Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba—Lwaki Kikulu Nnyo Leero?
“Buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba ne beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu awatali kuddirira.”—BIK. 5:42, NW.
1, 2. (a) Abajulirwa ba Yakuwa babuulira mu ngeri ki emanyiddwa ennyo? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okuddamu mu kitundu kino?
KUMPI mu buli nsi, kya bulijjo okulaba abantu babiri abambadde obulungi nga batuukirira omuntu mu maka ge ne boogera naye ku Bwakabaka bwa Katonda. Gwe boogedde naye bw’asiima obubaka obwo, bayinza okumuwa ekitabo ekinnyonnyola Baibuli era ne bamubuuza obanga yandyagadde okuyigirizibwa Baibuli ku bwereere. Bwe bamala okwogera naye, beeyongerayo ku nnyumba endala. Bw’oba oli omu ku bakola omulimu guno, oteekwa okuba ng’okizudde nti emirundi mingi abantu bakumanyirawo nti oli Mujulirwa wa Yakuwa nga tonnabaako na ky’oyogera. Mazima ddala tumanyiddwa nnyo olw’okubuulira nnyumba ku nnyumba.
2 Tukozesa engeri nnyingi okusobola okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa nga Yesu bwe yalagira. (Mat. 28:19, 20) Tubuulira mu butale, ku nguudo, ne mu bifo ebirala ebya lukale. (Bik. 17:17) Bangi tubakubira essimu oba tubawandiikira ne tubatuusaako obubaka. Tubuulira abo be tusanga buli lunaku nga tuli ku gyaffe. Tulina n’omukutu gwa Internet, omuntu kw’asobola okufunira obubaka bwa Baibuli mu nnimi ezisoba mu 300.a Engeri zino zonna zivaamu ebibala. Kyokka, engeri esinga obukulu gye tukozesa okusaasaanya amawulire amalungi kwe kubuulira nnyumba ku nnyumba. Lwaki tukozesa engeri eno ey’okubuulira? Abantu ba Katonda ab’omu kiseera kino bajja batya okukozesa ennyo engeri eno? Era lwaki kikulu nnyo okugikozesa leero?
Engeri Eyakozesebwa Abatume
3. Abatume Yesu yabawa biragiro ki ng’abasindika okubuulira, era biraga ki ku engeri gye baalina okubuuliramu?
3 Engeri y’okubuulira nnyumba ku nnyumba yeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Yesu bwe yali asindika abatume be okubuulira, yabagamba nti: “Buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw’ali asaana.” Bandinoonyezza batya abo abasaana? Yesu yabasindika okugenda mu maka g’abantu ng’agamba nti: ‘Bwe munaayingiranga mu nju, mugiramusenga. Enju bw’esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo.’ Baali baakukyala nga tebasoose kuyitibwa? Weetegereze Yesu kye yaddako okwogera: “Omuntu bw’atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe, bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey’omu bigere byammwe.” (Mat. 10:11-14) Ebigambo ebyo biraga bulungi nti abatume bwe ‘baagendanga mu bibuga byonna okubuulira enjiri,’ baalinanga okukyalira abantu mu maka gaabwe.—Luk. 9:6.
4. Okubuulira nnyumba ku nnyumba kwogerwako wa mu Baibuli?
4 Baibuli ekiraga bulungi nti abatume baabuuliranga nnyumba ku nnyumba. Ng’ekyokulabirako, Ebikolwa by’Abatume 5:42 (NW) wagamba nti: “Buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba ne beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu awatali kuddirira.” Nga wayise emyaka nga 20, omutume Pawulo yajjukiza abakadde mu kibiina ky’omu Efeso nti: “Saalekayo kubabuulira bintu bya muganyulo n’okubayigiriza mu lujjudde ne nnyumba ku nnyumba.” Pawulo yali yabuulira abakadde abo nga tebannafuuka bakkiriza? Yee kubanga mu bingi bye yabayigiriza mwe mwali ‘okwenenya badde eri Katonda era bakkirize mu Mukama waffe Yesu.’ (Bik. 20:20, 21, NW) Nga kyogera ku Ebikolwa by’Abatume 20:20, ekitabo kya Robertson ekiyitibwa Word Pictures in the New Testament kigamba nti: “Kikulu okukyetegereza nti omubuulizi ono akyasinze bonna yabuuliranga nnyumba ku nnyumba.”
