Muyigirize Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
“Ng’obusaale bwe buli mu mukono gw’omuzira, abaana ab’omu buvubuka bwe bali bwe batyo.”—ZABBULI 127:4.
1, 2. Abaana bafaananako batya “obusaale obuli mu mukono gw’omuzira”?
OMUKUBI w’akasaale ateeka akasaale ku mutego n’obwegendereza, akasika nga bw’apima era afuba okulaba nti kajja kutuuka w’ayagala, n’alyoka akata! Naye ddala akasaale kanaatuuka w’ayagala? Ekyo kisinziira ku nsonga eziwerako nga mwe muli obumanyirivu bw’alina, empewo eriyo, n’embeera y’akasaale kennyini.
2 Kabaka Sulemaani yageraageranya abaana ku ‘busaale obuli mu mukono gw’omuzira.’ (Zabbuli 127:4) Lowooza ku ngeri ekyokulabirako kino gye kituukirawo. Omuntu bw’aba akuba akasaale abeera nako mu ngalo okumala akaseera katono. Okusobola okukakuba w’ayagala alina okukata mu bwangu. Mu ngeri y’emu, ekiseera abazadde kye balina okusobola okuyigiriza abaana baabwe okwagala Yakuwa kiba kitono. Oluvannyuma lw’emyaka egirabika ng’emitono, abaana bakula era ne bava awaka. (Matayo 19:5) Banaatuusa abaana baabwe ku kye babaagaliza—kwe kugamba, abaana baneeyongera okwagala n’okuweereza Katonda nga bavudde awaka? Kino kisinziira ku bintu bingi. Ebisatu ku byo bwe bumanyirivu omuzadde bw’alina, embeera abaana mwe bakulira, n’engeri omwana, ‘akasaale,’ gy’atwalamu okutendekebwa okumuweebwa. Ka twekenneenye ebintu bino ebisatu kimu ku kimu. Okusooka tujja kulaba ezimu ku ngeri omuzadde alina obumanyirivu z’alina okuba nazo.
Ekyokulabirako ky’Abazadde Abalina Obumanyirivu
3. Lwaki abazadde bye boogera bye balina okukolerako?
3 Yesu yateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi mu ngeri nti bye yayigirizanga bye yakolerangako. (Yokaana 13:15) Ku luuyi olulala, yavumirira Abafalisaayo kubanga bye baali boogera si bye baali bakola. (Matayo 23:3) Abazadde okusobola okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa, bye boogera ne bye bakola birina okuba nga bikwatagana. Ebigambo okutali bikolwa bibeera ng’omutego gw’akasaale okutali kaguwa.—1 Yokaana 3:18.
4. Bibuuzo ki abazadde bye basaanidde okwebuuza era lwaki?
4 Lwaki ekyokulabirako ky’abazadde kikulu? Ng’abantu abakulu bwe basobola okuyiga okwagala Katonda nga bakoppa ekyokulabirako kya Yesu, n’abaana bayinza okuyiga okwagala Yakuwa nga bakoppa ekyokulabirako ky’abazadde baabwe. Abantu omwana b’abeera nabo basobola okumuzimba oba ‘okwonoona empisa ze ennungi.’ (1 Abakkolinso 15:33) Mu bulamu bw’omwana naddala ng’akyali muto, abantu b’asinga okubeera nabo be bazadde. N’olwekyo, kiba kirungi abazadde okwebuuza nti: ‘Ndi muntu wa ngeri ki? Nteekawo ekyokulabirako ekiyamba omwana wange okuba ow’empisa ennungi? Kyakulabirako ki kye mmuteerawo ku bikwata ku kwesomesa Baibuli n’okusaba?’
Basaba n’Abaana Baabwe
5. Biki abaana bye basobola okuyigira ku kusaba kw’abazadde baabwe?
5 Abaana bo balina bingi ebikwata ku Yakuwa bye basobola okuyiga nga bawuliriza by’oyogera ng’osaba. Biki abaana bye bayinza okuyiga bwe bakuwulira nga weebaza Katonda nga mugenda okulya oba bw’oba osaba nga mugenda okusoma Baibuli ng’amaka? Bayiga nti Yakuwa y’abawa ebyetaago byabwe eby’omubiri—n’olwekyo asaana okwebazibwa—era nti yatuyigiriza amazima ga Baibuli. Ebyo bya kuyiga bikulu nnyo!—Yakobo 1:17.
