LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 7/1/07 lup. 3-6
  • Kiki Ekisobola Okumalawo Obusosoze mu Mawanga?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekisobola Okumalawo Obusosoze mu Mawanga?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okunyigiriza n’Obukyayi
  • Obukyayi mu Mawanga Buva ku Ki?
  • Okutegeera Katonda Kireetawo Okutabagana kw’Amawanga
  • Katonda Afaayo ku Mawanga Gonna
  • Yesu Ayigiriza Okulaga Ekisa
  • Okutegeera Katonda Kukyusa Abantu?
  • Otunuulira Abantu nga Yakuwa bw’Abatunuulira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Koppa Yakuwa, Katonda Waffe Atasosola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 7/1/07 lup. 3-6

Kiki Ekisobola Okumalawo Obusosoze mu Mawanga?

MU Spain omufuuyi w’omupiira ayimiriza omuzannyo. Lwaki? Kubanga omuzannyi omu enzaalwa ya Cameroon atiisatiisa okufuluma ekisaawe olw’okuba abalabi bamuvuma. Mu Russia abantu abava mu Afirika, Asiya, Amerika ow’obukiika kkono batuusibwako nnyo ebisago; mu 2004, ebikolwa by’obusosoze mu ggwanga eryo byeyongera ebitundu 55 ku buli 100 ne biwerera ddala 394 mu 2005. Mu Bungereza, ku bantu abaddugavu n’abava mu Asiya abaabuuzibwa mu kunoonyereza okwakolebwa, kimu kya kusatu baagamba nti baali bagobeddwa ku mirimu olwa langi yaabwe. Ebyokulabirako bino biraga engeri obusosoze gye bubunye mu nsi yonna.

Obusosoze bulagibwa mu ngeri za njawulo​—abamu boogera bwogezi ebigambo ebivuma ate abalala ne batuuka n’okwagala okusaanyizaawo ddala ab’eggwanga eddala. Obusosoze mu mawanga buva ku ki? Tusobola tutya okubwewala? Waliwo essuubi lyonna nti olunaku lulituuka abantu ab’amawanga eg’enjawulo ne babeera wamu mu mirembe? Baibuli ewa eby’okuddamu ebimatiza ku nsonga zino.

Okunyigiriza n’Obukyayi

Baibuli egamba nti: “Okulowooza kw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe.” (Olubereberye 8:21) Bwe kityo, abantu abamu kibasanyusa okunyigiriza abalala. Baibuli era egamba nti: “Laba, amaziga g’abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n’obuyinza nga buli ku luuyi lw’abajoozi baabwe.”​—Omubuulizi 4:1.

Baibuli era eraga nti obukyayi bw’amawanga bw’ava dda. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa 18 ng’embala yaffe tennaba, Falaawo owa Misiri yakkiriza Yakobo Omwebbulaniya n’ab’omu maka ge okusenga mu Misiri. Kyokka oluvannyuma, Falaawo omulala yeekengera abasenze bano olw’okuba baali beeyongera nnyo obungi. Ekyavaamu “n’abagamba abantu be nti Laba, abantu b’abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe: kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi. . . . Kyebaava babateekako abakoza akubabonyaabonya n’emigugu.” (Okuva 1:9-11) Abamisiri batuuka n’okulagira nti buli mwana omulenzi azaalibwa bazzukulu ba Yakobo attibwe.​—Okuva 1:15, 16.

Obukyayi mu Mawanga Buva ku Ki?

Amadiini tegalina kya maanyi kye gayambye mu kulwanyisa obukyayi mu mawanga. Wadde nga kituufu nti waliwo abantu kinnoomu abalaze obuvumu mu kulwanyisa ebikolwa ebinyigiriza abalala, amadiini okutwalira awamu gatera okussa ekimu n’abo abanyigiriza abalala. Bwe kityo bwe kyali mu Amerika, ng’abaddugavu battibwa, ng’amateeka gakkiriza okubanyigiriza era nga tebakkirizibwa kufumbiriganwa na batali ba langi yaabwe okutuusiza ddala mu 1967. Bwe kityo bwe kyali ne mu South Africa ng’ekyafugibwa abasosola mu langi, ng’abafuga be batono kyokka nga bakozesa amateeka okwekuumira mu buyinza era nga tebakkiriza bantu abatali ba langi emu kufumbiriganwa. Mu nsi zino zombi, abamu ku baawagiranga obukyayi mu mawanga baali bantu bannaddiini nnyo.

