Tambulira mu Makubo ga Yakuwa
“Alina essanyu buli muntu atya Yakuwa, atambulira mu makubo ge.”—ZAB. 128:1, NW.
1, 2. Lwaki tuli bakakafu nti kisoboka okufuna essanyu?
TEWALI muntu atayagala kuba musanyufu. Naye okwagala essanyu n’okulinoonya ku bwakyo tekifuula muntu musanyufu.
2 Wadde kiri kityo, kisoboka okufuna essanyu. Zabbuli 128:1, NW, wagamba nti: “Alina essanyu buli muntu atya Yakuwa, atambulira mu makubo ge.” Bwe tusinza Katonda ne tutambulira mu makubo ge nga tukola by’ayagala, tusobola okuba n’essanyu. Kino kikwata kitya ku ngeri gye tweyisaamu?
Laga Obwesigwa
3. Obwesigwa bulina kakwate ki n’okwewaayo kwaffe eri Katonda?
3 Abo abatya Yakuwa baba beesigwa, nga ye bw’ali omwesigwa. Yakuwa yatuukiriza buli kye yasuubiza Abaisiraeri. (1 Bassek. 8:56) Okwewaayo eri Katonda bwe bweyamo obusingirayo ddala obukulu mu bulamu, era okusaba entakera kijja kutuyamba okutuukiriza obweyamo obwo. Tuyinza okusaba ng’omuwandiisi wa zabbuli Dawudi eyagamba nti: “Ggwe, Ai Katonda, owulidde obweyamo bwange. . . . Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna; ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange.” (Zab. 61:5, 8; Mub. 5:4-6) Okusobola okuba mikwano gya Katonda, tuteekwa okuba abeesigwa.—Zab. 15:1, 4.
4. Yefusa ne muwala we baatwala batya obweyamo bwe yali akoze eri Yakuwa?
4 Mu kiseera ky’Abalamuzi ba Isiraeri, Yefusa yeeyama nti singa Yakuwa amuyamba n’awangula Abamoni, yandiwaddeyo omuntu gwe yandisoose okusisinkana ng’ava mu lutalo ‘ng’ekiweebwayo ekyokebwa.’ Omuntu Yefusa gwe yasooka okusisinkana yali muwala we—omwana omu yekka gwe yalina. Olw’okuba baali beesiga Yakuwa, Yefusa ne muwala we eyali tannafumbirwa baatuukiriza obweyamo bwe. Wadde ng’obufumbo n’okuzaala abaana byali bintu bikulu nnyo mu Isiraeri, muwala wa Yefusa yasalawo okusigala obwannamunigina era n’afuna enkizo y’okwenyigira mu buweereza obutukuvu mu weema ya Yakuwa ey’okusisinkanirangamu.—Balam. 11:28-40.
5. Kaana yalaga atya nti yali mwesigwa?
5 Kaana, omukazi eyali atya Katonda, yali mwesigwa. Yali abeera ne bba Erukaana, omuleevi, wamu ne muggya we Penina, mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi. Penina yazaala abaana abawerako era ng’ayogerera Kaana ebigambo ebirumya naddala bwe baabanga bagenze mu weema ey’okusisinkanirangamu. Lumu ng’ali eyo, Kaana yeeyama nti bw’azaala omwana ow’obulenzi, ajja kumuwaayo aweereze Yakuwa. Mu bbanga ttono yafuna olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi gwe yatuuma Samwiri. Bwe yamuggya ku mabeere, Kaana yatwala Samwiri e Siiro n’amuwaayo okuweereza Yakuwa “ennaku ez’obulamu bwe zonna.” (1 Sam. 1:11) Bw’atyo Kaana yatuukiriza obweyamo bwe wadde nga yali tamanyi obanga yandizadde abaana abalala.—1 Sam. 2:20, 21.
