LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 1/15 lup. 24-28
  • Basaanyizibwa Okuleetebwa eri Enzizi ez’Amazzi ag’Obulamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Basaanyizibwa Okuleetebwa eri Enzizi ez’Amazzi ag’Obulamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ab’Ekibiina Ekinene Booleka Okukkiriza Kwabwe
  • Okuyita mu Kibonyoobonyo n’Okuyingira mu Nsi Empya
  • Ekibiina Ekinene mu Maaso g’Entebe ya Yakuwa
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • “Laba! Ekibiina Ekinene”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ekibiina Ekinene eky’Ab’Endiga Endala Batendereza Katonda ne Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Basaanyizibwa Okuweebwa Obwakabaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 1/15 lup. 24-28

Basaanyizibwa Okuleetebwa eri Enzizi ez’Amazzi ag’Obulamu

“Omwana gw’endiga . . . anaabalundanga era alibaleeta eri enzizi ez’amazzi ag’obulamu.”​—KUB. 7:17.

1. Ekigambo kya Katonda kiraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta be baluwa, era buvunaanyizibwa ki Yesu bwe yabawa?

EKIGAMBO KYA KATONDA kiraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta abalabirira ebintu bya Kristo ku nsi be bayitibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Kristo bwe yajja okulambula “omuddu” mu 1918, yasanga abaafukibwako amafuta abaali ku nsi nga batuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa obw’okuwa ab’omu nju ye ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo.’ Olw’ensonga eyo, Yesu, Mukama waabwe, yabasigira ‘ebintu bye byonna.’ (Soma Matayo 24:45-47.) Mu ngeri eno, abaafukibwako amafuta nga tebannaweebwa busika bwa mu ggulu, baweereza abasinza ba Yakuwa abalala wano ku nsi.

2. Ebintu bya Yesu bye biruwa?

2 Omuntu bw’aba n’ebintu bye, wa ddembe okubikozesa nga bw’ayagala. Ebintu bya Yesu Kristo, Yakuwa gwe yatuuza ku ntebe nga Kabaka, bitwaliramu ebintu by’Obwakabaka byonna ebiri ku nsi. Mu bino mwe muli ‘ekibiina ekinene’ Yokaana kye yalaba mu kwolesebwa. Yokaana ayogera bw’ati ku kibiina ekyo ekinene: “Laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n’amatabi g’enkindu mu mikono gyabwe.”​—Kub. 7:9.

3, 4. Nkizo ki ey’amaanyi ab’ekibiina ekinene gye balina?

3 Ab’ekibiina ekinene ekyo be bamu kw’abo Yesu be yayita “endiga endala.” (Yok. 10:16) Essuubi lyabwe lya kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Bakakafu nti Yesu ‘ajja kubaleeta eri enzizi ez’amazzi ag’obulamu’ era nti ‘Katonda ajja kusangula buli zziga mu maaso gaabwe.’ Olw’ensonga eyo, “bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.” (Kub. 7:14, 17) Olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, mu maaso ga Katonda bambadde “ebyambalo ebyeru.” Okufaananako Ibulayimu, bayitibwa batuukirivu era mikwano gya Katonda.

4 Olw’okuba Katonda abatwala okuba nga batuukirivu, ab’ekibiina ekinene eky’ab’endiga endala balina essuubi ery’okuwonawo ng’enteekateeka y’ebintu eno ezikirizibwa mu kibonyoobonyo ekinene. (Yak. 2:23-26) Balina enkolagana ennungi ne Yakuwa, era ng’ekibiina, balina essuubi ery’okuwonawo ku Kalumagedoni. (Yak. 4:8; Kub. 7:15) Tebetongodde, naye bagoberera obulagirizi bwa Kabaka ow’omu ggulu ne baganda be abaafukibwako amafuta abali ku nsi.

