Okulindirira Olunaku lwa Yakuwa n’Obugumiikiriza
“Ku kukkiriza kwammwe mwongerangako . . . okugumiikiriza.”—2 PEETERO 1:5, 6.
1, 2. Lwaki Abakristaayo balina okuba abagumiikiriza?
OLUNAKU lwa Yakuwa olukulu luli kumpi nnyo. (Yoweeri 1:15; Zeffaniya 1:14) Ng’Abakristaayo abamaliridde okukuuma obugolokofu bwaffe eri Katonda, twesunga ekiseera Yakuwa lw’alikiraga nti y’asaanidde okufuga. Ng’ekyo tekinnabaawo, twolekagana n’obukyayi, okuvumibwa, okuyigganyizibwa, era tuttibwa olw’okukkiriza kwaffe. (Matayo 5:10-12; 10:22; Okubikkulirwa 2:10) Bino byonna byetaagisa obugumiikiriza. Omutume Peetero atukubiriza nti: “Ku kukkiriza kwammwe mwongerangako . . . okugumiikiriza.” (2 Peetero 1:5, 6) Kitwetaagisa okugumiikiriza kubanga Yesu yagamba nti: “Agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.”—Matayo 24:13.
2 Ate era tulwala, tufiirwa, era tufuna n’ebizibu ebirala bingi. Nga Setaani ayinza okusanyuka singa tunafuwa mu kukkiriza! (Lukka 22:31, 32) Olw’obuyambi bwa Yakuwa tusobola okugumira ebizibu ebitali bimu. (1 Peetero 5:6-11) Weetegereze ebyokulabirako ebimu ebiraga nti tusobola okuba abagumiikiriza era abanywevu mu kukkiriza nga tulindirira olunaku lwa Yakuwa.
Obulwadde Tebubalemesezza
3, 4. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti tusobola okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga tutawaanyizibwa obulwadde.
3 Leero Katonda tatuwonya mu ngeri ey’ekyamagero, naye atuwa amaanyi okugumira obulwadde. (Zabbuli 41:1-3) Sharon yagamba nti: “Okuva lwe nnatandika okutegeera, mbadde ntambulira mu kagaali. Nnazaalibwa ndi mulema olw’ekizibu ekyandi ku bwongo, bwe kityo ne sinyumirwa myaka gyange egy’obuto.” Okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebisuubizo bye eby’obulamu obutuukiridde kwawa Sharon essuubi. Wadde ng’afuna obuzibu okutambula n’okwogera, okwenyigira mu kubuulira kimuwa essanyu. Emyaka nga 15 egiyise, yagamba nti: “Obulwadde bwange bugenda bweyongera, naye obwesige bwe nnina mu Katonda n’enkolagana yange naye bye binnyimirizzaawo. Nga ndi musanyufu nnyo okuba mu bantu ba Yakuwa n’okufuna obuyambi bwe!”
4 Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo mu Ssesaloniika ‘okugumyanga abenyamivu.’ (1 Abasessaloniika 5:14, NW) Omuntu asobola okwennyamira bwe wabaawo ebintu ebimumalamu ennyo amaanyi. Mu 1993, Sharon yawandiika nti: “Okuwulira nga sirina mugaso, . . . kyandeetera okwennyamira okumala ebbanga lya myaka esatu. . . . Abakadde bambudaabuda era ne bambuulirira. . . . Okuyitira mu katabo The Watchtower, Yakuwa yatuyigiriza ebikwata ku kwennyamira. Yee, ddala afaayo ku bantu be era ategeera enneewulira zaffe.” (1 Peetero 5:6, 7) Sharon akyaweereza Katonda n’obwesigwa nga bw’alindirira olunaku lwa Yakuwa olukulu.
5. Kiki ekiraga nti Abakristaayo basobola okugumiikiriza wadde nga batawanyizibwa mu birowoozo olw’ebizibu bye bayiseemu?