6. Tukiko yalaga atya obwesigwa?
6 Tukiko Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka yali ‘muweereza mwesigwa.’ (Bak. 4:7) Tukiko yatambula n’omutume Pawulo okuva e Buyonaani okuyitira mu Makedoni, okutuuka mu Asiya Omutono, oboolyawo baatuuka n’e Yerusaalemi. (Bik. 20:2-4) Yandiba nga ye ‘w’oluganda’ eyayamba Tito okutwala obuyambi obw’okudduukirira bakkiriza bannaabwe abaali mu bwetaavu mu Buyudaaya. (2 Kol. 8:18, 19; 12:18) Pawulo lwe yasooka okusibibwa e Ruumi, ow’oluganda ono omwesigwa gwe yatuma okutwala amabaluwa eri bakkiriza banne mu Efeso n’e Kkolosaayi. (Bef. 6:21, 22; Bak. 4:8, 9) Bwe yasibibwa e Ruumi omulundi ogw’okubiri, Pawulo yatuma Tukiko mu Efeso. (2 Tim. 4:12) Singa tuba beesigwa, naffe tujja kufuna emikisa mu kuweereza Yakuwa.
7, 8. Lwaki tuyinza okugamba nti Dawudi ne Yonasaani baalina omukwano ogwa nnamaddala?
7 Katonda atusuubira okuba abeesigwa eri mikwano gyaffe. (Nge. 17:17) Yonasaani, mutabani wa Kabaka Sawulo, yali mukwano gwa Dawudi. Yonasaani bwe yawulira nti Dawudi asse Goliyaasi, “emmeeme ya Yonasaani n’egattibwa n’emmeeme ya Dawudi, Yonasaani n’amwagala ng’emmeeme ye ye.” (1 Sam. 18:1, 3) Yonasaani yatuuka n’okulabula Dawudi nti Sawulo yali ayagala kumutta. Nga Dawudi amaze okudduka, Yonasaani yamusisinkana n’akola naye endagaano. Wadde nga kabula kata Sawulo atte Yonasaani olw’okwogera ku Dawudi, Yonasaani yaddamu okusisinkana mukwano gwe Dawudi ne banyweza enkolagana yaabwe. (1 Sam. 20:24-41) Omulundi gwe baasembayo okusisinkana, Yonasaani yanyweza omukono gwa Dawudi “mu Katonda.”—1 Sam. 23:16-18.
8 Yonasaani yafiira mu lutalo ng’alwana n’Abafirisuuti. (1 Sam. 31:6) Mu nnaku ennyingi, Dawudi yayimba nti: “Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani: wansanyusanga nnyo nnyini: okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, nga kusinga okwagala kw’abakazi.” (2 Sam. 1:26) Dawudi ne Yonasaani baalina omukwano ogwa nnamaddala.
Beera ‘Muwombeefu’ Bulijjo
9. Essuula 9 mu kitabo Ekyabalamuzi eraga etya obukulu bw’okuba abawombeefu?
9 Okusobola okubeera mikwano gya Katonda, tulina okuba “abawombeefu.” (1 Peet. 3:8; Zab. 138:6) Essuula 9 mu kitabo Ekyabalamuzi eraga obukulu bw’okubeera omuwombeefu. Yosamu mutabani wa Gidiyoni yagamba nti: “Olwatuuka emiti ne gifuluma okufuka amafuta ku kabaka anaagifuganga.” Omuzeyituuni, omutiini, n’omuzabbibu gyasembebwa. Gy’ali gikiikirira abantu abaali basaanira okufuga Baisraeri bannaabwe naye ne batakkiriza. Naye omweramannyo—omuti ogutaalina mugaso mulala okuggyako okufumbisibwa—gwali gukiikirira obufuzi bwa Abimereki ow’amalala, omutemu eyali ayagala okunyigiriza abalala. Wadde nga yeefuula ‘mukulu mu Isiraeri okumala emyaka esatu,’ yafa mu kiseera ekyali kitasuubirwa. (Balam. 9:8-15, 22, 50-54) Nga kiba kirungi nnyo okuba “abawombeefu”!
