LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 1/15 lup. 20-24
  • Basaanyizibwa Okuweebwa Obwakabaka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Basaanyizibwa Okuweebwa Obwakabaka
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ezzadde lya Ibulayimu Liweebwa Obutuukirivu
  • Okujjuza Omuwendo Ogwalagulwa
  • Gavumenti ya Katonda ey’Omu Ggulu Eneetera Okujjula!
  • “Omwoyo gwa Katonda Guwa Obujulirwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Tujja Kugenda Nammwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • “Tuligenda Nammwe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Ofunye ‘Omwoyo ogw’Amazima’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 1/15 lup. 20-24

Basaanyizibwa Okuweebwa Obwakabaka

“Ebyo ke kabonero k’omusango gwa Katonda ogw’ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda.”​—2 BAS. 1:5.

1, 2. Nteekateeka ki Katonda gy’alina ku bikwata ku kusala omusango, era ani anaasala omusango?

AWO nga mu 50 C.E., omutume Pawulo yali mu Asene. Yayisibwa bubi nnyo okulaba okusinza ebifaananyi okwali kucaase mu kibuga ekyo ne kimuleetera okuwa obujulirwa obwali obw’amaanyi ennyo. Yamaliriza n’ebigambo ebiteekwa okuba nga byakwata nnyo ku bantu abo abakaafiiri abaali bamuwuliriza. Yagamba nti: “Kaakano [Katonda] alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya, kubanga yateekawo olunaku mw’agenda okusalira omusango ogw’ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.”​—Bik. 17:30, 31.

2 Mazima ddala kikulu nnyo okukimanya nti Katonda ataddewo olunaku olw’okusalirako abantu omusango. Omusango ogwo gujja kusalibwa oyo Pawulo gw’ataayogera linnya naye ffe gwe tumanyi nti ye Yesu Kristo eyazuukizibwa. Yesu okusala omusango kijja kutegeeza bulamu oba kufa.

3. Lwaki Yakuwa yakola endagaano ne Ibulayimu, era b’ani abalina ekifo ekikulu mu kugituukiriza?

3 Olunaku lw’Okusalirako Omusango lujja kuba lwa myaka 1,000. Yesu y’ajja okuba omulamuzi mu linnya lya Yakuwa nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, kyokka tajja kuba yekka. Yakuwa alina abalala b’alonze okuva mu lulyo lw’omuntu okufugira wamu ne Yesu n’okusala omusango mu lunaku olwo olw’emyaka olukumi. (Geraageranya Lukka 22:29, 30.) Emyaka nga 4,000 egiyiseewo, Yakuwa yakola enteekateeka ekwata ku lunaku olwo bwe yakola endagaano n’omuweereza we omwesigwa Ibulayimu. (Soma Olubereberye 22:17, 18.) Endagaano eno yakolebwa mu 1943 B.C.E. Kya lwatu nti Ibulayimu teyategeera mu bujjuvu engeri endagaano eyo gye yandiganyuddemu olulyo lw’omuntu. Naye ffe tukimanyi nti okusinziira ku biri mu ndagaano eno, ezzadde lya Ibulayimu lirina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda eky’okusalira olulyo lw’omuntu omusango.

4, 5. (a) Ezzadde ekkulu erya Ibulayimu y’ani, era kiki kye yayogera ku Bwakabaka? (b) Essuubi ery’okubeera mu Bwakabaka lyaweebwa ddi abantu?

4 Ezzadde ekkulu erya Ibulayimu yali Yesu, eyafukibwako omwoyo omutukuvu mu 29 C.E. n’afuuka Masiya eyasuubizibwa oba Kristo. (Bag. 3:16) Yesu yandimaze emyaka essatu n’ekitundu ng’alangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka eri eggwanga ly’Abayudaaya. Oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Yokaana Omubatiza, Yesu yakiraga nti waliwo abalala abasobola okuba n’essuubi ery’okubeera mu Bwakabaka obwo bwe yagamba nti: “Okuva mu nnaku za Yokaana Omubatiza okutuuka kati, obwakabaka obw’omu ggulu abantu bwe baluubirira, era abo ababuluubirira babufuna.”​—Mat. 11:12, NW.

5 Nga Yesu tannayogera ku abo ‘abaluubirira’ okufuna Obwakabaka obw’omu ggulu, yasooka kugamba nti: “Ddala mbagamba nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw’omu ggulu amusinga ye.” (Mat. 11:11) Lwaki Yesu yagamba bw’atyo? Kubanga abantu abeesigwa baali tebanaweebwa ssuubi ery’okubeera mu Bwakabaka okutuusa omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku Pentekoote 33 C.E. Ekiseera ekyo kyagenda okutuuka, Yokaana Omubatiza yali amaze okufa.​—Bik. 2:1-4.

