LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 7/15 lup. 7-11
  • Okuvvuunuka Obuzibu Bwe Tuwulira nga Tubuulira Nnyumba ku Nnyumba

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuvvuunuka Obuzibu Bwe Tuwulira nga Tubuulira Nnyumba ku Nnyumba
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okufuna Obuvumu
  • Okutandika Okwogera n’Omuntu ku Baibuli
  • Obukulu bw’Okuwuliriza Obulungi
  • Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu
  • ‘Yogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Koppa Yesu ng’Obuulira n’Obuvumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba—Lwaki Kikulu Nnyo Leero?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Obuulira n’Obuvumu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 7/15 lup. 7-11

Okuvvuunuka Obuzibu Bwe Tuwulira nga Tubuulira Nnyumba ku Nnyumba

“Twafuna obuvumu okuva eri Katonda waffe ne tubabuulira amawulire ga Katonda amalungi mu kufuba okw’amaanyi ennyo.”​—1 BAS. 2:2, NW.

1. Bizibu ki Yeremiya bye yayolekagana nabyo, era yasobola atya okubyaŋŋanga?

YEREMIYA yalina enneewulira ng’ezaffe. Yakuwa bwe yamulonda okuba “nnabbi eri amawanga,” yagamba nti: “Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.” Wadde kyali kityo, Yeremiya yeesiga Yakuwa era yakkiriza okukola omulimu ogwo. (Yer. 1:4-10) Okumala emyaka egissuka mu 40, yagumira okusekererwa, okuyigganyizibwa era n’obubaka bwe abantu baabusambajja. (Yer. 20:1, 2) Ebiseera ebimu yawuliranga ng’ayagala kulekulira mulimu gwe. Kyokka, yagenda mu maaso n’okulangirira obubaka wadde ng’abantu abasinga baali tebeefiirayo. Katonda yamuwa amaanyi n’asobola okutuukiriza omulimu gwe.​—Soma Yeremiya 20:7-9.

2, 3. Abaweereza ba Katonda leero boolekagana batya n’embeera efaananako eya Yeremiya?

2 Abaweereza ba Katonda bangi bawulira nga Yeremiya bwe yawulira. Abamu ku ffe bwe twalowoozanga ku ky’okubuulira nnyumba ku nnyumba, twagambanga nti, ‘Ekyo nze siyinza kukikola.’ Naye bwe twakimanya nti Yakuwa ayagala tulangirire amawulire amalungi, twafuba okweggyamu okutya era ne tutandika okubuulira n’obunyiikivu. Wadde kyali kityo, abamu ku ffe ebiseera ebimu twawulira nga kituzibuwalira okugenda okubuulira. Ekituufu kiri nti si kyangu kutandika kubuulira nnyumba ku nnyumba era ne tunywerera ku mulimu guno okutuukira ddala ku nkomerero.​—Mat. 24:13.

3 Watya ng’obadde oyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa okumala ekiseera era ng’obeerawo ne mu nkuŋŋaana, naye ng’otya okutandika okubuulira nnyumba ku nnyumba? Oba, kiri kitya ng’oli Mujulirwa omubatize era ng’oli mulamu bulungi, naye ng’ozibuwalirwa okubuulira nnyumba ku nnyumba? Kirungi okukimanya nti abantu aba buli ngeri basobodde okuvvuunuka ebintu ebibaleetera okutya okubuulira nnyumba ku nnyumba. Naawe Yakuwa asobola okukuyamba okubivvuunuka.