10. Ekya Kerode ‘obutawa Katonda kitiibwa’ kikuyigiriza ki?
10 Mu kyasa ekyasooka C.E., wajjawo obutategeeragana wakati wa Kabaka Kerode Agulipa owa Buyudaaya n’abatuuze b’omu Tuulo ne Sidoni abaafuba okuzzaawo enkolagana ennungi naye. Lumu Kerode bwe yali ayogera eri abantu, baayogerera waggulu nti: “Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.” Kerode yakkiriza ekitiibwa ekyo, era malayika wa Yakuwa yamutta mu ngeri embi ‘kubanga teyawa Katonda kitiibwa.’ (Bik. 12:20-23) Watya singa tuba boogezi balungi oba nga tuyigiriza bulungi abalala Baibuli? Ka tuwenga Katonda ekitiibwa olw’ebyo by’atukkiriza okukola.—1 Kol. 4:6, 7; Yak. 4:6.
Beera Muvumu era wa Maanyi
11, 12. Ekyokulabirako kya Enoka kiraga kitya nti Yakuwa awa abaweereza be amaanyi era abayamba okuba abavumu?
11 Singa tutambulira mu makubo ga Yakuwa, ajja kutuwa obuvumu n’amaanyi. (Ma. 31:6-8, 23) Enoka, ow’omusanvu okuva ku Adamu, yalaga obuvumu mu kutambula ne Katonda ng’agoberera ekkubo eddungi wadde ng’abantu b’omu kiseera kye baali babi nnyo. (Lub. 5:21-24) Yakuwa yawa Enoka amaanyi okubatuusaako obubaka obw’omusango olw’ebigambo n’ebikolwa byabwe ebibi. (Soma Yuda 14, 15.) Olina obuvumu okulangirira emisango gya Katonda?
12 Yakuwa yazikiriza abantu abatatya Katonda bwe yaleeta Amataba mu nnaku za Nuuwa. Obunnabbi bwa Enoka butuzzaamu nnyo amaanyi kubanga bamalayika ba Katonda banaatera okuzikiriza abantu abatatya Katonda. (Kub. 16:14-16; 19:11-16) Bwe tusaba Yakuwa, atuyamba okuba obuvumu okulangirira obubaka bwe, ka bube nga bukwata ku misango gye oba ku mikisa abantu gye banaafuna wansi w’Obwakabaka bwe.
13. Lwaki tuli bakakafu nti Katonda asobola okutuwa obuvumu n’amaanyi okwaŋŋanga ebizibu?
13 Twetaaga obuvumu n’amaanyi okuva eri Katonda okusobola okwaŋŋanga ebizibu ebitweraliikiriza. Esawu bwe yawasa abakazi babiri Abakiiti, ‘kyanakuwaza Isaaka ne Lebbeeka.’ Lebbeeka yagamba nti: “Obulamu bwange bunkooyesezza olw’abawala ba Keesi: Yakobo [mutabani waffe] bw’aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi, abali nga abo, ku bawala ab’omu nsi eno, obulamu bwange bulingasa butya?” (Lub. 26:34, 35; 27:46) Isaaka yatuma Yakobo agende mu bantu abasinza Yakuwa anoonye omukazi. Wadde nga Isaaka ne Lebbeeka baali tebayinza kukyusa Esawu kye yali akoze, Katonda yabawa amagezi, obuvumu, n’amaanyi okusigala nga beesigwa gy’Ali. Singa tusaba Yakuwa okutuwa obuyambi, ajja kutukolera kye kimu.—Zab. 118:5.
14. Omuwala omuto Omuisiraeri yalaga atya obuvumu?
14 Nga wayiseewo ebyasa bingi, omuwala Omuisiraeri omuto eyali mu buwambe yafuuka omuweereza mu maka ga Naamani omuduumizi w’eggye lya Busuuli, omusajja eyali omugenge. Olw’okuba yali awulidde ku byamagero Katonda bye yali akola okuyitira mu nnabbi Erisa, omuwala oyo yalaga obuvumu n’agamba muka Naamani nti: ‘Singa mukama wange agenda mu Isiraeri, nnabbi wa Yakuwa yandimuwonyezza ebigenge bye.’ Naamani yagenda mu Isiraeri era n’awonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero. (2 Bassek. 5:1-3) Ng’omuwala oyo kya kulabirako kirungi eri abavubuka abeesiga Yakuwa okubawa obuvumu okusobola okubuulira abasomesa, bayizi bannaabwe, n’abantu abalala!