5 Abakristaayo abamu batawaanyizibwa mu birowoozo olw’ebizibu bye bayiseemu mu bulamu. Harley yalaba ebikolwa eby’ettemu ebyaliwo mu Ssematalo II era yabirootanga. Bwe yabanga yeebase, yagugumukanga ng’aleekaana nti: “Mudduke, mufa!” Yagendanga okuzuukuka nga yenna atuuyanye. Kyokka, yeeyongera okugoberera obulamu obw’okutya Katonda, era ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, bye yali aloota byagenda bikendeera.
6. Omukristaayo omu yasobola atya okusigala nga munywevu wadde nga yali atawaanyizibwa mu birowoozo?
6 Omukristaayo omu eyalina obulwadde bw’obwongo yakisanga nga kizibu okubuulira nju ku nju. Wadde kyali kityo, teyaddirira olw’okuba yali akimanyi nti kitegeeza bulamu gy’ali n’eri abo abamuwuliriza. (1 Timoseewo 4:16) Ebiseera ebimu yali tasobola na kukonkona ku luggi, kyokka yagamba nti: “Nnafunanga akaseera ebirowoozo byange ne bimala okudda mu nteeko, ne ndyoka ŋŋenda ku nnyumba endala. Okwongera okwenyigira mu kubuulira kyannyamba okusigala nga ndi munywevu ekimala mu by’omwoyo.” Okubeerawo mu nkuŋŋaana nakyo kyali kizibu, naye ow’oluganda ono yali amanyi bulungi obukulu bw’okubeera awamu ne baganda be. N’olwekyo, yafubanga okubeerawo mu nkuŋŋaana.—Abaebbulaniya 10:24, 25.
7. Abamu balaze batya obugumiikiriza wadde nga batya okwogera mu bantu oba okubeerawo mu nkuŋŋaana?
7 Abakristaayo abamu balina ebintu ebibakwasa ensisi oba ebibaleetera okutya ekisukkiridde. Ng’ekyokulabirako, bayinza okutya okwogera mu bantu oba okubeerawo mu nkuŋŋaana. Teeberezaamu obuzibu bwe basanga okubaako kye baddamu mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo oba okuwa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda! Wadde kiri kityo, bagumiikiriza, era okubeerawo kwabwe n’okubaako bye baddamu bituzzaamu nnyo amaanyi.
8. Kiki ekisinga okuyamba omuntu aba alina ebirowoozo ebimutawaanya?
8 Okuwummula n’okwebaka ekimala biyinza okuyamba omuntu okugumira ebirowoozo ebiba bimutawaanya. Kiyinza n’okumwetaagisa okulaba omusawo. Kyokka, okusaba kye kintu ekisinga okuyamba singa omuntu aba atawaanyizibwa mu birowoozo. Zabbuli 55:22, wagamba: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga batuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.” N’olwekyo, ‘weesige Yakuwa n’omutima gwo gwonna.’—Engero 3:5, 6.
Okuguma nga Tufiiriddwa
9-11. (a) Kiki ekisobola okutuyamba okugumira ennaku bwe tuba tufiiriddwa? (b) Ekyokulabirako kya Anna kiyinza kitya okutuyamba okugumira ennaku bwe tuba tufiiriddwa?
9 Bwe tufiirwa tuwulira ennaku ey’amaanyi. Ibulayimu yakaaba nga mukazi we omwagalwa, Saala, afudde. (Olubereberye 23:2) Ne Yesu, omusajja atuukiridde ‘yakaaba amaziga’ nga mukwano gwe Laazaalo afudde. (Yokaana 11:35) N’olwekyo, kya bulijjo omuntu okunakuwala bw’aba afiiriddwa omwagala we. Kyokka, Abakristaayo bamanyi nti eriyo okuzuukira. (Ebikolwa 24:15) Bwe kityo, ‘tebanakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.’—1 Abasessaloniika 4:13.