Eggye ly’Enzige ery’Omu Kiseera Kyaffe
5. Omulimu gw’okubuulira gwalagulwako gua mu bunnabbi bwa Yoweeri?
5 Okubuulira okwakolebwa mu kyasa ekyasooka kwali kusonga ku mulimu omunene ogwandikoleddwa mu kiseera kyaffe. Nnabbi Yoweeri yageraageranya okubuulira kw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku bulumbaganyi bw’ebiwuka omuli n’enzige. (Yo. 1:4) Okufaananako eggye eriri mu lutalo, enzige zaŋŋanga buli kizibu, ziyingira mu mayumba, era zirya buli kye zisanga. (Soma Yoweeri 2:2, 7-9.) Nga kino kiraga bulungi nnyo obumalirivu n’obunyiikivu bw’abantu ba Katonda mu kukola omulimu gw’okuwa obujulirwa leero! Okubuulira nnyumba ku nnyumba ye ngeri Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ gye basinga okukozesa mu kutuukiriza obunnabbi obwo. (Yok. 10:16) Abajulirwa ba Yakuwa twajja tutya okukozesa engeri eno ey’okubuulira abatume gye baakozesanga?
6. Mu 1922, waaliwo kukubiriza ki okukwata ku kubuulira nnyumba ku nnyumba, era abamu baakola ki?
6 Okuviira ddala mu 1919, obuvunaanyizibwa bwa buli Mukristaayo okwenyigira mu kuwa obujulirwa bubadde bussibwako nnyo essira. Ng’ekyokulabirako, ekitundu ekirina omutwe “Obuweereza Bukulu” ekyafulumira mu Watch Tower eya Agusito 15, 1922, kyajjukiza Abakristaayo abaafukibwako amafuta obukulu ‘bw’okutuusa obubaka obukubiddwa mu kyapa ku bantu n’okwogera nabo mu maka gaabwe bafune obujulirwa nti obwakabaka obw’omu ggulu buli kumpi.’ Ennyanjula nnyingi zaafulumiranga mu katabo Bulletin (kati kayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka). Wadde kyali kityo, omuwendo gw’abo abeenyigiranga mu kubuulira nnyumba ku nnyumba gwali mutono. Abamu baali tebaagala kukola mulimu guno. Beekwasanga obusongasonga, naye ng’ekituufu kyali nti baali bawulira nti kibaswaza okubuulira nnyumba ku nnyumba. Essira bwe lyayongera okuteekebwa ku buweereza bw’ennimiro, bangi baagenda beesala ku kibiina kya Yakuwa.
7. Bwetaavu ki obwajjawo mu myaka gya 1950?
7 Mu myaka egyaddirira, bangi baatandika okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka, kyeyoleka nti waaliwo obwetaavu bw’okutendeka ababuulizi mu kubuulira nnyumba ku nnyumba. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu Amerika. Emyaka gya 1950 nga gyakatandika, Abajulirwa 28 ku buli kikumi mu ggwanga eryo baali bakoma ku kugaba bupapula obuyita abantu mu nkuŋŋaana oba ku kuyimirira ku nguudo ne bagaba magazini. Abajulirwa abasukka mu 40 ku buli kikumi baali tebabuulira buli mwezi. Kiki ekyakolebwa okuyamba Abakristaayo okubuulira nnyumba ku nnyumba?
8, 9. Kutendekebwa ki okwatandikibwawo mu 1953, era biki ebyavaamu?
8 Olukuŋŋaana olunene olwali mu New York City mu 1953, lwasa nnyo essira ku kubuulira nnyumba ku nnyumba. Ow’olunganda Nathan H. Knorr yalangirira nti omulimu omukulu abalabirizi bonna mu kibiina Ekikristaayo gwe balina kwe kuyamba buli Mujulirwa okwenyigira mu kubuulira nnyumba ku nnyumba obutayosa. Yagamba nti: “Buli omu asaanidde okubuulira amawulire amalungi nnyumba ku nnyumba.” Kino okusobola okukituukako, waatandikibwawo kaweefube ow’okutendeka ababuulizi mu mulimu guno mu nsi yonna. Abo abaali batannaba kutandika kubuulira nnyumba ku nnyumba baatendekebwa okuyiga okwogera n’abantu ku Baibuli mu maka gaabwe n’okuddamu ebibuuzo byabwe.