Okufuna Obuvumu

4. Kiki ekyayamba omutume Pawulo okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu?

4 Awatali kubuusabuusa okimanyi nti omwoyo gwa Katonda, so si maanyi ga bantu oba magezi gaabwe, gwe gusobozesa omulimu gw’okubuulira okukolebwa mu nsi yonna. (Zek. 4:6) Bwe kityo bwe kiri ne ku buweereza bwa buli Mukristaayo. (2 Kol. 4:7) Lowooza ku mutume Pawulo. Ng’ajjukira olumu ye ne baminsani banne lwe baatulugunyizibwa abalabe, yawandiika nti: “Oluvannyuma lw’okubonaabona n’okuyisibwa obubi ennyo . . . mu Firipi, twafuna obuvumu okuva eri Katonda waffe ne tubabuulira amawulire ga Katonda amalungi mu kufuba okw’amaanyi ennyo.” (1 Bas. 2:2, NW; Bik. 16:22-24) Kizibu okulowooza nti omubuulizi omunyiikivu nga Pawulo naye oluusi yakaluubirirwanga okubuulira. Naye, okufaananako buli omu ku ffe, ne Pawulo yalina okwesiga Yakuwa okusobola okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu. (Soma Abaefeso 6:18-20.) Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo?

5. Ekimu ku bisobola okutuyamba okufuna obuvumu mu kubuulira kye kuruwa?

5 Ekimu ku bisobola okutuyamba okufuna obuvumu mu kubuulira kwe kusaba. Payoniya omu agamba nti: “Nsaba Yakuwa annyambe okwogera n’obuvumu, mmusaba annyambe okutuuka ku mitima gy’abantu, era mmusaba annyambe okufuna essanyu mu buweereza. Olw’okuba guno mulimu gwa Yakuwa si gwaffe, tewali kye tuyinza kukola awatali buyambi bwe.” (1 Bas. 5:17) Ffenna twetaaga okusaba Katonda buli kiseera atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okubuulira n’obuvumu.​—Luk. 11:9-13.

6, 7. (a) Kwolesebwa ki Ezeekyeri kwe yafuna, era kwalina makulu ki? (b) Kiki abaweereza ba Katonda kye bayiga mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri?

6 Ekitabo kya Ezeekyeri kiraga ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba okubuulira n’obuvumu. Mu kwolesebwa, Yakuwa yawa Ezeekyeri omuzingo ogwali guwandiikiddwako kungulu ne munda “okuwuubaala n’okukungubaga n’obuyinike” n’amulagira okugulya ng’agamba nti: “Omwana w’omuntu, liisa olubuto lwo, ojjuze ebyenda byo omuzingo guno gwe nkuwa.” Okwolesebwa kuno kwalina makulu ki? Ezeekyeri yalina okutegeera obulungi obubaka bwe yali agenda okulangirira. Obubaka obwo bwalina okumutuuka munda, n’awulira nga bumukwatiddeko ddala. Nnabbi oyo era agamba nti: “Ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng’omubisi gw’enjuki okuwoomerera.” Okulangirira obubaka bwa Katonda kyaleetera Ezeekyeri essanyu​—kyali ng’okulya omubisi gw’enjuki. Wadde nga yalina okulangirira obubaka obw’omusango eri abantu abateefiirayo, okukiikirira Yakuwa n’okukola omulimu gwe yali amuwadde yabitwala nga nkizo ya maanyi.​—Soma Ezeekyeri 2:8–3:4, 7-9.

7 Abaweereza ba Katonda leero balina ekintu ekikulu kye bayiga mu kwolesebwa okwo. Naffe tulina obubaka obw’amaanyi bwe tulina okutuusa ku bantu abatabusiima. Bwe tuba ab’okutunuuliranga obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo ng’enkizo eyatuweebwa Katonda, tulina okweriisa obulungi mu by’omwoyo. Singa tetuba na nteekateeka nnungi ya kwesomesa, tetujja kutegeera bulungi Kigambo kya Katonda. Osobola okulongoosa mu ngeri gye weesomesaamu Baibuli? Osobola okwongera ku biseera by’omala ng’ofumiitiriza ku by’osoma?​—Zab. 1:2, 3.

Okutandika Okwogera n’Omuntu ku Baibuli

8. Ngeri ki ababuulizi b’Obwakabaka abamu gye bakozesa okutandika okwogera n’abantu ku Baibuli nga babuulira nnyumba ku nnyumba?

