Weeyongerenga Okulaga Okusiima
“Ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu, nga bingi!”—ZABBULI 139:17.
1, 2. Lwaki tusaanidde okusiima Ekigambo kya Katonda, era omuwandiisi wa zabbuli kino yakiraga atya?
KYE yazuula kyali kiwuniikiriza. Yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi bwe yali eddaabirizibwa, Kirukiya Kabona Asinga Obukulu yazuula “ekitabo ky’amateeka ga Mukama agaaweerwa mu mukono gwa Musa,” awatali kubuusabuusa nga eno ye kopi eyasookera ddala okuwandiikibwa emyaka nga 800 emabega! Oyinza okuteeberezaamu engeri Kabaka Yosiya eyali atya Katonda bwe yawulira ng’ekitabo ekyo kireeteddwa mu maaso ge? Mazima ddala, yakitwala nga kya muwendo era amangu ago yalagira Safani omuwandiisi okukisoma mu lwatu.—2 Ebyomumirembe 34:14-18.
2 Leero, abantu bukadde na bukadde basobola okufuna Baibuli yonna oba ebitabo byayo ebimu. Naye eky’okuba nti abantu basobola okugifuna, kigifuula obutaba ya mugaso nnyo? N’akatono! Mu butuufu, Baibuli erimu ebirowoozo by’Omuyinza w’Ebintu Byonna ebyawandiikibwa okutuganyula. (2 Timoseewo 3:16) Ng’alaga okusiima kwe eri Ekigambo kya Katonda, omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yagamba nti: “Ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu, nga bingi!”—Zabbuli 139:17.
3. Kiki ekiraga nti Dawudi yali musajja asiima ennyo ebintu eby’omwoyo?
3 Okusiima Dawudi kwe yalina eri Yakuwa, Ekigambo kye, n’enteekateeka ye ey’okusinza tekwaddirira. Kino kyeyolekera bulungi mu Zabbuli ze yawandiika. Ng’ekyokulabirako yawandiika bw’ati mu Zabbuli 27:4: “Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, [“n’okusiimanga,” NW] yeekaalu ye.” Mu Lwebbulaniya olwasooka, ekigambo ekivvuunulwa “okusiima” kitegeeza okufumiitiriza ennyo, okwekkaanya, okutunuulira ekintu ne kikusanyusa. Kya lwatu Dawudi yali musajja ategeera obulungi obukulu bw’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era ng’asiima ebintu eby’omwoyo era nga abyettanira nnyo. Ekyokulabirako kye tusaanidde okukikoppa.—Zabbuli 19:7-11.
Siima Enkizo y’Okumanya Amazima ga Baibuli
4. Kiki ekyaleetera Yesu ‘okusanyuka mu mwoyo omutukuvu’?
4 Omuntu okutegeera Ekigambo kya Katonda tekisinziira ku kuba nti muyigirize, ekitera okuvaako okufuna amalala. Wabula kiva ku kisa ekitatusaanira Yakuwa ky’alaga abawombeefu abafaayo ku bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo. (Matayo 5:3; 1 Yokaana 5:20) Yesu bwe yalowooza ku ky’okuba nti waliwo amannya g’abantu abatatuukiridde agawandiikibwa mu ggulu, ‘yasanyukira mu mwoyo omutukuvu n’agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n’abakabakaba, n’obibikkulira abaana abato’—Lukka 10:17-21.
5. Lwaki abayigirizwa ba Yesu baalina okutwala amazima g’Obwakabaka agaali gababikkuliddwa ng’ekintu ekikulu?
5 Oluvannyuma lw’okusaba okwo okuviira ddala ku mutima, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba: kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n’okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.” Yee, Yesu yakubiriza abagoberezi be abeesigwa okutwala amazima g’Obwakabaka ge baali bayize ng’ekintu ekikulu. Amazima gano tegaabikkulirwa baweereza ba Katonda abaasooka, wadde “abagezi n’abakabakaba” abaaliwo mu biseera bya Yesu!—Lukka 10:23, 24.
6, 7. (a) Nsonga ki ezituleetera okusiima amazima? (b) Njawulo ki eriwo wakati w’eddiini entuufu n’ez’obulimba?
6 Leero, tulina ensonga ezisingawo lwaki tusiima amazima kubanga Yakuwa, ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’ ayambye abantu be okutegeera obulungi Ekigambo kye. (Matayo 24:45; Danyeri 12:10) Ng’ayogera ku biseera eby’oluvannyuma nnabbi Danyeri yawandiika nti: “Bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya kulyeyongera.” (Danyeri 12:4) Tokkiriza nti leero okumanya okukwata ku Katonda ‘kweyongedde’ nnyo era nti abaweereza ba Yakuwa baliisibwa bulungi mu by’omwoyo?
