LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 2/15 lup. 10-14
  • “Beera Muvumu era Beera wa Maanyi”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Beera Muvumu era Beera wa Maanyi”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BAAWA OBUJULIRWA N’OBUVUMU MU NSI Y’ABANTU ABATATYA KATONDA
  • BAAYOLEKA OBUVUMU N’OKUKKIRIZA
  • ABAKAZI ABAAYOLEKA OBUVUMU
  • EBYO BYE TWOGERA BISOBOLA OKUYAMBA ABALALA OKUFUNA OBUVUMU
  • ESEZA YAYOLEKA OBUVUMU
  • BA MUVUMU
  • “Beera Muvumu . . . Okole Omulimu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Beera Muvumu​—Yakuwa Ali Naawe!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Okuba Omuvumu Si Kizibu Nnyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • ‘Beera Muvumu era wa Maanyi!’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 2/15 lup. 10-14

“Beera Muvumu era Beera wa Maanyi”

“Beera muvumu era beera wa maanyi . . . Yakuwa Katonda wo ali naawe.”​—YOS. 1:7-9, NW.

WANDIZZEEMU OTYA?

Enoka ne Nuuwa baayoleka batya obuvumu?

Abakazi abamu abaaliwo edda baateekawo batya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuvumu n’okukkiriza?

Bavubuka ki b’omanyi abataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuvumu?

1, 2. (a) Ebiseera ebimu kiki kye tuba twetaaga okusobola okunywerera ku kituufu? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OBUVUMU bwe butaba na kutya, obutaba banafu, oba obutaba batiitiizi. Omuntu omuvumu aba wa maanyi era aba tatya. Naye ebiseera ebimu omuntu ayoleka obuvumu ng’anywerera ku kituufu mu bintu by’akola mu bulamu obwa bulijjo.

2 Abantu abamu aboogerwako mu Bayibuli baayoleka obuvumu nga bali mu mbeera enzibu ennyo. Abalala baayoleka obuvumu nga bali mu mbeera ng’ezo abaweereza ba Yakuwa okutwalira awamu ze boolekagana nazo leero. Ebyokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaayoleka obuvumu bituyigiriza ki? Tuyinza tutya okwoleka obuvumu?

BAAWA OBUJULIRWA N’OBUVUMU MU NSI Y’ABANTU ABATATYA KATONDA

3. Bunnabbi ki Enoka bwe yayogera ku bantu abatatya Katonda?

3 Kyali kyetaagisa obuvumu okusobola okuba omujulirwa wa Yakuwa mu kiseera ng’Amataba ga Nuuwa tegannajja. Wadde kyali kityo, Enoka eyali “ow’omusanvu mu lunyiriri lwa Adamu,” yayogera obunnabbi buno n’obuvumu: “Laba! Yakuwa yajja ne bamalayika be abatukuvu mitwalo na mitwalo, okusalira omusango abo bonna abatawa Katonda kitiibwa olw’ebintu bye baakola mu ngeri etamuweesa kitiibwa, n’olw’ebintu byonna ebibi aboonoonyi abatawa Katonda kitiibwa bye baamwogerako.” (Yud. 14, 15) Enoka yayogera nga gy’obeera nti ebintu ebyo byali bimaze okutuukirira kubanga yali mukakafu nti obunnabbi obwo bwali bwa kutuukirira. Era nga bwe yayogera, abantu abatatya Katonda baazikirizibwa mu Mataba!

4. Mbeera ki ezaali ziyinza okulemesa Nuuwa ‘okutambula ne Katonda’?

4 Amataba gajja mu mwaka gwa 2370 E.E.T., nga wayise emyaka egisukka mu 650 bukya Enoka afa. Mu myaka egyo, Nuuwa mwe yazaalirwa, n’azaala abaana, era n’azimba n’abaana be eryato. Bamalayika ababi beeyambaza emibiri gy’abantu, ne beegatta n’abakazi abaali balabika obulungi ku nsi, era ne bazaala Abanefuli. Obubi bw’omuntu bwayitirira mu nsi, era ensi yonna n’ejjula ebikolwa eby’obukambwe. (Lub. 6:1-5, 9, 11) Wadde kyali kityo, ‘Nuuwa yatambula ne Katonda’ era n’awa obujulirwa mu bujjuvu ‘ng’omubuulizi w’obutuukirivu.’ (Soma 2 Peetero 2:4, 5.) Naffe twetaaga okwoleka obuvumu ng’obwo mu nnaku zino ez’oluvannyuma.

