LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 1/1 lup. 27-30
  • Nnavvuunuka Ebizibu by’Omu Buvubuka Bwange

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nnavvuunuka Ebizibu by’Omu Buvubuka Bwange
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Nnali mu Bulamu Obutalina Makulu
  • Yakuwa Annunula
  • Omwagalwa Ava Awazibu
  • Nnwanagana n’Endowooza Embi
  • Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 1/1 lup. 27-30

Nnavvuunuka Ebizibu by’Omu Buvubuka Bwange

Byayogerwa Eusebio Morcillo

Mu ssebutemba 1993, nnagendako mu kkomera erimu erikuumibwa obutiribiri. Ensonga eyali entutteyo yali nti mwannyinaze yali agenda kubatizibwa. Abamu ku basibe n’abakulira ekkomera baaliwo nga mbatiza mwannyinaze. Nga sinnaba kunnyonnyola engeri ye nange gye twatuuka okuba mu kifo ekyo, ka nsooke njogere ku bulamu bwaffe obw’emabega.

NNAZAALIBWA mu Spain nga Maayi 5, 1954, era nze ow’olubereberye ku baana omunaana. Mariví yali waakusatu. Jjajjaffe yatukuza nga tuli Bakatoliki bakuukutivu, era nzijukira nti mu buto bwange nga nkyali ne jjajja nnali njagala nnyo Katonda. Kyokka amaka ga bazadde bange temwalimu ddiini n’akatono. Taata yakubanga Maama era naffe abaana yatukubanga. Buli kiseera twabanga mu kutya, era kyannumanga nnyo okulaba Maama ng’abonaabona.

Ku ssomero nnayolekagananga n’embeera endala ezennyamiza. Omu ku basomesa, eyali omusaseredooti, yakoonanga emitwe gyaffe ku kisenge bwe twabanga tuzzeemu bubi ekibuuzo. Omusaseredooti omulala yasobyanga ku bayizi bwe yabanga nabo ng’ayita mu bye yabanga abawadde okukolera eka. Ng’oggyeko ekyo, enjigiriza z’Ekikatoliki gamba ng’omuliro ogutazikira zambuzabuzanga era nga zintiisa. Okwagala kwe nnalina eri Katonda mangu ddala kwawola.

Nnali mu Bulamu Obutalina Makulu

Olw’okuba saalina annyamba mu bya mwoyo, nnatandika okuyita n’abantu abagwenyufu era ab’effujjo be nnasanganga mu biduula. Emirundi mingi waabalukangawo okulwana, era ebiso, amagiraasi, obutebe, n’enjegere byakozesebwanga. Wadde nga sseenyigiranga mu kulwana okwo, lumu bankuba ne nzirika.

Ekiseera kyatuuka ne nkoowa ebifo ebirimu okulwana ne nsalawo okugendanga mu ebyo ebitalimu nnyo ffujjo. Kyokka ne mu bino, waabangayo nnyo okunywa enjaga. Mu kifo ky’okufuna essanyu n’emirembe, enjaga yandeeteranga okweraliikirira n’okuwulira ng’aloota.

Wadde nga saali musanyufu, nnasendasenda omu ku bato bange, José Luis, ne mukwano gwange ennyo Miguel, okunneegattako. Wamu n’abavubuka abalala bangi mu Spain mu kiseera ekyo, twalina emize emibi ennyo. Nnali mwetegefu okukola ekintu kyonna okufuna ssente ez’okugula enjaga. Nnali sikyewa kitiibwa n’akatono.

Yakuwa Annunula

Mu kiseera ekyo, nnayogera ne mikwano gyange enfunda eziwera ku bikwata ku Katonda n’ekigendererwa mu bulamu. Nnatandika okunoonya omuntu anannyamba okumanya Katonda. Nneetegereza nti Francisco, omu ku bakozi bannange, yali wa njawulo ku balala. Yali muntu musanyufu, mwesimbu, wa kisa, era bwe kityo nnasalawo okumweyabiza. Francisco yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, era yampa magazini ya Watchtower eyalimu ekitundu ekyogera ku kwekamirira amalagala.

Bwe nnamala okusoma magazini eyo, nnasaba Katonda okunnyamba: “Mukama, nkimanyi nti gy’oli, era njagala okukumanya n’okukola by’oyagala. Nkwegayiridde nnyamba!” Francisco n’Abajulirwa abalala baakozesa Baibuli okunzizaamu amaanyi era bampa n’ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Oluvannyuma nnakiraba nti baali bampa buyambi bwe nnali nsabye Katonda. Mangu ddala nnatandika okubuulirako mikwano gyange ne José Luis ku bye nnali njiga.