7 Embeera ennungi ey’eby’omwoyo abantu ba Katonda gye balimu nga ya njawulo nnyo ku muvuyo oguli mu Babulooni Ekinene! Kino kireetedde abantu abeetamiddwa eddiini ez’obulimba okwegatta ku kusinza okw’amazima. Abo beebo abalinga endiga ‘abatayagala kussa kimu na bibi bya Babulooni Ekinene’ oba “okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.” Yakuwa n’abaweereza be baaniriza abalinga abo mu kibiina Ekikristaayo ekya mazima.—Okubikkulirwa 18:2-4; 22:17.
Abantu Abalaga Okusiima Badda eri Katonda
8, 9. Ebigambo bya Kaggayi 2:7 bituukirizibwa bitya leero?
8 Ng’ayogera ku nnyumba ye ey’eby’omwoyo ey’okusinzizaamu, Yakuwa yalagula: “Ndikankanya amawanga gonna, n’ebyo eby’egombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa.” (Kaggayi 2:7) Obunnabbi buno bwatuukirizibwa mu kiseera kya Kaggayi ensigalira y’abantu ba Katonda bwe baddayo ne baddamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Leero ebigambo bya Kaggayi byeyongera okutuukirizibwa ku yeekaalu ya Yakuwa ey’ebyomwoyo.
9 Abantu bangi nnyo baggya dda mu yeekaalu ey’akabonero okusobola okusinza Katonda “mu mwoyo n’amazima,” era buli mwaka abantu mitwalo n’amitwalo, “ebyegombebwa amawanga gonna,” beeyongera okujja. (Yokaana 4:23, 24) Ng’ekyokulabirako alipoota y’ensi yonna ey’omwaka gw’obuweereza 2006 eraga nti abantu 248,327 beewaayo eri Yakuwa ne babatizibwa. Kino kitegeeza nti abapya nga 680 be babadde babatizibwa buli lunaku! Okwagala kwe balina eri amazima, n’okwagala okuweereza Yakuwa ng’abalangirizi b’Obwakabaka bukakafu obulaga nti ddala Katonda y’abawalula.—Yokaana 6:44, 65.
10, 11. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga eviirako abantu okwagala okuyiga amazima ga Baibuli?
10 Bangi ku bantu banno ab’emitima emirungi baasikirizibwa okujja mu mazima olw’okuba baali ‘balabye enjawulo wakati w’omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.’ (Malaki 3:18) Lowooza kyokulabirako kya Wayne ne mukyala we Virginia abaali Abapolotesitante era nga balina ebintu ebikwata ku Katonda bingi bye beebuuza naye nga tebannafuna kya kuddamu. Baali beetamwa dda entalo era nga kibayisa bubi okulaba abakulembeze b’amaddiini nga bawagira n’okusabira abalwana entalo. Bwe baagenda bakaddiwa, baawulira nga bakkiriza bannaabwe tebabafaako, wadde nga Virginia yali amaze emyaka ng’ayamba mu kusomesa abaana eddiini buli lwa Ssande. Baagamba: “Tewali n’omu yatukyalira oba okulaga nti afaayo ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo. Ekkanisa yali etwagalako ssente zaffe zokka. Eky’okukola kyatubula.” Ekirala ekyayongera okubamalamu amaanyi kwe kuba nti eddiini yaabwe yatandika okuttira ku liiso obulyi bw’ebisiyaga.
11 Mu kiseera kye kimu, muzzukulu waabwe era n’oluvannyuma muwala waabwe baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga kino Wayne ne Virginia mu kusooka tekyabasanyusa, oluvannyuma bakkiriza okuyiga Baibuli. Wayne agamba: “Mu myezi esatu gyokka bye twali tuyize mu Baibuli byali bisinga ebyo bye twayiga mu myaka ensanvu! Twali tetumanyi nti Katonda ye Yakuwa, era nga tetulina kye tumanyi ku Bwakabaka bwe n’Olusuku lwe olw’oku nsi.” Mu kiseera kitono, abafumbo bano abeesigwa batandika okujja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Virginia yagamba: “Twagala okubuulira buli omu amazima.” Bombi nga batemera mu myaka 80 egy’obukulu, baabatizibwa mu 2005. Baagamba nti: “Tuzudde Abakristaayo aba nnamaddala abatutwala nga baganda baabwe bennyini.”
