LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 10/1/07 lup. 28-32
  • Okulokolebwa mu Mutego gw’Omuyizzi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okulokolebwa mu Mutego gw’Omuyizzi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okutya Abantu
  • Okwagala eby’Obugagga
  • Eby’Okwesanyusaamu Ebitasaana
  • Obutategeeragana
  • Obukuumi “mu Kifo eky’Ekyama eky’Oyo ali Waggulu Ennyo”
  • Sigala mu Kifo eky’Ekyama eky’Oyo Asingayo Okuba Waggulu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • “Muziyize Omulyolyomi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okubeera Abantu ba Yakuwa—Kisa kya Nsusso
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 10/1/07 lup. 28-32

Okulokolebwa mu Mutego gw’Omuyizzi

“[Yakuwa] ye anaakulokolanga mu mutego ogw’omuyizzi.”​—ZABBULI 91:3.

1. “Omuyizzi” y’ani, era lwaki wa kabi nnyo?

ABAKRISTAAYO ab’amazima bonna balina omulabe omukalabakalaba era ow’amagezi agasukkiridde ku g’abantu. Ayogerwako mu Zabbuli 91:3 ‘ng’omuyizzi.’ Omulabe ono y’ani? Magazini eno ezze ekiraga nti omulabe ono ye Setaani Omulyolyomi okutandika n’eyo eyafuluma nga Jjuuni 1, 1883. Omulabe ono ow’amaanyi akozesa obukodyo okubuzaabuza n’okutega abantu ba Yakuwa ng’omuyizzi bw’agezaako okukwasa ekinyonyi ku mutego.

2. Lwaki Setaani afaananyizibwa omuyizzi?

2 Edda abantu baayigganga ebinyonyi olw’okwagala okubirya, okubisaddaaka, okuwulira bwe biyimba n’olw’endabika yaabyo ennungi. Kyokka, ebinyonyi byekengera mangu era si byangu bya kukwasa ku mutego. N’olwekyo, omuyizzi w’omu biseera bya Baibuli bwe yabanga alina ekinyonyi ky’ayagala okutega, ng’asooka kuyiga ngeri gye kyeyisaamu n’alyoka asala amagezi ag’okukikwasa. Mu kugamba nti Setaani alinga omuyizzi, Baibuli etuyamba okutegeera obukoddyo bw’akozesa. Omulyolyomi yekkaanya buli omu ku ffe. Yeetegereza engeri zaffe n’enneeyisa, n’alyoka atuteerawo emitego emyekusifu ng’agezaako okutukwasa. (2 Timoseewo 2:26) Bwe tugwa mu mutego gwe kiviirako embeera yaffe ey’eby’omwoyo okwonooneka era tuyinza n’okutuuka okuzikirizibwa. N’olwekyo, okusobola okumwekuuma, twetaaga okumanya obukoddyo “omuyizzi” ono bw’akozesa.

3, 4. Obukodyo bwa Setaani bufaananako butya obw’empologoma? obw’omusota?

3 Omuwandiisi wa zabbuli era afaananya obukodyo bwa Setaani ku bw’empologoma ne ku bw’omusota. (Zabbuli 91:13) Okufaananako empologoma, Setaani oluusi alumba butereevu abantu ba Yakuwa ng’aleetawo okuyigganyizibwa oba ng’akozesa ab’obuyinza okuteekawo amateeka agabanyigiriza. (Zabbuli 94:20) Obulumbaganyi ng’obwo buyinza okuleetera abamu okuleka Yakuwa. Kyokka emirundi egisinga obulumbaganyi ng’obwo bwongera bwongezi kunyweza bumu bwa bantu ba Katonda. Ate Setaani akozesa atya obukodyo obwekusifu ng’omusota?

4 Omulyolyomi akozesa amagezi ge agasukkiridde ku g’abantu okubalumba mu ngeri enneekusifu ng’omusota ogw’obusagwa bwe gubojja nga gulina we gwekwese. Mu ngeri eno asobodde okulimbalimba abamu ku bantu ba Katonda ne balekeraawo okukola Yakuwa by’ayagala, ne kibaviiramu ebizibu eby’amaanyi. Eky’essanyu kiri nti tutegeera bulungi enkwe ze. (2 Abakkolinso 2:11) Ka twetegerezeeyo emitego ena egy’akabi ennyo “omuyizzi” ono gy’akozesa.

