Obulamu Bwabwe Bweyongera Okuba obw’Amakulu n’Obubwo Busobola?
MARC, ow’oluganda omu mu Canada, yali akola mu kampuni efulumya ebyuma ebikozesebwa ab’ebitongole ebikola ku kugenda mu bwengula. Omulimu ogwe tegwali gwa kiseera kyonna era ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo. Lumu mukama we yali ayagala kumukuza atandike okukola ekiseera kyonna era ng’afuna omusaala munene ddala. Marc yakola atya?
Amy, mwanyinaffe omu mu Philippines, yali aweereza nga payoniya owa bulijjo nga bw’amaliriza emisomo gye. Oluvannyuma yafuna omulimu ogumusasula obulungi ddala naye nga gumutwalira ebiseera bye ebisinga. Amy yasalawo ki?
Marc yasalawo mu ngeri ya njawulo ku ya Amy, era ebyavaamu biraga obulungi bw’amagezi agaaweebwa Abakristaayo b’omu kibuga ky’e Kkolinso eky’edda. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Abo abakozesa ensi babe ng’abo abatagikozesa mu bujjuvu.”—1 Kol. 7:29-31, NW.
Kozesa Ensi, Naye Si mu Bujjuvu
Nga tetunnamanya Marc ne Amy kye baakola, ka tusooke twetegereze amakulu g’ekigambo “nsi” (oba, koʹsmos mu Luyonaani) Pawulo kye yakozesa mu bbaluwa ye eri Abakkolinso. Mu kyawandiikibwa ekyo, koʹsmos kitegeeza enteekateeka eriwo mu nsi eno mwe tuli era nga kizingiramu n’ebintu ebyetaagisa mu bulamu obwa bulijjo, gamba ng’aw’okusula, eby’okulya n’eby’okwambala.a Abasinga ku ffe tulina okukola okusobola okufuna ebyetaago ng’ebyo. Mu butuufu, tulina okukozesa ensi okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe okwerabirira n’okulabirira ab’omu maka gaffe. (1 Tim. 5:8) Naye ate tukimanyi nti ‘ensi ejja kuggwaawo.’ (1 Yok. 2:17) N’olwekyo tukozesa ensi nga bwe kyetaagisa, naye si “mu bujjuvu.”—1 Kol. 7:31.
Olw’okuba Baibuli etukubiriza obutakozesa nsi mu bujjuvu, ab’oluganda bangi basaze ku biseera bye bamala ku mirimu, era beggyeko buli kintu kye bateetaaga mu bulamu. Oluvannyuma lw’okukola ekyo bakizudde nti obulamu bwabwe bweyongedde okuba n’amakulu kubanga bafunye ebiseera ebisingako okubeerako awamu n’ab’omu maka gaabwe n’okuweereza Yakuwa. Eky’okuba n’ebintu ebitono mu bulamu kibaleetedde okwesigama ennyo ku Yakuwa mu kifo ky’okwesigama ku nsi eno. Naawe oyinza okukola bw’otyo—ne weggyako buli kintu ekikukugira okukola ekisingawo mu mulimu gw’Obwakabaka bwa Katonda?—Mat. 6:19-24, 33.
“Enkolagana Yaffe ne Yakuwa Yeeyongedde Okunywera”
Marc, eyayogeddwako, yagoberera obulagirizi bwa Baibuli obutakozesa nsi mu bujjuvu. Omulimu omuppya gwe baali bamuwadde yagugaana. Nga wayise ennaku ntono, mukama we yamusuubiza omusaala ogusingako obunene bw’akkiriza omulimu ogwo. Marc agamba nti: “Tekyali kyangu naye era nnagugaana.” Annyonnyola ensonga lwaki: “Nze ne mukyala wange, Paula, twali twagala okukozesa obulamu bwaffe okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. N’olwekyo, twasalawo okweggyako ebintu byonna bye twali tuteetaaga mu bulamu. Twasaba Yakuwa okutuwa amagezi tusobole okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe era twateekawo olunaku lwe twali ab’okwongera ku biseera bye tumuweereza.”
Paula agamba nti: “Nnali nkola ennaku ssatu buli wiiki ng’omuwandiisi mu ddwaliro erimu era nga nfuna omusaala mulungi. Era nnali mpereeza nga payoniya. Kyokka okufaananako Marc, nnali njagala kuweereza Yakuwa mu kifo kyonna awali obwetaavu obusingako obw’abalangirizi b’Obwakabaka. Naye bwe nnategeeza mukama wange nti ŋŋenda kuleka mulimu, yaŋŋamba nti waaliwo omulimu omupya ogusinga ku gwe nnalina era nti nnalina ebisaanyizo okugufuna. Ogwo gwe mulimu ogwali gusingayo okusasula obulungi gwe nnali nsobola okuweebwa mu ddwaliro eryo, naye nnanywerera ku kye nnali nsazeewo. Mukama wange bwe nnamuwa ensonga lwaki nnali sijja kusaba mulimu ogwo, yaŋŋamba nti kirungi okuba n’okukkiriza ng’okwo.”