5. Ab’ekibiina ekinene bayamba batya baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta?

5 Abakristaayo abaafukibwako amafuta boolekaganye era bakyayolekagana n’okuziyizibwa okw’amaanyi okuva eri ensi ya Setaani. Wadde kiri kityo, balina obuwagizi bwa bannaabwe ab’ekibiina ekinene. Wadde ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta basigadde batono, buli mwaka ab’ekibiina ekinene beeyongera bungi. Abalabirizi abaafukibwako amafuta tebasobola kubeera mu buli kimu ku bibiina by’Abakristaayo 100,000 ebiri mu nsi yonna. N’olwekyo, engeri emu ab’endiga endala gye bayambamu abaafukibwako amafuta kwe kuba nti abasajja abalina ebisaanyizo ab’ekibiina ekinene baweereza ng’abakadde mu bibiina. Bayamba okulabirira Abakristaayo abaakwasibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’

6. Obuyambi ab’endiga endala bwe bawa Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwayogerwako butya mu bunnabbi?

6 Nnabbi Isaaya yayogera ku buyambi ab’endiga endala bwe bandiwadde Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Yawandiika nti: “Bw’ati bw’ayogera Yakuwa nti Abakozi abatasasulwa ab’e Misiri n’abasuubuzi ab’e Esiyopya n’Abasabeya, abasajja abawanvu, balikusenga ne baba babo; balikugoberera.” (Is. 45:14, NW) Mu ngeri ey’akabonero, Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bagoberera obukulembeze bw’ab’ekibiina ky’omuddu eyafukibwako amafuta n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira. ‘Ng’abakozi abatasasulwa,’ ab’endiga endala bakozesa amaanyi gaabwe n’ebintu byabwe okuwagira omulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna Kristo gwe yawa abagoberezi be abaafukibwako amafuta abali ku nsi.​—Bik. 1:8; Kub. 12:17.

7. Ab’ekibiina ekinene batendekebwa kukola ki?

7 Mu kuyamba baganda baabwe abaafukibwako amafuta, ab’ekibiina ekinene baba batendekebwa okukola omusingi gw’ekibiina ekipya eky’abantu abanaabeerawo oluvannyuma lwa Kalumagedoni. Omusingi ogwo guteekwa okuba omunywevu, era abagukola balina okuba abeetegefu okukolera ku bulagirizi bwa Mukama waabwe. Buli Mukristaayo aweereddwa omukisa okulaga nti asobola okukozesebwa Kabaka, Kristo Yesu. Bw’alaga okukkiriza era n’asigala nga mwesigwa, aba alaga nti ne mu nsi empya ajja kuba mwetegefu okukolera ku bulagirizi bwa Kabaka oyo.

Ab’Ekibiina Ekinene Booleka Okukkiriza Kwabwe

8, 9. Ab’ekibiina ekinene booleka batya okukkiriza kwabwe?

8 Ab’endiga endala mikwano gy’Abakristaayo abaafukibwako amafuta booleka okukkiriza kwabwe mu ngeri ezitali zimu. Ekisooka, bawagira abaafukibwako amafuta mu kulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Ekyokubiri, bagondera obulagirizi obubaweebwa Akakiiko Akafuzi.​—Beb. 13:17; soma Zekkaliya 8:23.

9 Ekyokusatu, ab’endiga endala bawagira baganda baabwe abaafukibwako amafuta nga batambulira ku misingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Bafuba okukulaakulanya ‘okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.’ (Bag. 5:22, 23) Leero, okwoleka engeri ng’ezo mu kifo ky’okwenyigira mu ‘bikolwa by’omubiri,’ kiyinza obutaba kyangu. Wadde kiri kityo, ab’ekibiina ekinene bamalirivu okwewala “obwenzi, empitambi, obukaba, okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiri ng’ebyo.”​—Bag. 5:19-21.

10. Ab’ekibiina ekinene bamalirivu okukola ki?

10 Olw’okuba tetutuukiridde, kiyinza obutaba kyangu kubala bibala bya mwoyo, kwewala bikolwa bya mubiri, n’okuziyiza ensi ya Setaani okututwaliriza. Wadde kiri kityo, tuli bamalirivu obutaleka bunafu bwaffe, obunafu mu mubiri, oba oluusi okulemererwa okukoppa Yesu, okunafuya okukkiriza kwaffe oba okukendeeza okwagala kwe tulina eri Yakuwa. Tumanyi nti Yakuwa ajja kukola kye yasuubiza​—okuwonyawo ekibiina ekinene mu kibonyoobonyo ekinene.

