EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 87-91
Sigala mu Kifo eky’Ekyama eky’Oyo Asingayo Okuba Waggulu
‘Ekifo kya Yakuwa eky’ekyama’ kituwa obukuumi mu by’omwoyo
Leero, omuntu okusobola okubeera mu kifo kya Yakuwa eky’ekyama alina okwewaayo n’okubatizibwa
Abo abateesiga Katonda tebamanyi kifo kino
Abo abali mu kifo kya Yakuwa eky’ekyama tebakkiriza muntu yenna oba kintu kyonna kunafuya kukkiriza kwabwe, oba okwagala kwe balina eri Katonda
“Omutezi w’ebinyonyi” agezaako okutukwasa
Ebinyonyi byegendereza nnyo era si byangu kukwasa
Abatezi b’ebinyonyi beetegereza enneeyisa y’ebinyonyi ne bayiiya engeri gye bayinza okubikwasaamu
Sitaani, “omutezi w’ebinyonyi,” yeetegereza abantu ba Yakuwa n’atega emitego egitali gimu okusobola okubakwasa
Emitego egy’emirundi ena Sitaani gy’akozesa ennyo:
Okutya Abantu
Okwagala Ennyo Ssente
Eby’Okwesanyusaamu Ebitasaana
Obutategeeragana