LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 3/1/07 lup. 3-5
  • Okwawulawo Okusinza okw’Amazima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwawulawo Okusinza okw’Amazima
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekitabo Ekikwata ku Kwagala
  • Engeri gy’Osobola Okumanya Abantu Abaagala Katonda
  • Noonya Okusinza okw’Amazima
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Muzimbibwe Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • “Mutambulirenga mu Kwagala”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Tuyinza Tutya Okulaga Muliraanwa Waffe Okwagala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 3/1/07 lup. 3-5

Okwawulawo Okusinza okw’Amazima

AMADIINI agasinga obungi gagamba nti bye gayigiriza biva eri Katonda. N’olw’ensonga eyo, kikulu okwekenneenya ebigambo by’omutume wa Yesu Yokaana ebigamba nti: “Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab’obulimba bangi abafuluma mu nsi.” (1 Yokaana 4:1) Ekintu ekiba kyogeddwa Katonda tukikakasiza ku ki?

Buli ekiva eri Katonda kiba kyoleka engeri ze, naddala okwagala. Ng’ekyokulabirako, obusobozi bwaffe obw’okuwunyiriza obutuleetera okwagala akaloosa k’ebimuli, n’akawoowo k’omugaati omusu, bwoleka okwagala kwa Katonda. Okulaba enjuba ng’egwa, okutunuulira ebiwojjolo, oba okuseka n’omwana omuto biraga Katonda bw’atwagala. Ate era okwagala kwe tukulabira mu kuba nti tusobola okunyumirwa ennyimba ennungi, amaloboozi g’ebinyonyi, n’eddoboozi ly’omuntu gwe twagala. N’obutonde bwaffe ng’abantu wadde tetutuukiridde, bulaga okwagala kwa Katonda. Eno y’ensonga etuleetera okuwulira nga Yesu bwe yagamba nti: “Okugaba kwa mikisa okusinga okutoola.” (Ebikolwa 20:35) Okulaga okwagala kivaamu essanyu kubanga twakolebwa “mu kifaananyi kya Katonda.” (Olubereberye 1:27) Wadde nga Yakuwa alina engeri endala nnyingi, okwagala kuzisukkulumyeko.

Ebiwandiiko ebiva eri Katonda birina okwoleka okwagala kwe. Amadiini galina ebiwandiiko eby’edda bingi. Naye bino biraga ki ku nsonga y’okwagala?

Ekituufu kiri nti, ebiwandiiko by’amadiini ebisinga byogera kitono ku ngeri Katonda gy’atwagala oba ffe gye tusobola okumwagala. Bwe kityo, abantu bangi tebamanyi kya kuddamu bwe beebuuza nti “Lwaki obutonde bwoleka okwagala kwa Katonda kyokka ng’obubi n’okubonaabona bigenda mu maaso?” Ku luuyi olulala, Baibuli kye kitabo kyokka eky’edda ekinnyonnyola mu bujjuvu okwagala kwa Katonda. Ate era kituyigiriza engeri y’okulagamu abalala okwagala.

Ekitabo Ekikwata ku Kwagala

Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kyogera ku Yakuwa nga “Katonda ow’okwagala.” (2 Abakkolinso 13:11) Baibuli eraga nti okwagala kwe kwaleetera Yakuwa okuwa abantu abaasooka obulamu obutaliimu kulwala na kufa. Naye okujeemera Katonda kwaleetera olulyo ly’omuntu okubonaabona. (Ekyamateeka 32:4, 5; Abaruumi 5:12) Yakuwa alina kye yakolawo ku nsonga eyo. Ekigambo kye kigamba: “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byongera okulaga Katonda bw’ali ow’okwagala nga biraga nti ataddewo gavumenti ekulemberwa Yesu, ejja okuyamba abantu abawulize okufuna emirembe.​—Danyeri 7:13, 14; 2 Peetero 3:13.

Baibuli eyogera bw’eti ku buvunaanyizibwa omuntu bw’alina: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky’olubereberye. N’eky’okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira.” (Matayo 22:37-40) Baibuli egamba nti yaluŋŋamizibwa Katonda. Okuva bwe kiri nti eyoleka bulungi engeri ze, tuyinza okuba abakakafu nti eva eri “Katonda ow’okwagala.”​—2 Timoseewo 3:16.

Kwe tumanyira nti ebiwandiiko eby’edda biva eri Katonda kwe kuba nti byogera ku kwagala. Era, ku kwagala kwe tutegeerera abasinza ab’amazima kubanga bakoppa Katonda mu kwoleka okwagala.