Kyokka, Baibuli eragira ddala ensonga eviirako obusosoze mu mawanga. Ennyonnyola lwaki abantu ab’amawanga agamu basosola ab’amawanga amalala. Egamba nti: “Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala. Omuntu bw’ayogera nti Njagala Katonda, n’akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw’atalabangako tayinza kumwagala.” (1 Yokaana 4:8, 20) Ebigambo ebyo biraga ensonga eviirako obusosoze mu mawanga. Abantu basosola abalala olw’okuba tebamanyi Katonda oba tebamwagala, ka babe nga bo beetwala okuba bannaddiini oba nedda.

Okutegeera Katonda Kireetawo Okutabagana kw’Amawanga

Okumanya Katonda n’okumwagala bireetera bitya amawanga okutabagana? Ekigambo kya Katonda kiyamba kitya abantu obutatulugunya abo be balowooza nti ba njawulo? Baibuli eraga nti Yakuwa ye Kitaawe w’abantu bonna. Egamba nti: “Gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna.” (1 Abakkolinso 8:6) Ate era egamba nti: “Yakola okuva [mu] omu buli ggwanga ly’abantu.” (Ebikolwa 17:26) N’olwekyo tuyinza okugamba nti abantu bonna ba luganda.

Abantu aba buli ggwanga beenyumiriza mu ky’okuba nti Katonda yabawa obulamu, naye bonna balina ekintu ekikyamu kye baasikira. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ku bw’omuntu omu ekibi . . . kyayingira mu nsi.” Bwe kityo, “bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23; 5:12) Yakuwa Katonda yatonda ebintu eby’enjawulo bingi​—tewali kitonde kifaananira ddala kinnaakyo. Kyokka, talina ggwanga lye yawa kintu kyonna kwe lisinziira kuwulira nti lya waggulu ku malala. Endowooza abantu gye batera okuba nayo nti eggwanga lyabwe lya waggulu ku malala ekontana n’Ebyawandiikibwa. Awatali kubuusabuusa, ebyo Katonda by’atuyigiriza bireetera amawanga okutabagana.

Katonda Afaayo ku Mawanga Gonna

Abamu balowooza nti Katonda yalaga obusosoze bwe yalonda Abaisiraeri okuba eggwanga lye n’abalagira okweyawula ku mawanga amalala. (Okuva 34:12) Katonda yalonda eggwanga lya Isiraeri olw’okukkiriza okw’amaanyi jjajjaabwe Ibulayimu kwe yalina. Katonda kennyini yafuganga eggwanga lya Isiraeri, nga y’abalondera abafuzi era nga y’abawa n’amateeka. Mu kiseera Abaisiraeri bwe baali nga baatambulira ku nteekateeka eno, abantu b’amawanga amalala baali basobola bulungi okulaba enjawulo eri wakati w’obufuzi bwa Katonda n’obw’abantu. Era Yakuwa yayigiriza Abaisiraeri nti kyetaagisa okuwaayo ssaddaaka okusobola okuzzaawo enkolagana ennungi wakati w’abantu ne Katonda. N’olw’ekyo, enkolagana ya Yakuwa n’Abaisiraeri yaganyula amawanga gonna. Ekyo kyali kikkiriziganya n’ekyo kye yagamba Ibulayimu nti: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.”​—Olubereberye 22:18.

Okugatta ku ekyo, Abayudaaya baafuna enkizo ey’okuweebwa Ebyawandiikibwa ebitukuvu n’ey’okuba eggwanga Masiya mwe yandizaaliddwa. Naye kino nakyo kyali kya kuganyula amawanga gonna. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyaweebwa Abayudaaya byogera ku kiseera eky’essanyu amawanga gonna lwe gandifunye emikisa egy’ekitalo: “Amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, . . . eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate. Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga.”​—Mikka 4:2-4.

Wadde Yesu Kristo yabuulira Bayudaaya bokka, naye yagamba nti: “N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Tewali ggwanga lyandisubiddwa mukisa gwa kuwulira mawulire gano amalungi. Mu ngeri eyo Yakuwa yateekawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’obutasosola ggwanga na limu. “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:34, 35.

Amateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri ery’edda nago galaga nti afaayo ku mawanga gonna. Weetegereze nti Amateeka tegaakoma ku kulagira nti ab’amawanga tebaalina kusosolwa, naye era gaagamba nti: ‘Omugenyi anaatuulanga nnammwe anaabanga gye muli ng’enzaalwa mummwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali bagenyi mu nsi y’e Misiri.’ (Eby’Abaleevi 19:34) Mangi ku mateeka ga Katonda gaayigiriza Abaisiraeri okubeera ab’ekisa eri ab’amawanga ababeera mu bo. N’olw’ekyo, Bowaazi, ow’omu lunyiriri omwava Yesu, bwe yalagira abakunguzi be okulekawo eby’okukuŋŋaanya ebingi olw’omukazi omunaku munnaggwanga eyali akuŋŋaanya ebisigalidde, yali akolera ku bye yali ayize mu mateeka ga Katonda.​—Luusi 2:1, 10, 16.