Lumu bwe twali tuva mu konsati n’abamu ku mikwano gyange, nneeyawula ku kibinja. Nnabatunuulira ne nkiraba nti empisa zaffe zaali zoonoonese nnyo olw’okunywa enjaga. Mu kaseera ako, nnasalawo okuva mu bulamu obwo nfuuke omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

Nnasaba Francisco okunfunira Baibuli, era yajimpa wamu n’akatabo akayitibwa The Truth That Leads to Eternal Life.a Bwe nnasoma ku kisuubizo kya Katonda eky’okusangula buli zziga n’okuggyawo okufa, ssaalina kubuusabuusa kwonna nti nnali nzudde amazima agasobola okufuula abantu ab’eddembe. (Yokaana 8:32; Okubikkulirwa 21:4) Bwe waayitawo ekiseera, nnagenda mu lukuŋŋaana olwali mu Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnakwatibwako nnyo olw’okwagala n’omukwano bye nnalabayo.

Olw’okuba nnali nkwatiddwako nnyo, nnayita José Luis n’emikwano gyange ne mbabuulira ku bye nnali ndabye mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Oluvannyuma lw’ennaku ntono, ffenna twagenda mu lukuŋŋaana. Omuwala eyali atutudde mu maaso yakyuka n’atutunuulira. Alabika yeekanga okulaba ekibinja ky’abasajja abalina agaviiri agawanvu, era teyaddamu kukyuka kutunula mabega. Ateekwa okuba nga yeewunya bwe twakomawo mu Kizimbe ky’Obwakabaka wiiki eyaddako nga tuli mu masuuti n’amataayi.

Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nze ne Miguel twagenda ku lukuŋŋaana lw’ekitundu olw’Abajulirwa ba Yakuwa. Twali tetulabanga ku bantu ab’emyaka egy’enjawulo nga bali wamu mu luganda olwa nnamaddala. Ekyewuunyisa kyali nti olukuŋŋaana olwo lwali mu kizimbe kye kimu omwali konsati gye twali twakamala okulaba. Naye ku mulundi guno, embeera gye twalimu n’ennyimba ze twawulira byatuzzaamu nnyo amaanyi.

Ffenna nga bwe twayitanga twatandika okuyiga Baibuli. Oluvannyuma lw’emyezi munaana, nga Jjulaayi 26, 1974, nze ne Miguel twabatizibwa. Ffembi twalina emyaka 20 egy’obukulu. Bannaffe abalala abana nabo baabatizibwa nga wayiseewo emyezi mitono. Bye nnayiga mu Baibuli byandeetera okutandika okuyamba maama wange ku mirimu gy’awaka n’okumubuulira ku nzikiriza yange empya. Twafuuka ba mukwano. Era nnafuba nnyo okuyamba baganda bange ne bannyinaze abato.

Nga wayise ekiseera, maama ne baganda bange bonna okuggyako omu, baayiga amazima ga Baibuli era ne babatizibwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu 1977, nnawasa Soledad. Oyo ye muwala oli omuto eyeekanga ng’atulabye ku mulundi gwe twasooka okugenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Mu myezi mitono, ffembi twafuuka bapayoniya, ng’Abajulirwa ba Yakuwa ababuulira ekiseera kyonna bwe bayitibwa.

Omwagalwa Ava Awazibu

Mwannyinaze omuto Mariví baamusobyako ng’akyali muto, era bw’atyo yayonooneka empisa. Ng’akyali mutiini, yatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okunywa enjaga, obubbi, n’okwetunda. Bwe yali aweza emyaka 23, yasibwa mu kkomera, kyokka era yagenda mu maaso n’empisa ze embi.

Mu kiseera ekyo, nnali nkola ng’omulabirizi w’ekitundu ow’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu 1989, nze ne Soledad twasindikibwa okuweereza mu kitundu omwali ekkomera Mariví gye yali yasibirwa. Abakulira ekkomera baali bamuggyeko omwana we; era kino kyali kyamunakuwazizza nnyo n’atuuka n’okwagala okwetta. Lumu nnamukyalira ne musaba ntandike okumusomesa Baibuli, era yakkiriza. Nga yaakasomera omwezi gumu, yalekera awo okunywa enjaga ne sigala. Kyansanyusa nnyo okulaba nti Yakuwa yamuwa amaanyi okukola enkyukakyuka zino mu bulamu bwe.​—Abaebbulaniya 4:12.

Oluvannyuma lw’okusomera ekiseera kitono, Mariví yatandika okubuulira basibe banne n’abakuumi b’ekkomera amazima ga Baibuli. Wadde nga yakyusibwanga okuva mu kkomera erimu okudda mu ddala, yagenda mu maaso n’okubuulira. Mu kkomera erimu yasobola n’okubuulira kaduukulu ku kaduukulu. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, Mariví yasoma Baibuli n’abasibe bangi mu makomera ag’enjawulo.

Lumu Mariví yaŋŋamba nti yali ayagala kwewaayo eri Yakuwa era abatizibwe. Kyokka teyaweebwa lukusa kufuluma kkomera, wadde omuntu okuyingira okumubatiza. Yagumiikiriza emyaka emirala ena ng’ali n’abantu ababi ennyo bwe batyo. Kiki ekyamuyamba okusigala nga munywevu mu kukkiriza? Ku ssaawa yennyini ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu ekyo we kyabereranga ne nkuŋŋaana, nga naye yeesomesa ebintu bye bimu ng’ali mu kaduukulu ke. Era yalina enteekateeka ey’okwesomesa Baibuli obutayosa awamu n’okusaba.