Engeri gy’Osobola Okumanya Abantu Abaagala Katonda

Kyangu nnyo okumanya abo abaagala Katonda, naddala kati mu kiseera kino kye tulimu Baibuli ky’eyita “ennaku ez’oluvannyuma.” Abantu beeyongerera kuba nga “beeyagala bokka, abaagala ebintu, . . . abaagala essanyu okusinga Katonda.”​—2 Timoseewo 3:1-4.

Abantu abaagala Katonda osobola kubategeera ku ki? Baibuli egamba nti: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” (1 Yokaana 5:3) Okwagala Katonda kuleetera abantu okutambulira ku mitindo gya Baibuli egy’empisa. Ng’ekyokulabirako, Ekigambo kya Katonda kirimu amateeka agakwata ku kwetaba n’obufumbo. Okwetaba kukkirizibwa mu bufumbo mwokka, era abafumbo tebalina kwawukana. (Matayo 19:9; Abaebbulaniya 13:4) Omukazi omu mu Spain eyasoma ebikwata ku madiini bwe yajja mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa nga bayiga mateeka ga Baibuli agakwata ku mpisa, yagamba: “Nnavaamu nga nzizeemu amaanyi, olw’emboozi ezaali zeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, obumu bwe balina n’empisa ennungi.”

Ng’oggyeko okwagala Katonda, Abakristaayo ab’amazima bategeerekeka mangu olw’engeri gye baagala abantu abalala. Omulimu gwabwe ogusinga obukulu kwe kutegeeza abalala nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu. (Matayo 24:14) Tewali kiganyula bantu kusinga kubayamba kumanya Katonda. (Yokaana 17:3) Era Abakristaayo ab’amazima balina engeri endala mwe boolekera okwagala. Bayamba ababa balina ebizibu. Ng’ekyokulabirako, bwe waagwawo musisi mu Italy, olupapula lw’amawulire olumu lwagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa “bayamba abo ababa bakoseddwa awatali kusosola mu nzikiriza zaabwe.”

Ng’oggyeko okwagala Katonda ne muliraanwa, Abakristaayo ab’amazima baagalana. Yesu yagamba nti: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka”​—Yokaana 13:34, 35.

Abalala bakiraba nti engeri Abakristaayo ab’amazima gye baagalanamu ya njawulo? Mu kibuga La Paz eky’omu Bolivia amawanga galina enjawukana olw’okuba agamu maavu ate amalala magagga. Ema omukozi w’awaka mu kibuga ekyo yagamba nti: “Lwe nnasooka okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, nnalaba omwami ayambadde obulungi ng’atudde era ng’ayogera n’omukyala Omuyindi. Kino nali sikirabangako. Nnamanyirawo nti ddala bano balina kuba bantu ba Katonda.” Omukazi ayitibwa Miriam ow’omu Brazil yagamba: “Ekiyitibwa essanyu nnali sikirabangako, wadde ne mu maka ewaffe. Mu Bajulirwa ba Yakuwa gye nnasookera okulaba abantu abaagalana.” Mu Amerika, akulira omukutu ogumu ogwa ttivi yawandiika nti: “Singa abantu abasinga baali beeyisa ng’ab’eddiini yammwe, eggwanga lino teryandibadde mu mbeera eno. Nkimanyi bulungi nti abantu b’eddiini yammwe baagalana nnyo era balina okukkiriza okw’amaanyi mu Mutonzi.”

Noonya Okusinza okw’Amazima

Okwagala ke kabonero akaawulawo okusinza okw’amazima. Yesu yagamba nti okuzuula okusinza okw’amazima kuba ng’okuzuula ekkubo ettuufu n’okusalawo okulikwata. Okusinza okw’amazima lye kkubo lyokka erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Yesu yagamba: “Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Ekibiina kiri kimu kyokka omuli Abakristaayo ab’amazima abatambula ne Katonda mu kkubo ery’okusinza okw’amazima. N’olwekyo tekitegeeza nti buli ddiini omuntu gy’alimu eba ntuufu. Singa ozuula ekkubo eryo ettuufu n’olitambuliramu, ojja kuba ozudde engeri y’obulamu esingayo obulungi kubanga eno y’engeri ey’okwagala.​—Abaefeso 4:1-4.

Lowooza ku ssanyu ly’oyinza okuba nalyo singa otambulira mu kkubo ery’okusinza okw’amazima! Katonda ajja kukuyigiriza okwagala era obe wa magezi, kikusobozese okuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Ojja kuyiga ekigendererwa ky’obulamu, otegeere ebisuubizo bya Katonda era ofune essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Bw’onoozuula okusinza okw’amazima, togenda kwejjusa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Mu biwandiiko by’amadiini eby’edda, Baibuli yokka y’eraga okwagala kwa Katonda

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Abakristaayo ab’amazima obateegerera ku ngeri gye balagamu okwagala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share