8 Ababuulizi bangi bazibuwalirwa nnyo okutandika okwogera n’abantu nga babuulira nnyumba ku nnyumba. Mu butuufu, mu bitundu ebimu si kyangu okutandika kwogera na bantu. Ababuulizi abamu bakisanga nga kyangu okwogera n’omuntu bwe babaako ebigambo bye bategese okutandika nabyo, oluvannyuma ne bamuwa katulakiti, nga bwe kiragiddwa mu kasanduuko. Omutwe gwa katulakiti n’ekifaananyi ekiriko biyinza okusikiriza omuntu, ne tusobola okumubuulira ensonga etututte ewuwe era ne tumubuuzaayo ekibuuzo. Oba oyinza okulaga omuntu butulakiti busatu oba buna n’omusaba alondeko akasinze okumusikiriza. Kya lwatu, ekigendererwa kyaffe si kugaba bugabi butulakiti oba okubukozesa ku buli nnyumba, wabula kutandika kukubaganya birowoozo na bantu basobole okufuuka abayizi ba Baibuli.

9. Lwaki kikulu okweteekateeka obulungi?

9 K’obe ng’okozesezza ngeri ki, bwe weeteekateeka obulungi kijja kukuyamba okuba omukkakkamu n’okwogera n’ebbugumu ng’obuulira nnyumba ku nnyumba. Payoniya omu yagamba nti: “Nfuna essanyu lingi bwe mba nneeteeseteese bulungi. Mba njagala nnyo okukozesa ennyanjula yange gye nnateeseteese.” Payoniya omulala yagamba nti, “Bwe mba mmanyi ebiri mu bitabo bye ŋŋenda okugaba, mba njagala okubikozesa.” Wadde nga kya mugaso okwegezaamu mu kasirise, bangi bakisanze nga kirungi okwegezaamu mu lwatu. Bwe bakola batyo kibayamba okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi.​—Bak. 3:23; 2 Tim. 2:15.

10. Enkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro bwe ziba ez’okuganyula ababuulizi, kiki ekirina okukolebwa?

10 Enkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro zituyamba okwogera obulungi n’okufuna essanyu nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Ekyawandiikibwa kya buli lunaku, bwe kiba kyogera butereevu ku mulimu gw’okubuulira, kisobola okusomebwa n’okukubaganyizibwako ebirowoozo. Kyokka, ow’oluganda akubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda mu nnimiro alina okunnyonnyola oba okulaga ekyokulabirako ky’ennyanjula etuukirawo mu kitundu oba ayinza okuwa amagezi agasobola okuyamba mu kubuulira ku lunaku olwo. Kino kijja kusobozesa abaliwo okuwa obulungi obujulirwa. Bwe baba beeteeseteese, abakadde n’abalala basobola okukubiriza enkuŋŋaana zino obulungi mu budde obuba buweereddwa.​—Bar. 12:8.

Obukulu bw’Okuwuliriza Obulungi

11, 12. Okuwuliriza obulungi abantu n’okubasaasira kiyinza kitya okutuyamba nga tubuulira amawulire amalungi? Waayo ebyokulabirako.

11 Ng’oggyeko okweteekateeka obulungi, okulaga abantu okwagala nakyo kisobola okutuyamba okutandika okwogera nabo ku Baibuli n’okubatuuka ku mitima. Engeri emu mwe tulagira okwagala ng’okwo kwe kubawuliriza. Omulabirizi w’ekitundu omu yagamba nti: “Okubeera omugumiikiriza era omwetegefu okuwuliriza kireetera abantu okuwuliriza amawulire amalungi era kiraga nti tubafaako.” Bwe tuwuliriza obulungi omuntu kimuleetera okwagala okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli ng’ekyokulabirako kino wammanga bwe kiraga.