6. Abazadde basobola batya okuyamba abaana baabwe okuwulira nti Yakuwa afaayo ku buli omu mu maka?
6 Kyokka, singa osaba n’ab’omu maka go mu biseera ebirala ng’oggyeko ebyo nga mugenda okulya oba okusoma Baibuli ng’amaka, era singa oyogera nabo ku nsonga ezikwata ku buli omu mu maka, ojja kuyamba abaana bo okuwulira nti Yakuwa afaayo ku buli omu mu maka gammwe. (Abaefeso 6:18; 1 Peetero 5:6, 7) Taata omu agamba nti: “Okuva muwala waffe lwe yazaalibwa, twasabiranga wamu naye. Bwe yagenda akula twasabanga ku bikwata ku nkolagana ye n’abalala era ne ku bintu ebirala. Twasabiranga wamu naye buli lunaku okutusiza ddala lwe yafumbirwa.” Naawe osobola okusaba n’abaana bo buli lunaku? Osobola okubayamba okutwala Yakuwa nga mukwano gwabwe, atakoma ku kubawa byetaago byabwe bya mubiri na bya mwoyo kyokka naye era afaayo ne ku nneewulira zaabwe?—Abafiripi 4:6, 7.
7. Kiki abazadde kye beetaaga okumanya okusobola okwogera ku bintu ebikwatira ddala ku baana baabwe mu kusaba?
7 Kya lwatu, okusobola okwogera ku bintu ebikwatira ddala ku mwana wo ng’osaba, kikwetaagisa okuba ng’obimanyi bulungi. Weetegereze taata omu akuzizza abaana ababiri ky’agamba: “Ku nkomerero ya buli wiiki, nneebuuzanga ebibuuzo bibiri: ‘Bintu ki abaana bange bye babadde balowoozaako ennyo wiiki eno? Era birungi ki ebibaddewo mu bulamu bwabwe?’” Abazadde, muyinza okulowooza ku bintu ng’ebyo era ne mubyogerako nga musaba n’abaana bammwe? Singa mukola mutyo, mujja kuba mubayigiriza okwogera ne Yakuwa, oyo Awulira okusaba, era n’okumwagala.—Zabbuli 65:2.
Bakubiriza Abaana Baabwe Okwesomesa
8. Lwaki abazadde bateekwa okuyamba abaana baabwe okwemanyiiza okwesomesa Ekigambo kya Katonda?
8 Engeri abazadde gye batwalamu okwesomesa Baibuli erina ky’ekola ku nkolagana y’abaana ne Katonda? Abantu okusobola okweyongera okukolagana obulungi, balina okuba nga buli omu ayogera ne munne era ng’amuwuliriza. Emu ku ngeri gye tuwuliriza Yakuwa kwe kwesomesa Baibuli nga tukozesa ebitabo ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa.’ (Matayo 24:45-47; Engero 4:1, 2) N’olwekyo, okusobola okuyamba abaana baabwe okufuna enkolagana ey’olubeerera ne Yakuwa, abazadde balina okubakubiriza okwesomesanga Ekigambo kya Katonda.
9. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuyiga okwesomesa Baibuli?
9 Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuyiga okwesomesa Baibuli? Engeri esingayo obulungi kwe kubateerawo ekyokulabirako. Abaana bo bakiraba nti okusoma oba okweyigiriza Baibuli kikusanyusa? Kituufu nti oyinza okuba ng’okola nnyo okusobola okubalabirira, era ng’owulira nti tolina gy’oyinza kuggya biseera bya kusoma na kweyigiriza Baibuli. Naye weebuuze, ‘Abaana bange bandaba ng’ebiseera mbimalira ku ttivi?’ Bwe kiba kityo, osobola okukozesa ebimu ku biseera ebyo okubateerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okwesomesa Baibuli?
10, 11. Lwaki abazadde banditaddewo okusoma Baibuli okw’amaka obutayosa?
10 Engeri endala abazadde gye bayinza okuyigirizaamu abaana baabwe okuwuliriza Yakuwa kwe kussaawo enteekateeka y’okwesomesa Baibuli ng’amaka. (Isaaya 30:21) Abamu bayinza okwebuuza, ‘Lwaki okusoma kw’amaka kwetaagisa ng’ate abaana bulijjo bagenda ne bazadde baabwe mu nkuŋŋaana?’ Waliwo ensonga eziwerako lwaki kino kyetaagisa. Yakuwa akwasa abazadde obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana baabwe. (Engero 1:8; Abaefeso 6:4) Okusoma kw’amaka kuyamba abaana okukiraba nti tetulina kusinza nga tuli mu lujjudde mwokka wabula ne bwe tuba nga tuli waka.—Ekyamateeka 6:6-9.
