“Fubanga Okutuukiriza Obuweereza Bwe Wakkiriza mu Mukama Waffe”
“Fubanga okutuukiriza obuweereza bwe wakkiriza mu Mukama waffe.”—BAK. 4:17, NW.
1, 2. Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bwe balina eri abantu?
TULINA obuvunaanyizibwa obw’amaanyi eri abantu abatwetoolodde. Kye basalawo okukola kati kye kijja okubaviirako okuwonawo oba okuzikirizibwa mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Kub. 7:14) Omuwandiisi w’ekitabo ky’Engero yagamba nti: “Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa, n’abo abagenda okuttibwa obalekanga.” Mazima ddala ebigambo ebyo bikulu nnyo! Singa tulemererwa okulabula abantu tuyinza okuvunaanibwa omusaayi gwabwe. Mu butuufu omuwandiisi yeeyongera n’agamba nti: “Bw’onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino: oyo apima emitima takirowooza? N’oyo akuuma emmeeme yo takimanyi? Era talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?” Kya lwatu, abaweereza ba Yakuwa tebasobola kugamba nti ‘tebamanyi’ kabi abantu ke boolekedde.—Nge. 24:11, 12.
2 Obulamu Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. Akubiriza abaweereza be okufuba ennyo okuwonyawo obulamu bw’abantu bangi nga bwe kisoboka. Buli muweereza wa Katonda ateekwa okulangirira obubaka obusobola okuwonyawo obulamu bw’abantu obuli mu Kigambo kya Katonda. Omulimu gwaffe gufaananako ogw’omukuumi alabula abalala nga waliwo akabi k’alengedde. Tetwagala musaayi gw’abo aboolekedde okuzikirizibwa kubeera ku mitwe gyaffe. (Ez. 33:1-7) N’olwekyo, nga kikulu nnyo ddala ffe okweyongera ‘okubuulira ekigambo’ n’obunyiikivu!—Soma 2 Timoseewo 4:1, 2, 5.
3. Nsonga ki ekitundu kino n’ebyo ebibiri ebiddako ze bigenda kwogerako?
3 Ekitundu kino kigenda kunnyonnyola engeri gy’oyinza okuvvuunuka ebizibu by’osanga mu buweereza bwo n’engeri gy’oyinza okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka. Ekitundu ekiddako kijja kunnyonnyola engeri gy’osobola okufuuka omusomesa omulungi. Ekitundu eky’okusatu kijja kututegeeza ku bibala ebimu ebizzaamu amaanyi ebivudde mu mulimu gw’abalangirizi b’Obwakabaka okwetooloola ensi. Kyokka, nga tetunnaba kwetegereza nsonga ezo, ka tusooke twejjukanye ensonga lwaki ebiseera bye tulimu bikulu nnyo.
Ensonga Lwaki Bangi Tebalina Ssuubi
4, 5. Olulyo lw’omuntu lwolekaganye na ki, era abantu bangi bakwatiddwako batya?
4 Ebiriwo mu nsi biraga nti tuli mu ‘mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu’ era nti enkomerero eri kumpi. Olulyo lw’omuntu lwolekaganye n’embeera Yesu n’abayigirizwa be ze baagamba nti zandibaddewo mu “nnaku ez’oluvannyuma.” Olulyo lw’omuntu luli mu ‘kulumwa,’ nga kuno kuzingiramu entalo, ebbula ly’emmere, musisi, n’ebizibu ebirala. Obumenyi bw’amateeka, okwefaako, n’obutatya Katonda bicaase nnyo. N’eri abantu abagezaako okugondera emitindo gya Baibuli, bino ‘biro bya kulaba nnaku.’—Mat. 24:3, 6-8, 12, NW; 2 Tim. 3:1-5.
5 Kyokka, abantu abasinga obungi tebategeera lwaki ebintu bino weebiri mu nsi. Era kati abantu bangi beeraliikirira olw’ekyo ekiyinza okubatuukako n’ab’omu maka gaabwe. Okufiirwa abaagalwa baabwe oba okufuna ebizibu ebirala eby’amaanyi kireetedde bangi okubeera mu nnaku etagambika. Nga tebategeerera ddala lwaki ebintu ng’ebyo weebiri era n’engeri gye biyinza okuggwaawo, abantu bano tebalina ssuubi.—Bef. 2:12.