10 Tuyinza tutya okuba abagumiikiriza nga tufiiriddwa? Oboolyawo ekyokulabirako kino kiyinza okutuyamba okulaba eky’okukola. Tetutera kweraliikirira nga mukwano gwaffe atambudde olugendo kubanga tuba tumanyi nti tujja kuddamu okumulaba. Singa tutunuulira okufa kw’Omukristaayo abadde omwesigwa mu ngeri y’emu, kijja kutuyamba obutanakuwala nnyo kubanga tumanyi nti ajja kuzuukira.—Omubuulizi 7:1.
11 Okwesiga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” kijja kutuyamba okuba abagumiikiriza nga tufiiriddwa. (2 Abakkolinso 1:3, 4, NW) N’ekirala ekijja okutuyamba kwe kufumiitiriza ku ekyo, Anna, nnamwandu eyaliwo mu kyasa ekyasooka kye yakola. Yafuuka nnamwandu nga yaakamala emyaka musanvu gyokka mu bufumbo. Kyokka ne bwe yali wa myaka 84, yali akyaweereza Yakuwa mu yeekaalu. (Lukka 2:36-38) Awatali kubuusabuusa, obulamu obw’okwemalira ku Katonda bwamuyamba okugumira ennaku n’ekiwuubaalo. Okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo nga mw’otwalidde n’okubuulira, kisobola okutuyamba okugumira ennaku nga tufiiriddwa.
Okugumira Ebizibu Ebitali Bimu
12. Kizibu ki mu maka Abakristaayo abamu kye bagumidde?
12 Abakristaayo abamu balina okugumira ebizibu mu maka. Gamba singa omu ku bafumbo ayenda, kiyinza okuleetera munne mu bufumbo ennaku ey’amaanyi n’okubulwa otulo! Olw’ebirowoozo ebingi, n’akalimu akatono kayinza okumulema okukola. Ate era mu mbeera eyo kiba kyangu okukola ensobi. Ayinza n’okulemwa okulya n’akogga era n’abeera mwennyamivu. Era kiyinza okumubeerera ekizibu okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo. Nga kino kiyinza okuleetera abaana okukosebwa ennyo!
13, 14. (a) Essaala Sulemaani gye yasaba ng’awaayo yeekaalu ekuzzaamu etya amaanyi? (b) Lwaki tusaba Katonda okutuwa omwoyo omutukuvu?
13 Bwe tufuna ebizibu ng’ebyo, Yakuwa atuwa obuyambi bwe twetaaga. (Zabbuli 94:19) Essaala Kabaka Sulemaani gye yasaba ng’awaayo yeekaalu ya Yakuwa eraga nti Katonda awulira okusaba kw’abantu be. Sulemaani yasaba Katonda nti: “Kyonna kyonna omuntu yenna ky’anaasabanga era kyonna ky’aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abalimanya buli muntu endwadde ey’omu mutima gwe ye, n’ayanjuluza emikono gye eri ennyumba eno: kale owuliranga ggwe ng’oyima mu ggulu ekifo ky’obeerangamu osonyiwe okole osasule buli muntu ng’amakubo ge gonna bwe gali, gw’omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy’abaana b’abantu bonna:) balyoke bakutye ennaku zonna ze banaamalanga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.”—1 Bassekabaka 8:38-40.
14 Kiyinza naddala okutuyamba singa tusaba Katonda okutuwa omwoyo omutukuvu. (Matayo 7:7-11) Essanyu n’emirembe bye bimu ku bibala by’omwoyo. (Abaggalatiya 5:22, 23) Nga tuwulira bulungi Kitaffe ow’omu ggulu bw’addamu okusaba kwaffe—mu kifo ky’ennaku n’okunyolwa, ne tuwulira essanyu n’emirembe!