BAAYOLEKA OBUVUMU N’OKUKKIRIZA

5. Musa yayoleka atya obuvumu n’okukkiriza?

5 Musa yayoleka obuvumu n’okukkiriza. (Beb. 11:24-27) Okuva mu mwaka gwa 1513 E.E.T. okutuuka mu mwaka gwa 1473 E.E.T., Katonda yamukozesa okuggya Abaisiraeri mu Misiri n’okubakulembera mu ddungu. Wadde nga Musa yali awulira nti talina bisaanyizo kukola mulimu ogwo, yakkiriza okugukola. (Kuv. 6:12) Musa awamu ne muganda we Alooni baagenda enfunda n’enfunda mu maaso ga Falaawo nga balangirira n’obuvumu ebibonyoobonyo ekkumi Yakuwa mwe yayitira okuswaza bakatonda b’Abamisiri n’okununula abantu be. (Kuv., sul. 7-12) Yakuwa yayamba Musa okwoleka obuvumu n’okukkiriza, nga naffe bw’atuyamba.​—Ma. 33:27.

6. Singa ab’obuyinza baba batuwozesa, kiki ekijja okutuyamba okuwa obujulirwa n’obuvumu?

6 Okufaananako Musa, naffe twetaaga okuba abavumu, kubanga Yesu yagamba nti: “Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, bube obujulirwa gye bali n’eri amawanga. Kyokka, bwe babawangayo temweraliikiriranga kye mulyogera n’engeri gye mulyogeramu; mu kiseera ekyo muliweebwa eky’okwogera; kubanga si mmwe muliba mwogera, wabula omwoyo gwa Kitammwe gwe gulyogerera mu mmwe.” (Mat. 10:18-20) Singa ab’obuyinza baba batuwozesa, omwoyo gwa Yakuwa gujja kutuyamba okwogera nabo mu ngeri ey’ekitiibwa era n’okuwa obujulirwa n’obuvumu.​—Soma Lukka 12:11, 12.

7. Kiki ekyayamba Yoswa okuba omuvumu n’okutuuka ku buwanguzi?

7 Yoswa, omusajja eyaddira Musa mu bigere, yali muvumu era yalina okukkiriza olw’okuba yasomanga Amateeka ga Katonda obutayosa. Mu 1473 E.E.T., Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Katonda yagamba Yoswa nti: “Beera muvumu era beera wa maanyi.” Okusobola okweyisa mu ngeri ey’amagezi n’okutuuka ku buwanguzi, Yoswa yalina okukwata Amateeka ga Katonda. Katonda yamugamba nti: “Totya era totekemuka, kubanga Yakuwa Katonda wo ali naawe yonna gy’onoogendanga.” (Yos. 1:7-9, NW) Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Yoswa amaanyi! Tewali kubuusabuusa nti Katonda yali wamu ne Yoswa, kubanga omwaka gwa 1467 E.E.T we gwatuukira, oluvannyuma lw’emyaka mukaaga gyokka, Abaisiraeri baali bamaze okuwamba ebitundu ebisinga obungi eby’Ensi Ensuubize.

ABAKAZI ABAAYOLEKA OBUVUMU

8. Lakabu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza n’obuvumu?

8 Okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka wabaddewo abakazi bangi abazze booleka obuvumu nga baweereza Katonda. Ng’ekyokulabirako, Lakabu eyali malaaya, yayoleka okukkiriza n’akweka abakessi ababiri Yoswa be yali asindise okuketta Yeriko era n’abuzaabuza abasajja kabaka be yali atumye okubakwata. Lakabu awamu n’ab’omu maka ge baawonyezebwawo Abaisiraeri bwe baali bawamba Yeriko. Lakabu yalekayo obwa malaaya, n’atandika okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, era oluvannyuma yafuuka jjajja wa Masiya. (Yos. 2:1-6; 6:22, 23; Mat. 1:1, 5) Yafuna emikisa mingi olw’okwoleka obuvumu n’okukkiriza.