15. Obadiya omuwanika w’enju ya Akabu yakola ki ekyali kyetaagisa obuvumu?
15 Obuvumu Katonda bw’atuwa butuyamba okugumira okuyigganyizibwa. Lowooza ku Obadiya, eyali omuwanika w’enju ya Kabaka Akabu, eyaliwo mu kiseera kya nnabbi Eriya. Kwiini Yezeberi bwe yalagira nti bannabbi ba Katonda battibwe, Obadiya yakweka 100 ku bo “mu mpuku ataano ataano.” (1 Bassek. 18:13; 19:18) Osobola okuyamba Bakristaayo bano abayigganyizibwa nga Obadiya bwe yayamba bannabbi ba Yakuwa?
16, 17. Alisutaluuko ne Gayo baakola ki bwe baayigganyizibwa?
16 Bwe tuba tuyigganyizibwa, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubeera naffe. (Bar. 8:35-39) Bwe baali mu kifo awaabeeranga emizannyo mu Efeso, banne ba Pawulo Alisutaluuko ne Gayo baazingizibwa enkumi n’enkumi z’abantu. Omuweesi wa ffeeza Demeteriyo ye yali atandiseewo akeegugungo ako mu kibuga. Ye ne banne baakolanga obusabo bwa ffeeza obwa katonda omukazi Atemi, era amagoba gaabwe gaali gakendedde olw’okuba bangi mu kibuga baali beesambye okusinza ebifaananyi olw’okubuulira kwa Pawulo. Baakwata Alisutaluuko ne Gayo ne babatwala mu kifo awaabeeranga emizannyo ng’eno bwe boogerera waggulu nti: “Atemi w’Abaefeso mukulu.” Oboolyawo Alisutaluuko ne Gayo baalowooza nti bagenda kuttibwa, kyokka omuwandiisi w’ekibuga yakkakkanya ekibinja ky’abantu abo.—Bik. 19:23-41.
17 Singa ekyo kyali kituuse ku ggwe, wandirekulidde obuweereza buno? Tewali kiraga nti ebyatuuka ku Alisutaluuko ne Gayo byabamalamu amaanyi. Olw’okuba yali ava mu Sessaloniika, Alisutaluuko yali amanyi nti okulangirira amawulire amalungi kwali kuyinza okumuviirako okuyigganyizibwa. Emabegako mu kibuga ekyo waali wabaddeyo akajagalalo Pawulo bwe yali abuulira. (Bik. 17:5; 20:4) Olw’okuba Alisutaluuko ne Gayo baatambulira mu makubo ga Yakuwa, yabawa amaanyi n’obuvumu okusobola okugumira okuyigganyizibwa.
Okufaayo ku Balala
18. Pulisika ne Akula ‘baafaayo’ batya ku balala?
18 Ka tube nga tuyigganyizibwa oba nedda, tulina okufaayo ku Bakristaayo bannaffe. Pulisika ne Akula baali ‘baafaayo’ ku balala. (Soma Abafiripi 2:4, NW.) Abakristaayo abo bandiba nga be baasuza Pawulo bwe yali mu Efeso, Demeteriyo gye yakumira omuliro mu bantu okuleetawo akajagalalo akoogeddwako waggulu. Ekyo kiyinza okuba nga kye kyaleetera Akula ne Pulisika ‘okuwaayo obulago bwabwe’ ku lwa Pawulo. (Bar. 16:3, 4; 2 Kol. 1:8) Leero, olw’okufaayo ku baganda baffe abayigganyizibwa, tweyisa “n’amagezi ng’emisota.” (Mat. 10:16-18) Tukola omulimu gwaffe n’obwegendereza era twewala okuwaayo amannya g’ab’oluganda oba ebirala ebakwatako eri abo ababayigganya tuleme okubalyamu olukwe.