15. Byawandiikibwa ki ebiyinza okutuyamba obuteeraliikirira nnyo?
15 Kya bulijjo okweraliikirira bwe tuba n’ebizibu eby’amaanyi. Kyokka tuyinza obuteeraliikirira nnyo singa tujjukira Yesu kye yagamba nti: “Temweraliikirira bulamu bwammwe, nti mulirya ki, oba nti mulinywa ki: newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. ... Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu [bwa Katonda]; era ebyo byonna mulibyongerwako.” (Matayo 6:25, 33, 34) Omutume Peetero atukubiriza ‘okuteeka mu maaso ga Katonda okweraliikirira kwaffe kwonna, kubanga atufaako.’ (1 Peetero 5:6, 7, NW) Tekiba kibi okugezaako okugonjoola ekizibu. Kyokka bwe tuba tufubye okukola buli ekisoboka, mu kifo ky’okweraliikirira tusaanidde kweyongera kusaba nnyo. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga.”—Zabbuli 37:5.
16, 17. (a) Lwaki tewayinza kubulawo kintu kitweraliikiriza? (b) Tunaawulira tutya singa tussa mu nkola ebigambo ebiri mu Abafiripi 4:6, 7?
16 Pawulo yawandiika nti: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.” (Abafiripi 4:6, 7) Olw’okuba tuli bazzukulu ba Adamu abatatuukiridde, ebizibu ebimu tetusobola kubyewala. (Abaruumi 5:12) Bakazi ba Esawu Abakiiti ‘baanakuwaza’ Isaaka ne Lebbeeka bazadde be abaali batya Katonda. (Olubereberye 26:34, 35) Obulwadde bulina okuba nga bweraliikiriza Abakristaayo nga Timoseewo ne Tulofiimo. (1 Timoseewo 5:23; 2 Timoseewo 4:20) Pawulo yeeraliikira olwa bakkiriza banne. (2 Abakkolinso 11:28) Kyokka oyo ‘Awulira okusaba’ bulijjo mwetegefu okuyamba abo abamwagala.—Zabbuli 65:2.
17 Nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa, “Katonda ow’emirembe” atuwagira era atubudaabuda. (Abafiripi 4:9) Yakuwa ‘ajjudde okusaasira era wa kisa,’ ‘mulungi era ayanguwa okusonyiwa,’ era ‘ajjukira nga ffe tuli nfuufu.’ (Okuva 34:6; Zabbuli 86:5; 103:13, 14) N’olwekyo ka ‘tumutegeeze bye twagala,’ kubanga kino kijja kutuleetera “emirembe gya Katonda”—omuntu yenna gy’atayinza kutegeera.
18. Okusinziira ku Yobu 42:5, tusobola tutya ‘okulaba’ Katonda?
18 Okusaba kwaffe bwe kuddibwamu tutegeera nti Katonda ali naffe. Oluvannyuma lwa Yobu okugumira ebizibu, yagamba nti: “Nnali nkuwuliddeko n’okuwulira kw’okutu; naye kaakano eriiso lyange likulaba.” (Yobu 42:5) N’amaaso ag’okukkiriza, tusobola okufumiitiriza ku ngeri Katonda gy’akolaganamu naffe ne tweyongera okumutegeera n’okumusiima ne kitusobozesa ‘okumulaba’ obulungi okusinga bwe kibadde. Ng’enkolagana eyo ey’okulusegere esobola okutuwa emirembe mu mutima ne mu birowoozo!
19. Tunaawulira tutya singa ‘tuteeka mu maaso ga Yakuwa ebitweraliikiriza byonna’?
19 Singa ‘tuteeka mu maaso ga Yakuwa ebitweraliikiriza byonna,’ tusobola okugumira ebizibu nga tulina emirembe egikuuma omutima gwaffe n’ebirowoozo byaffe. Munda mu mutima gwaffe ogw’akabonero, tetujja kuba na kutya kwonna. Okweraliikirira tekujja kutumalako mirembe.
20, 21. (a) Ebyatuuka ku Suteefano biraga bitya nti omuntu asobola okuba omukkakkamu ng’ayigganyizibwa? (b) Waayo ekyokulabirako eky’omu kiseera kyaffe ekiraga nti omuntu asobola okuba omukkakkamu ng’ayolekaganye n’ebizibu.