Ezzadde lya Ibulayimu Liweebwa Obutuukirivu

6, 7. (a) Mu ngeri ki ezzadde lya Ibulayimu gye lyali ery’okuba “ng’emmunyeenye ez’omu ggulu”? (b) Mukisa ki Ibulayimu gwe yafuna, era mukisa ki ezzadde lye gwe lifuna?

6 Katonda yagamba Ibulayimu nti ezzadde lye lyandyeyongedde obungi ne liba “ng’emmunyeenye ez’omu ggulu” era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. (Lub. 13:16; 22:17) Mu ngeri endala, mu kiseera kya Ibulayimu abantu baali tebasobola kumanya muwendo gw’abo abandibadde mu zzadde lino. Wabula ekiseera bwe kyayitawo, omuwendo omujjuvu ogw’ezzadde gwabikkulwa. Ng’oggyeko Yesu, omuwendo ogwo gulimu abantu 144,000.​—Kub. 7:4; 14:1.

7 Ekigambo kya Katonda kyogera bwe kiti ku kukkiriza kwa Ibulayimu: “[Ibulayimu] n’akkiriza Mukama; n’akumubalira okuba obutuukirivu.” (Lub. 15:5, 6) Kyo kituufu nti tewali muntu yenna atuukiridde mu bujjuvu. (Yak. 3:2) Wadde kiri kityo, olw’okukkiriza kwa Ibulayimu okw’amaanyi, Yakuwa yamutwala ng’omutuukirivu era n’atuuka n’okumuyita mukwano gwe. (Is. 41:8) Yesu n’abo abali mu zzadde lya Ibulayimu ery’omwoyo balangirirwa okuba abatuukirivu, era kino kibaleetera emikisa mingi n’okusinga egyo Ibulayimu gye yafuna.

8. Mikisa ki ab’ezzadde lya Ibulayimu gye bafuna?

8 Abakristaayo abaafukibwako amafuta baweebwa obutuukirivu olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu ey’ekinunulo. (Bar. 3:24, 28) Mu maaso ga Yakuwa, basonyiyibwa ebibi era ne bafukibwako omwoyo omutukuvu okubeera abaana ba Katonda ab’omwoyo, baganda ba Yesu Kristo. (Yok. 1:12, 13) Bayingira mu ndagaano empya era ne bafuuka eggwanga eppya, “Isiraeri wa Katonda.” (Bag. 6:16; Luk. 22:20) Ng’eyo nkizo ya maanyi! N’olwekyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebalina ssuubi lya kubeera ku nsi mirembe gyonna. Ekyo bakyefiiriza basobole okufugira awamu ne Yesu mu ggulu mu Lunaku lw’Okusalirako Omusango.​—Soma Abaruumi 8:17.

9, 10. (a) Ddi Abakristaayo lwe baasooka okufukibwako omwoyo omutukuvu, era kiki ekyali kibalindiridde? (b) Buyambi ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe baafuna?

9 Ku Pentekoote 33 C.E., ekibinja ky’abantu abeesigwa baweebwa omukisa gw’okubeera abamu kw’abo abandifuze ne Yesu mu Lunaku lw’Okusalirako Omusango. Abayigirizwa ba Yesu nga 120 baabatizibwa n’omwoyo omutukuvu bwe kityo ne baba nga be Bakristaayo abaasooka okufukibwako amafuta. Kyokka gye bali eyo yali ntandikwa butandikwa. Okuva olwo, baalina okubeera abeesigwa eri Yakuwa wadde nga Setaani yandibayisizza mu kugezesebwa okutali kumu. Okusobola okuweebwa engule ey’obulamu mu ggulu, kyali kibeetaagisa okusigala nga beesigwa okutuusiza ddala okufa.​—Kub. 2:10.

10 Bwe kityo, Yakuwa yakozesa Ekigambo kye n’ekibiina Ekikristaayo okubuulirira n’okuzzaamu amaanyi Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’e Ssessaloniika nti: “Nga kitaabwe bw’aba eri abaana be, nga tubabuulira era nga tubagumya emyoyo era nga tutegeeza, mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye n’ekitiibwa.”​—1 Bas. 2:11, 12.