19. Birungi ki Doluka bye yakolera abalala?
19 Waliwo engeri ez’enjawulo mwe tusobola okulagira nti tufaayo ku balala. Abakristaayo abamu balina ebyetaago era tuyinza okuba nga tusobola okubayamba. (Bef. 4:28; Yak. 2:14-17) Mu kibiina ky’e Yopa eky’omu kyasa ekyasooka mwalimu omukazi omugabi eyali ayitibwa Doluka. (Soma Ebikolwa 9:36-42.) Doluka “yali ajjudde ebikolwa ebirungi n’ebintu bye yagabanga” nga muno mwe mwali okukoleranga bannamwandu abaavu engoye. Bwe yafa mu 36 C.E., bannamwandu baanakuwala nnyo. Katonda yakozesa omutume Peetero okuzuukiza Doluka, era kirabika ekiseera ky’obulamu bwe kyonna ekyasembayo ku nsi yakimalira mu kubuulira amawulire amalungi n’okukolera abalala ebintu ebirungi. Nga tuli basanyufu okuba n’abakazi Abakristaayo ng’abo abafaayo ku balala!
20, 21. (a) Okufaayo ku balala kirina kakwate ki n’okubazzaamu amaanyi? (b) Oyinza kukola ki okuzzaamu abalala amaanyi?
20 Tufaayo ku balala nga tubazzaamu amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Siira munne wa Pawulo yazzangamu abalala amaanyi. Awo nga 49 C.E. ng’ensonga y’okukomola emaze okusalibwawo, akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi kaliko be kaatuma okutwala ebbaluwa eri abakkiriza mu bitundu eby’enjawulo. Siira, Yuda, Balunabba, ne Pawulo be baatwala ebbaluwa mu Antiyokiya. Bwe baatuuka eyo, Siira ne Yuda ‘baabuulira ab’oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya.’—Bik. 15:32.
21 Oluvannyuma, Pawulo ne Siira baasibibwa e Firipi naye baasumululwa musisi bwe yayita. Nga kiteekwa okuba nga kyabasanyusa nnyo okubuulira omukuumi w’ekkomera n’afuuka mukkiriza wamu n’ab’omu nju ye! Nga tebannava mu kibuga ekyo, Siira ne Pawulo bazzaamu ab’oluganda amaanyi. (Bik. 16:12, 40) Okufaananako Pawulo ne Siira, fuba okuzzaamu abalala amaanyi okuyitira mu by’oddamu mu nkuŋŋaana, mu mboozi z’owa, n’okubeera omunyiikivu mu kubuulira. Era bw’oba ‘n’ekigambo ekizzaamu amaanyi,’ tolema kukyogera.—Bik. 13:15.
Tambuliranga mu Makubo ga Yakuwa
22, 23. Tuyinza kukola ki okuganyulwa mu ebyo bye tusoma mu Baibuli?
22 Ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda ab’edda ebiri mu Kigambo kya Yakuwa, “Katonda azzaamu ennyo amaanyi,” nga bituganyula nnyo! (2 Kol. 1:3, Byington) Naye bwe tuba ab’okubiganyulwamu, tuteekwa okussa mu nkola bye tuyiga mu Baibuli era ne tukkiriza omwoyo omutukuvu okutuluŋŋamya.—Bag. 5:22-25.
23 Okufumiitiriza ku bye tusoma mu Baibuli kijja kutuyamba okuba n’engeri ng’eza Katonda. Kijja kunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, oyo atuwa “amagezi n’okumanya n’essanyu.” (Mub. 2:26) Mu ngeri eyo tujja kusanyusa omutima gwa Katonda. (Nge. 27:11) Ka tube bamalirivu okukola bwe tutyo nga tweyongera okutambulira mu makubo ga Yakuwa.
Wandizzeemu otya?
• Oyinza otya okulaga nti oli mwesigwa?
• Lwaki tulina okubeera “abawombeefu”?
• Bye tusoma mu Baibuli biyinza bitya okutuyamba okuba abavumu?
• Tusobola tutya okulaga nti tufaayo ku balala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Yefusa omusajja omwesigwa ne muwala we baatuukiriza obweyamo bwe wadde nga kyali kizibu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Abato, kiki kye muyize ku muwala Omuisiraeri?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Doluka yayambanga atya Bakristaayo banne?