Ofunye ‘Omwoyo ogw’Amazima’?
‘Kitange alibawa omubeezi omulala, omwoyo ogw’amazima, abeerenga nammwe emirembe n’emirembe.’—YOKAANA 14:16, 17.
1. Bintu ki ebikulu Yesu bye yagamba abayigirizwa be bwe yali nabo mu kisenge ekya waggulu?
‘MUKAMA WAFFE, ogenda wa?’ Ekyo kye kimu ku bibuuzo abatume bye baabuuza Yesu bwe yali nabo mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi. (Yokaana 13:36) Nga bali wamu, Yesu yabategeeza nti yali anaatera okubaleka addeyo eri Kitaawe. (Yokaana 14:28; 16:28) Yali tagenda kuddamu nate kubeera nabo mu mubiri okubayigiriza era n’okuddamu ebibuuzo byabwe. Kyokka, yabagumya ng’agamba: “Ndisaba Kitange, naye alibawa [o]mubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n’emirembe.”—Yokaana 14:16.
2. Kiki Yesu kye yasuubiza okusindikira abayigirizwa be ng’agenze?
2 Yesu yannyonnyola omubeezi oyo ky’ali era n’engeri gye yandiyambyemu abayigirizwa be. Yabagamba: “N’ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe. Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; . . . Kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, [o]mubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli. . . . Naye bw’alijja oyo [o]mwoyo o[g]w’amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna.”—Yokaana 16:4, 5, 7, 13.
3. (a) ‘Omwoyo ogw’amazima’ gwasindikibwa ddi eri Abakristaayo abaasooka? (b) Ngeri ki emu omwoyo ogwo gye gwali ‘omubeezi’ gye bali?
3 Ekisuubizo ekyo kyatuukirizibwa ku Pentekoote 33 C.E., ng’omutume Peetero bwe yakikakasa: “Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, fenna ffe bajulirwa. Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa okusuubiza kw’[o]mwoyo [o]mutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano [era] kye muwulidde.” (Ebikolwa 2:32, 33) Nga bwe tujja okulaba oluvannyuma, omwoyo ogwo omutukuvu ogwafukibwa ku Pentekoote gwakolera Abakristaayo abaasooka ebintu bingi nnyo. Naye Yesu yasuubiza nti ‘omwoyo ogw’amazima’ ‘gwandibajjukizza byonna, byonna bye yabagamba.’ (Yokaana 14:26) Gwandibasobozesezza okujjukira obuweereza bwa Yesu n’okuyigiriza kwe, era n’ebigambo byennyini bye yayogera ne basobola okubiteeka mu buwandiike. Ekyo kyandibadde kya muganyulo nnyo nnaddala eri omutume Yokaana ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka, we yatandikira okuwandiika ebiri mu Njiri ye. Mu ebyo bye wandiika musangibwamu okubuulirira okulungi Yesu kwe yawa ng’atandikawo omukolo ogw’Okujjukira okufa Kwe.—Yokaana, essuula 13-17.
4. ‘Omwoyo ogw’amazima’ gwayamba gutya Abakristaayo abaasooka abaafukibwako amafuta?
4 Era Yesu yasuubiza abayigirizwa abo abaasooka nti omwoyo ‘gwandibayigirizza ebintu byonna,’ era ne ‘gubaluŋŋamya okutegeera amazima gonna.’ Omwoyo gwandibayambye okutegeera ebintu eby’omunda eby’omu Byawandiikibwa ne basigala nga bali bumu mu birowoozo, mu kutegeera, ne mu kigendererwa. (1 Abakkolinso 2:10; Abaefeso 4:3) Bwe kityo, gwasobozesa Abakristaayo abo abaasooka okukolera awamu ng’ekibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ mu kuwa buli Mukristaayo eyafukibwako amafuta emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera kyayo.”—Matayo 24:45.
Omwoyo Guwa Obujulirwa
5. (a) Kiki Yesu kye yategeeza abayigirizwa be mu kiro kya Nisaani 14, 33 C.E.? (b) Omwoyo omutukuvu gwandibadde na kifo mu kutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yesu?
