Osobola Okuyingira ‘Omulyango Omugazi Ogutuusa ku Mirimu Emingi’?
1. ‘Omulyango omugazi ogutuusa ku mirimu emingi’ ogutugguliddwawo gwe guliwa?
1 ‘Omulyango omugazi ogutuusa ku mirimu emingi’ bwe gwaggulibwawo eri omutume Pawulo, yakozesa akakisa ako okubunyisa amawulire g’Obwakabaka n’essanyu wadde nga waaliwo bangi abaali bamuziyiza. (1 Kol. 16:9) Leero ababuulizi b’Obwakabaka nga 642,000 okwetooloola ensi yonna bayingidde omulyango omugazi ogutuusa ku mirimu emingi nga bakola nga bapayoniya aba bulijjo.
2. Lwaki kirungi okwekenneenya embeera zaffe buli kiseera?
2 Embeera Zikyuka: Wadde ng’embeera ze tulimu mu kiseera kino ziyinza okutulemesa okukola ekisingawo mu buweereza, embeera ezo zisobola okukyuka. N’olwekyo, kiba kirungi ne twekenneenya embeera zaffe buli kiseera, ne tutalinda kumala kuba mu mbeera nnungi nnyo. (Mub. 11:4) Oli muvubuka ali okumpi okumaliriza emisomo gyo egya sekendule? Oli muzadde alina abaana abanaatera okutandika okusoma? Oli mukozi anaatera okuwummula emirimu gyo? Enkyukakyuka ng’ezo ziyinza okukusobozesa okufuna obudde obumala okukola nga payoniya owa bulijjo. Mwannyinaffe omu ow’emyaka 89 eyali amaze ekiseera ng’alwalalwala yasalawo okuweereza nga payoniya. Lwaki? Olw’okuba yali amaze ebbanga erisukka mu mwaka nga tagenda mu ddwaliro, muli yawulira ng’obulamu bwe bumusobozesa okukola nga payoniya.
3. Abamu bakoze nkyukakyuka ki okusobola okuweereza nga bapayoniya?
3 Mu kusookera ddala, Pawulo yali ayagala okukyalira baganda be ab’omu Kkolinso. Wadde kyali bwe kityo, yakyusa enteekateeka ze ku lw’amawulire amalungi. Bangi leero abakola nga bapayoniya aba bulijjo baalina okukola enkyukakyuka eziwerako okusobola okuweereza nga bapayoniya. Abamu bakendeezezza ku nsaasaanya yaabwe ne kiba nti omulimu ogutali gwa kiseera kyonna gubasobozesa okufuna bye beetaaga mu bulamu. Bafunye essanyu mu buweereza bwabwe. (1 Tim. 6:6-8) Abafumbo abamu bakoze enkyukakyuka ezibasobozesezza okweyimirizaawo wadde ng’omwami yekka y’akola, ne kiba nti omukyala asobola okuweereza nga payoniya.
4. Kiki kye tuyinza okukola singa tuba tetwekakasa nti tuyinza okuweza essaawa ezeetaagisibwa?
4 Totya kutandika kukola nga payoniya ng’olowooza nti oyinza okulemererwa okuweza essaawa ezeetaagisibwa. Kiyinza okukwetaagisa okukola essaawa nga bbiri n’ekitundu buli lunaku. Bw’oba nga teweekakasa nti oyinza okuweza essaawa ezo, gezaako okukola nga payoniya omuwagizi okumala omwezi nga gumu oba ebiri naye ng’olina ekiruubirirwa eky’okuweza essaawa 70. Kino kijja kukuyamba okulega ku ssanyu eriri mu kuweereza nga payoniya. (Zab. 34:8) Yogerako n’abo abaweereza nga bapayoniya mu kiseera kino. Nabo bayinza okuba nga bavvuunuka ekizibu ekifaananako n’ekikyo. (Nge. 15:22) Saba Yakuwa awe omukisa okufuba kwo okw’okugaziya ku buweereza bwo.—1 Yok. 5:14.
5. Lwaki ddala kisaanira okuba n’ekiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo?
5 Ekiruubirirwa Ekivaamu Emiganyulo: Okuweereza nga payoniya ow’ekiseera kyonna kireeta emiganyulo mingi. Kikusobozesa okufuna essanyu eriva mu kugaba. (Bik. 20:35) Okuweereza nga payoniya kijja kukuyamba okwongera ku busobozi bwo obw’okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda eky’amazima. (2 Tim. 2:15) Kijja kukusobozesa okweyongera okulaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu. (Bik. 11:21; Baf. 4:11-13) Era okuweereza nga payoniya kijja kukuyamba okukulaakulanya ebibala eby’omwoyo, gamba ng’obugumiikiriza era kikuyambe okufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Osobola okuyingira omulyango guno omugazi ng’oweereza nga payoniya?