6. Lwaki ‘Babulooni Ekinene’ tekisobodde kuyamba bagoberezi baakyo?
6 ‘Babulooni Ekinene,’ nga ze ddiini ez’obulimba zonna eziriwo mu nsi, tekirina kye kikozeewo okubudaabuda abantu. Mu kifo ky’ekyo, ‘olw’omwenge gw’obwenzi bwakyo’ kibuzaabuza abantu bangi nnyo mu by’omwoyo. Ate era, okufaananako ‘omukazi omwenzi, eddiini ez’obulimba zisenzesenze “bakabaka b’ensi” ne zibatambuliza ku ntoli zaago nga zeeyambisa enjigiriza ez’obulimba n’ebikolwa eby’obusamize. Mu ngeri eyo eddiini ez’obulimba zeeyongedde okufuna amaanyi n’obuyinza, kyokka ate mu kiseera kye kimu ne zigaanira ddala amazima ga Baibuli.—Kub. 17:1, 2, 5; 18:23.
7. Kiki ekijja okutuuka ku basinga obungi, naye abamu bayinza batya okuyambibwa?
7 Yesu yagamba nti abantu abasinga obungi bali mu kkubo eggazi erigenda mu kuzikirira. (Mat. 7:13, 14) Abantu abamu bali mu kkubo eryo eggazi olw’okuba bagaanyi mu bugenderevu ekyo Baibuli ky’eyigiriza, naye abalala bangi bali mu kkubo eryo olw’okuba balimbiddwa oba tebategeezeddwa kiki ddala Yakuwa ky’abeetaagisa. Oboolyawo abamu bandisobodde okukyusa enneeyisa yaabwe singa baweebwa ensonga ezimatiza okuva mu Byawandiikibwa. Kyokka, abo abasigala mu Babulooni Ekinene era ne bagaana okutambulira ku mitindo gya Baibuli tebajja kuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’—Kub. 7:14.
Weeyongere Okubuulira “Awatali Kuddirira”
8, 9. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakola ki bwe baayigganyizibwa, era lwaki?
8 Yesu yagamba nti abagoberezi be baali bakubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) N’olwekyo, okuviira ddala emabega n’okutuusa kaakati Abakristaayo ab’amazima babadde batwala eky’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira okuba ekikolwa ekyoleka okukkiriza n’obwesigwa bwabwe eri Katonda. Eno ye nsonga lwaki abagoberezi ba Yesu abaasooka beeyongera okubuulira wadde nga baali boolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi. Beesiga Yakuwa okubawa amaanyi, ne bamusaba okubayamba “bagume nnyo okwogeranga ekigambo [kye].” Yakuwa yaddamu okusaba kwabwe n’abajjuza omwoyo omutukuvu, era ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.—Bik. 4:18, 29, 31.
9 Bwe baatandika okukolebwako ebikolwa eby’obukambwe, abagoberezi ba Yesu baalekera awo okubuulira amawulire amalungi? N’akatono. Nga basunguwavu olw’okubuulira kw’abatume, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baakwata abatume ne babatiisatiisa era ne babakuba emiggo. Kyokka, abatume “beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu awatali kuddirira.” Baali bakimanyi bulungi nti ‘bateekwa okuwulira Katonda okusinga abantu.’—Bik. 5:28, 29, 40-42, NW.
10. Bizibu ki Abakristaayo bye boolekagana nabyo, kyokka kiki ekiyinza okuva mu mpisa zaabwe ennungi?
10 Abaweereza ba Katonda abasinga obungi leero tebakubwangako oba okusibwa mu kkomera olw’okubuulira. Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima bonna boolekagana n’ebigezo awamu n’ebizibu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, omuntu wo ow’omunda atendekeddwa Baibuli ayinza okukuleetera okweyisa mu ngeri eyinza obutasanyusa balala oba okulabika nti oli wa njawulo nnyo ku balala. Bakozi banno, bayizi banno, oba baliraanwa bo bayinza okukitwala nti oliko ekikyamu olw’okuba otambulira ku misingi gya Baibuli. Kyokka, endowooza yaabwe enkyamu tesaanidde kukumalamu maanyi. Ensi eri mu kizikiza eky’eby’omwoyo, naye Abakristaayo bateekwa “[okwakaayakana] ng’ettabaaza.” (Baf. 2:15) Oboolyawo abantu abamu ab’omutima omulungi abakulaba bajja kusiima ebikolwa byo ebirungi era batendereze Yakuwa olw’ekyo.—Soma Matayo 5:16.
11. (a) Abamu bayinza kukukola ki olw’okuba weenyigira mu kubuulira? (b) Omutume Pawulo yayolekagana na kuyigganyizibwa kwa ngeri ki, era yakola atya?
