Koppa Omuyigiriza Omukulu
“Musseeyo omwoyo ku ngeri gye muwulirizaamu.”—LUKKA 8:18, NW.
1, 2. Lwaki osaanidde okussaayo omwoyo ku ngeri Yesu gye yayisangamu abantu mu buweereza bwe?
YESU KRISTO yali atuukiriza buvunaanyizibwa bwe ng’Omuyigiriza Omukulu bwe yagamba abagoberezi be nti: “Musseeyo omwoyo ku ngeri gye muwulirizaamu.” (Lukka 8:16-18, NW) Omusingi ogwo gukwata ku buweereza bwo ng’Omukristaayo. Singa ossaayo omwoyo ku bulagirizi obukuweebwa, kijja kukuyamba okuba omulangirizi w’Obwakabaka omulungi. Kya lwatu, tosobola kuwulira ddoboozi lya Yesu leero, naye osobola okusoma ku ebyo bye yayogera ne bye yakola ebiri mu Byawandiikibwa. Biraga ki ku ngeri Yesu gye yayisangamu abantu mu buweereza bwe?
2 Yesu yali mubuulizi mulungi nnyo ow’amawulire amalungi era omuyigiriza w’Ebyawandiikibwa ow’ekitalo. (Lukka 8:1; Yokaana 8:28) Omulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa guzingiramu okubuulira n’okuyigiriza, kyokka Abakristaayo abamu abamanyi obulungi okubuulira bakisanga nga kizibu okuyigiriza abantu obulungi. Okubuulira kuzingiramu okulangirira obubaka, so ng’ate okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye kyetaagisa omubuulizi okuteekawo enkolagana ennungi n’abo b’ayigiriza. (Matayo 28:19, 20) Kino kisoboka singa okoppa Yesu Kristo, Omuyigiriza Omukulu.—Yokaana 13:13.
3. Okukoppa Yesu kiyinza kukuyamba kitya mu kufuula abalala abayigirizwa?
3 Singa okoppa engeri Yesu gye yayigirizangamu, olwo ojja kuba ogoberera ekyo omutume Pawulo kye yagamba nti: “Mutambulirenga mu magezi eri abo ab’ebweru, nga mweguliranga ebbanga. Ebigambo byammwe bibeerenga n’ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yen[n]a.” (Abakkolosaayi 4:5, 6) Okusobola okukoppa Yesu mu kufuula abalala abayigirizwa kyetaagisa okufuba, naye kijja kukuyamba okuyigiriza obulungi kubanga ojja kuyiga “okwanukulanga buli muntu yenna” nga bwe kisaanira.
Yesu Yakubiriza Abalala Okwogera Kye Balowooza
4. Kiki ekiraga nti Yesu yali awuliriza abalala?
4 Okuviira ddala mu buto, yali mpisa ya Yesu okuwuliriza abantu n’okubakubiriza okuwa endowooza yaabwe. Ng’ekyokulabirako, bwe yali nga wa myaka 12, bazadde be bamusanga mu yeekaalu wakati mu bayigiriza, ‘ng’abawuliriza era ng’ababuuza.’ (Lukka 2:46) Yesu ekyamutwala mu yeekaalu tekyali kulaga bayigiriza nti yali amanyi nnyo okubasinga. Wabula yagendayo kuwuliriza, wadde nga yabuuza n’ebibuuzo. Okuba nti awuliriza abalala kye kimu ku byamuleetera okwagalibwa ennyo Katonda n’abantu.—Lukka 2:52.
5, 6. Tumanya tutya nti Yesu yawulirizanga abantu ng’ayigiriza?
5 Ne bwe yali ng’amaze okubatizibwa n’okufukibwako amafuta Masiya, Yesu yeeyongera okuwuliriza abalala. Teyeemaliranga ku bye yabanga ayigiriza ne yeerabira okulowooza ku abo ababanga bazze okumuwuliriza. Emirundi mingi yasiriikirirangamu n’ababuuza kye balowooza, era n’awuliriza kye baddamu. (Matayo 16:13-15) Ng’ekyokulabirako, Lazaalo bwe yafa, Yesu yagamba mwannyina wa Lazaalo, Maliza, nti: “Buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe.” Awo n’amubuuza nti: “Okkiriza ekyo?” Yesu yawuliriza Maliza ng’addamu nti: “Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga gwe Kristo, Omwana wa Katonda.” (Yokaana 11:26, 27) Nga Yesu alina okuba nga yasanyuka nga Maliza ayolesa okukkiriza kwe mu ngeri eyo!