12 Mu bbaluwa eyafulumira mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa Le Progrès, olw’omu kibuga Saint-Étienne eky’omu Bufalansa, omukazi omu yayogera ku bantu ababiri abaakonkona ku luggi lwe nga wayise ebbanga ttono bukya afiirwa omwana we ow’emyezi esatu. Yawandiika nti: “Nnategeererawo nti baali Bajulirwa ba Yakuwa. Nnali nneetegese okubagoba mu ngeri ey’amagezi, naye nnabaleka bwe nnalaba kabrocuwa ke baali bagaba. Kaali kannyonnyola ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. Nnabagamba bayingire nga kye njagala kwe kubalaga nti bye baali bayigiriza bikyamu. . . . Abajulirwa abo baamala nange kumpi essaawa nnamba. Baawuliriza bulungi nga bwe bansaasira, era we baatuukira okugenda nnali mpulira bulungi nnyo. Nnakkiriza bakomewo omulundi omulala.” (Bar. 12:15) Oluvannyuma omukazi ono yatandika okuyiga Baibuli. Eky’okuba nti omukazi oyo kye yajjukira ye ngeri bannyinnaffe gye baamuwulirizaamu, so si biki bye baayogera, kituwa eky’okuyiga kya maanyi.

13. Tuyinza tutya okubuulira amawulire amalungi mu ngeri etuukana n’embeera y’abantu be tusanga?

13 Bwe tuwuliriza obulungi abantu tuba tubawa akakisa batubuulire lwaki beetaaga Obwakabaka. Okubawuliriza naffe kituyamba nga tubabuulira amawulire amalungi. Wandiba ng’okirabye nti Abajulirwa ababuulira obulungi beebo abawuliriza abantu obulungi. (Nge. 20:5) Balaga abantu be basanga mu buweereza okwagala okwa nnamaddala. Tebakoma ku kumanya mannya gaabwe na ndagiriro, naye bafaayo n’okumanya ebibasanyusa ne bye beetaaga. Omuntu bw’abaako ky’ayagala okumanya, bafaayo okunoonyereza era baddayo mangu ne bamubuulira bye bazudde. Okufaananako omutume Pawulo, babuulira obubaka bw’Obwakabaka mu ngeri etuukana n’embeera y’abantu be basanga. (Soma 1 Abakkolinso 9:19-23.) Okulaga okufaayo mu ngeri eyo kisikiriza abantu okuwuliriza amawulire amalungi era kyoleka “ekisa kya Katonda waffe ekirungi.”​—Luk. 1:78.

Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu

14. Tuyinza tutya okwoleka engeri za Yakuwa nga tubuulira?

14 Yakuwa alaga nti atuwa ekitiibwa ng’atuwa eddembe ly’okwesalirawo. Wadde nga ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, tewali n’omu gw’akaka kumuweereza. Atukubiriza tumuweereze mu kwagala, era abo abakkiriza okukikola abawa emikisa gye. (Bar. 2:4) Ng’abaweereza be, tusaanidde okubuulira amawulire amalungi mu ngeri eraga nti Katonda waffe musaasizi. (2 Kol. 5:20, 21; 6:3-6) N’olwekyo, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu eri abantu abali mu kitundu kyaffe. Tuyinza tutya okufuna endowooza eno?

15. (a) Kiki Yesu kye yagamba abatume be okukola ng’abantu bagaanye obubaka bwabwe? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okunoonya abo abasaana?

15 Yesu yagamba abagoberezi be banoonye abo abasaana, mu kifo ky’okumalira ebiseera ku bantu abagaana obubaka bwabwe. (Soma Matayo 10:11-15.) Kino tusobola okukituukako singa tubaako n’ebiruubirirwa nga tugenda okubuulira. Ow’oluganda omu yeegeraageranya ku muntu anoonya eby’obugagga eby’omu ttaka. Eŋŋombo ye eri nti, “Nsuubira okuzuula zzaabu leero.” Ow’oluganda omulala ye alina ekiruubirirwa kya “kuzuula muntu omu buli wiiki alaga okusiima n’okuddayo okumuyamba amangu ddala nga bwe kisoboka.” Ababuulizi abamu bafuba okusomera buli muntu gwe boogera naye waakiri ekyawandiikibwa kimu bwe kiba kisoboka. Ggwe oyinza kweteerawo kiruubirirwa ki?