11. Byawandiikibwa ki Yakuwa bye yawa “Isiraeri wa Katonda”?

11 Nga wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lw’okulonda abaasooka ab’omu kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, Yakuwa yakiraba nga kyetaagisa okuwandiisa ebikwata ku buweereza bwa Yesu obw’oku nsi, engeri Katonda gye yakolaganamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kyasa ekyasooka, wamu n’okubuulirira kwe yabawa. N’olwekyo Yakuwa yagatta Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ebyaluŋŋamizibwa ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyali byaggwa okuwandiikibwa. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okusooka byawandiikibwa okuganyula eggwanga lya Isiraeri mu kiseera lwe baalina enkolagana ey’enjawulo ne Katonda. Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byawandiikibwa okusingira ddala kuganyula “Isiraeri wa Katonda,” abo abaafukibwako amafuta okuba baganda ba Kristo era abaana ba Katonda ab’omwoyo. Kyokka ekyo tekitegeeza nti abataali Baisraeri baali tebasobola kuganyulwa mu kusoma Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abataafukibwako mafuta baganyulwa nnyo bwe basoma era ne bassa mu nkola okubuulirira okuli mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani.​—Soma 2 Timoseewo 3:15-17.

12. Kiki Pawulo kye yajjukiza Abakristaayo abaafukibwako amafuta?

12 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baaweebwa obutuukirivu era ne bafukibwako amafuta basobole okufuna obusika bwabwe obw’omu ggulu. Eky’okuba nti baafukibwako amafuta tekyabafuula bakabaka ku Bakristaayo bannaabwe abaafukibwako amafuta nga bakyali ku nsi. Kirabika nti abamu ku Bakristaayo abasooka baatandika okwagala okufuna ettutumu mu baganda baabwe mu kibiina. Eno ye nsonga lwaki Pawulo yabagamba nti: “Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe: era mubeera kufuga nandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.” (1 Kol. 4:8) N’olwekyo, Pawulo yajjukiza abaafukibwako amafuta ab’omu kiseera kye nti: “Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe naye tuli bakozi bannammwe ab’essanyu lyammwe.”​—2 Kol. 1:24.

Okujjuza Omuwendo Ogwalagulwa

13. Okulondebwa kw’abaafukibwako amafuta kweyongera kutya mu maaso oluvannyuma lwa 33 C.E.?

13 Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000 bonna tebaalondebwa mu kyasa ekyasooka. Okulondebwa kwabwe kweyongera mu maaso mu kiseera ky’abatume naye ekiseera kyatuuka abaalondebwanga ne baba batonotono. Kyokka okulondebwa kweyongera mu maaso mu byasa byonna ebyaddirira okutuusa mu kiseera kyaffe. (Mat. 28:20) Oluvannyuma lwa Yesu okutandika okufuga nga Kabaka mu 1914, okulondebwa okwo kweyongera mu maaso ku sipiidi eya waggulu.

14, 15. Kiki ekibaddewo mu kiseera kyaffe ekikwata ku kulondebwa kw’abaafukibwako amafuta?

14 Ekisooka, Yesu yamalawo okuva mu ggulu abo bonna abawakanya obufuzi bwa Katonda. (Soma Okubikkulirwa 12:10, 12.) Bwe yamala ekyo, yatandika okukuŋŋaanya abo abaali basigaddeyo ku 144000 abanaafugira wamu naye mu Bwakabaka bwe. Emyaka gya 1930 we gyatuukira okulondebwa okwo kwali kunaatera okuggwa era nga bangi kw’abo abakkirizanga amawulire amalungi tebaalina ssuubi lya kugenda mu ggulu. Omwoyo omutukuvu gwali tegubawa bujulirwa nti baana ba Katonda. (Geraageranya Abaruumi 8:16.) Wabula baakiraba nti baali ba ‘ndiga ndala,’ abalina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. (Yok. 10:16) N’olwekyo, oluvannyuma lwa 1935 essira lyateekebwa ku kukuŋŋaanya “ekibiina ekinene,” omutume Yokaana be yalaba mu kwolesebwa era abandiwonyewo mu “kibonyoobonyo ekinene.”​—Kub. 7:9, 10, 14, NW.