Mu banga ttono, Marc ne Paula baatandika okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu kibiina ekimu ekitono mu kitundu kya Canada ekyesudde. Okukola kino kyabaviiramu ki? Marc agamba nti: “Nnalimu okutya olw’okuleka omulimu ogwali gunsasula obulungi era nga ngukoledde ebbanga ddene, naye Yakuwa yatuwa emikisa mu buweereza bwaffe. Okuyamba abalala okutandika okuweereza Katonda kituwadde essanyu lingi nnyo. Era obuweereza obw’ekiseera kyonna butuyambye mu bufumbo. Emirundi egisinga tuba tunyumya ku bintu ebikulu ddala—ebintu eby’omwoyo. Enkolagana yaffe ne Katonda yeeyongedde okuba ennungi.” (Bik. 20:35) Paula ayongerako nti: “Bw’oleka omulimu gwo n’ova ne mu maka g’obadde omanyidde, oba olina okwesiga ennyo Yakuwa. Bwe tutyo bwe twakola, era Yakuwa yatuwa emikisa. Baganda baffe ne bannyinnaffe mu kibiina gye tuli balaga nti batwagala era nti tuli ba mugaso. Amaanyi ge nnali nkozesa ku mulimu gwange kati ngakozesa okuyamba abantu okuweereza Katonda. Ndi musanyufu nnyo okuweereza mu ngeri eno.”
‘Mugagga, Naye nga Si Musanyufu’
Amy, eyayogeddwako, yasalawo mu ngeri ndala. Yakkiriza omulimu guli omulungi ogw’ekiseera kyonna ogwali gumuweereddwa. Amy agamba nti: “Omwaka ogwasooka nnasigala nkyabuulira, naye ebbanga bwe lyagenda liyitawo, nneesanga nga essira nditadde ku mulimu gwange mu kifo ky’okuweereza Yakuwa. Nnafuna emikisa egiwerako okukuzibwa ku mulimu era nnatandika okukola buli kye nsobola okulaba nti ntuuka ku ddala erya waggulu mu kampuni. Obuvunaanyizibwa bwange ku mulimu gye bwakoma okweyongera, n’ebiseera bye nnali mala mu buweereza gye byakoma okukendeera. Oluvannyuma, nnalekerera ddala awo okubuulira.”
Ng’ajjukira ekiseera ekyo, Amy agamba nti: “Nnali mugagga. Nnatambula mu bifo bingi era ng’omulimu ogwo gumpeesa ekitiibwa. Kyokka ssaali musanyufu. Wadde nga nnalina ssente, nnalina ebizibu bingi. Nneebuuzanga ebizibu kwe byali biva. Oluvannyuma nnakiraba nti olw’okwemalira ku mulimu, kumpi nnali ‘nkyamiziddwa okuva mu kukkiriza.’ Ng’Ekigambo kya Katonda bwe kigamba, nnalina ‘ennaku nnyingi.’”—1 Tim. 6:10.
Amy yakola atya? Agamba nti: “Nnasaba abakadde okunnyamba mu by’omwoyo era nnatandika okujja mu nkuŋŋaana. Lumu nnatandika okukaaba nga tuyimba. Nnajjukira essanyu lye nnalina mu myaka etaano gye nnaweereza nga payoniya wadde nga mu biseera ebyo nnali mwavu. Nnakiraba nti nnina okulekerawo okumalira ebiseera mu kukola ssente nkulembeze Obwakabaka mu bulamu bwange. Nnasaba okukola omulimu ogwa wansi ku gwe nnalina, omusaala gwange ne gusalwako kimu kyakubiri, era bw’entyo ne nziramu okubuulira.” Amy agamba nti: “Nnali musanyufu mu kiseera ekitono kye nnaweereza nga payoniya. Obutafaananako luli ng’ebiseera ebisinga mbimalira ku mulimu, kati ndi mumativu.”
Osobola okukola enkyukakyuka ne weggyako ebintu ebikumalako ebiseera? Ebiseera by’onoofuna ng’okoze bw’otyo bw’onoobikozesa mu mulimu gw’Obwakabaka, obulamu bwo bujja kweyongera okuba obw’amakulu.—Nge. 10:22.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 1207-8.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 19]
Osobola okukola enkyukakyuka mu bulamu nga weggyako byonna by’oteetaaga?
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
“Nnatandika Dda Okubwagala!”
David, omukadde Omukristaayo mu Amerika, yali ayagala kweyunga ku mukazi we n’abaana mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Yasaba omulimu ogutali gwa kiseera kyonna mu kampuni gye yali akolera, era n’atandika okuweereza nga payoniya. Kino kyayongera obulamu bwe okuba obw’amakulu? Nga wayise emyezi egiwerako, David yawandiikira mukwano gwe n’amugamba nti: “Tewali kireeta ssanyu ng’omuntu okuweereza Yakuwa mu bujjuvu awamu n’ab’omu ge. Nnali manyi nti kijja kuntwalira ebbanga okumanyira obwa payoniya, naye nnatandika dda okubwagala! Kinzizzaamu nnyo amaanyi.”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Marc ne Paula nga babuulira