16. Lwaki twandibuulidde awatali kuddirira?

16 Eky’okuba nti abantu b’omu kitundu kyaffe bawuliriza si kye kyokka ekituleetera essanyu nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Kyo kituufu nti okubuulira kiyamba abantu ab’emitima emirungi okutuuka ku bulokozi, naye kiyamba ne mu kutuukiriza ebintu ebirala ebikulu. Obuweereza bw’Ekikristaayo buno butuwa akakisa okulaga nti twagala Yakuwa. (1 Yok. 5:3) Butuyamba ne tutavunaanibwa musaayi gw’abantu. (Bik. 20:26, 27) Okubuulira kulabula abantu abatatya Katonda nti “ekiseera ky’omusango [gwa Katonda] kituuse.” (Kub. 14:6, 7) N’okusinga byonna, okuyitira mu kubuulira amawulire amalungi, erinnya lya Yakuwa ligulumizibwa mu nsi yonna. (Zab. 113:3) N’olwekyo, abantu ka babe nga bawuliriza oba nedda, tulina okugenda mu maaso n’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. Yee, Yakuwa asiima nnyo bwe tufuba okubuulira amawulire amalungi.​—Bar. 10:13-15.

17. Kiki abantu kye bajja okumanya?

17 Wadde nga leero bangi tebasiima mulimu gwaffe ogw’okubuulira, bajja kutegeera obukulu bwagwo mu kiseera ekitali kya wala. (Mat. 24:37-39) Yakuwa yakakasa Ezeekyeri nti ebyo bye yamulagira okulangirira bwe byandituukiridde, Abaisiraeri abajeemu banditegedde nti “mu bo mubaddemu nnabbi.” (Ez. 2:5) Mu ngeri y’emu, Katonda bw’anaaba azikiriza enteekateeka y’ebintu eno, abantu bajja kukimanya nti obubaka Abajulirwa ba Yakuwa bwe babadde babuulira nnyumba ku nnyumba ne mu bifo ebirala ddala bwava eri Yakuwa, Katonda omu ow’amazima, era nti Abajulirwa babadde bakiikirira ye. Nga nkizo ya maanyi okuyitibwa erinnya lye n’okulangirira obubaka bwe mu biseera bino ebikulu ennyo! Ka tweyongere okwesigama ku buyambi bw’atuwa nga twaŋŋanga obuzibu bwe tufuna mu kubuulira nnyumba ku nnyumba.

Wandizzeemu Otya?

• Oyinza otya okufuna obuvumu okubuulira?

• Kiki ekiyinza okutuyamba okutandika okwogera n’omuntu ku Baibuli nga tubuulira nnyumba ku nnyumba?

• Tuyinza tutya okulaga okwagala okwa nnamaddala eri abalala?

• Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu eri abantu b’omu kitundu kyaffe?

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Engeri y’Okutandikamu Okwogera n’Omuntu ku Baibuli

Engeri y’okutandikamu:

◼ Oluvannyuma lw’okulamusa omuntu, oyinza okumukwasa katulakiti era n’omugamba nti, “Ekindeese wano leero kwe kwogerako naawe ku nsonga eno enkulu.”

◼ Oba oyinza okumuwa katulakiti era n’omugamba nti, “Mpitiddeko wano katono nga njagala kumanya ky’olowooza ku nsonga eno.”

Omuntu bw’aba akkirizza katulakiti:

◼ Mubuuze ekibuuzo ekikwata ku mutwe gwa katulakiti.

◼ Wuliriza bulungi osobole okutegeera endowooza ye. Mwebaze olw’okubaako ky’addamu.

Okweyongera okukubaganya ebirowoozo:

◼ Musomere ekyawandiikibwa kimu oba bibiri, era omunnyonnyole okusinziira ku bwetaavu bwe.

◼ Bw’aba alaze okwagala, muwe ekitabo era bwe kiba kisoboka mulage engeri y’okuyigamu Baibuli. Teekateeka okuddayo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share