11 Ate era okusoma kw’amaka bwe kuba kukubiriziddwa bulungi kuyamba abazadde okumanya endowooza abaana baabwe gye balina ku bintu eby’omwoyo n’emisingi gy’empisa. Ng’ekyokulabirako, abaana bwe baba abato, abazadde basobola okukozesa ebitabo nga Learn From the Great Teacher.a Kumpi mu buli katundu k’ekitabo kino abaana babuuzibwa ebibuuzo okusobola okulaba endowooza gye balina ku nsonga eba ekubaganyizibwako ebirowoozo. Abazadde bwe bakozesa obulungi ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo kino, basobola okuyamba abaana baabwe ‘okwawula obulungi n’obubi.’—Abaebbulaniya 5:14.
12. Abazadde bayinza batya okutuukanya okusoma kw’amaka n’ebyetaago by’abaana baabwe, era ngeri ki gy’osanze ng’ekola bulungi?
12 Abaana bammwe bwe bagenda bakula, mulabe nti bye mu basomesa bituukana n’emyaka gyabwe. Weetegereze ekyo omwami omu ne mukyala we kye baakola ng’abaana baabwe babasabye okugenda mu mazima agaali gagenda okubeera ku ssomero. Kitaabwe agamba nti: “Twagamba abaana baffe nti mu kusoma kw’amaka okunaddako twali tujja kubaayo n’akazannyo nga nze ne mukyala wange ffe baana, nga bo be bazadde. Omu ku bo yali wa kuzannya nga Taata ate omulala nga Maama, naye abaana baalina okunoonyereza ku nsonga eyo era batuwe obulagirizi obukwata ku mazina agabeera ku ssomero.” Kiki ekyavaamu? Kitaabwe agamba nti “Kyatwewuunyisa okulaba obuvunaanyizibwa abaana baffe bwe baalaga (nga bazannya ng’abazadde) nga batunnyonnyola (nga tuzannya ng’abaana) okuva mu Baibuli lwaki tekyandibadde kya magezi kugenda mu mazina. Ekirala ekyatwewuunyisa bye ebyo bye batugamba bye tuyinza okukola mu kifo ky’okugenda mu mazina. Kino kyatuyamba okutegeera endowooza yaabwe ne bye baagala.” Kituufu nti kyetaagisa okuyiiya n’okufuba ennyo okusobola okusomeranga awamu ng’amaka era n’okutuukanya ebisomebwa n’ebyetaago by’ab’omu maka go, naye emiganyulo egivaamu mingi nnyo.—Engero 23:15.
Muteekewo Embeera ey’Emirembe
13, 14. (a) Abazadde bayinza batya okussaawo embeera ey’emirembe mu maka? (b) Miganyulo ki egiyinza okuvaamu singa omuzadde akkiriza ensobi ye?
13 Omuntu okusobola okukuba akasaale ne katuuka w’ayagala, embeera y’obudde erina okuba nga nnungi. Mu ngeri y’emu, abaana kijja kubanguyira okuyiga okwagala Yakuwa singa abazadde babakuliza mu mbeera ey’emirembe. Yakobo yawandiika nti: “Ekibala eky’obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.” (Yakobo 3:18) Abazadde basobola batya okuteekawo embeera ey’emirembe? Omwami n’omukyala balina okukuuma enkolagana yaabwe mu bufumbo nga nnungi. Omwami n’omukyala bwe baba nga baagalana era nga bawaŋŋana ekitiibwa kibayamba okuyigiriza abaana baabwe okwagala era n’okuwa abalala ekitiibwa nga mw’otwalidde ne Yakuwa. (Abaggalatiya 6:7; Abaefeso 5:33) Okwagala n’okuwa abalala ekitiibwa kireetawo emirembe. Era obufumbo bwe bubaamu emirembe, abafumbo kibayamba okugonjoola obutakkaanya obuba bubaluseewo mu maka gaabwe.
