LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/11 lup. 3
  • Wali Oweerezzaako nga Payoniya owa Bulijjo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Wali Oweerezzaako nga Payoniya owa Bulijjo?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Similar Material
  • Osobola Okuyingira ‘Omulyango Omugazi Ogutuusa ku Mirimu Emingi’?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • “Osobola Okufuuka Payoniya Omulungi!”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Kino Kye Kiseera Okubuulira!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 3/11 lup. 3

Wali Oweerezzaako nga Payoniya owa Bulijjo?

1. Ab’oluganda bangi bafunye nkizo ki, naye ate kiki abamu kye bakoze olw’embeera eziteebeereka?

1 Okumala emyaka mingi, enkumi n’enkumi z’ab’oluganda bafunye enkizo ey’okuweereza ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna nga ‘bayigiriza era nga babuulira amawulire amalungi.’ (Bik. 5:42) Wadde kiri kityo, abamu balekedde awo okuweereza nga bapayoniya olw’ensonga ezitali zimu. Bw’oba nga wali oweerezzaako nga payoniya, olowoozezza ku mbeera gy’olimu kati n’olaba obanga osobola okuddamu okuweereza nga payoniya?

2. Lwaki abo abaalekera awo okuweereza nga bapayoniya basaanidde okwekenneenya embeera gye balimu kati?

2 Embeera Zikyuka: Kiyinza okuba nti embeera eyakuleetera okulekera awo okuweereza nga payoniya ekyuse. Okugeza, bw’oba walekera awo olw’okuba wali tokyasobola kutuukiriza essaawa 90 bapayoniya ze baawangayo buli mwezi, kati osobola okuddamu okuweereza okuva bwe kiri nti mu kiseera kino bawaayo essaawa 70? Obuvunaanyizibwa bwe walina ku mulimu oba mu maka bukendedde okuva lwe walekera awo okuweereza nga payoniya? Mwannyinaffe omu eyalekera awo okuweereza nga payoniya olw’obulwadde, yaddamu okuweereza ng’alina emyaka 89. Yali amaze ebbanga erisukka mu mwaka nga tagenda mu ddwaliro n’akiraba nti embeera y’obulamu bwe yali emusobozesa okuddamu okuweereza nga payoniya!

3. Ab’omu maka bayinza batya okukolera awamu okuyamba omu ku bo okuweereza nga payoniya?

3 Oboolyawo toweerezangako nga payoniya, naye ng’omu ku b’omu maka gammwe yalekera awo okuweereza nga payoniya asobole okulabirira omu ku b’omu maka, gamba ng’omuzadde akaddiye. (1 Tim. 5:4, 8) Bwe kiba bwe kityo, ggwe kennyini oba omuntu omulala mu maka asobola okubaako ky’akolawo okuyambako oyo eyalekera awo okuweereza nga payoniya? Lwaki ensonga eyo temugyogerako ng’amaka? (Nge. 15:22) Ab’omu maka bwe bakolera awamu okuyamba omu ku bo okuweereza nga payoniya, bonna kibaleetera okuwulira nti balina kye bakoze mu mulimu gw’obwapayoniya.

4. Watya singa embeera gy’olimu kati tekusobozesa kuddamu kuweereza nga payoniya mu kiseera kino?

4 Toggwamu maanyi bwe kiba nti embeera gy’olimu kati tekusobozesa kuddamu kuweereza nga payoniya. Eky’okuba nti oli mwetegefu okukikola kisanyusa nnyo Yakuwa. (2 Kol. 8:12) Kozesa obumanyirivu bwe wafuna ng’okyaweereza nga payoniya mu buweereza bwo kati. Bwe kiba nti oyagala okuddamu okuweereza nga payoniya, saba Yakuwa akuyambe era obeere mweteefuteefu okukola enkyukakyuka singa waba wazzeewo akakisa konna. (1 Yok. 5:14) Oboolyawo mu kiseera ekituufu, Yakuwa ajja kukuggulirawo “oluggi olunene olw’okukola emirimu” osobole okuddamu okufuna essanyu eriva mu kuweereza nga payoniya owa bulijjo!—1 Kol. 16:9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share