LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/10 lup. 3-5
  • “Osobola Okufuuka Payoniya Omulungi!”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Osobola Okufuuka Payoniya Omulungi!”
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Similar Material
  • Kino Kye Kiseera Okubuulira!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Okuweereza nga Bapayoniya Kinyweza Enkolagana Yaffe ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Wali Oweerezzaako nga Payoniya owa Bulijjo?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Osobola Okuyingira ‘Omulyango Omugazi Ogutuusa ku Mirimu Emingi’?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 5/10 lup. 3-5

“Osobola Okufuuka Payoniya Omulungi!”

1. Mwannyinaffe omu yalina ndowooza ki ku buweereza bwe nga payoniya?

1 Kathe B. Palm yagamba nti: “Sandifunye mulimu mulala gundeetera bumativu oba emiganyulo mu by’omwoyo okusinga guno.” Yamala emyaka mingi ng’aweereza nga payoniya, era yawa obujulirwa mu kitundu kyonna ekiyitibwa Chile, eky’omu Amerika ow’omu Maserengeta. Omuntu bw’akugamba nti: “Osobola okufuuka payoniya omulungi!,” oboolyawo aba alowoozezza ku miganyulo abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna gye bafuna.

2. Nnyonnyola ensonga lwaki obumativu obwa nnamaddala buva mu kwenyigira mu bintu eby’eby’omwoyo.

2 Obulamu Obumatiza: Yesu gwe Tugoberera, yafuna obumativu mu kukola Kitaawe by’ayagala. (Yok. 4:34) N’olwekyo, yali mwesimbu bwe yayigiriza abagoberezi be nti obumativu obwa nnamaddala buva mu kukola emirimu egikwatagana n’okusinza Yakuwa. Tuba bamativu bwe tukola ebintu ebituleetera okusiimibwa Yakuwa. Okugatta ku ekyo, essanyu lyaffe lyeyongera bwe tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuyamba abalala.—Bik. 20:31, 35.

3. Ssanyu ki lye tuyinza okufuna bwe tumala ebiseera bingi mu buweereza?

3 Gye tukoma okumala ekiseera ekiwanvu mu buweereza n’essanyu eriva mu kutandika n’okuyigiriza abayizi ba Baibuli gye likoma okweyongera. Bwe tugenda tweyongera okufuna obumanyirivu mu buweereza tukizuula nti n’ekitundu ekirabika ng’omuli abantu abateefiirayo ku bubaka bwaffe, kivaamu ebibala bingi okusinga bwe twali tulowooza mu kusooka. Bapayoniya basobola okukozesa bye baba bayize mu Ssomero Lya Bapayoniya lye bagendamu oluvannyuma lw’okuweereza nga bapayoniya okumala omwaka nga gumu. (2 Tim. 2:15) Bwe tunyiikira, tuyinza okusiga ensigo ez’amazima ezinaavaamu ebibala mu biseera eby’omu maaso.—Mub. 11:6.

4. Abavubuka abanaatera okumala emisomo gyabwe egya siniya basaanidde kulowooza ku ki?

4 Abavubuka: Nga bw’omaliriza emisomo gyo egya siniya, olowoozezza ku biseera byo eby’omu maaso? N’okutuusa kati, emisomo gyo gikutwalako ebiseera byo ebisinga obungi. Onookozesa otya ebiseera byo, ng’omalirizza emisomo gyo? Mu kifo ky’okuluubirira emirimu gy’ensi, lwaki tolowooza ku kiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo era n’okissa ne mu ssaala zo? Obumanyirivu bw’onoofuna—ng’owa abantu ab’enjawulo obujulirwa, ng’ovvuunuka ebizibu by’oba osanze, ng’oyiga okwefuga, era ng’okulaakulanya obusobozi bwo obw’okuyigiriza—bujja kukuganyula obulamu bwo bwonna.

5. Abazadde n’abo abali mu kibiina basobola batya okukubiriza abalala okuweereza nga bapayoniya?

5 Abazadde, mutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe nga muyamba abaana bammwe okuluubirira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Bye mwogera n’ekyokulabirako ekirungi kyemubateerawo bikola kinene mu kuyamba abaana bammwe okukulembeza Obwakabaka. (Mat. 6:33) Ray, eyatandika okuweereza nga payoniya nga yaakamaliriza emisomo gye egya siniya, agamba bw’ati: “Maama wange bulijjo yaŋŋambanga nti okuweereza nga payoniya kusobozesa omuntu okuba n’obulamu obumatiza.” Bonna abali mu kibiina basobola okukubiriza abalala okuweereza nga bapayoniya nga kino bakikola mu bigambo era nga babawagira. Jose abeera mu Spain, agamba nti: “Ekibiina mwendi kyatwalanga omulimu gw’okuweereza nga payoniya ng’omulimu ogusingirayo ddala obulungi abavubuka gwe bayinza okukola. Bye baayogeranga n’okusiima kwe baalina eri obuweereza buno awamu n’obuyambi bwabwe byannyamba okutandika okuweereza nga payoniya.”