6 Abayigirizwa bangi bwe baamwabulira, Yesu yayagala okumanya abatume be kye balowooza. Bw’atyo yababuuza nti: “Nammwe mwagala okugenda?” Simooni Peetero yaddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo. Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.” (Yokaana 6:66-69) Ng’ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byasanyusa nnyo Yesu! Naawe kijja kukusanyusa okulaba omuyizi wa Baibuli ng’ayoleka okukkiriza mu ngeri eyo.
Yesu Yawanga Abalala Ekitiibwa ng’Abawuliriza
7. Kiki ekyaleetera Abasamaliya bangi okukkiriza Yesu?
7 Ensonga endala lwaki Yesu yali muyigiriza mulungi eri nti yafangayo ku bantu era ng’abawuliriza mu ngeri eraga nti abawa ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu yabuulira omukazi Omusamaliya e Sukali okumpi n’oluzzi lwa Yakobo. Bwe yali ayogera n’omukazi oyo, Yesu teyeefuga mboozi wabula yawuliriza omukazi kye yali agamba. Yesu bwe yali awuliriza omukazi by’ayogera, yakizuula nti yali ayagala nnyo ebikwata ku kusinza era n’amugamba nti Katonda yali anoonya abo abaagala okumusinza mu mwoyo n’amazima. Yesu yayogera n’omukazi oyo mu ngeri emuwa ekitiibwa era eraga nti amufaako, ne kireetera omukazi oyo okubuulira abalala ebikwata ku Yesu, era ‘Abasamaliya bangi mu kibuga ekyo ne bamukkiriza olw’ekigambo ky’omukazi.’—Yokaana 4:5-29, 39-42.
8. Eky’okuba nti abantu baagala nnyo okwogera kye balowooza kiyinza kitya okukuyamba okutandika okwogera nabo ng’obuulira?
8 Abantu baagala nnyo okwogera kye balowooza. Ng’ekyokulabirako, abantu b’omu Asene eky’edda baanyumirwanga nnyo okuwa endowooza zaabwe n’okuwulira ebintu ebipya. Kino kyasobozesa omutume Pawulo okwogera gye bali ng’ali ku Aleyopaago mu kibuga ekyo. (Ebikolwa 17:18-34) Bw’oba otandika okunyumya n’omuntu ng’oli mu buweereza, oyinza okumugamba nti, “Nkukyalidde Iwa kuba njagala okumanya endowooza yo ku [nsonga emu].” Wuliriza bulungi, era obeeko ky’oyogera, oba ky’obuuza ku by’ayogedde. Oluvannyuma mulage Baibuli ky’egamba ku nsonga eyo.
Yesu Yali Amanyi eky’Okwogera
9. Yesu yakola ki ‘nga tannabikkulira Byawandiikibwa’ Kulyoppa ne munne?
9 Yesu yali tabulwa kya kwogera. Ng’oggyeko okuba nti yawulirizanga abalala, yali amanyi abantu bye balowooza, era ng’amanyi bulungi eky’okuddamu. (Matayo 9:4; 12:22-30; Lukka 9:46, 47) Ng’ekyokulabirako: Nga yakazuukira, Yesu yasanga abayigirizwa be babiri nga bava e Yerusaalemi okugenda ku kyalo ekiyitibwa Emawo. Enjiri egamba nti: “Baali nga banyumya nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n’abasembererera, n’agenda wamu nabo. Naye amaaso gaabwe ne gazibwa baleme okumutegeera. N’abagamba nti Bigambo ki bye mubuuzaganya nga mutambula? Ne bayimirira nga bawootedde. Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n’addamu n’amugamba nti Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino? N’abagamba nti Bigambo ki?” Omuyigiriza Omukulu yawuliriza nga bamunnyonnyola Yesu Omunazaaleesi bwe yayigiriza abantu, n’akola ebyamagero, era n’attibwa. Kati abamu baali bagamba nti azuukiziddwa okuva mu bafu. Yesu yalekera ddala Kulyoppa ne munne okwogera ekibali ku mutima. Oluvannyuma yabannyonnyola kye baalina okumanya, ‘ng’ababikkulira Ebyawandiikibwa.’—Lukka 24:13-27, 32.
10. Oyinza otya okutegeera eddiini y’omuntu gw’osanze mu buweereza?
10 Oyinza okuba ng’oyogera n’omuntu naye nga tomanyi ddiini ye. Okusobola okugitegeera, oyinza okumugamba nti oyagala nnyo okuwulira abantu kye balowooza ku kusaba. Bw’omala oyinza okumubuuza nti, “Olowooza nti ddala waliwo awulira okusaba kw’abantu?” Ky’aba azzeemu kiyinza okukuyamba okutegeera endowooza n’enzikiriza ye. Bw’aba ayagala eby’eddiini, oyinza okwongera n’omubuuza, “Olowooza Katonda awulira okusaba kwa buli muntu, oba waliwo kw’atawulira?” Ebibuuzo ng’ebyo biyinza okukuyamba okunyumya n’omuntu mu bukkakkamu. Bwe kiba kisoboka okumusomerayo Ekyawandiikibwa, kikole mu ngeri ey’amagezi nga tovumirira ky’akkiririzaamu. Singa anyumirwa by’omubuulidde, ayinza okwagala omukyalire omulundi omulala. Watya ng’akubuuzizza ekibuuzo ky’otosobola kuddamu? Oyinza okusooka okunoonyereza n’olyoka oddayo nga weetegese bulungi okuwa ‘ensonga ey’okusuubira kw’olina, ng’oli muwombeefu era ng’omussaamu ekitiibwa.’—1 Peetero 3:15, NW.
