LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 8/1/07 lup. 24-28
  • “Mwekuumenga Okwegomba Kwonna”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mwekuumenga Okwegomba Kwonna”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kye Yasaba Kyali Tekisaana
  • Mwekuumenga Okwegomba
  • Okuba n’Ebintu Ebingi mu Bulamu
  • Ebiseera by’Omu Maaso Ebirungi
  • Oyinza Otya Okuba n’Endowooza Entuufu Ekwata ku Ssente?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Oli ‘Mugagga mu Maaso ga Katonda’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Okukkiriza Kwo mu Katonda Kunywevu Kwenkana Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Noonya Bwakabaka, So Si Bintu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 8/1/07 lup. 24-28

“Mwekuumenga Okwegomba Kwonna”

“Obulamu bw’omuntu si [bye bintu] ebingi by’aba nabyo.”​—LUKKA 12:15.

1, 2. (a) Kiki abantu abasinga obungi kye beemaliddeko leero? (b) Ffe tuyinza kukwatibwako tutya endowooza n’empisa ng’ezo?

ENSIMBI, ebintu, ettutumu, omulimu ogwa waggulu, amaka​—bino bye bimu ku bintu abasinga bye balowooza nti okuba nabyo oba otuuse ku buwanguzi oba nti ebiseera byo eby’omu maaso biba bitangaavu. Mu nsi enjavu n’engagga, abantu bangi beemalira mu kunoonya bya bugagga. Ku luuyi olulala, okwagala kwabwe eri ebintu eby’omwoyo kweyongera kukendeera.

2 Kino kyennyini Baibuli kye yalagula. Egamba nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, . . . abaagala essanyu okusinga Katonda; nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo.” (2 Timoseewo 3:1-5) Olw’okuba babeera mu bantu abalinga abo buli lunaku, Abakristaayo ab’amazima balina okufuba ennyo obutatwalirizibwa ndowooza na mpisa ng’ezo. Kiki ekinaatuyamba okuziyiza ensi eno egezaako ‘okutunyigira mu katiba kaayo’?​—Abaruumi 12:2, The New Testament in Modern English, eya J. B. Phillips.

3. Kubuulirira ki okwa Yesu kwe tugenda okwekenneenya?

3 Yesu Kristo, “omukulu w’okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo,” yatuwa eby’okuyiga ebirungi ennyo ku nsonga eno. (Abaebbulaniya 12:2) Lumu Yesu yali ayogera eri ekibiina ku bintu ebikulu ebikwata ku kusinza okw’amazima, omusajja omu n’amugamba nti: “Omuyigiriza, gamba muganda wange agabane nange eby’obusika bwaffe.” Bwe yali addamu, Yesu yakozesa ebigambo eby’amaanyi okubuulirira omusajja oyo awamu n’abo abali bamuwuliriza. Yalabula ku kwegomba ebintu era n’aggumiza ensonga eyo ng’awa ekyokulabirako ekireetera omuntu okufumiitiriza ennyo. Tusaanidde okussaayo omwoyo ku ebyo Yesu bye yayogera ku olwo era tulabe engeri gye biyinza okutuganyula mu bulamu bwaffe.​—Lukka 12:13-21.

Kye Yasaba Kyali Tekisaana

4. Lwaki kyali tekisaana omusajja oyo okusala mu Yesu nga ayogera?

4 Ng’omusajja oyo tannamusala kirimi, Yesu yali ayogera eri abagoberezi be n’abalala ku kwewala obunnanfuusi, okwatula Omwana w’omuntu n’obuvumu mu maaso g’abantu, n’okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu. (Lukka 12:1-12) Awatali kubuusabuusa zino zaali nsonga nkulu abayigirizwa be ze baalina okulowoozaako ennyo. Kyokka, Yesu yali akyayogera ku nsonga ezo, omusajja ono n’amusaba atawulule enkaayana zaabwe ezirabika nga zaali za mu nju era nga zikwata ku kugabana bintu. Wabula, bino ebyaliwo birina ekintu ekikulu kye bituyigiriza.