11. Bukodyo ki Setaani bw’akozesezza ng’agezaako okunafuya okukkiriza kw’Abakristaayo?

11 Wadde kiri kityo, buli kiseera tubeera bulindaala kuba tukimanyi nti omulabe waffe lukulwe ye Setaani era akola butaweera okutulemesa. (Soma 1 Peetero 5:8.) Agezezzaako okukozesa bakyewaggula n’abalala okutuleetera okulowooza nti enjigiriza ze tugoberera nkyamu. Naye akakodyo ako kalemereddwa okukola. Wadde ng’okuyigganyizibwa ebiseera ebimu kuleetedde omulimu gw’okubuulira okuddirira, emirundi mingi kunywezezza okukkiriza kw’abo abayigganyizibwa. N’olwekyo, Setaani yeeyongedde okukozesa akakodyo k’alowooza nti ke kajja okusinga okunafuya okukkiriza kwaffe. Akozesa ebintu ebitumalamu amaanyi. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baalabulwa ku kabi kano bwe baagambibwa nti: “Mumulowooze oyo [Kristo] eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez’abakola ebibi ku bo bennyini.” Lwaki? “Mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe.”​—Beb. 12:3.

12. Okubuulirira okuli mu Baibuli kuyamba kutya abo abaweddemu amaanyi?

12 Wali owulidde nti oyagala kulekera awo kuweereza Yakuwa? Ebiseera ebimu owulira nti olemereddwa? Bwe kiba kityo, tokkiriza Setaani kukozesa nneewulira ezo okukulemesa okuweereza Yakuwa. Okwesomesa ennyo Baibuli, okunyiikirira okusaba, obutayosa kubeerawo mu nkuŋŋaana n’okubeerako awamu ne Bakristaayo bano kijja kukunyweza era kikuyambe ‘obutaddirira mu mmeeme yo.’ Yakuwa asuubiza okuyamba abo abamuweereza okuddamu amaanyi, era ekisuubizo kye kyesigika. (Soma Isaaya 40:30, 31.) Nyiikirira emirimu gy’Obwakabaka. Weewale ebintu ebiwugula era ebyonoona ebiseera, era weemalire ku kuyamba abalala. Bw’onookola otyo okukkiriza kwo kujja kunywezebwa osobole okugumiikiriza wadde nga waliwo ebiyinza okukumalamu amaanyi.​—Bag. 6:1, 2.

Okuyita mu Kibonyoobonyo n’Okuyingira mu Nsi Empya

13. Mirimu ki abo abanaawonawo ku Kalumagedoni gye bajja okukola?

13 Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, abantu bukadde na bukadde abatali batuukirivu abanaazuukizibwa bajja kwetaaga okuyigirizibwa amakubo ga Yakuwa. (Bik. 24:15) Bajja kwetaaga okuyiga ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu; era bajja kwetaaga okuyiga okukkiririza mu ssaddaaka eyo basobole okugiganyulwamu. Kijja kubeetaagisa okwesamba enjigiriza ez’obulimba ze baali bakkiririzaamu n’okulekayo empisa embi ze baalina. Bateekwa okuyiga okwambala omuntu omuggya ayawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Bef. 4:22-24; Bak. 3:9, 10) Ab’endiga endala abanaawonawo bajja kuba n’emirimu mingi egy’okukola. Nga kijja kuba kya ssanyu okuweereza Yakuwa mu kiseera ekyo awatali kupikirizibwa oba okuwugulibwa ensi eno embi!

14, 15. Bintu ki abanaawonawo mu kibonyoobonyo ekinene bye bajja okunyumya n’abatuukirivu abanaazuukizibwa.

14 Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abaafa nga Yesu tannajja ku nsi n’abo bajja kuba n’eby’okuyiga bingi mu kiseera ekyo. Bajja kutegeera Masiya eyasuubizibwa gwe baali balindirira naye ne batamulabako. Bwe baali tebannafa baakiraga nti beetegefu okuyigirizibwa Yakuwa. Nga kijja kuba kya ssanyu era nkizo ya maanyi okubayamba​—gamba ng’okunnyonnyola Danyeri engeri obunnabbi bwe yawandiika gye bwatuukirizibwamu!​—Dan. 12:8, 9.