Yesu Ayigiriza Okulaga Ekisa

Yesu yayigiririza ebikwata ku Katonda okusinga omuntu omulala yenna. Yalaga abagoberezi be engeri y’okulagamu abantu ab’amawanga amalala ekisa. Lumu yayogera n’omukazi Omusamaliya. Omukazi ono yeewunya nnyo kubanga Abayudaaya baali bayisa mu Basamaliya amaaso. Bwe yali ng’ayogera n’omukazi ono, Yesu yamuyamba okutegeera engeri y’okufunamu obulamu obutaggwawo.​—Yokaana 4:7-14.

Yesu era yatuyigiriza engeri gye tusaanidde okuyisaamu ab’amawanga amalala ng’akozesa ekyokulabirako ky’Omusamaliya omulungi. Omusajja ono yasanga Omuyudaaya abanyazi gwe baali bakubyekubye. Omusamaliya yali ayinza okugamba nti: ‘Lwaki nnyamba Omuyudaaya? Abayudaaya batuyisaamu amaaso.’ Naye Yesu yalaga nti Omusamaliya ono yalina endowooza ya njawulo eri bannaggwanga. Wadde ng’omusajja ono eyali atuusiddwako ebisago abantu abalala baali bamuyiseeko buyisi, Omusamaliya ono ‘yamukwatirwa ekisa’ era n’amuyamba nnyo. Yesu yawunzika olugero luno ng’agamba nti buli ayagala okusiimibwa Katonda asaanidde kukola bw’atyo.​—Lukka 10:30-37.

Omutume Pawulo yayigiriza abo abaagala okusanyusa Katonda nti balina okukyusa engeri zaabwe bakoppe engeri Katonda gy’ayisaamu abantu. Yawandiika nti: “Mweyambuleko omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, era mwambale omuntu omuggya, oyo afuulibwa omuggya okuyitira mu kumanya okutuufu, mu kifaananyi ky’Oyo eyamutonda. Gye tuli tewali Muyonaani wadde Omuyudaaya, okukomola oba obutakomola, omugwira, Omusukusi . . . Naye, ku ebyo byonna, mwambale okwagala kubanga kwe kunyweza obumu.”​—Abakkolosaayi 3:9-14, NW.

Okutegeera Katonda Kukyusa Abantu?

Okutegeera Yakuwa Katonda ddala kukyusa engeri abantu gye bakolaganamu n’ab’amawanga amalala? Lowooza ku kyokulabirako ky’omukazi enzaalwa y’omu Asiya eyawuliranga obubi olw’okusosolebwa mu Canada gye yali asengukidde. Yasanga Abajulirwa ba Yakuwa era ne batandika okusoma naye Baibuli. Oluvannyuma, yabawandiikira ebbaluwa okubasiima ng’agamba nti: ‘Mwali bazungu balungi nnyo era ba kisa. Bwe nnakiraba nti mwali ba njawulo ku bazungu abalala nneebuuza lwaki. Muli bwe nnafumiitiriza ennyo nnakitegeera nti mwali Bajulirwa ba Katonda. Baibuli eteekwa okuba ng’erimu ekintu eky’enjawulo. Mu nkuŋŋaana zammwe nnalabayo abantu abeeru, abaddugavu, abaakitaka, n’abaakyenvu naye nga bonna baalina emitima gya langi emu​—mirungi​—kubanga baali ba luganda. Kati mmanyi eyabayamba okufaanana bwe batyo. Ye Katonda wammwe.’

Ekigambo kya Katonda kyalagula wajja kubaawo ekiseera ‘ensi lw’elijjula okumanya Yakuwa.’ (Isaaya 11:9) Ne leero, obunnabbi bwa Baibuli butuukirizibwa ng’obukadde bw’abantu abava “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” bali bumu mu kusinza okw’amazima. (Okubikkulirwa 7:9) Beesunga ekiseera abantu bonna mu nsi lwe baliba nga baagalana nga tewakyali bukyayi era nga Yakuwa atuukiriza kye yagamba Ibulayimu nti: “Mu zzadde lyo ebika byonna eby’ensi mwe biriweerwa omukisa.”​—Ebikolwa 3:25.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4, 5]

Amateeka ga Katonda gaayigiriza Abaisiraeri okwagala bannaggwanga

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Kiki kye tuyiga mu lugero lw’Omusamaliya omulungi?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]

Katonda talina ggwanga lye yawa kintu kyonna kwe lisinziira okuwulira nti lya waggulu ku malala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share