5. Omusajja kye yasaba kyalaga nti yali muntu wa ngeri ki?

5 Kigambibwa nti “emirundi mingi omuntu ky’ali munda kitegeererwa ku ngeri gye yeeyisaamu bw’aba awuliriza ebikwata ku ddiini.” Yesu bwe yali ng’ayogera ku nsonga enkulu ezikwata ku by’omwoyo, kirabika omusajja ono ye yali alowooza ku ky’ayinza kukola okufuna ssente. Baibuli tetubuulira obanga ddala omusajja ono yalina ensonga entuufu okukayaanira eby’obusika. Oboolyawo yasinziira ku kuba nti Yesu yali amanyiddwa ng’omuntu akwata ensonga mu ngeri ey’amagezi era ey’obwenkanya. (Isaaya 11:3, 4; Matayo 22:16) K’ebeere nsonga ki eyamuleetera okugamba Yesu bw’atyo, kye yayogera kyalaga bulungi nti eby’omwoyo yali tabitwala nga kikulu. Ekyo tekyandituleetedde okwekebera? Ng’ekyokulabirako, bwe tuba mu nkuŋŋaana, kyangu okuleka ebirowoozo byaffe okutambula oba okulowooza ku bye twagala okukola oluvannyuma. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okussaayo omwoyo ku byogerwa era n’okulowooza ku ngeri gye tusobola okubikozesaamu okulongoosa enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, ne Bakristaayo banaffe.​—Zabbuli 22:22; Makko 4:24.

6. Lwaki Yesu teyakola ng’omusajja oyo bwe yali asabye?

6 K’ebeere nsonga ki eyaleetera omusajja oyo okusaba okumuyamba, kye yali ayagala Yesu teyakikola. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yamubuuza: “[Ssebo], ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi wammwe?” (Lukka 12:14) Mu kino, Yesu yali ayogera ku kintu abantu kye baali bamanyi obulungi kubanga waaliwo abalamuzi abaakolanga ku nsonga ng’ezo okusinziira ku Mateeka ga Musa. (Ekyamateeka 16:18-20; 21:15-17; Luusi 4:1, 2) Ate era Yesu yalina omulimu omukulu ogw’okubuulira amazima agakwata ku Bwakabaka n’okuyigiriza abantu ekigendererwa kya Katonda. (Yokaana 18:37) Nga tugoberera ekyokulabirako kya Yesu kino, tetukkiriza mitawaana gya nsi eno kutuwugula, wabula tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe mu kubuulira amawulire amalungi ‘n’okufula amawanga gonna abayigirizwa.’​—Matayo 24:14; 28:19.

Mwekuumenga Okwegomba

7. Kiki Yesu kye yasobola okutegeera ku musajja ono?

7 Olw’okuba yali asobola okuteegera ekiri mu mutima, Yesu yamanya nti omusajja ono yalina ekizibu eky’amaanyi ekyamuleetera okumusaba ayingire mu nsonga zaabwe. N’olwekyo, mu kifo ky’okumala gamweggyako, Yesu yayogera ku kizibu ekyo kyennyini n’agamba nti: “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw’omuntu si [bye bintu] ebingi by’aba nabyo.”​—Lukka 12:15.

8. Okwegomba kye ki, era kiyinza kuvaamu ki?

8 Okwegomba kusingawo ku kwagala obwagazi ssente oba ekintu ekirala kyonna ekiyinza okuba eky’omugaso mu bulamu. Okusinziira ku nkuluze emu, okwegamba kwe “kwagala ennyo ssente oba ebintu oba okwagala ebintu by’omuntu omulala.” Kusobola okuzingiramu omuntu okuba n’omululu gw’ebintu​—oboolyawo nga bya muntu mulala​—nga tafuddeyo obanga ddala abyetaaga era obanga okubifuna kirina engeri gye kiyinza okukosaamu abalala. Omuntu bwe yeegomba ekintu, ebirowoozo bye byonna kwe bibeera era akifuula katonda we. Jjukira nti omutume Pawulo ageraageranya omuntu ow’omululu n’oyo asinza ebifaananyi, atalina mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.​—Abaefeso 5:5; Abakkolosaayi 3:5.