5 Mu kiro kya Nisaani 14, 33 C.E., Yesu yategeeza abayigirizwa be nti oluvannyuma bandigenze mu ggulu ne babeera wamu naye era ne Kitaawe. Yabagamba: “Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby’okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, n[n]andibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.” (Yokaana 13:36; 14:2, 3) Baali bagenda kufugira wamu naye mu Bwakabaka bwe. (Lukka 22:28-30) Naye okusobola okubeera n’essuubi ery’okugenda mu ggulu, bandibadde balina ‘okuzaalibwa omwoyo’ ng’abaana ba Katonda ab’eby’omwoyo, era ne bafukibwako amafuta okuweereza nga bakabaka era bakabona ne Kristo mu ggulu.—Yokaana 3:5-8; 2 Abakkolinso 1:21, 22; Tito 3:5-7; 1 Peetero 1:3, 4; Okubikkulirwa 20:6.
6. (a) Okuyitibwa okw’omu ggulu kwatandika ddi, era bameka abayitibwa? (b) Abo abayitibwa baabatizibwa kuyingira mu ki?
6 ‘Okuyitibwa okw’omu ggulu’ kwatandika ku Pentekoote 33 C.E., era nga kirabika kwakomekkerezebwa mu masekkati g’emyaka gya 1930. (Abaebbulaniya 3:1) Omuwendo gw’abo omwoyo omutukuvu be gwateekako akabonero okubeera ekitundu kya Isiraeri ow’omwoyo, guli 144,000, ‘abaagulibwa mu bantu.’ (Okubikkulirwa 7:4; 14:1-4) Bano baabatizibwa okuyingira mu mubiri gwa Kristo ogw’omwoyo, mu kibiina kye era ne mu kufa kwe. (Abaruumi 6:3; 1 Abakkolinso 12:12, 13, 27; Abaefeso 1:22, 23) Oluvannyuma lw’okubatizibwa mu mazzi era n’okufukibwako omwoyo omutukuvu, baatandika obulamu obw’okwefiiriza, kwe kugamba, obulamu obw’okubeera abagolokofu okutuusa okufa.—Abaruumi 6:4, 5.
7. Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta be bokka abagwanira okulya ku bubonero ku Kijjukizo?
7 Ng’Abaisiraeri ab’omwoyo, Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta baali mu ndagaano empya eyakolebwa wakati wa Yakuwa ne “Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16; Yeremiya 31:31-34) Endagaano empya yakakasibwa n’omusaayi gwa Kristo ogwayiibwa. Ekyo Yesu yakyogerako bwe yatandikawo omukolo ogw’Okujjukira okufa kwe. Lukka yawandiika: “N’addira omugaati ne yeebaza, n’agumenyamu, n’abawa ng’agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze. Era n’ekikompe bw’atyo bwe baamala okulya, ng’agamba nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.” (Lukka 22:19, 20) Ensigalira ya 144,000 abakyali ku nsi, be bokka abagwanira okulya ku mugaati n’okunywa enviinyo ku mukolo ogw’Okujjukira okufa kwa Kristo.
8. Abo abafukiddwako amafuta bamanya batya nti bayitiddwa okugenda mu ggulu?
8 Abo abafukiddwako amafuta bamanya batya nti bayitiddwa okugenda mu ggulu? Omwoyo omutukuvu gwe gubawa obukakafu. Abo abafukiddwako amafuta omutume Pawulo yabawandiikira: “Bonna abakulemberwa [o]mwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda. . . . Omwoyo yennyini wamu n’omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda: naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.” (Abaruumi 8:14-17) Obujulirwa bw’omwoyo buba bwa maanyi nnyo ne kiba nti, oyo yenna alinamu okubuusabuusa kwonna obanga ayitiddwa okugenda mu ggulu yandikitegedde nti tayitiddwa, mu ngeri eyo ne yeewala okulya ku bubonero ku mukolo gw’Ekijjukizo.