14 Kya lwatu nti okuva bwe watali bufumbo butuukiridde ku nsi, teriiyo maka gatuukiridde. Abazadde oluusi bayinza okulemererwa okwoleka ebibala eby’omwoyo mu ngeri gye bakwatamu abaana baabwe. (Abaggalatiya 5:22, 23) Kino bwe kibaawo, abazadde basaanidde kukola ki? Singa bakkiriza nti waliwo ensobi gye bakoze, kireetera omwana okulekera awo okubawa ekitiibwa? Lowooza ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo. Eri abantu bangi, yalinga kitaabwe ow’eby’omwoyo. (1 Abakkolinso 4:15) Kyokka, yakkiriza ensobi ze. (Abaruumi 7:21-25) Wadde kyali kityo, obuwombeefu n’obwesimbu bye yalina tebituleetera kumunyooma wabula okumulowoozaako ng’omuntu omulungi. Wadde nga yalina obunafu, Pawulo yasobola okuwandiikira ekibiina ky’e Kkolinso nti: “Mungobererenga nze, nga nange bwe ngoberera Kristo.” (1 Abakkolinso 11:1) Singa nammwe mukkiriza ensobi zammwe, kijja kwanguyira abaana obutatunuulira nsobi ezo.
15, 16. Lwaki abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe okwagala ab’oluganda mu kibiina, era kino kiyinza kukolebwa kitya?
15 Kiki ekirala abazadde kye bayinza okukola okuteekawo embeera ennungi abaana mwe bayinza okuyigira okwagala Yakuwa? Omutume Yokaana yawandiika nti: “Omuntu bw’ayogera nti Njagala Katonda, n’akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw’atalabangako tayinza kumwagala.” (1 Yokaana 4:20, 21) N’olwekyo, bw’oyigiriza abaana bo okwagala ab’oluganda, oba obayigiriza okwagala Katonda. Kirungi abazadde okwebuuza, ‘Bye njogera ku kibiina biba bizimba oba nedda?’ Ekyo osobola kukitegeera otya? Okutegeera ng’owuliriza bulungi abaana bo bye boogera ku nkuŋŋaana ne ku b’oluganda mu kibiina. Ojja kwesanga nti by’otera okwogera nabo bye boogera.
16 Kiki abazadde kye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe okwagala ab’oluganda mu kibiina? Peter, alina abaana ababiri nga bali mu myaka egy’obutiini agamba bw’ati: “Okuviira ddala nga batabani baffe bato, tubadde tukyaza ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo ne tulya nabo mu maka gaffe, era kino kituleetedde essanyu lingi nnyo. Batabani baffe bakuze balina enkolagana n’abantu abaagala Yakuwa, era kati bakiraba nti okuweereza Katonda kireeta essanyu.” Dennis, alina bawala be abataano agamba nti: “Twakubiriza abaana baffe okukola omukwano ne bapayoniya abakulu mu kibiina, era buli lwe tusobola tubadde tukyaza abalabirizi b’ekitundu ne bakyala baabwe.” Naawe osobola okubaako ky’okola okuyamba abaana bo okutwala ab’oluganda mu kibiina ng’abantu ab’awaka?—Makko 10:29, 30.
Obuvunaanyizibwa bw’Omwana
17. Kiki abaana kye balina okwesalirawo?
17 Ddamu olowooze ku mukubi w’akasaale. Wadde ng’ayinza okuba n’obumanyirivu, tekijja kumubeerera kyangu kukuba kasaale ke w’ayagala singa kaba keeweseemu oba kaakyama. Kya lwatu, abazadde bajja kugezaako nnyo okugolola endowooza y’omwana embi nga bwe kiba ku kasaale akaba kakyamye. Naye oluvannyuma lwa byonna, abaana be balina okwesalirawo obanga banaakola ebyo ensi eno by’eyagala oba banaaleka Yakuwa ‘okuluŋŋamya amakubo gaabwe.’—Engero 3:5, 6; Abaruumi 12:2.
18. Ebyo omwana by’asalawo biyinza kukwata bitya ku balala?
18 Wadde abazadde balina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula ne mu kubuulira kwa Yakuwa,’ omwana kennyini y’alina okwesalirawo ky’ayagala abeere ng’akuze. (Abaefeso 6:4) N’olwekyo, abaana mwebuuze, ‘Nnakkiriza okutendeka kw’abazadde bange?’ Bw’onokkiriza, ojja kuba olonze engeri y’obulamu esingayo okuba ennungi. Ojja kusanyusa nnyo bazadde bo. N’ekisingayo obukulu, ojja kusanyusa omutima gwa Yakuwa.—Engero 27:11.
[Obugambo obuli wansi]
a Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Ojjukira?
• Abazadde basobola batya okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi eky’okusaba n’okwesomesa Baibuli?
• Abazadde basobola batya okuteekawo embeera ey’emirembe awaka?
• Kiki abaana kye balina okwesalirawo, era kye basalawo kikwata kitya ku balala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Omwana wo omuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okwesomesa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Embeera ey’emirembe mu maka ereetawo essanyu