9. Ngeri ki ez’enjawulo okwegomba mwe kusobola okweyolekera? Waayo ebyokulabirako.

9 Yesu yalaga nti ‘okwegomba kwonna’ kubi. Okwegomba kwa ngeri nnyingi. Erisembayo mu Mateeka Ekkumi lyanokolayo ezimu ku zo ne ligamba nti: “Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.” (Okuva 20:17) Baibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaakola ebibi eby’amaanyi olw’okwegomba okw’engeri emu oba endala. Setaani ye yasooka okwegomba ekintu ekitaali kikye​—ekitiibwa, ettendo n’obuyinza ebirina okuweebwa Yakuwa yekka. (Okubikkulirwa 4:11) Kaawa yeegomba okufuna obuyinza obw’okwesalirawo, era bwe yalimbibwa olw’okwegomba okwo ne kireetera olulyo lw’omuntu ekibi n’okufa. (Olubereberye 3:4-7) Badayimooni baali bamalayika abataali bamativu ‘n’ekifo kyabwe bo bennyini’ ne beegomba ekintu ekyali kitabagwanira. (Yuda 6; Olubereberye 6:2) Era lowooza ku bantu nga Balamu, Akani, Gekazi, ne Yuda. Mu kifo ky’okubeera abamativu ne bye baalina, okwagala ennyo ebintu kwabaleetera okukozesa obubi obuvunaanyizibwa obwali bubakwasiddwa, era kino kyabasuula mu mitawaana n’okuzikirira.

10. Tusobola tutya okusigala nga ‘tutunula’ nga Yesu bwe yatukubiriza?

10 Nga kyali kituukirawo bulungi okuba nti Yesu bwe yali alabula ku kwegomba yatandika n’ekigambo “mutunulenga”! Lwaki? Kubanga kyangu abantu okulaba abalala nti ba mululu oba beegombi, naye si kyangu bo okweraba. Naye, omutume Pawulo agamba nti “okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna.” (1 Timoseewo 6:9, 10) Omuyigirizwa Yakobo agamba nti okwegomba okubi, “kuba olubuto ne kuzaala okwonoona.” (Yakobo 1:15) Nga tukolera ku kubuulirira kwa Yesu, tusaanidde ‘okutunulanga,’ si kulaba oba ng’abalala balina omuze guno, naye ffe ffennyini okwekeberanga mu mutima, tusobole ‘okwekuumanga okwegomba kwonna.’

Okuba n’Ebintu Ebingi mu Bulamu

11, 12. (a) Yesu yalabula atya ku kwegomba? (b) Lwaki tusaanidde okukoleera ku kulabula okwo?

11 Waliwo n’ensonga endala lwaki tulina okwewala okwegomba. Weetegereze ebigambo bya Yesu bino ebiddako: “Obulamu bw’omuntu si by’ebintu ebingi by’aba nabyo.” (Lukka 12:15) Kino ddala kituwa eky’okulowoozaako olw’okuba abantu b’omulembe guno baagala nnyo ebintu era batwala obugagga okuba ensibuko y’essanyu n’obuwanguzi mu bulamu. Mu kwogera bw’atyo, Yesu yali alaga nti okuba n’obulamu obulina ekigendererwa era obumatiza tekisinziira ku kuba na bintu, ka bibeere bingi bitya.