Omwoyo n’Ab’Endiga Endala
9. Bibinja ki ebibiri eby’enjawulo ebyogerwako mu Njiri ne mu kitabo ky’Okubikkulirwa?
9 Ng’oggyeko omuwendo omugereke ogw’Abakristaayo abayitibwa okubeera ekitundu kya Isiraeri wa Katonda, abo abafuuka ekitundu ky’endagaano empya, Yesu be yayita “ekisibo ekitono,” era waliwo “endiga endala” abatamanyiddwa muwendo, nabo Yesu be yayogerako nti alina okubakuŋŋaanya. (Lukka 12:32; Yokaana 10:16) Abo ab’endiga endala abakuŋŋaanyizibwa mu kiseera eky’enkomerero be bajja okubeera ‘ekibiina ekinene’ ekijja okuwonyezebwawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ nga balina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Okwolesebwa Yokaana kwe yafuna ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka kwawulawo ab’ekibiina ekinene okuva ku 144,000 aba Isiraeri ow’omwoyo. (Okubikkulirwa 7:4, 9, 14) Ab’endiga endala nabo bafuna omwoyo omutukuvu? Bwe kiba bwe kityo, ekyo kikwata kitya ku bulamu bwabwe?
10. Mu ngeri ki ab’endiga endala gye babatizibwa mu “mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu”?
10 Omwoyo omutukuvu gulina kinene nnyo kye gukola mu bulamu bw’ab’endiga endala. Balaga okwewaayo kwabwe eri Yakuwa nga babatizibwa “mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu.” (Matayo 28:19) Bakkiriza obufuzi bwa Yakuwa, bagondera Kristo nga Kabaka era Omununuzi waabwe, era ne bakkiriza obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda mu bulamu bwabwe. Buli lunaku, bafuba okukulaakulanya ‘ebibala eby’omwoyo’ mu bulamu bwabwe, gamba nga ‘okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwoombeefu, n’okwefuga.’—Abaggalatiya 5:22, 23.
11, 12. (a) Abaafukibwako amafuta batukuzibwa mu ngeri ki ey’enjawulo? (b) Ab’endiga endala batukuzibwa mu ngeri ki?
11 Era ab’endiga endala basaanidde okuleka Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe omutukuvu okubatukuza. Abaafukibwako amafuta baamala dda okutukuzibwa mu ngeri ey’enjawulo nga balangirirwa okuba abatuukirivu ng’omugole wa Kristo. (Yokaana 17:17; 1 Abakkolinso 6:11; Abaefeso 5:23-27) Nnabbi Danyeri abayita “abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo,” abafuna Obwakabaka obuli wansi “w’omwana w’omuntu,” Yesu Kristo. (Danyeri 7:13, 14, 18, 27) Mu kiseera eky’emabega, ng’ayitira mu Musa ne Alooni, Yakuwa yagamba eggwanga lya Isiraeri: “Nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.”—Eby’Abaleevi 11:44.
12 Ekigambo “okutukuzibwa” kitegeeza “okulongoosebwa, oba okwawulibwawo olw’obuweereza, oba okukozesebwa Yakuwa Katonda; okubeera omutukuvu, omuyonjo.” Emabega eyo mu 1938, magazini The Watchtower yagamba nti Ba-Yonadaabu, oba ab’endiga endala, “bateekwa okutegeera nti okwewaayo n’okutukuzibwa byetaagisibwa buli afuuka omu ku b’ekibiina ekinene ekinaabeera ku nsi.” Mu kwolesebwa okukwata ku kibiina ekinene okuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa, boogerwako nga “[aboozezza] ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga” era nga ‘baweereza Yakuwa emisana n’ekiro.’ (Okubikkulirwa 7:9, 14, 15) Nga bayambibwako omwoyo omutukuvu, ab’endiga endala bakola kye basobola okutuukiriza ebyo Yakuwa by’abeetaagisa okusobola okubeera abatukuvu.—2 Abakkolinso 7:1.