Laga Okusiima olw’Okuba ‘Olina Byonna Olwa Buli Mulimu Omulungi’
12. Yakuwa bulijjo abaweereza be abawa ki era tuteekwa kukola ki okusobola okuganyulwa?
12 Yakuwa bulijjo ayamba abaweereza be okukola by’ayagala. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yafuna obulagirizi bwe yali yeetaaga okuzimba eryato—omulimu ogwalina okukolebwa obulungi ddala! Era bwe gutyo bwe gwakolebwa. Lwaki? Kubanga Nuuwa ‘yakola byonna nga Katonda bwe yamulagira. Bw’atyo bwe yakola.’ (Olubereberye 6:14-22) Ne leero, Yakuwa abaweereza be abawa byonna bye beetaaga okusobola okutuukiriza by’ayagala. Kya lwatu, omulimu gwaffe ogusinga obukulu kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda obufuga kati n’okuyamba abantu ab’emitima emirungi okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo. Okufaananako Nuuwa, obuwanguzi bwaffe bwesigama ku kuba bawulize. Tuteekwa okugondera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye n’ekibiina kye.—Matayo 24:14; 28:19, 20.
13. Yakuwa atutendeka atya?
13 Okusobola okukola omulimu ogwo obulungi, tuteekwa okuyiga ‘okukozesa obulungi’ Ekigambo kya Katonda—‘ekigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.’ (2 Timoseewo 2:15; 3:16, 17) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, Yakuwa atutendeka ng’ayitira mu kibiina Ekikristaayo. Leero, mu bibiina 99,770 okwetooloola ensi, Olukuŋŋaana lw’Obuweereza n’olw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda zibaawo buli wiiki okutuyamba mu mulimu gw’okubuulira. Olaga okusiima enkuŋŋaana zino enkulu ng’obeerawo obutayosa era ng’ossa mu nkola by’oyiga?—Abaebbulaniya 10:24, 25.
14. Abaweereza ba Yakuwa balaga batya okusiima enkizo y’okuweereza Katonda? (Yogera ku ebyo ebiri ku lupapula 27-30.)
14 Abaweereza ba Katonda bangi okwetooloola ensi balaga okusiima olw’okutendekebwa kwe bafuna nga banyiikirira omulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2006, ababuulizi 6,741,444 baamala essaawa 1,333,966,199 nga beenyigira mu ngeri z’okubuulira ez’enjawulo, nga mwe mwali n’okuyigiriza abantu 6,286,618 Baibuli. Bino bye bimu ku bizzaamu amaanyi ebiri mu lipoota y’ensi yonna. Gyekenneenye esobole okukuzzaamu amaanyi, nga lipoota ekwata ku kweyongerayongera mu mirimu gy’okubuulira bwe yazzaamu amaanyi ab’oluganda ab’omu kyasa ekyasooka.—Ebikolwa 1:15; 2:5-11, 41, 47; 4:4; 6:7.
15. Lwaki tewali asaanidde kuggwaamu maanyi kasita kiba nti aweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna?
15 Okutendereza okw’amaanyi okugenda eri Katonda kulaga nti abaweereza ba Yakuwa basiima nnyo enkizo y’okumumanya n’okumuwaako obujulirwa. (Isaaya 43:10) Kituufu nti ssaddaaka y’okutendereza eya bannyinaffe ne baganda baffe abakaddiye, abalwadde, abalema eyinza okugeraageranyizibwa ku bussente bwa nnamwandu. Naye tetulina kwerabira nti Yakuwa n’Omwana we basiima nnyo abo bonna abaweereza Katonda n’omutima gwabwe gwonna.—Lukka 21:1-4; Abaggalatiya 6:4.
16. Mu myaka egiyise, bitabo ki Katonda by’atuwadde okutuyamba mu kuyigiriza?
16 Ng’ogyeko okuba nti atutendeka okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, Yakuwa ng’ayitira mu kibiina kye atuwa bye tusobola okukozesa okuyigiriza abalala. Okumala emyaka mingi tubadde tukozesa ebitabo nga Amazima Agakulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, era nga kati tukozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abo abasiima ebitabo bino babikozesa bulungi mu buweereza bw’ennimiro.
Kozesa Bulungi Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
17, 18. (a) Mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, biki by’otera okwagala okwogerako ng’obuulira? (b) Kiki omulabirizi w’ekitundu omu kye yayogera ku katabo Baibuli Ky’Eyigiriza?
17 Okusinziira ku ssuula zaako 19, ebyongerezeddwako, n’olulimi olwangu era olutegeerekeka obulungi, akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? ddala kirabo kya muwendo mu buweereza bw’ennimiro. Ng’ekyokulabirako, essuula 12 erina omutwe “Okweyisa mu Ngeri Esanyusa Katonda.” Essuula eyo ennyonnyola omuyizi engeri gy’ayinza okufuuka mukwano gwa Katonda ekintu bangi kye baali tebalowoozangako nti kisoboka. (Yakobo 2:23) Abantu akatabo kano bakatwala batya?
