘kibiina ekinene okuva mu mawanga gonna,’ era nga bajja kuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 7:9, 14) Olw’okuba basiima ssaddaaka ye era nga balina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo, bazze ku ludda Yesu. Balaga batya okusiima kwabwe? Bakikola nga ‘baweereza Katonda emisana n’ekiro.’—Okubikkulirwa 7:15-17.
20 Alipoota y’ensi yonna ey’omwaka ogw’obuweereza 2006, eri ku lupapula 27-30, ewa obukakafu nti abaweereza bano abeesigwa mazima ddala ‘baweereza Yakuwa emisana n’ekiro.’ Mu butuufu, mu mwaka ogwo gwokka, nga bali wamu n’akabiina akatono ak’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi, baamala essaawa 1,333,966,199 mu buweereza bw’ennimiro—nga zino zenkanankana emyaka 152,283!
Weeyongere Okulaga Okusiima!
21, 22. (a) Ku bikwata ku kulaga okusiima, lwaki Abakristaayo bateekwa okwegendereza? (b) Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?
21 Yakuwa n’Omwana we balaze okusiima okw’amaanyi eri abantu abatatuukiridde. Eky’ennaku kiri nti abantu abasinga tebafaayo ku Katonda wabula beefaako bokka. Ng’ayogera ku bantu abandibaddewo mu ‘nnaku ez’oluvannyuma,’ Pawulo yawandiika nti: “Abantu baliba beefaako bokka, nga balulunkanira ssente . . . nga tebasiima n’akatono.” (2 Timoseewo 3:1-5, Phillips) Ng’enjawulo ya maanyi eriwo wakati w’abantu nga bano n’Abakristaayo ab’amazima, abalaga okusiima ebyo Katonda by’abakoledde nga bayitira mu kusaba okuviira ddala ku mutima, obuwulize n’obunyiikivu mu kuweereza!—Zabbuli 62:8; Makko 12:30; 1 Yokaana 5:3.
22 Mu kitundu ekiddako tujja kwetegereza ebimu ku bintu ebingi eby’omwoyo Yakuwa by’atuwadde. Nga bwe tufumiitiriza ku ‘birabo bino ebirungi’ ka okusiima kwaffe kweyongere n’okusingawo.—Yakobo 1:17.
Oyinza Kuddamu Otya?
• Yakuwa alaze atya nti alaga okusiima?
• Tuyinza tutya okusanyusa omutima gwa Yakuwa wadde nga tewali atulaba?
• Mu ngeri ki Yesu gye yalaga okusiima?
• Okuba nti Yesu yabeerako ku nsi kyamuyamba kitya okuba omufuzi ow’ekisa era alaga okusiima?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Ng’omuzadde bw’asiima ekitono omwana we ky’amuwadde, Yakuwa asiima bwe tumuwa ekisingayo obulungi