Okutya Abantu

5. Lwaki omutego ‘gw’okutya abantu’ mwangu nnyo okugwamu?

5 “Omuyizzi” ono amanyi nti abantu baagala nnyo okusanyusa n’okusiimibwa abalala. Omulyolyomi era akimanyi nti Abakristaayo bafaayo ku kiki abalala kye babalowoozaako, era kino akikozesa ng’omutego. Ng’ekyokulabirako, ng’akozesa omutego guno ‘ogw’okutya abantu’ asobodde okukwasa abamu ku bantu ba Katonda. (Engero 29:25) Abaweereza ba Katonda bwe beegatta ku balala mu kukola ebintu Katonda by’akyawa oba ne beewala okukola ekyo Ekigambo kya Katonda kye kibalagira olw’okutya abantu, “omuyizzi” aba abakwasiza.​—Ezeekeri 33:8; Yakobo 4:17.

6. Kyakulabirako ki ekirala ekiraga engeri “omuyizzi” gy’ayinza okukwasa omuvubuka mu mutego?

6 Ng’ekyokulabirako, omuvubuka ayinza okwekkiriranya n’anywa taaba olw’okupikirizibwa banne ku ssomero. Ayinza okuba nga ku olwo yavudde awaka ng’eky’okunywa taaba tekimuli mu birowoozo n’akatono. Kyokka mu kaseera katono yeesanga ng’akoze ekintu ekyo eky’akabi eri obulamu bwe era ekitasanyusa Katonda. (2 Abakkolinso 7:1) Kiba kivudde ku ki okukola ekyo? Kiyinza okuba kivudde ku kubeera na mikwano mibi era ng’atidde okumusekerera. Abavubuka, temukkiriza ‘muyizzi’ kubasendasenda na kubakwasa! Okusobola okwewala okugwa mu mutego guno, mwewale okwekkiriranya wadde mu bintu ebitono. Mwewale emikwano emibi nga Baibuli bw’ebakubiriza.​—1 Abakkolinso 15:33.

7. Setaani ayinza atya okuleetera abazadde abamu okuddirira mu by’omwoyo?

7 Abazadde Abakristaayo bafuba nnyo okulabirira ab’omu maka gaabwe ng’Ebyawandiikibwa bwe bibalagira. (1 Timoseewo 5:8) Kyokka, ekigendererwa kya Setaani kwe kulaba nti Abakristaayo bagwa olubege mu nsonga eyo. Oluusi abamu boosa enkuŋŋaana olw’okwekkiriranya nga bapikiriziddwa bakama baabwe okukola emirimu egisinga ku gya bulijjo. Bayinza okutya okusaba olukusa okubeerawo ennaku zonna ez’olukuŋŋaana lwa Disitulikiti okubeera awamu ne baganda baabwe nga basinza Yakuwa. Ekiyamba omuntu obutagwa mu mutego guno kwe ‘kwesiga Yakuwa.’ (Engero 3:5, 6) Ate era, okukijjukiranga nti ffenna tuli ba mu nnyumba ya Yakuwa era nti asuubizza okutulabirira, kijja kutuyamba obutagwa mu mutego ogwo. Abazadde, mukkiriza nti mu ngeri emu oba endala Yakuwa ajja kubalabirira awamu n’ab’omu maka gammwe singa mukola by’ayagala? Oba munaaleka Omulyolyomi okubakwasa mu mutego gwe n’abakozesa by’ayagala olw’okuba mutya abantu? Tubakubiriza okwogera ku nsonga ezo mu kusaba kwammwe eri Yakuwa.

Okwagala eby’Obugagga

8. Setaani akozesa atya omutego gw’okwagala eby’obugagga?

8 Setaani era akozesa omutego gw’eby’obugagga okutukwasa. Ab’eby’obusuubuzi bateekawo bizineesi ezigambibwa okuba nti zigaggawaza mangu, ekintu ekiyinza okutwaliriza n’abamu ku bantu ba Katonda. Oluusi abantu bayinza okukukubiriza nti: “Kola nnyo. Bw’onoogaggawala, obulamu bujja kukwanguyira era ojja kubunyumirwa. Awo oba osobola n’okuweereza nga payoniya.” Ebigambo ng’ebyo biyinza okuba nga byoleka endowooza embi eri mu abo abaagala okufunira ku bannaabwe mu kibiina Ekikristaayo. Fumiitiriza ku bigambo ebyo. Tebyoleka endowooza efaananako n’ey’omusajja omugagga “omusirusiru” ow’omu lugero lwa Yesu?​—Lukka 12:16-21.