Yesu Yayigiriza Abo Abagwanira
11. Kiki ekinaakuyamba okuzuula abo abagwanira okuyigirizibwa?
11 Olw’okuba Yesu yali atuukiridde yali asobola okutegeera abo abagwanira okuyigirizibwa. Ffe tukisanga nga kizibu okuzuula abo ‘abagwanira okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Ebikolwa 13:48, NW) Bwe kityo bwe kyazibuwalira n’abatume Yesu be yagamba nti: “Buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw’ali asaana.” (Matayo 10:11) Okufaananako abatume ba Yesu, olina okunoonya abantu abaagala okuwuliriza n’okuyiga amazima ag’omu Baibuli. Osobola okubazuula bw’owuliriza obulungi buli omu ky’agamba era n’olaba engeri gy’atwalamu by’omubuulira.
12. Oyinza otya okwongera okuyamba omuntu asiimye amazima?
12 Oluvannyuma lw’okwogera n’omuntu asiimye obubaka bw’Obwakabaka, lowooza ku bisobola okumuyamba mu by’omwoyo. Bw’owandiika bye weetegerezza ku muntu oyo ng’omubuulira amawulire amalungi, ojja kumanya engeri gy’osobola okwongera okumuyamba mu by’omwoyo. Buli lw’oddayo, wuliriza bulungi osobole okumanya ebisingawo ku nzikiriza ye, endowooza, oba embeera ye.
13. Kiki ekiyinza okukuyamba okutegeera endowooza omuntu gy’alina ku Baibuli?
13 Oyinza otya okukubiriza abantu okukubuulira endowooza gye balina ku Kigambo kya Katonda? Abamu osobola okubabuuza, “Baibuli ogisanga nga nzibu okutegeera?” Engeri omuntu gy’addamu ekibuuzo ekyo etera okulaga obanga eby’omwoyo abitwala ng’ekikulu. Abalala osobola okubasomera ekyawandiikibwa n’obabuuza nti, “Ekyo okirowoozaako ki?” Okufaananako Yesu, ojja kuganyulwa nnyo bw’okozesa ebibuuzo ebituukirawo ng’obuulira. Kyokka, weetaaga okwegendereza.
Yesu Yakozesa Bulungi Ebibuuzo
14. Osobola otya okumanya abantu kye balowooza nga tobabuuzizza bibuuzo bya kumukumu?
14 Fuba okumanya abalala kye balowooza naye tobabuuza bibuuzo bibakwasa nsonyi. Koppa engeri Yesu gye yakikolamu. Teyamalanga gabuuza bibuuzo, wabula yabuuzanga ebyo ebireetera omuntu okufumiitiriza. Engeri Yesu gye yawulirizangamu yaleetera abantu abeesimbu okuddamu amaanyi n’okumwewa. (Matayo 11:28) Kyali kyanguyira abantu aba buli ngeri okumutuukirira ne bamubuulira ebizibu byabwe. (Makko 1:40; 5:35, 36; 10:13, 17, 46, 47) Bw’oba oyagala abantu okukubuulira kye balowooza ku Baibuli n’enjigiriza zaayo, weewale okubabuuza ebibuuzo eby’okumukumu.
15, 16. Osobola otya okusikiriza abantu okwogera ku by’eddiini?
15 Ng’oggyeko okukozesa obulungi ebibuuzo, oyinza okunyumya n’abantu ng’oyogera ku bintu ebinyuma era n’owuliriza bye baddamu. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba Nikodemu nti: “Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:3) Ebigambo ebyo byawuniikiriza nnyo Nikodemu ne bimuleetera okuwuliriza Yesu n’okubaako by’amubuuza. (Yokaana 3:4-20) Naawe osobola okusikiriza abantu okuwuliriza mu ngeri ng’eyo.
