Abasomi Baffe Babuuza
Obwakabaka bwa Katonda Buli mu Mutima Gwo?
Abantu bangi leero bakkiriza nti eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kiri nti yee. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ekiyitibwa The Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda y’engeri . . . Katonda gy’afugamu mu mitima gyaffe.” Abakulembeze b’eddiini bwe batyo bwe bayigiriza. Ddala Baibuli eyigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu?
Abamu balowooza nti Yesu kennyini ye yasooka okuyigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu. Kituufu nti Yesu yagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.” (Lukka 17:21) Enkyusa ezimu mu lunyiriri luno zigamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda buli munda ya mmwe.” Enkyusa ezo kye zoogera ky’ekyo Yesu kye yali ategeeza? Ddala yali ategeeza nti Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu?
Okusooka, lowooza ku mutima gw’omuntu. Mu Baibuli, omutima ogw’akabonero gutegeeza omuntu ky’ali munda, endowooza ye n’engeri gye yeewuliramu. Ekintu eky’ettendo ng’Obwakabaka bwa Katonda obusobola okukyusa omuntu n’okumufuula ow’ekitiibwa okuba nti bubeera mu mutima kiyinza okuwulikika ng’ekirungi, naye ddala kisoboka?
Baibuli etubuulira nti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.” (Yeremiya 17:9) Yesu kennyini yagamba nti: “Munda, mu mitima gy’abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi.” (Makko 7:20-22) Lowooza ku kino: Mu mitima gy’abantu aboonoonyi si mwe muva okubonaabona okungi kwe tulaba mu nsi leero? Kati olwo Obwakabaka bwa Katonda obutuukiridde busobola butya okusibuka mu mitima egifaanana bwe gityo? Mu butuufu, ng’obusaana bwe butasobola kubala ttiini, n’omutima gw’omuntu tegusobola kusibukamu Bwakabaka bwa Katonda.—Matayo 7:16.
Ekyokubiri, lowooza ku bantu Yesu be yagamba ebigambo ebiri mu Lukka 17:21. Olunyiriri oluvaako lugamba: “Bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bujja ddi? n’abaddamu.” (Lukka 17:20) Abafalisaayo baali balabe ba Yesu. Yesu yagamba nti bannanfuusi abo tebaali ba kuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 23:13) Bwe kiba nti Abafalisaayo tebaali ba kuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda, Obwakabaka bwali busobola okubeera mu mitima gyabwe? N’akatono! Kati olwo Yesu yali ategeeza ki?
Mu kuvvuunula ebigambo bya Yesu ebyo, enkyusa za Baibuli eziwerako zikozesa ebigambo ebifaananako ebyo ebisangibwa mu nkyusa eyitibwa New World Translation. Ezimu zigamba nti Obwakabaka buli “wakati mu mwe.” Mu ngeri ki Obwakabaka bwa Katonda gye bwali wakati mu bantu b’omu kiseera ekyo, nga mw’otwalidde n’Abafalisaayo? Yesu y’oyo Yakuwa Katonda gwe yalonda okuba Kabaka w’Obwakabaka bwe. Ng’oyo eyali alondeddwa okuba Kabaka, Yesu yali wakati mu bantu abo. Yayigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda era n’akola n’ebyamagero, ng’abalaga ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukola. Mu ngeri eyo, Obwakabaka bwali wakati mu bo.
Kyeyoleka bulungi nti mu Byawandiikibwa temuli njigiriza egamba nti Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu. Mu kifo ky’ekyo, Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala ejja okuleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi, nga bannabbi bwe baagamba.—Isaaya 9:6, 7; Danyeri 2:44.