Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
Lwaki omukazi eyali takyakiririza mu ddiini yonna kati akozesa ebiseera bingi okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Katonda? Kiki ekyaleetera omusajja eyali ayagala ennyo emizannyo egy’ettemu okufuuka omuntu ayagala emerembe? Omusajja eyali akozesa ebiragalalagala, anywa ennyo omwenge, era omulwanyi, yasobola atya okukyusa obulamu bwe? Soma olabe bo bennyini kye bagamba.
EBINKWATAKO
ERINNYA: PENELOPE TOPLICESCU
EMYAKA: 40
ENSI: AUSTRALIA
EBYAFAAYO: NNALI NNEETAMIDDWA EDDIINI
OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu Sydney, eky’omu Australia, naye bwe nnali nga mpeza emyaka ebiri gyokka, bazadde bange basengukira mu New Guinea. Twamala emyaka ng’ebiri mu Rabaul n’emyaka emirala munaana mu Bougainville. Mu biseera ebyo, tewaaliwo mukutu gwa ttivi mu New Guinea, bwe kityo nze ne mwannyinaze tetwabanga waka ebiseera ebisinga obungi, twabeeranga mu kuwuga ne mu bifo ebirala.
Bwe nnali nga nnaatera okuweza emyaka kkumi, nnatandika okwagala eby’eddiini. Maama wange yali Mukatuliki, era yaŋŋamba okugenda ew’omubiikira eyali abeera mu kitundu kyaffe anjigirize Baibuli. Nnakkiriza okufuuka Omukatuliki era ne mbatizibwa nga mpeza emyaka kkumi egy’obukulu.
Kyokka, nga tuzzeeyo mu Australia era nga nnyingidde emyaka gyange egy’obutiini, nnatandika okubuusabuusa enjigiriza z’eddiini yange. Bwe nnali mu siniya, nnasoma ebyafaayo eby’edda, era nze ne Taata wange twannyumyanga nnyo ku nsibuko y’eddiini era ne ku ebyo ebiri mu Baibuli bye twatwalanga okuba enfumo obufumo. N’ekyavaamu, nnakyawa eddiini y’Ekikatuliki.
Bazadde bange baayawukana nga nnina emyaka 16. Nnalemererwa okubeera ne Maama wange era oluvannyuma nnasalawo okubeera ne taata awamu ne muganzi we. Mwannyinaze yasigala ne Maama era baasengukira mu kitundu ekirala. Mu kiseera ekyo, nnali mu kiwuubaalo kya maanyi nnyo. Kyatwalira emyaka ebiri okuddamu okukolagana ne maama wange. Nnatandika okunywa ennyo omwenge, okukozesa ebiragalalagala, era n’okugenda mu binyumu. Nnalekera awo okusoma, ne nfuna omulimu, era egimu ku myaka gyange egy’obuvubuka nnagimala nga nneenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.
Bwe nnaweza emyaka 25, nnaddamu okulowooza ku Baibuli. Nnafuna omulimu omulala era ne nsisinkana Liene, omuwala omusanyufu eyayogeranga ne mukama we mu ngeri ey’eggonjebwa wadde nga yamukaayukiranga. Bwe nnamubuuza ensonga lwaki naye tamukaayukira, yaŋŋamba nti yali ayiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era nti yali agezaako okukolera ku misingi gya Baibuli. Liene yansaba okuyiga naye Baibuli. Olw’okuba nnali sitegedde ky’aŋŋambye, nnalowooza nti mu ssaawa emu yokka yali agenda kunjigiriza ebintu byonna bye yali ayize mu Baibuli. Mu kiro ekyo, Liene yamala essaawa ssatu nnambirira ng’addamu ebibuuzo byange ebikwata ku Baibuli. Kyannewuunyisa nnyo kubanga ebibuuzo byange byonna yabiddamu g’akozesa Ebyawandiikibwa.
Nzijukira nnali nvuga emmotoka ekiro ekyo nga nzirayo eka oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ne Liene era nga muli mpulira nnyiigidde Katonda olw’obutannyamba kuyiga mazima agamukwatako nga bukyali. Nnali nkimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa balina empisa ennungi era nnalowooza nti nnali sikyasobola kukyusa mu nneeyisa yange. Era nnalowooza nti sirisobola kubuulira nnyumba ku nnyumba ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe bakola. Nneeyongera okusoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, naye ng’ekigendererwa kyange kufuna kintu kikyamu kye bayigiriza nsobole okulekera awo okuyiga nabo Baibuli. Naye oluvannyuma nnalaba nga sijja kuzuula nsobi yonna mu njigiriza zaabwe.
ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Gye nnakoma okuyiga emitindo gya Baibuli egikwata ku mpisa, n’omuntu wange ow’omunda gye yakoma okunnumiriza. Okusobola okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, nnalekera awo okukozesa ebiragalalagala. Naye oluvannyuma nnasengukira mu nsi endala era ne nziramu okugenda mu binyumu n’okunywa ennyo omwenge. Buli lwe nnagezangako okutambuliza obulamu bwange ku misingi gya Baibuli, nneesanganga nzizeemu okwenyigira mu mize emibi. Ensonyi zankwatanga ne nsaba Yakuwa, naye era omuntu wange ow’omunda yasigalanga annumiriza.
Nnaganyulwa nnyo bwe nnayiga ku ngeri ey’ekisa Yakuwa gye yakwatamu Kabaka Dawudi ng’ayenze ne Basuseba. Dawudi yakkiriza ensobi ye ng’awabuddwa, era teyagezaako kwewolereza. N’obuwoombeefu, yakkiriza okukangavvula okwamuweebwa. (2 Samwiri 12:1-13) Buli lwe nnaddangamu okukola ensobi, nnalowoozanga ku Dawudi era kino kyannyamba okwanguyirwa okwetondera Yakuwa. Era nnasalawo okusabanga nga sinnagwa mu kikemo mu kifo ky’okusabanga nga mmaze okukigwamu, era kino kyannyamba nnyo.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nalinanga obusungu bungi. Naye ekyawandiikibwa ekiri mu Abeefeso 4:29-31 kyannyamba okwewala ‘okusiba ekiruyi, okunyiiga, n’okusunguwala.’ Bwe nnayiga okufuga obusungu, nnayiga n’okufuga olulimi lwange. Okugatta ku ekyo, ebigambo bya Yesu nti “ekigambo kyammwe Yee kibeerenga Yee” byannyamba okufuuka omuntu asalawo.—Matayo 5:37.
Maama wange, mu kusooka eyali tayagala nkolagane n’Abajulirwa ba Yakuwa, oluvannyuma yaŋŋamba nti yali anneenyumiririzaamu. Era yatuuka n’okugamba nti, “Mmanyi nti ekyo ky’oli tekivudde ku ngeri gye wakuzibwamu, naye kivudde ku ebyo by’oyize ku Yakuwa.” Kyansanyusa nnyo okumuwulira ng’ayogera bw’atyo.
Kati mpulira nnina ekigendererwa mu bulamu. Okumala emyaka mwenda, nze n’omwami wange tubadde tukozesa ebiseera byaffe byonna okuyigiriza abantu Baibuli. Yee, mbuulira nnyumba ku nnyumba, era mpulira nga guno gwe mulimu ogusingayo okuba omulungi mu gyonna gye nnali nkoze.
EBINKWATAKO
ERINNYA: DENIS BUSIGIN
EMYAKA: 30
ENSI: RUSSIA
EBYAFAAYO: NNALI MUZANNYI WA KARATI
OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu kibuga Perm’ era ne nkulira mu Furmanov, ekibuga ekirimu abantu nga 40,000, ekiri mu kitundu ekiyitibwa Ivanovo eky’omu Russia. Ekibuga Furmanov kirabika bulungi nnyo era kirimu emiti egirabika obulungi egiba ne langi eya kyenvu n’emmyufu mu kiseera ekya ddumbi. Mu myaka gya 1980 n’egya 1990, ebikolwa eby’obukambwe byacaaka nnyo mu kibuga ekyo. Bazadde bange baali baavu. Nze ne bazadde bange awamu ne muto wange twasulanga mu kisenge kimu ekifunda.