9 Okutendekebwa kuno kwavaamu ebibala bingi. Mu myaka nga kkumi, omuwendo gw’ababuulizi mu nsi yonna gweyongera ebitundu 100 ku buli kikumi, okuddiŋŋana kweyongera ebitundu 126 ku buli kikumi, ate gwo omuwendo gw’abayizi ba Baibuli gweyongera ebitundu 150 ku buli kikumi. Leero, ababuulizi bw’Obwakabaka kumpi obukadde musanvu be babuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. Okweyongerayongera kuno okw’amaanyi kulaga nti Yakuwa awadde abantu be omukisa olw’okufuba okubuulira nnyumba ku nnyumba.—Is. 60:22.
Okussa Akabonero ku Bantu Abanaawonawo
10, 11. (a) Kwolesebwa ki Ezeekyeri kwe yaweebwa okuli mu Ezeekyeri essuula 9? (b) Okwolesebwa okwo kutuukirizibwa kutya mu kiseera kyaffe?
10 Okwolesebwa kwa Ezeekyeri kulaga obukulu bw’okubuulira nnyumba ku nnyumba. Mu kwolesebwa okwo, Ezeekyeri alaba abasajja mukaaga nga buli omu alina ekyokulwanyisa mu mukono gwe ate nga ow’omusanvu alina ekikompe kya bwino eky’omuwandiisi. Omusajja ow’omusanvu alagirwa ‘okuyita wakati mu kibuga’ era ‘ateeke akabonero ku byenyi by’abantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolerwa wakati mu kyo.’ Abasajja omukaaga abamuvaako ennyuma nga balina ebyokulwanyisa balagirwa okutta abo bonna abataliiko kabonero.—Soma Ezeekyeri 9:1-6.
11 Tukimanyi nti mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno, omusajja “ayambadde bafuta” akiikirira ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa, ab’ekibiina ky’abaafukibwako amafuta bateeka akabonero ku abo abafuuka abagoberezi ba Kristo ‘ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16) Akabonero ako kakiikirira ki? Kakiikirira obukakafu, nga bulinga obulambiddwa ku byenyi byabwe, obulaga nti abo abalinga endiga bayigirizwa ba Yesu Kristo abeewaddeyo, ababatiziddwa, era nti bambadde omuntu omuggya. (Bef. 4:20-24) Bano abalinga endiga beegatta ku kisibo ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta era babayamba mu kukola omulimu guno omukulu ogw’okuteeka akabonero ku balala.—Kub. 22:17.
12. Okwolesebwa kwa Ezeekyeri okukwata ku kuteeka akabonero ku byenyi kulaga kutya obukulu bw’omulimu gwaffe ogw’okunoonya abo abalinga endiga?
12 Okwolesebwa kwa Ezeekyeri kulaga ensonga lwaki okunoonya abantu “abassa ebikkowe era abakaabira” kulina okukolebwa mu bwangu. Obulamu bw’abantu buli mu kabi. Mangu ddala, eggye lya Yakuwa ery’omu ggulu, erikiikirirwa abasajja omukaaga abakutte ebyokulwanyisa, ligenda kuzikiriza abo bonna abataliiko kabonero ako. Ng’ayogera ku musango ogujja, omutume Pawulo yawandiika nti Mukama waffe Yesu, ng’awerekerwako “bamalayika ab’obuyinza bwe,” ajja ‘kuwalana eggwanga abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.’ (2 Bas. 1:7, 8) Weetegereze nti abantu bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ngeri gye banaaba batuttemu amawulire amalungi. N’olwekyo, obubaka bwa Katonda bulina okulangirirwa awatali kuddirira okutuukira ddala ku nkomerero. (Kub. 14:6, 7) Kino kiwa buli muweereza wa Yakuwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi.—Soma Ezeekyeri 3:17-19.
13. (a) Omutume Pawulo yawulira ng’alina buvunaanyizibwa ki eri abantu, era lwaki? (b) Ggwe owulira olina buvunaanyizibwa ki eri abantu b’omu kitundu kyo?
13 Omutume Pawulo yawulira ng’alina obuvunaanyizibwa okubuulira abalala amawulire amalungi. Yawandiika nti: “Abayonaani era ne bannaggwanga, ab’amagezi era n’abasirusiru, bammanja. Era kyenva njagala okubabuulira enjiri nammwe abali mu Ruumi nga bwe nnyinza.” (Bar. 1:14, 15) Ng’alaga okusiima olw’ekisa kye yalagibwa, Pawulo yawulira nga yalina okuyamba abalala nabo baganyulwe mu kisa Katonda kye yali amulaze. (1 Tim. 1:12-16) Yawulira ng’alina ebbanja eri buli muntu, era nga yalina okulisasula ng’abuulira buli omu amawulire amalungi. Naawe owulira ng’olina ebbanja eri abantu abali mu kitundu gy’obeera?—Soma Ebikolwa by’Abatume 20:26, 27.