11 Kitwetaagisa okuba abavumu okusobola okweyongera okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. Abamu, nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda zo, bayinza okukusekerera oba okugezaako okukumalamu amaanyi nga bayitira mu ngeri endala. (Mat. 10:36) Emirundi mingi omutume Pawulo yakubibwa olw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Naye weetegereze kye yagamba: “Bwe twamala okubonaabona n’okugirirwa ekyejo . . . ne tugumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi.” (1 Bas. 2:2) Mazima ddala Pawulo kyali kimwetaagisa okuba omuvumu ennyo okusobola okweyongera okubuulira amawulire amalungi oluvannyuma lw’okukwatibwa, okwambulwa, okukubibwa emiggo, n’okusibibwa mu kkomera. (Bik. 16:19-24) Kiki ekyamuwa obuvumu obwo? Olw’okuba yali ayagala nnyo okutuukiriza omulimu gw’okubuulira Katonda gwe yali amuwadde.—1 Kol. 9:16.
12, 13. Bizibu ki abamu bye boolekagana nabyo, era bagezezaako batya okubivvuunuka?
12 Era kiyinza obutaba kyangu okusigala nga tuli banyiikivu bwe tuba tubuulira mu bitundu omuli abantu abateefiirayo ku bubaka bw’Obwakabaka, oba gye tutatera kusanga bantu waka. Tuyinza kukola ki mu mbeera ng’ezo? Kiyinza okutwetaagisa okufuna obuvumu obw’enjawulo okubuulira abantu mu bifo ebirala yonna gye tuba tubasanze. Kiyinza n’okutwetaagisa okukyusakyusa mu biseera bye tubuuliriramu oba bwe tuba tubuulira essira ne tusinga kuliteeka ku bifo gye tusobola okusanga abantu abasinga obungi.—Geraageranya Yokaana 4:7-15; Ebikolwa 16:13; 17:17.
13 Obukadde n’obulwadde bye bizibu ebirala bangi bye boolekagana nabyo ebiyinza okubalemesa okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nga bwe bandyagadde. Bw’oba ng’oli mu mbeera ng’eyo, toggwaamu maanyi. Yakuwa amanyi bulungi obusobozi bwo we bukoma era asiima kyonna ky’oba osobodde okukola. (Soma 2 Abakkolinso 8:12.) Ka kibe kizibu ki ky’oyolekaganye nakyo—kuyigganyizibwa, bantu buteefiirayo, oba bulwadde—kola kyonna ky’osobola okubuulira abalala amawulire amalungi.—Nge. 3:27; Geraageranya Makko 12:41-44.
‘Fubanga Okutuukiriza Obuweereza Bwo’
14. Kyakulabirako ki omutume Pawulo kye yateerawo Bakristaayo banne, era yababuulirira atya?
14 Omutume Pawulo yali munyiikivu nnyo mu buweereza bwe, era yakubiriza bakkiriza banne nabo okuba abanyiikivu. (Bik. 20:20, 21; 1 Kol. 11:1) Omu ku abo Pawulo be yazzaamu amaanyi mu ngeri ey’enjawulo yali Alukipo, Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka. Mu bbaluwa ye eri Abakkolosaayi, Pawulo yawandiika nti: “Mugambe Alukipo nti: ‘Fubanga okutuukiriza obuweereza bwe wakkiriza mu Mukama waffe.’” (Bak. 4:17, NW) Tetulina bingi bye tutegeezebwa ku Alukipo oba ku mbeera ze yalimu okuggyako nti yali akkirizza omulimu gw’okubuulira. Bw’oba ng’oli Mukristaayo eyeewaddeyo eri Katonda, naawe okkirizza omulimu gw’okubuulira. Ofuba okulaba nti otuukiriza obuweereza bwo?
15. Okwewaayo okw’Ekikristaayo kuzingiramu ki, era kino kireetawo bibuuzo ki?
15 Nga tetunnabatizibwa, twasooka kwewaayo eri Yakuwa nga tumutuukirira mu kusaba. Ekyo kyali kiraga nti tuli bamalirivu okukola by’ayagala. N’olwekyo kirungi kati okwebuuza nti, ‘Ddala okukola Katonda by’ayagala kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwange?’ Tuyinza okuba n’obuvunaanyizibwa obutali bumu Yakuwa bw’atusuubira okutuukiriza—gamba ng’okulabirira ab’omu maka gaffe. (1 Tim. 5:8) Naye tukozesa tutya ebiseera byaffe ebirala awamu n’amaanyi gaffe? Kiki kye tukulembeza mu bulamu?—Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15.
16, 17. Biki Abakristaayo abavubuka oba abo abatalina buvunaanyizibwa bwa maanyi bye bayinza okulowoozaako?