16 Leero, abantu bangi mu Afirika, mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba, ne mu Latini Amerika boogera nnyo ku madiini amapya agazzeewo ennaku zino. Mu bitundu nga bino, oyinza okutandika okunyumya n’omuntu ng’ogamba nti: “Tekinsanyusa kulaba nti waliwo amadiini mangi. Naye nnina essuubi nti mu kiseera ekitali kya wala abantu ab’amawanga gonna bajja kuba bumu mu kusinza okw’amazima. Owulira nga naawe ekyo wandyagadde kibeewo?” Okwogera ekintu ekyewuunyisa ekikwata ku ssuubi ly’olina, kiyinza okuleetera abantu okwogera kye balowooza. Ebibuuzo ebisinga obulungi by’ebyo ng’omuntu alina ebintu bibiri kw’asobola okulonda eky’okuddamu. (Matayo 17:25) Omuntu bw’amala okubaako ky’addamu, mulage ekituufu ng’okozesa ekyawandiikibwa kimu oba bibiri. (Isaaya 11:9; Zeffaniya 3:9) Bw’owuliriza obulungi era ne weetegereza engeri omuntu gy’atwalamu by’omuyigirizza, oyinza okumanya eky’okwogerako ng’ozzeeyo okumukyalira.
Yesu Yawulirizanga Abaana
17. Kiki ekiraga nti Yesu yafangayo ku baana?
17 Yesu teyafangayo ku bantu bakulu bokka wabula ne ku baana. Yali amanyi emizannyo abaana gye baagala n’ebintu bye baayogerangako. Ebiseera ebimu yayitanga abaana okujja gy’ali. (Lukka 7:31, 32; 18:15-17) Ne mu bibinja by’abantu abajjanga okuwuliriza Yesu mwabangamu abaana bangi. Abaana abalenzi bwe bayogerera waggulu nga batendereza Masiya, ekyo Yesu teyakibuusa maaso wabula yalaga nti Ebyawandiikibwa byali byakyogerako. (Matayo 14:21; 15:38; 21:15, 16) Leero, abaana bangi bafuuka abayigirizwa ba Yesu. Kati olwo osobola otya okubayamba?
18, 19. Osobola otya okuyamba omwana wo mu by’omwoyo?
18 Okusobola okuyamba omwana wo mu by’omwoyo, olina okumuwuliriza. Olina okutegeera endowooza z’alina eziyinza okuba nga tezikwatagana na ndowooza ya Yakuwa. Omwana wo k’abe ng’ayogedde ki, kiba kya magezi okusooka okubaako ekirungi ky’omwogerako. Oluvannyuma oyinza okukozesa ebyawandiikibwa ebituukirawo okutereeza endowooza ye.
19 Okukozesa ebibuuzo kiyamba nnyo mu kutegeera endowooza y’omwana. Naye okufaananako abantu abakulu, abaana tebaagala kubabuuza bibuuzo bya kumukumu. Mu kifo ky’okubuuza omwana wo ebibuuzo ebizibu, lwaki tofunayo ekintu ekyakutuukako n’okyogerako? Okusinziira ku kye muba mwogerako, oyinza okumubuulira endowooza gye walina n’omuwa n’ensonga lwaki kyali bwe kityo. Kati olwo oyinza okumubuuza, “Naawe bw’otyo bw’olowooza?” Omwana wo ky’addamu kiyinza okukusobozesa okukubaganya naye ebirowoozo ku Byawandiikibwa.
Weeyongere Okukoppa Omuyigiriza Omukulu
20, 21. Lwaki olina okuwuliriza ennyo ng’oyamba abalala okufuuka abayigirizwa?
20 K’obe ng’okubaganya birowoozo na mwana wo oba na muntu mulala yenna, kikulu okuwuliza obulungi. Mu butuufu, kino kiba kiraga okwagala. Bw’owuliriza oba olaga obwetoowaze era n’oyo ayogera oba omuwa ekitiibwa. Kya lwatu nti okuwuliriza kikwetaagisa okussaayo omwoyo ku ebyo omuntu by’aba ayogera.
21 Weeyongere okuwuliriza obulungi abantu b’oba oyogera nabo ng’obuulira. Singa ossaayo omwoyo ku bye boogera, kijja kukwanguyira okumanya bintu ki mu Baibuli ebijja okubasikiriza. Kati olwo fuba okubayamba ng’okozesa engeri ez’enjawulo ez’okuyigiriza Yesu ze yakozesanga. Bw’onokola bw’otyo, ojja kufuna essanyu n’obumativu kubanga okoppa Omuyigiriza Omukulu.
Wandizzeemu Otya?
• Yesu yakubirizanga atya abalala okwogera kye balowooza?
• Lwaki Yesu yawulirizanga abantu be yayigirizanga?
• Osobola otya okukozesa ebibuuzo ng’obuulira?
• Oyinza kukola ki okuyamba abaana bo mu by’omwoyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Bw’oba obuulira, fuba okuwuliriza b’oyogera nabo