Okukola Obulungi Baganda ba Kristo
13, 14. (a) Okusinziira ku lugero lwa Yesu olw’endiga n’embuzi, obulokozi bw’ab’endiga bwesigamye ku ki? (b) Mu kiseera kino eky’enkomerero, ab’endiga endala bawagidde batya baganda ba Kristo?
13 Yesu yalaga bulungi enkolagana ennywevu eriwo wakati w’ab’endiga endala n’ab’ekisibo ekitono mu lugero lwe olw’endiga n’embuzi, oluli mu bunnabbi bwe obukwata ‘ku nkomerero y’omulembe guno.’ Mu lugero olwo, Kristo yakiraga bulungi nti obulokozi bw’ab’endiga endala bwesigamye nnyo ku ngeri gye bayisaamu abaafukibwako amafuta, be yayita ‘baganda be.’ Yagamba: “Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi. . . . Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.”—Matayo 24:3; 25:31-34, 40.
14 Ebigambo “nga bwe mwakola,” bitegeeza ebikolwa eby’obuwagizi obuweebwa baganda ba Kristo ab’omwoyo, ensi ya Setaani beeyisizza ng’abagwira, abamu ne batuuka n’okusibibwa mu makomera. Babadde beetaaga emmere, engoye ez’okwambala, n’okujjanjabibwa. (Matayo 25:35, 36) Mu kiseera kino eky’enkomerero, okuva mu 1914, abaafukibwako amafuta bangi babadde mu mbeera ezifaananako bwe zityo. Ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino bikakasa nti abaafukibwako amafuta bawagiddwa bannaabwe ab’endiga endala abeesigwa, abakubiriziddwa omwoyo omutukuvu.
15, 16. (a) Okusingira ddala, ab’endiga endala bayambye baganda ba Kristo abali ku nsi kutuukiriza mulimu ki? (b) Abaafukibwako amafuta basiimye batya ab’endiga endala?
15 Okusingira ddala, baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta abali ku nsi mu kiseera kino eky’enkomerero, bafunye obuwagizi bw’ab’endiga endala nga batuukiriza omulimu Katonda gwe yabawa ‘ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka mu nsi yonna etuuliddwamu, okuba obujulirwa eri amawanga gonna.’ (Matayo 24:14, NW; Yokaana 14:12) Wadde nga omuwendo gw’abo abaafukibwako amafuta abali ku nsi gugenze gukendeera emyaka bwe gizze giyitawo, gwo omuwendo gw’ab’endiga endala gweyongedde ne gutuuka mu bukadde. Enkumi n’enkumi ku bano benyigidde mu buweereza obw’ekiseera kyonna nga bakola nga bapayoniya oba abaminsani mu kubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka “okutuuka ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa 1:8) Abalala beenyigira mu mulimu gw’okubuulira ng’obusobozi bwabwe bwe buli era ne bawagira n’essanyu omulimu guno omukulu nga bawaayo ensimbi.
16 Nga baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta basiima nnyo obuwagizi buno bannaabwe ab’endiga endala bwe babawa! Okusiima kwabwe kwalagibwa bulungi mu katabo Worldwide Security Under the “Prince of Peace,” akaateekebwateekebwa ekibiina ky’omuddu omwesigwa mu 1986. Kagamba: “Okuva ku Ssematalo ow’Okubiri, okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Yesu obukwata ku ‘nkomerero y’omulembe guno’ kwesigamye nnyo ku ebyo ‘ekibiina ekinene’ eky’endiga endala bye kikola. . . . N’olwekyo, twebaza nnyo ekibiina ekinene olw’ebyo bye kikoze mu kutuukiriza obunnabbi bwa [Yesu] obuli mu Matayo 24:14!”
‘Tebafuulibwa Batuukiridde nga Ffe Tetuliiko’
17. Mu ngeri ki abantu abeesigwa ab’edda abalizuukizibwa ku nsi gye ‘batalifuulibwa batuukiridde awatali’ baafukibwako mafuta?