16 Oli muvubuka Omukristaayo omubatize amalirizza oba anaatera okumaliriza emisomo gye? Bwe kiba kityo, oyinza okuba nga tonnaba kufuna buvunaanyizibwa bwa maanyi obw’okulabirira amaka. Kati olwo kiki ky’otegese okukola mu bulamu bwo? Kiki ky’onookola okusobola okutuukiriza Yakuwa by’ayagala nga bwe wasuubiza? Bangi bakoze enteekateeka okuweereza nga bapayoniya, era bafunye essanyu lingi olw’okukola batyo.—Zab. 110:3; Mub. 12:1.
17 Oboolyawo oli muvubuka alina omulimu ogw’ekiseera kyonna naye nga tonnafuna buvunaanyizibwa bwa maanyi okuggyako obw’okweyimirizaawo gwe kennyini. Awatali kubuusabuusa onyumirwa okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina okusinziira ku biseera by’olina. Naye oboolyawo oyinza n’okufuna essanyu erisingako awo? Olowoozezza ku kugaziya obuweereza bwo? (Zab. 34:8; Nge. 10:22) Mu bitundu ebimu, ekyaliyo omulimu munene ogwetaaga okukolebwa okusobola okutuusa obubaka obuwonya obulamu ku buli muntu. Osobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo, oboolyawo n’ogenda mu kitundu awali obwetaavu obusingako obw’abalangirizi b’Obwakabaka?—Soma 1 Timoseewo 6:6-8.
18. Nkyukakyuka ki Kevin ne Elena ze baakola era biki ebyavaamu?
18 Lowooza ku kyokulabirako kya Kevin ne Elena ab’omu Amerika.a Ng’abantu abalala bonna abaakafumbirwa mu kitundu kyabwe bwe batera okukola, Kevin ne Elena baawulira nga balina okugula ennyumba. Bombi baalina emirimu egy’ekiseera kyonna era nga basobola okuba mu bulamu obulungi. Naye, emirimu egyo n’ebirala bye baalina okukola awaka byabamalangako obudde ne kiba nti tebasobola kwenyigira mu buweereza bw’ennimiro mu bujjuvu. Baakizuula nti ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe kumpi byonna baali babimalira ku bya bugagga byabwe. Kyokka bwe beetegereza essanyu lya bapayoniya abafumbo abataalina bintu bingi, Kevin ne Elena baasalawo okukyusa endowooza yaabwe ku kye baali batwala ng’ekikulu mu bulamu. Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa okubawa obulagirizi, baatunda ennyumba yaabwe ennene ne badda mu nnyumba entonotono. Elena yakendeeza ku ssaawa ez’okukola era n’afuuka payoniya. Kevin naye bwe yalaba ebirungi mukazi we bye yafunanga mu buweereza yasalawo okuleka omulimu gwe ogw’ekiseera kyonna n’atandika okuweereza nga payoniya. Oluvannyuma lw’ekiseera, baasengukira mu nsi emu eri mu Amerika ow’Obukiika Ddyo awali obwetaavu obusingako obw’ababuulizi b’Obwakabaka. Kevin agamba nti: “Twali basanyufu mu bufumbo bwaffe, naye bwe tweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, essanyu lyaffe lyeyongerera ddala nnyo.”—Soma Matayo 6:19-22.
19, 20. Lwaki okubuulira amawulire amalungi gwe mulimu ogusingayo obukulu leero?
19 Okubuulira amawulire amalungi gwe mulimu ogusingayo obukulu ogukolebwa ku nsi leero. (Kub. 14:6, 7) Guleetera erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa. (Mat. 6:9) Buli mwaka abantu bangi nnyo balongoosa obulamu bwabwe oluvannyuma lw’okukkiriza obubaka bwa Baibuli, era kino kiyinza okubaviiramu obulokozi. Naye, omutume Pawulo yabuuza nti, “baliwulira batya awatali abuulira?” (Bar. 10:14, 15) Mazima ddala walina okubaawo ababuulira? Lwaki tofuba okukola kyonna ky’osobola okutuukiriza obuweereza bwo?
20 Engeri endala gy’oyinza okuyambamu abantu okutegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu n’ebinaava mu kye basalawo, kwe kulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. Ekitundu ekiddako kijja kunnyonnyolwa engeri gy’oyinza okulongoosa okuyigiriza kwo.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa
Wandizzeemu Otya?
• Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bwe balina eri abantu?
• Tusobola tutya okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira?
• Tusobola tutya okutuukiriza obuweereza bwe twakkiriza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Kyetaagisa obuvumu okubuulira nga waliwo okuyigganyizibwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Kiki ky’oyinza okukola singa ekitundu ky’obuuliramu abantu tebatera kusangibwa waka?