14. Ensonga esingayo obukulu etutwala okubuulira nnyumba ku nnyumba ne mu bifo ebirala y’eruwa?
14 Wadde nga kya muganyulo nnyo okuyamba abantu okuwonawo, eyo si ye nsonga esingayo obukulu etutwala okubuulira nnyumba ku nnyumba. Mu bunnabbi obuli mu Malaki 1:11, Yakuwa agamba nti: ‘Okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu b’amawanga; era ekiweebwayo ekirongoofu kiriweebwayo mu linnya lyange: kubanga erinnya lyange kkulu mu b’amawanga.’ Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno, abaweereza ba Yakuwa bamutendereza nga bamanyisa erinnya lye mu nsi yonna. (Zab. 109:30; Mat. 24:14) Okuwaayo “ssaddaaka ey’ettendo” eri Yakuwa ye nsonga esingayo obukulu etutwala okubuulira abantu nnyumba ku nnyumba ne mu bifo ebirala.—Beb. 13:15.
Ebintu Ebikulu Ebinaatera Okubaawo
15. (a) Ku ky’okwetooloola Yeriko, kiki eky’enjawulo ekyaliwo ku lunaku olw’omusanvu? (b) Kino kiraga ki ku mulimu gw’okubuulira?
15 Kweyongerayongera ki okunaabaawo mu mulimu gw’okubuulira mu biseera by’omu maaso? Ebiri mu kitabo kya Yoswa ebikwata ku kuzingiza ekibuga Yeriko birina kye bituyigiriza. Jjukira nti ng’ebula ennaku ntono Katonda azikirize Yeriko, Abaisiraeri baalagirwa okwetooloola ekibuga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Kyokka ku lunaku olw’omusanvu, baalina okwongera ku mirundi gye baali bakyetooloola. Yakuwa yagamba Yoswa nti: “Mulikyetooloola ekibuga emirundi musanvu, ne bakabona balifuuwa eŋŋombe. Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez’amayembe g’endiga ensajja, . . . abantu bonna ne balyoka boogerera waggulu n’eddoboozi ddene; bbugwe w’ekibuga n’alyoka agwira ddala wansi.” (Yos. 6:2-5) Kirabika omulimu gwaffe ogw’okubuulira nagwo gujja kweyongerayongera. Ka gube nga guneeyongerayongera oba nedda, tuli bakakafu nti ekiseera eky’okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi we kinaatuukira, erinnya lya Katonda n’Obwakabaka bijja kuba biweereddwako obujulirwa ku kigero ekitabangawo.
16, 17. (a) Kiki ekinaakolebwa ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ tekinnaggwa? (b) Biki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
16 Ekiseera kiyinza okutuuka obubaka bwe tulangirira ne bubeera ‘ng’eddoboozi eddene.’ Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, obubaka bw’omusango obw’amaanyi bufaananyizibwa ku ‘muzira omunene, nga buli mpeke eweza obuzito bwa ttalanta.’b Era Okubikkulirwa 16:21 wagamba: “Ekibonyoobonyo kyagwo kinene nnyo.” Tetumanyi binaava mu kubuulira nnyumba ku nnyumba obubaka obwo obw’omusango. Naye tuli bakakafu nti ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ tekinnaggwa, erinnya lya Yakuwa lijja kuba lirangiriddwa ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’omuntu.—Kub. 7:14, NW; Ez. 38:23.
17 Nga bwe tulindirira ebintu ebikulu ebinaabaawo gye bujja, ka tweyongere okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’obunyiikivu. Buzibu ki bwe tuwulira nga tubuulira nnyumba ku nnyumba, era tuyinza kubuvvuunuka tutya? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Omukutu gwaffe ogwa Internet omutongole guli www.watchtower.org.
b Bw’eba nga ttalanta eyogerwako ye y’Ekiyonaani, buli mpeke eba eweza obuzito bwa kilo 20.
Wandizzeemu Otya?
• Byawandiikibwa ki kwe tusinziira okubuulira nnyumba ku nnyumba?
• Okubuulira nnyumba ku nnyumba kussiddwako kutya essira mu kiseera kyaffe?
• Lwaki abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo bavunaanyizibwa okubuulira?
• Bintu ki ebikulu ebinaatera okubaawo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]
Okufaananako omutume Pawulo, owulira ng’olina obuvunaanyizibwa okubuulira abalala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ow’oluganda Knorr, mu 1953