12 Kyokka, kino abamu bayinza obutakkiriziganya nakyo. Bayinza okugamba nti omuntu bw’aba n’ebintu ebingi obulamu bwe buba bulungi era nga bweyagaza. N’olwekyo, bamalira ebiseera byabwe mu kukola ebintu bye balowooza nti bijja kubasobozesa okufuna byonna bye baagala. Balowooza nti kino kijja kubaleetera obulamu obulungi. Naye mu kulowooza batyo, baba balemereddwa okutegeera Yesu kye yali agamba.

13. Ndowooza ki ennuŋŋamu gye tulina okuba nayo ku bulamu n’ebintu?

13 Mu kifo ky’okugezaako okulaga obanga okuba n’ebintu ebingi kituufu oba nedda, Yesu yalaga nti obulamu bw’omuntu tebuva ‘ku bintu by’aba nabyo,’ oba ebyo by’alina. Ku nsonga eno, ffenna tukimanyi nti okuba abalamu, oba okubeezaawo obulamu bwaffe, tekyetaagisa kuba na bintu bingi. Kyetaagisa kuba na kyakulya, kya kwambala, na wa kusula. Abagagga balina ebintu bino mu bungi, ng’ate abaavu kiyinza okubeetaagisa okukola ennyo okubifuna. Kyokka, bwe kituuka ku kufa waba tewakyali njawulo wakati wa mugagga na mwavu​—buli kimu kikoma awo. (Omubuulizi 9:5, 6) N’olwekyo, obulamu okuba obw’amakulu era nga bulina ekigendererwa, tebusaanidde kuba nga bwesigamye ku bintu omuntu by’aba nabyo oba by’asobola okufuna. Kino kyeyoleka bulungi bwe twekenneenya obulamu Yesu bwe yali ayogerako.

14. Kiki kye tuyiga mu kigambo ekikyusibwa “obulamu” ekisangibwa mu Baibuli?

14 Yesu bwe yagamba nti ‘obulamu si bye bintu omuntu by’aba nabyo,’ wano ekigambo (Oluyonaani, zo·eʹ) ekikyusibwa “obulamu” mu Njiri ya Lukka kitegeeza obulamu bwennyini so si embeera y’obulamu gye tubaamu.a Yesu yali agamba nti ka tube nga tuli bulungi oba nedda, tuli bagagga oba baavu, tetulina kya maanyi nnyo kye tusobola kukola kwongera ku kiseera kye tumala nga tuli balamu wadde okumanya obanga tunaaba balamu enkya. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi Yesu yabuuza: “Ani mu mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okweyongerako ku bukulu bwe n’akaseera akamu?” (Matayo 6:27) Baibuli ekiraga bulungi nti Yakuwa yekka ye “nsibuko y’obulamu” era yekka yasobola okuwa abantu be abeesigwa “obulamu obwa nnamaddala” oba “obulamu obutaggwaawo,” obulamu obutaliiko kkomo, mu ggulu oba mu nsi.​—Zabbuli 36:9, NW; 1 Timoseewo 6:12, 19, NW.

15. Lwaki bangi balowooza nti okuba n’ebintu kibawa obukuumi?

15 Ebigambo bya Yesu biraga nti kyangu abantu okuba n’endowooza enkyamu ku bulamu. Ka babe bagagga oba baavu, abantu bonna tebatuukiridde era waliwo ekintu kimu ekibatuukako bonna. Musa yagamba nti: “Ennaku z’emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, era naye amaanyi gaweza emyaka kinaana; naye amalala gaabwe kwe kutegana n’okunakuwala kwereere; kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.” (Zabbuli 90:10; Yobu 14:1, 2; 1 Peetero 1:24) Eno ye nsonga lwaki abantu abatalina nkolagana nnungi ne Katonda batera okuba n’endowooza omutume Pawulo gye yayogerako eya “tulye tunywe, kubanga tufa enkya.” (1 Abakkolinso 15:32) Abalala, olw’okuba bamanyi nti obulamu bwa kiseera, bagezaako okufuna ebintu bingi nga balowooza nti bijja kubawa obukuumi obusingako. N’olwekyo, bakola butaweera basobole okugaggawala, nga balowooza nti ebintu bye bijja okubawa obukuumi n’essanyu.​—Zabbuli 49:6, 11, 12.