9. Kiki ekiyinza okuleetera Abakristaayo abamu okugwa mu mutego gw’okwagala ebintu?

9 Ensi eno efugibwa Setaani ekubiriza abantu okwegomba ebintu. Okwegomba okwo kuyinza okuteeka embeera y’Omukristaayo ey’eby’omwoyo mu kabi, ne kiviirako ekigambo okuzika “ne kitabala.” (Makko 4:19) Baibuli etukubiriza okuba abamativu n’ebyetaago by’obulamu. (1 Timoseewo 6:8) Kyokka bangi bagwa mu mutego ‘gw’omuyizzi’ olw’obutakolera ku kubuulirira okwo. Kyandiba nti amalala gabaleetera okuwulira nga waliwo ebintu ebimu bye balina okuba nabyo mu bulamu? Ate kiri kitya eri ffe? Okwagala ebintu kutuleetera okuteeka okusinza okw’amazima mu kifo eky’okubiri? (Kaggayi 1:2-8) Kya nnaku nti eby’enfuna bwe bizibuwala, abamu bakola ebintu ebiteeka embeera yaabwe ey’eby’omwoyo mu kabi nga baagala okusigala mu mbeera y’obulamu gye bamanyidde. Ng’okwagala ennyo ebintu okutuuka awo kisanyusa “omuyizzi”!

Eby’Okwesanyusaamu Ebitasaana

10. Lwaki buli Mukristaayo asaanidde okwekebera?

10 Akakodyo akalala “omuyizzi” k’akozesa kwe kukyamya endowooza abantu gye balina ku kirungi n’ekibi. Endowooza efaananako eyo eyali mu Sodomu ne Ggomola yeeyolekera mu by’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero. Ebifulumira mu mawulire g’oku ttivi ne mu magazini nabyo bibaamu nnyo ebikolwa eby’ettemu era bikuliriza ebikolwa eby’obugwenyufu. Eby’okwesanyusaamu ebifulumira ku mikutu gy’empuliziganya biremesa abantu ‘okwawula ekirungi ku kibi.’ (Abaebbulaniya 5:14) Kyokka, jjukira ekyo Yakuwa kye yagamba ng’ayitira mu nnabbi Isaaya nti: “Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n’ekirungi ekibi!” (Isaaya 5:20) “Omuyizzi” ono ayonoonye endowooza yo ng’akozesa eby’okwesanyusaamu ebitasaana? Kikulu nnyo okwekebera.​—2 Abakkolinso 13:5.

11. Magazini eno yalabula etya ku mizannyo gy’oku ttivi egigenda giragibwa mu bitundutundu (soap operas)?

11 Kumpi emyaka nga 25 emabega, Watchtower yalabula abasinza ba Katonda ab’amazima ku kabi akali mu mizannyo gy’oku ttivi egigenda giragibwa mu bitundutundu (soap operas).a Yayogera bw’eti ku kabi akali mu kulaba emizannyo gino: “Abantu beeyisa mu ngeri etesaana nga beekwasa nti banoonya mukwano. Ng’ekyokulabirako, omuwala omu ali olubuto ate nga si mufumbo agamba mukwano gwe nti: ‘Wabula njagala Victor. Sifaayo. . . . Okumuzaalamu omwana kye kinsingira byonna!’ Obuyimba obuseeneekerevu obuba bugenderako buleetera abantu obutassa nnyo birowoozo ku nneeyisa ya muwala ey’obugwenyufu. Muli naawe otandika okwagala Victor. Okwatirwa omuwala oyo ekisa. Otandika n’obutalaba bubi bwa mpisa ze. Omuntu omu eyamala n’alaba akabi akali mu kulaba emizannyo gino yagamba nti: ‘Kyewunyisa engeri gy’otandikamu okuwulira nti bye bakola si bikyamu. Tumanyi nti ebikolwa eby’obugwenyufu bibi. . . . Naye nneesanga nga mu birowoozo nnali mbiwagira.’”