17 Ng’ayogera ng’omu ku baafukibwako amafuta, omutume Pawulo yayogera bw’ati ku basajja n’abakazi abeesigwa abaaliwo nga Kristo tannajja: “Bonna bwe baamala okutegeezebwa olw’okukkiriza kwabwe, ne batafuna ekyasuubizibwa, Katonda bwe yatulabira edda ffe [abaafukibwako amafuta] ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo, [“baleme okufuulibwa abatuukiridde nga ffe tetuliiko,” NW].” (Abaebbulaniya 11:35, 39, 40) Mu Myaka Olukumi, Kristo ne banne 144,000 abaafukibwako amafuta abaliba mu ggulu bajja kuweereza nga bakabaka era bakabona, batuuse emiganyulo gya ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo ku nsi. Mu ngeri eyo, ab’endiga endala bajja ‘kufuulibwa abatuukiridde’ mu mubiri ne mu ndowooza.—Okubikkulirwa 22:1, 2.
18. (a) Baibuli by’eyogera byandiyambye ab’endiga endala kutegeera ki? (b) Ab’endiga endala beesunga ki nga balindirira ‘okubikkulibwa kw’abaana ba Katonda’?
18 Bino byonna byandiyambye ab’endiga endala okutegeera obulungi lwaki Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani byogera nnyo ku Kristo ne baganda be abaafukibwako amafuta era n’ekifo kyabwe ekikulu mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Yakuwa. N’olwekyo, ab’endiga endala bagitwala nga nkizo ya maanyi okuwagira ekibiina ky’omuddu abaafukibwako amafuta mu ngeri yonna esoboka, nga ‘balindirira okubikkulibwa kw’abaana ba Katonda’ ku Kalumagedoni era ne mu Myaka Olukumi. Beesunga “[oku]weebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.”—Abaruumi 8:19-21.
Baba Bumu mu Mwoyo ku Mukolo ogw’Ekijjukizo
19. ‘Omwoyo ogw’amazima’ gukoledde ki abaafukibwako amafuta ne bannaabwe, era mu ngeri ki gye bajja okubeera obumu ku kawungeezi ka Maaki 28?
19 Mu kusaba kwe okwasembayo mu kiro kya Nisaani 14, 33 C.E., Yesu yagamba: “[Nkusaba] bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw’oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.” (Yokaana 17:20, 21) Olw’okwagala, Katonda yatuma Omwana we aweeyo obulamu bwe okulokola abaafukibwako amafuta era n’abantu abalala abawulize. (1 Yokaana 2:2) ‘Omwoyo ogw’amazima’ gugasse wamu baganda ba Kristo ne bannaabwe ab’endiga endala. Akawungeezi nga Maaki 28, oluvannyuma lw’enjuba okugwa, ebibiina byombi bijja kukuŋŋaana wamu okujjukira okufa kwa Kristo era n’ebyo byonna Yakuwa by’abakoledde ng’ayitira mu ssaddaaka y’Omwana we omwagalwa, Yesu Kristo. Ka okubeerawo kwabwe ku mukolo ogwo omukulu kunyweze obumu bwabwe era n’obumalirivu okweyongera okukola Katonda by’ayagala, mu ngeri eyo bawe obukakafu nti basanyukira okubeera n’abo Yakuwa b’ayagala.
Okwejjukanya
• ‘Omwoyo ogw’amazima’ gwasindikibwa ddi eri Abakristaayo abaasooka, era mu ngeri ki gye gwali ‘omubeezi’?
• Abo abaafukibwako amafuta bamanya batya nti bayitiddwa okugenda mu ggulu?
• Mu ngeri ki omwoyo gwa Katonda gye gukola mu b’endiga endala?
• Mu ngeri ki ab’endiga endala gye bakoze obulungi baganda ba Kristo, era lwaki tebajja ‘kufuulibwa batuukiridde’ awatali baafukibwako mafuta?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
‘Omwoyo ogw’amazima’ gwafukibwa ku bayigirizwa ku Pentekoote 33 C.E.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Ab’endiga endala bakoze bulungi baganda ba Kristo nga babawagira mu kutuukiriza omulimu ogw’okubuulira Katonda gwe yabawa