20 Omuyigirizwa Suteefano yasigala mukkakkamu ng’okukkiriza kwe kugezesebwa. Nga tannawa bujulirwa bwe obwasembayo, bonna abaali mu Lukiiko Olukulu ‘baamulaba ng’amaaso ge gafaanana ng’aga malayika.’ (Ebikolwa 6:15) Ku maaso yali alabika nga muntu wa mirembe—ng’alinga malayika, omubaka wa Katonda. Oluvannyuma lwa Suteefano okubaatulira nti be baali emabega w’okuttibwa kwa Yesu, abalamuzi ‘baalumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji.’ ‘Ng’ajjudde omwoyo omutukuvu,’ Suteefano ‘yakaliriza amaaso mu ggulu n’alaba ekitiibwa kya Katonda era nga Yesu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.’ Okwolesebwa kuno kwazzaamu Suteefano amaanyi era n’afa nga mwesigwa. (Ebikolwa 7:52-60) Wadde nga tetufuna kwolesebwa, Katonda asobola okutuyamba okuba abakkakkamu bwe tuba tuyigganyizibwa.
21 Lowooza ku ebyo Abakristaayo abattibwa Abanazi mu Ssematalo II bye baayogera. Omu ku bo bwe yali ayogera ebyamutuukako ng’ali mu kkooti, yagamba nti: “Bansalidde ogw’okufa. Nnawulirizza era oluvannyuma lw’okwogera ebigambo, ‘Beera mwesigwa okutuusa ku kufa,’ n’ebirala bitono ebya Mukama waffe, omusango ne guggwa. Naye ekyo tekibeeralikiriza. Kuba mpulira emirembe n’obukkakkamu mu ngeri gye mutayinza na kuteebereza!” Omuvubuka omu Omukristaayo eyali agenda okutemebwako omutwe yawandiikira bazadde be nti: “Essaawa ziyise mu mukaaga ez’ekiro. Nkyalina ekiseera okukyusa endowooza yange. Naye ddala nsobola okuddamu okuba omusanyufu mu nsi eno nga mazze okwegaana Mukama waffe? N’akatono! Naye mube bakakafu nti ŋŋenda kuva mu nsi eno nga nnina essanyu n’emirembe.” Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awa abaweereza be abeesigwa amaanyi.
Osobola Okugumira Ebizibu!
22, 23. Tuyinza kuba bakakafu ku ki nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa n’obugumiikiriza?
22 Oyinza obutafuna bizibu ng’ebyo bye twogeddeko. Naye Yobu, omusajja eyali atya Katonda yali mutuufu okugamba nti: “Omuntu azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi, era ajjudde [o]buyinike.” (Yobu 14:1) Oboolyawo oli muzadde afuba okuyigiriza abaana bo ebintu eby’omwoyo. Ng’oyinza okuba omusanyufu singa abaana bo banywerera ku ludda lwa Yakuwa ne ku misingi gye egy’obutuukirivu bwe bafuna ebizibu ku ssomero! Naawe oyinza okuba ng’ofuna ebizibu n’ebikemo ku mulimu. Ebizibu bino byonna n’ebirala osobola okubigumira kubanga ‘Yakuwa akusitulira omugugu gwo buli lunaku.’—Zabbuli 68:19.
23 Oyinza okuba ng’owulira nti toli wa mugaso, naye kijjukire nti Yakuwa tajja kwerabira mulimu gwo n’okwagala kw’olaga eri erinnya lye. (Abaebbulaniya 6:10) Olw’obuyambi bwe, osobola okugumira ebizibu ebigezesa okukkiriza kwo. N’olwekyo, jjukiranga Katonda by’ayagala mu kusaba kwo ne mu by’okola byonna. Olwo osobola okuba omukakafu nti ojja kufuna emikisa n’obuyambi bwa Katonda nga bw’olindirira olunaku lwa Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki Abakristaayo balina okuba abagumiikiriza?
• Kiki ekisobola okutuyamba okugumira obulwadde n’okufiirwa?
• Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okugumira ebizibu?
• Lwaki kisoboka okulindirira olunaku lwa Yakuwa n’okugumiikiriza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Okwesiga Yakuwa kutusobozesa okugumira ennaku nga tufiiriddwa