15 Wadde nga waliwo ebintu bingi bye tujja okuyigiriza abanaazuukizibwa, naffe tujja kuba na bingi eby’okubabuuza. Bajja kutubuulira kalonda yenna akwata ku bintu ebyaliwo ebyogerwako mu bumpimpi mu Baibuli. Lowooza ku ssanyu ly’oliwulira nga Yokaana Omubatiza, kizibwe wa Yesu, attottola ebikwata ku bulamu bwa Yesu! Ebintu bye tunaayiga ku bajulirwa abeesigwa ng’abo bijja kutuleetera okweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda okusinga bwe kiri leero. Abaweereza ba Yakuwa abaafa​—nga mw’otwalidde n’ab’ekibiina ekinene abafa mu kiseera ky’enkomerero​—bajja kufuna “okuzuukira okusinga obulungi.” Baatandika okuweereza Yakuwa mu nsi efugibwa Setaani. Nga kijja kubaleetera essanyu lingi okweyongera okuweereza mu mbeera ezisinga obulungi mu nsi empya!​—Beb. 11:35; 1 Yok. 5:19.

16. Okusinziira ku bunnabbi, Olunaku lw’Okusalirako Omusango lunaaba lutya?

16 Mu Lunaku lw’Okusalirako Omusango, ebitabo bijja kubikkulibwa. Ebitabo bino ne Baibuli, bye bijja okusinziirwako okusalawo obanga abo abalibaawo bagwanira okufuna obulamu obutaggwawo. (Soma Okubikkulirwa 20:12, 13.) Olunaku lw’Okusalirako Omusango lunaagenda okuggwa, buli muntu ajja kuba afunye omukisa okulaga w’ayimiridde ku nsonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna. Anaagondera Obwakabaka bwa Katonda n’akkiriza Omwana gw’Endiga okumutwala eri “enzizi ez’amazzi ag’obulamu”? Oba anaagaana okugondera Obwakabaka bwa Katonda? (Kub. 7:17; Is. 65:20) Ekiseera ekyo we kinaatuukira, bonna abanaabeera ku nsi bajja kuba bafunye omukisa okwesalirawo awatali kulemesebwa kibi kye baasikira oba ensi embi. Tewalibaawo asobola kugamba nti omusango Yakuwa agusaze bubi. Abajeemu bokka be bajja okuzikirizibwa emirembe n’emirembe.​—Kub. 20:14, 15.

17, 18. Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala beesunga ki ku Lunaku lw’Okusalirako Omusango?

17 Olw’okuba Abakristaayo abaafukibwako amafuta basaanyiziddwa okuweebwa Obwakabaka, beesunga nnyo okufuga ku Lunaku lw’Okusalirako Omusango. Ng’eno ejja kuba nkizo ya maanyi! Essuubi lino libaleetera okugoberera okubuulira kw’omutume Peetero eri baganda be ab’omu kyasa ekyasooka: ‘Mweyongere bweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n’okulondebwa: kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n’akatono: kubanga bwe kityo tewalibulawo bugagga mu kuyingira kwammwe mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.’​—2 Peet. 1:10, 11.

18 Ab’endiga endala basanyufu nti baganda baabwe abaafukibwako amafuta balina essuubi eryo. Bamalirivu okweyongera okubawagira. Nga mikwano gya Katonda leero, bawulira nti baagala okukola kyonna ekisoboka mu buweereza bwabwe eri Katonda. Mu Lunaku lw’Okusalirako Omusango, bajja kuba basanyufu okuwagira n’omutima gwabwe gwonna enteekateeka za Katonda nga Yesu bw’abatwala eri enzizi ez’amazzi ag’obulamu. Olwo nno balisaanyizibwa okuba abaweereza ba Yakuwa ab’oku nsi emirembe gyonna!​—Bar. 8:20, 21; Kub. 21:1-7.

Ojjukira?

• Ebintu bya Yesu bizingiramu ki?

• Ab’ekibiina ekinene bayamba batya baganda baabwe abaafukibwako amafuta?

•Nkizo ki n’essuubi ab’ekibiina ekinene bye balina?

• Olunaku lw’Okusalirako Omusango olutwala otya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Ab’ekibiina ekinene boozezza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Biki bye weesunga okuyiga okuva eri abaweereza ba Katonda abeesigwa abanaazuukizibwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share