Bwe nnaweza emyaka musanvu, nnatandika okuyiga okuzannya karati. Nnayagala nnyo omuzannyo ogwo era nnagwemalirako nnyo. Ebiseera byange byonna eby’eddembe nnabimaliranga ku muzannyo ogwo era mikwano gyange bonna baali bannabyamizannyo. Ku myaka 15, nnawangula omusipi omumyufu mu kuzannya karati, era nga wayiseewo omwaka gumu, nnawangula omulala ogwa kitaka. Nnali omu ku bazannyi abaali mu ttiimu ya karati eyavuganya mu Russia ne mu Eurasia. Ebiseera byange eby’omu maaso byalabika ng’ebitangaavu, naye bwe nnaweza emyaka 17 obulamu bwange bwakyuka.
Nze ne mikwano gyange twazza omusango era ne batusiba. Bansalira ekibonerezo kya kusibibwa emyaka ebiri. Obulamu bwali buzibu nnyo mu kkomera. Naye, mu kkomera gye nnasookera okulaba ku Baibuli. Nnasoma ekitabo ky’Olubereberye, Zabbuli, n’Endagaano Empya. Nnakwata bukusu essaala ya Mukama waffe era nnagiddiŋŋananga buli kiro nga sinnagenda kwebaka nga ndowooza nti kino kiyinza okunnyamba.
Mu 2000, nnasumululwa okuva mu kkomera, naye nnali simanyi kya kukola era obulamu bwange tebwalina kigendererwa. Nnatandika okukozesa ebiragalalagala. Mu kiseera ekyo maama wange we yafiira. Maama ye muntu gwe nnali nsinga okwagala, era okufa kwe kwandeetera ennaku ya maanyi. Wadde kyali kityo, nnasobola okulekayo okukozesa ebiragalalagala era ne nziramu okuzannya karati. Era nnasengukira mu kibuga Ivanovo. Nga ndi eyo, nnafuna omulimu mu dduuka eritunda eby’okulya. Eyali akulira edduuka eryo yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Yannyinnyonnyola ezimu ku njigiriza za Baibuli ezisookerwako, era n’anfunira Omujulirwa omulala eyanjigirizanga Baibuli obutayosa.
ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Bwe nnali nga njiga Baibuli, nnakwatibwako nnyo bwe nnakitegeera nti Katonda alina ekigendererwa eky’okufuula ensi olusuku lwe, era nnayagala nnyo okuba omu ku abo abanaabeera mu lusuku olwo. Nga wayiseewo akaseera katono, nnakitegeera nti Yakuwa Katonda alina emitindo egya waggulu gy’ayagala abantu bagoberere. Nnali mazze emyaka mingi nga nneerowoozaako nzekka. Naye nnakitegeera nti Yakuwa ayagala ndowooze ne ku bantu abalala era nkulaakulanye engeri ennungi ze nnali sirina mu kiseera ekyo, gamba ng’ekisa n’okwagala emirembe.
Bwe nnatandika okulowooza ennyo ku ebyo byonna Yakuwa bye yali ankoledde, gamba ng’okuwaayo Omwana we nga ssaddaaka olw’ebibi byange, okusiima kwe nnalina eri okwagala kwa Katonda kwandeetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Ng’ekyokulabirako, nnayiga okuva mu Zabbuli 11:5 nti Yakuwa akyawa ettemu. N’olwekyo nnalekera awo okulaba programu za ttivi ezikubiriza ettemu n’obukyayi. Newakubadde nga tekyali kyangu gyendi, nnalekera awo okuzannya emizannyo egy’ettemu. Omusingi oguli mu 1 Abakkolinso 15:33 gwannyamba okukimanya nti abo benfuula mikwano gyange egy’oku lusegere balina kinene nnyo kye bayinza okunkolako. Eky’okuba nti nze n’emikwano gyange twali tusibiddwako mu kkomera, kyalaga obutuufu bw’omusingi ogwo. N’olwekyo, nnasalawo okwekutula ku abo abaali benyigira mu mizannyo egy’ettemu.
ENGERI GYE ŊŊANNYUDDWAMU: Okukuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa n’okuyiga Baibuli binnyambye okufuuka omuntu omwesigwa. Ng’ekyokulabirako, nnayiga okuva mu Abebbulaniya 13:5 nti nsaanidde okuba omumativu n’ebyo bye nnina era n’okweggyamu omwoyo gw’okwagala ennyo ssente. Okukolera ku magezi gano kinnyambye okulekera awo okulimba n’okubba.