12. Kiki ekiraga nti okulabulwa ku programu ezimu ezibeera ku ttivi ddala kusaanidde?

12 Okuva magazini eyo lwe yafulumizibwa, programu zino embi zeyongedde okucaaka. Mu nsi nnyingi, programu ng’ezo ziragibwa ekiseera kyonna emisana n’ekiro. Abasajja, abakazi, n’abavubuka bangi batera okumalira ebiseera byabwe ku mizannyo gino. Kyokka tetulina kwerimba. Kiba kikyamu okulowooza nti ebibeera mu mizannyo gino tebirina njawulo n’ebyo ebibeerawo mu bulamu obwa bulijjo. Ddala Omukristaayo alina ensonga yonna lwaki yandikkirizza okusanyusibwa abantu ng’abo b’atayinza na kukyaza mu maka ge?

13, 14. Abamu baalaga batya nti baaganyulwa mu kulabula okukwata ku programu z’oku ttivi?

13 Bangi baaganyulwa bwe baawuliriza okulabula okwo okwava eri ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45-47) Oluvannyuma lw’okusoma magazini eyo omwali okubuulirira okwesigamiziddwa ku Baibuli, abamu baawandiika nga balaga engeri gye baali bakwatiddwako.b Waliwo eyawandiika n’agamba nti: “Nnali ndaba emizannyo gino okumala emyaka 13 nga ssaagala kusubwa wadde ekitundu ekimu. Nnali mmanyi nti embeera yange ey’eby’omwoyo tejja kwonooneka olw’okuba nnagendanga mu nkuŋŋaana era ng’oluusi nneenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Naye emizannyo egyo gyandetamu endowooza enkyamu nti singa bbaawo aba akuyisa bubi, oba ng’owulira nti takyakwagala, bw’oyenda oba mutuufu era guba musango gwe. N’olwekyo, bwe nnawulira nti bwe nnyenda ‘teguba musango gwange’ nnakwata ekkubo ekyamu era ne nnyonoona eri Yakuwa ne bba wange.” Omukazi ono yagobebwa mu kibiina Ekikristaayo. Oluvannyuma, yakkiriza ensobi ye, ne yeenenya, era n’akomezebwawo mu kibiina. Magazini eno eyali erabula ku mizannyo gy’oku ttivi egyo yamuwa obuvumu okwewala eby’okwesanyusaamu Yakuwa by’akyawa.​—Amosi 5:14, 15.

14 Omusomi omulala yagamba nti: “Nnakaaba bwe nnasoma ebitundu ebyo, kubanga nnakizuula nti omutima gwange gwonna gwali tegukyali ku Yakuwa. Nneeyama mu maaso ga Katonda obutaddayo kulaba mizannyo egyo.” Oluvannyuma lw’okulaga nti yaganyulwa mu magazini eyo, omukyala omu Omukristaayo yakikkiriza nti yali ayagala nnyo okulaba emizannyo egyo era n’awandiika nti: “Nneebuuza . . . obanga enkolagana yange ne Yakuwa yali teyonoonese. Nsobola ntya okubeera mukwano ‘gwabwe’ ate ne mbeera mukwano gwa Yakuwa?” Bwe kiba nti programu z’oku ttivi ng’ezo zaali zoonoona emitima gy’abantu emyaka 25 emabega, kiri kitya leero? (2 Timoseewo 3:13) Tulina okumanya engeri zonna Setaani mw’ayitira okutusuula mu mutego guno ogw’eby’okwesanyusaamu ebitali birungi, ka gibe mizannyo gino egy’oku ttivi, egya vidiyo omuli ettemu, oba vidiyo z’ennyimba omuli eby’obugwenyufu.

Obutategeeragana

15. Abamu bagudde batya mu mutego gw’Omulyolyomi?

15 Setaani akozesa obutategeeragana ng’omutego n’aleetawo enjawukana mu bantu ba Yakuwa. Tusobola okugwa mu mutego guno ka tube nga tulina nkizo ki mu buweereza. Abamu bagudde mu mutego gw’Omulyolyomi guno nga baleka obutategeeragana okumalawo eddembe n’obumu Yakuwa by’ataddewo mu kibiina kye.​—Zabbuli 133:1-3.

16. Setaani agezaako atya okumalawo obumu bwaffe ng’akozesa engeri enneekusifu?

16 Mu Ssematalo I, Setaani yagezaako okulumba ekibiina Yakuwa ku nsi akisaanyeewo, naye n’alemwa. (Okubikkulirwa 11:7-13) Okuva olwo, agezaako okumalawo obumu bwaffe ng’akozesa engeri enneekusifu. Bwe tuleka obutakkiriziganya okutuleetera enjawukana, “omuyizzi” tuba tumuwadde oluwenda. Tuba tulemesa omwoyo omutukuvu okukola mu bulamu bwaffe era ne mu kibiina. Bwe kiba bwe kityo, Setaani aba musanyufu kubanga ekintu kyonna ekitabulatabula emirembe n’obumu mu kibiina kitaataaganya omulimu gw’okubuulira.​—Abaefeso 4:27, 30-32.