6. Bwe kiba nga mu kiseera kino teweegomba kuweereza nga payoniya kiki ky’oyinza okukola?

6 Okuvvuunuka Ebiremesa: Watya singa ogamba nti, ‘seegomba kuweereza nga payoniya.’ Bwe kiba nti bw’otyo mu kusooka bwe weewulira, tegeeza Yakuwa engeri gye weewuliramu ng’oyitira mu kusaba era omugambe nti, ‘simanyi obanga nsobola okuweereza nga payoniya, naye njagala okukola ekikusanyusa.’ (Zab. 62:8; Nge. 23:26) Oluvannyuma noonya obulagirizi bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye n’ekibiina kye. Bapayoniya bangi aba bulijjo baasooka kuweereza nga bapayoniya abawagizi, era essanyu lye baafuna lyabakubiriza okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.—Zab. 34:8.

7. Kiki kye tuyinza okukola singa tuba tetwekakasa nti tusobola okuweza essaawa 70 bapayoniya aba bulijjo ze bawaayo buli mwezi?

7 Watya nga teweekakasa nti osobola okuweza essaawa 70 bapayoniya aba bulijjo ze bawaayo buli mwezi? Lwaki toyogerako n’abo abaweereza nga bapayoniya naye nga bali mu mbeera efaananako n’eyiyo? (Nge. 15:22) Oluvannyuma lowooza ku nteekateeka ez’enjawulo era ozisse mu buwandiike. Oyinza okukizuula nti okwegulira ebiseera nga weerekereza ebintu ebimu ebitali bikulu nnyo ne weenyigira mu buweereza, kyangu okusinga bwe wali olowooza mu kusooka.—Bef. 5:15, 16.

8. Lwaki tusaanidde okwekenneenya embeera zaffe buli luvannyuma lwa kiseera?

8 Ddamu Weekenneenye Embeera Yo: Embeera z’abantu zikyukakyuka. Kirungi okuddamu okwekenneenya embeera yo buli luvannyuma lwa kiseera. Ng’ekyokulabirako, onaatera okuwummula ku mulimu? Randy eyawummula ku mulimu ng’ekiseera kye tekinnatuuka agamba nti: “Okuwummula kitusobozesezza nze ne mukyala wange okutandika okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo era kituwadde akakisa okuweereza mu bifo awali obwetaavu obusingako. Nfunye emikisa ntoko olw’okusalawo okuweereza nga payoniya, naye ekisinga byonna nnina omuntu ow’omunda omulungi.”

9. Kiki abafumbo kye basaanidde okulowoozaako?

9 Oluvannyuma lw’okwekenneenya embeera zaabwe, abafumbo abamu bakisanze nti bombi tebeetaaga kukola kiseera kyonna. Kituufu nti kino kiyinza okwetaagisa ab’omu maka okugonza obulamu bwabwe, naye bw’okikola kivaamu emiganyulo mingi nnyo. John, alina omukyala eyalekera awo okukola ekiseera kyonna okusobola okugaziya ku buweereza bwe, agamba nti: “Teri kinsanyusa nga kumanya nti mukyala wange yenyigira nnyo mu mulimu gwa Yakuwa.”

10. Kiki ekikubiriza Abakristaayo okusalawo okuweereza nga bapayoniya?

10 Kiraga Okwagala n’Okukkiriza: Omulimu gw’okubuulira, Yakuwa agufudde mukulu nnyo era buli omu ku ffe asobola okugukola. Enteekateeka y’ebintu eno enaatera okuzikirizibwa era abo bokka abakoowoola erinnya lya Yakuwa be banaalokolebwa. (Bar. 10:13) Omutima ogujjudde okwagala n’okusiima olw’ebintu by’atukoledde, gujja kutukubiriza okugondera ekiragiro ky’Omwana we eky’okubuulira n’obunyiikivu. (Mat. 28:19, 20; 1 Yok. 5:3) Okugatta ku ekyo, okuba n’okukkiriza nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, kijja kutukubiriza okukola kyonna kye tusobola mu buweereza nga wakyaliwo akaseera, mu kifo ky’okukozesa ensi mu bujjuvu.—1 Kol. 7:29-31.

11. Omuntu bw’akugamba nti osobola okufuuka payoniya omulungi osaanidde kukitwala otya?

11 Okuweereza nga payoniya owa bulijjo kisingawo ku kutuukiriza obutuukiriza essaawa; kiba kiraga okwemalira ku Katonda. N’olwekyo, omuntu bw’akugamba nti osobola okufuuka payoniya omulungi, kitwale nti akulabyemu obusobozi. Era saba Yakuwa akuyambe okulowooza ku ky’okufuuka omu kw’abo abali mu buweereza buno obumatiza.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]

Abazadde, mutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe nga muyamba abaana bammwe okuluubirira obuweereza obw’ekiseera kyonna?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

Omulimu gw’okubuulira Yakuwa agufudde mukulu nnyo era buli omu ku ffe asobola okugukola.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share