Bulijjo mbadde njagala nnyo okuba n’emikwano. Naye ndabye ab’emikwano nga bakyawagana olw’okuba n’omululu oba olw’okutya. Abajulirwa ba Yakuwa tebatuukiridde, naye nkitegedde nti bassa ekitiibwa mu mitindo gya Katonda era bafuba nnyo okukolera ku misingi gya Baibuli nga bakolagana n’abalala. Kati nfunye emikwano emirungi mu Bajulirwa ba Yakuwa.
Simanyi bwe nnandibadde singa saayiga kutambuliza bulamu bwange ku mitindo gya Baibuli. Oboolyawo nnandizzeemu okusibibwa oba okuleetera abalala obulumi n’okubonaabona. Kaakano nnina omukyala omwagalwa ne batabani bange babiri, era ffenna ng’amaka tunyumirwa nnyo okuyamba abalala okuyiga amazima agakwata ku Katonda.
EBINKWATAKO
ERINNYA: JOSÉ CARLOSPEREIRA DA SILVA
EMYAKA: 31
ENSI: BRAZIL
EBYAFAAYO: NNALI MULWANYI
OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnakulira mu kifo ekirimu amayumba ag’omugoteko ekiri mu São Paulo eky’omu Americana. Ekifo kino kyali kijama nnyo era nga tekiriimu mazzi mayonjo. Kyali kimanyiddwa okubaamu ebikolwa eby’ettemu era n’obumenyi bw’amateeka.
Nnakula njagala nnyo okulwana era nga ndi mukambwe. Nnateranga okulwana n’abantu b’omu kitundu, era bangi bantyanga nnyo. Ennyambala yange, endabika, ne nneeyisa yange byayolekanga nti ndi wa mutawaana. Emirundi egisinga obungi, nnanywanga nnyo omwenge ne ntuuka n’okuba nga sikyategeera. Okufaananako baganda bange, nnakozesanga ebiragalalagala. Mu butuufu, omu ku baganda bange yafa olw’okukozesa ebiragalalagala ebingi.
ENGERI BAIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Bwe nnasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, bandaga okuva mu Baibuli nti Katonda agenda kufuula ensi yonna olusuku lwe. (Lukka 23:42, 43; Okubikkulirwa 21:3, 4) Era nnayiga nti abafu tebaliiko kye bamanyi, n’olwekyo Katonda tabonereza bantu babi mu muliro ogutazikira. (Omubuulizi 9:5, 6) Kino kyandeetera obuweerero bwa maanyi. Ebyo bye nnayiga ku Katonda byandeetera okwagala ennyo okukyusa obulamu bwange. Naye tekyali kyangu gyendi—okulekayo okukozesa ebiragalalagala, okunywa ennyo omwenge, okulwana, era n’okukozesa olulimi olubi.
Wadde kyali kityo, ebigambo by’omutume Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 6:9-11 byanzizaamu nnyo amaanyi. Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti abamu ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka beenyigiranga mu bikolwa ebibi ebifaananako ebyange nga tebannafuuka Bakristaayo. Naye ekyawandiikibwa ekyo kyongera ne kigamba nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo. Naye kaakano munaaziddwa, mutukuziddwa, era muyitiddwa batuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo era n’omwoyo gwa Katonda waffe.” Ebigambo ebyo byampa essuubi nti nange nnandisobodde okukyusa obulamu bwange ne nsanyusa Katonda.
Bwe nnatandika okukuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnakikakasizza ddala nti be bali mu ddiini ey’amazima. Baali bamanyi enneeyisa yange ey’emabega, kyokka bannyaniriza n’essanyu nga ŋŋenze mu nkuŋŋaana zaabwe.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Singa saayiga Baibuli era ne nkyusa obulamu bwange, kati oboolyawo nnandibadde nnafa dda. Mu kifo ky’ekyo, nfunye essanyu olw’okuyamba omu ku baganda bange okuyiga Baibuli era n’okwekutula ku muze ogw’okukozesa ebiragalalagala. Era nkubirizza n’ab’eŋŋanda zange abalala okutandika okuyiga Baibuli. Ndi musanyufu nnyo olw’okuba nsobodde okwewaayo okuweereza Katonda, oyo atufaako ennyo!
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 9]
“Nnasalawo okusabanga nga sinnagwa mu kikemo mu kifo ky’okusabanga nga mmaze okukigwamu, era kino kyannyamba nnyo.”