17. Kiki ekiyinza okuyamba abo abalina obutategeeragana okubugonjoola?

17 Kiki ky’oyinza okukola singa ofuna obutategeeragana ne Mukristaayo munno? Kituufu nti buli mbeera eba ya njawulo. Kyokka, wadde ng’obutategeeragana buyinza okuva ku bintu bingi, tewali nsonga lwaki tebugonjoolwa. (Matayo 5:23, 24; 18:15-17) Emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda gyaluŋŋamizibwa era gituukiridde. Tegiremererwa, era bulijjo okugigoberera kivaamu emiganyulo!

18. Lwaki okukoppa Yakuwa kituyamba okumalawo obutategeeragana?

18 Yakuwa “mwetegefu okusonyiwa,” era ‘asonyiyira ddala.’ (Zabbuli 86:5; NW; 130:4, NW) Bwe tukoppa Yakuwa, tuba tulaga nti tuli baana be abaagalwa. (Abaefeso 5:1) Ffenna tuli boonoonyi era twetaaga okusonyiyibwa Yakuwa. N’olwekyo, singa tuwulira nti tetwagala kusonyiwa balala tulina okuba abeegendereza. Tuyinza okubeera ng’omuddu w’omu lugero lwa Yesu eyagaana okusonyiwa muddu munne ebbanja eryali ettono ennyo ku eryo mukama we lye yali amusonyiye. Mukama we bwe yakitegeera, yalagira omuddu oyo atasonyiwa ateekebwe mu kkomera. Yesu yakomekkerezza olugero olwo ng’agamba nti: “Bw’atyo Kitange ali mu ggulu bw’alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.” (Matayo 18:21-35) Okufumiitiriza ku kyokulabirako ekyo n’okulowooza ku mirundi emingi ennyo Yakuwa gy’atusonyiye, kijja kutuyamba nga tugezaako okumalawo obutategeeragana n’ow’oluganda!​—Zabbuli 19:14.

Obukuumi “mu Kifo eky’Ekyama eky’Oyo ali Waggulu Ennyo”

19, 20. Mu biseera bino eby’akabi tusaanidde kutwala tutya ‘ekifo kya Yakuwa eky’ekyama n’ekisiikirize’ kye?

19 Ebiseera bye tulimu bya kabi. Setaani yandibadde yatusaanyawo dda singa tetwalina bukuumi bwa Yakuwa. N’olwekyo, okusobola okwewala emitego ‘gy’omuyizzi,’ tuteekwa okusigala mu kifo ky’obukuumi eky’akabonero, ‘okutuula mu kifo eky’ekyama eky’oyo ali waggulu ennyo,’ ne “tubeera wansi w’ekisiikirize eky’Omuyinza w’ebintu byonna.”​—Zabbuli 91:1.

20 Ka bulijjo tukitwale nti Yakuwa bw’atuwa obulagirizi era n’atujjukiza, aba tatukugira bukugizi wabula aba atuwa bukuumi. Omulabe ffenna gwe twolekaganye naye alina amagezi agasusse ku g’abantu. Awatali buyambi bwa Yakuwa, tewali n’omu ajja kusimattuka mutego gye. (Zabbuli 124:7, 8) N’olwekyo, ka tusabe Yakuwa atulokole eri “omuyizzi”!​—Matayo 6:13.

[Obugambo obuli wansi]

a Watchtower eya Desemba 1, 1982, olupapula 3-7.

b Watchtower eya Desemba 1, 1983, olupapula 23.

Ojjukira?

• Lwaki “okutya abantu” mutego gwa kabi nnyo?

• Omulyolyomi akozesa atya omutego gw’okwagala ennyo eby’obugagga?

• Setaani asuula atya abamu mu mutego gw’eby’okwesanyusaamu ebitasaana?

• Omulyolyomi akozesa mutego ki okumalawo obumu bwaffe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Abamu bagudde mu mutego ‘olw’okutya abantu’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Onyumirwa okulaba ebyo Yakuwa by’akyawa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Oyinza kukola ki singa ofuna obutategeeragana ne Mukristaayo munno?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share