Nga wayise ekiseera, Mariví yatwalibwa mu kkomera eryali likuumibwa obutiribiri eryalina ekidiba omuwugirwa. Yawulira nti kati asobola okukkirizibwa okubatizibwa. Era ddala bwe kityo bwe kyali; Mariví yalwa ddaaki n’aweebwa olukusa okubatizibwa. Ekyo kye kyansobozesa okuwa emboozi ekwata ku kubatizibwa era ne mmubatiza. Nnali naye mu kiseera ekyali kisinga okuba ekikulu mu bulamu bwe.

Olw’enneeyisa ye ey’emabega, Mariví yalwala siriimu. Olw’okuba kati yali yeeyisa bulungi, yateebwa mu Maaki 1994 ng’ekiseera ekyali kyamusalirwa tekinnaggwako. Oluvannyuma lw’okuteebwa yabeera ne Maama era yali Mukristaayo munyiikivu okutuusa lwe yafa nga wayise emyaka ebiri.

Nnwanagana n’Endowooza Embi

Nange kennyini obulamu bwange obw’emabega bulina ebizibu bye bwandeetera. Engeri taata gye yambonyabonya n’empisa zange embi mu butiini birina kinene nnyo kye byankolako. Wadde nga kati nkuze, ntera okuwulira nti siri wa mugaso n’akamu era nga bye nnakola binnumiriza. Oluusi mbeera mwennyamivu nnyo. Naye Ekigambo kya Katonda kinnyambye nnyo okulwanyisa enneewulira zino. Okufumiitiriza enfunda n’enfunda ku Byawandiikibwa nga Isaaya 1:18 ne Zabbuli 103:8-13 kinnyambye okukendeeza ku nneewulira zino.

Okusaba kye eky’okulwanyisa ekirala eky’omwoyo kye nkozesa okulwanyisa enneewulira ezo embi. Emirundi mingi bwe mba nsaba Yakuwa, nneesanga nga nkulukuta amaziga. Kyokka ebigambo ebiri mu 1 Yokaana 3:19, 20 binzizizzaamu nnyo amaanyi: “Ku kino kwe tunaategeereranga nga tuli ba mazima ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge, mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna.”

Olw’okuba nsaba Katonda mu bwesimbu n’omutima “ogumenyese era oguboneredde,” nkimanyi nti siri mubi nga bwe nnali ndowooza mu kusooka. Baibuli ekakasa abo bonna abanoonya Yakuwa nti tanyooma abo abejjusa ebikolwa byabwe eby’edda era ne bakyuka okukola by’ayagala.​—Zabbuli 51:17.

Buli lwe ntandika okuwulira obubi, ngezaako okulowooza ku bintu ebirungi, ebintu eby’omwoyo ng’ebyo ebyogerwako mu Abafiripi 4:8. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 23 n’Okubuulira kw’Oku Lusozi nnabikwata bukusu. Ebirowoozo ebibi bwe binzijira, nnejjukanya Ebyawandiikibwa bino. Kino kinnyamba naddala bwe mba mbuliddwa otulo.

Ekirala ekinnyamba okuddamu amaanyi bye bigambo mukyala wange n’Abakristaayo abalala abakuze mu by’omwoyo bye baŋŋamba. Wadde nga mu kusooka kyanzibuwaliranga okukkiriza ebigambo byabwe ebizimba, Baibuli ennyambye okukitegeera nti okwagala “kukkiriza byonna.” (1 Abakkolinso 13:7) Ate era mpolampola ntegedde obunafu bwange era n’obusobozi bwange we bukoma.

Ku luuyi olulala, bye mpiseemu nga nnwana n’enneewulira embi binjigiriza okufaayo ku balala nga nkola omulimu gwange ng’omulabirizi w’ekitundu. Nze ne mukyala wange tumaze kumpi emyaka 30 nga tukola ng’ababuulizi b’amawulire amalungi ab’ekiseera kyonna. Essanyu lye nfuna mu kuweereza abalala linnyamba okweggyamu ebirowoozo ebibi.

Kati bwe ndowooza ku mikisa gyonna Yakuwa gy’ampadde, mpulira ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Weebaze Mukama, . . . asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; awonya endwadde zo zonna; anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; akussaako engule ey’ekisa n’okusaasira okulungi.”​—Zabbuli 103:1-4.

[Obugambo obuli wansi]

a Kaakubibwa Bajulirwa ba Yakuwa naye kati tekakyafulumizibwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 30]

Ntera okuwulira nga siri wa mugaso n’akamu era nga bye nnakola binnumiriza. Kyokka, Ekigambo kya Katonda kinnyambye nnyo okulwanyisa enneewulira zino

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]

José Luis ne Miguel baakoppa ekyokulabirako kyange ekibi n’ekirungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28, 29]

Morcillo n’ab’omu maka ge mu 1973

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Mariví ng’ali mu kkomera

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Nga ndi ne mukyala wange, Soledad

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share