18 Omulabirizi w’ekitundu mu Australia yagamba nti akatabo kano “kasikiriza mangu omuntu okuwuliriza.” Era agamba nti akatabo kano kangu okukozesa ne kiba nti “ababuulizi b’Obwakabaka bangi beeyongedde okufuna essanyu mu kubuulira. Tekyewuunyisa okuba nti abamu bagamba nti ka muwendo nga zaabu!”
19-21. Waayo ebyokulabirako ebiraga omugaso gw’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
19 “Katonda alina okuba nga y’akutumye,” bw’atyo omukazi omu mu Guyana bwe yagamba payoniya eyamukyalira. Omukazi ono yali yaakawukana ne bba era ng’asigadde n’obwana bubiri. Payoniya yabikkula essuula 1 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era n’asoma akatundu 11 wansi w’omutwe omutono “Katonda Awulira Atya Bwe Tuyisibwa mu Ngeri Etali ya Bwenkanya?” “Bye nnamusomera byamukwatako nnyo,” bw’atyo payoniya bwe yagamba. “Mu butuufu yasituka n’agenda emabega w’edduuka lye n’akaaba amaziga.” Omukazi ono yakkiriza okuyiga Baibuli ne mwanyinnaffe omu ow’omu kitundu era kati akyagenda mu maaso n’okukulaakulana.
20 José, abeera mu Spain yafiirwa mukazi we mu kabenje. Olw’ennaku ennyingi yatandika okwekamirira amalagala, era n’anoonya obuyambi okuva mu basawo. Kyokka, abasawo tebasobola kuddamu kibuuzo kye yali yeebuuza ennyo: “Lwaki Katonda yakkiriza mukyala wange okufa?” Lumu José yayogerako ne mukozi munne ayitibwa Francesc. Francesc yamusaba bakubaganye ebirowoozo ku ssuula 11 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, erina omutwe ogugamba “Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?” Engeri Ebyawandiikibwa gye binnyonnyolwamu n’ekyokulabirako ky’omusomesa n’omuyizi byasanyusa nnyo José. Yatandika okuyiga Baibuli, n’agenda mu lukuŋŋaana lw’ekitundu era kati tayosa kubeerawo mu nkuŋŋaana.
21 Roman, munnabizinesi ow’emyaka 40 ng’abeera mu Poland, aludde ng’asoma Ekigambo kya Katonda. Kyokka olw’okuba yali akola nnyo, yalekera awo okuyiga Baibuli. Naye bwe yagenda mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti yafuna akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Okuva olwo yatandika okukola ekyukakyuka ez’amaanyi. Agamba nti “Mu katabo kano, enjigiriza za Baibuli zonna enkulu zisengekeddwa mu ngeri eyamba omuntu okuzitegeera n’okuzikwataganya ddala obulungi.” Roman kati ayiga Baibuli era akulaakulana.
Weeyongere Okulaga Okusiima
22, 23. Tuyinza tutya okweyongera okulaga okusiima olw’essuubi lye tulina?
22 Nga bwe kyannyonnyolwa mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti “Okununulibwa Kuli Kumpi!” Abakristaayo ab’amazima beesunga ‘okununulibwa okw’olubeerera’ Katonda kwe yasuubiza era okujja okusoboka olw’omusaayi gwa Yesu Kristo ogwayiika. Okulaga nti tusiima essuubi eryo ery’omuwendo tulina okwongera okwesamba ‘ebikolwa ebifu tusobole okuweereza Katonda omulamu.’—Abaebbulaniya 9:12, 14.
23 Ddala kya kyewuunyo okuba nti abalangirizi b’Obwakabaka abasukka mu bukadde mukaaga beeyongera mu kuweereza Katonda wadde nga abantu bonna mu nsi beenoonyeza byabwe. Era buno bukakafu nti abaweereza ba Yakuwa basiima nnyo enkizo ey’okuweereza Katonda, nga bamanyi nti ‘okufuba kwabwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.’ Ka bulijjo tweyongerenga okulaga okusiima!—1 Abakkolinso 15:58; Zabbuli 110:3.
Wandizzeemu Otya?
• Omuwandiisi wa zabbuli atuyigiriza ki ku kusiima Katonda n’eby’omwoyo by’atuwa?
• Ebigambo ebiri mu Kaggayi 2:7 bituukirizibwa bitya leero?
• Mu ngeri ki Yakuwa gy’awadde abaweereza be bye beetaaga okusobola okumuweereza obulungi?
• Oyinza kukola ki okulaga nti osiima obulungi bwa Yakuwa?
[Ekipande ekiri ku lupapula 27-30]
LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 2006
(Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2006)
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Yakuwa atuwa byonna bye twetaaga okutuukiriza by’ayagala