Ebiseera by’Omu Maaso Ebirungi

16. Obulamu obw’amakulu tebwesigama ku ki?

16 Kiyinza okuba ekituufu nti omuntu bw’aba n’aw’okusula awalungi, eby’okulya, eby’okwambala ebingi n’ebintu ebirala, obulamu bwe buba bweyagaza era asobola okufuna obujjanjabi obulungi, mu ngeri eyo ne kimusobozesa okwongera ku myaka gy’obulamu bwe. Naye ddala obulamu ng’obwo buba bwa makulu era busobola okuwa omuntu obukuumi obwa nnamaddala? Omuntu okuwangaala oba okuba n’ebintu ebingi si kye kifuula obulamu bwe obw’amakulu. Omutume Pawulo yalaga akabi akali mu kwesiga ennyo ebintu ng’ebyo. Yawandiikira Timoseewo n’amugamba nti: “Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw’obugagga tulyoke twesanyusenga n’ebyo.”​—1 Timoseewo 6:17.

17, 18. (a) Ku nsonga y’okuba n’eby’obugagga, byakulabirako ki bye tusaanidde okukoppa? (b) Lugero ki olwa Yesu lwe tujja okwekenneenya mu kitundu ekinnaddako?

17 Olw’okuba eby’obugagga ‘si bya lubeerera,’ tekiba kya magezi kubissaamu bwesige. Yobu, omusajja ow’edda, yali mugagga nnyo, naye bwe yagwirwa obutyabaga, eby’obugagga bye byali tebisobola kumuyamba; byonna byasaanawo mu kaseera buseera. Enkolagana ye ennywevu ne Katonda ye yamusobozesa okuyita mu bigezo ebyo n’okubonaabona kwonna. (Yobu 1:1, 3, 20-22) Ibulayimu teyakkiriza bya bugagga ebingi bye yalina kumulemesa kukola ekyo Yakuwa kye yamulagira. Kino kyamuleetera emikisa mingi era n’afuuka “kitaawe w’amawanga amangi.” (Olubereberye 12:1, 4; 17:4-6) Tusaanidde okukoppa ebyokulabirako nga bino n’ebirala. Ka tube bato oba bakulu, tulina okwekebera tulaba kiki kye tukulembeza ne kye twesiga mu bulamu.​—Abaefeso 5:10; Abafiripi 1:10.

18 Ebigambo ebitono Yesu bye yayogera ku kwegomba n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bulamu bya makulu era birimu eby’okuyiga bingi. Kyokka, Yesu yalina ekintu ekirala kye yali ayagala okuyigiriza, era bw’atyo yagera olugero olukwata ku musajja eyali omugagga nga musirusiru. Olugero olwo lukwata lutya ku bulamu bwaffe leero, era bya kuyiga ki ebirulimu? Ekitundu ekinnaddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.

[Obugambo obuli wansi]

a Ekigambo ky’Oluyonaani ekirala ekivvuunulwa “obulamu” kiri biʹos. Okusinziira ku kitabo Vine’s Expository Dictionary of Old and New Testament Words, ekigambo biʹos kitegeeza ‘ekiseera omuntu ky’amala nga mulamu,’ ‘embeera y’obulamu omuntu gy’abeeramu,’ ne “ebibeesaawo obulamu.”

Oddamu Otya?

• Yesu okugaana okukola omusajja kye yali amusabye, kituyigiriza ki?

• Lwaki tulina okwewala okwegomba ebintu, era tuyinza kukikola tutya?

• Lwaki obulamu si bye bintu omuntu by’aba nabyo?

• Kiki ekisobola okufuula obulamu okuba obw’amakulu era obulungi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Lwaki Yesu yagaana okukola ekyo omusajja kye yamusaba?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Okwegomba kuyinza okuvaamu emitawaana egy’amaanyi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share