15 Kyokka, mu myaka egiyiseewo okuva mu gya 1930, abantu abatonotono balondeddwa okuba n’essuubi ery’omu ggulu. Lwaki? Emirundi egimu kiyinza okuba nti balondebwa okudda mu bifo by’abo abaali balondeddwa naye ne batasigala nga beesigwa. (Geraageranya Okubikkulirwa 3:16.) Pawulo yayogera ku bantu be yali amanyi abaali bavudde mu mazima. (Baf. 3:17-19) Baani Yakuwa be yandironze okudda mu bifo ebyo? Ekyo y’alina okukisalawo. Wadde kiri kityo, tetwandirowoozezza nti yandironze abantu abaakayiga amazima, wabula abo​—okufaananako abayigirizwa Yesu be yayogera nabo bwe yatandikawo omukolo gw’Ekijjukizo​—abamaze ebbanga nga bakyoleka nti beesigwa.a​—Luk. 22:28.

16. Kiki ekikwata ku baafukibwako amafuta ekituleetera essanyu, era tuli bakakafu ku ki?

16 Kyokka kirabika nti si bonna abalondeddwa okuba n’essuubi ery’omu ggulu okuva mu myaka gya 1930 balondeddwa kudda mu bifo by’abo abavudde mu mazima. Kyeyoleka bulungi nti Yakuwa asazeewo nti tujja kubeera n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kiseera kyonna eky’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno okutuusizza ddala nga ‘Babulooni Ekinene’ kimaze okuzikirizibwa.b (Kub. 17:5) Era tuli bakakafu nti omuwendo omujjuvu ogwa 144,000 gujja kujjuzibwa mu kiseera kya Yakuwa ekigereke era nti oluvannyuma lwa byonna bonna bajja kufugira mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Era tulina obwesige mu Kigambo ky’obunnabbi nti okutwalira awamu, ab’ekibiina ekinene ekigenda kyeyongera obunene bajja kusigala nga beesigwa. Mangu ddala bajja ‘kuva mu kibonyoobonyo ekinene’ ekigenda okuleetebwa ku nsi ya Setaani era n’essanyu bajja kuyingira mu nsi ya Katonda empya.

Gavumenti ya Katonda ey’Omu Ggulu Eneetera Okujjula!

17. Okusinziira ku 1 Abasessaloniika 4:15-17 n’Okubikkulirwa 6:9-11, kiki ekibaddewo ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta abaafa nga beesigwa?

17 Okuva mu 33 C.E., enkumi n’enkumi z’Abakristaayo abaafukibwako amafuta balaze okukkiriza okw’amaanyi era basigadde nga beesigwa okutuusiza ddala okufa. Kino kyeyoleka bulungi nti basaanyizibwa okuweebwa Obwakabaka era​—nga kirabika okuva mu matandika g’okubeerawo kwa Kristo​—bamaze okuweebwa empeera yaabwe.​—Soma 1 Abasessaloniika 4:15-17; Okubikkulirwa 6:9-11.

18. (a) Abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi bakakafu ku ki? (b) Ab’endiga endala bawulira batya bwe balowooza ku baganda baabwe Abakristaayo abaafukibwako amafuta?

18 Abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi bakakafu nti singa basigala nga beesigwa, mu kiseera ekitali kya wala bajja kufuna empeera yaabwe. Ab’endiga endala bwe balowooza ku kukkiriza kwa baganda baabwe abaafukibwako amafuta, bakkiriziganya n’ebigambo by’omutume Pawulo, eyayogera ku b’oluganda abaafukibwako amafuta ab’omu Sessaloniika nti: “Naffe bennyini n’okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n’okubonaabona kwe muzibiikiriza; ebyo ke kabonero k’omusango gwa Katonda ogw’ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n’okubonaabona bwe mubonaabonera.” (2 Bas. 1:3-5) Omukristaayo eyafukibwako amafuta asembayo ku nsi bw’alifa, gavumenti ya Katonda ey’omu ggulu eriba ejjudde. Ng’ekyo kijja kuba kya ssanyu nnyo​—mu ggulu ne ku nsi!

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 1, 1992, olupapula 10, akatundu 17.

b Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Maayi 1, 2007.

Osobola Okunnyonnyola?

• Kiki ekikwata ku Lunaku lw’Okusalirako Omusango Katonda kye yabikkulira Ibulayimu?

• Lwaki Ibulayimu yabalirwa obutuukirivu?

• Mukisa ki ab’ezzadde lya Ibulayimu gwe bafuna olw’okuweebwa obutuukirivu?

• Bukakafu ki Abakristaayo bonna bwe balina?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Yesu yakubiriza abagoberezi be okuluubirira Obwakabaka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Ku Pentekoote 33 C.E., Yakuwa yatandika okulonda abalala abali mu zzadde lya Ibulayimu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]

Ab’endiga endala basanyufu okuba n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu nnaku ez’oluvannyuma

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share