9. Debola, Balaki, ne Yayeeri baayoleka batya obuvumu?

9 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, awo nga mu mwaka gwa 1450 E.E.T., abalamuzi baatandika okulamula Isiraeri. Kabaka wa Kanani Yabini yali amaze emyaka 20 ng’anyigiriza Abaisiraeri. Katonda yalagira nnabbi omukazi Debola okugamba omulamuzi Balaki okulwanyisa kabaka oyo. Balaki yakuŋŋaanya abasajja 10,000 ku Lusozi Taboli okulwana ne Sisera, eyali aduumira eggye lya Yabini. Sisera n’abasajja be baali mu kiwonvu Kisoni nga balina amagaali ag’olutalo 900. Abaisiraeri bwe baatandika okuserengeta mu kiwonvu, Katonda yaleeta amataba. Ebisooto byali bingi nnyo mu kiwonvu ne kiba nti amagaali g’Abakanani gaali tegakyasobola kutambula. Abasajja ba Balaki baawangula olutalo, era “eggye lya Sisera lyonna obwogi bw’ekitala ne bulimalawo.” Sisera yaddukira mu weema ya Yayeeri, naye Yayeeri n’amutta nga yeebase. Nga nnabbi omukazi Debola bwe yali agambye, oluvannyuma lw’okuwangula Abakanani, ekitiibwa kyagenda eri omukazi Yayeeri. Olw’okuba Debola, Balaki, ne Yayeeri baayoleka obuvumu, ensi ya Isiraeri yabeera mu mirembe okumala emyaka 40. (Balam. 4:1-9, 14-22; 5:20, 21, 31) Wabaddewo abasajja n’abakazi bangi aboolese obuvumu n’okukkiriza okw’engeri eyo.

EBYO BYE TWOGERA BISOBOLA OKUYAMBA ABALALA OKUFUNA OBUVUMU

10. Kiki ekiraga nti ebyo bye twogera bisobola okuyamba abalala okufuna obuvumu?

10 Ebyo bye twogera bisobola okuyamba bakkiriza bannaffe okufuna obuvumu. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa 11 E.E.T., Kabaka Dawudi yagamba mutabani we Sulemaani nti: “Ba n’amaanyi ogume omwoyo, okikolenga: totyanga so totekemukanga: kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe: taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza okw’omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira.” (1 Byom. 28:20) Sulemaani yayoleka obuvumu n’azimba yeekaalu ya Yakuwa eyali erabika obulungi mu Yerusaalemi.

11. Ebigambo by’omuwala Omuisiraeri eyali omuvumu byayamba bitya Naamani?

11 Mu kyasa eky’ekkumi E.E.T., ebigambo by’omuwala Omuisiraeri eyali omuvumu byayamba omusajja eyali omugenge. Omuwala oyo yali awambiddwa Abasuuli n’afuulibwa omuweereza mu nnyumba ya Naamani eyali omudduumizi w’eggye lya Busuuli. Naamani yali mugenge. Olw’okuba omuwala oyo yali amanyi ku byamagero Yakuwa bye yali akoze okuyitira mu nnabbi Erisa, yagamba muka Naamani nti omwami we bwe yandigenze mu Isiraeri, nnabbi wa Katonda yandimuwonyezza. Naamani yagenda mu Isiraeri, n’awonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero, era n’afuuka omuweereza wa Yakuwa. (2 Bassek. 5:1-3, 10-17) Bw’oba ng’okyali mwana muto era ng’oyagala Katonda ng’omuwala oyo bwe yali amwagala, ba mukakafu nti Katonda ajja kukuyamba okufuna obuvumu okubuulira abasomesa bo, bayizi banno, n’abantu abalala.

12. Ebigambo bya Kabaka Keezeekiya byayamba bitya abantu be?

12 Ebigambo ebirungi bisobola okuyamba omuntu ng’ali mu mbeera enzibu. Abasuuli bwe baalumba Yerusaalemi mu kyasa eky’omunaana E.E.T., Kabaka Keezeekiya yagamba abantu be nti: “Mube n’amaanyi mugume emyoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w’e Bwasuli newakubadde eggye lyonna eriri naye: kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye: wamu naye waliwo omukono ogw’omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n’okulwana entalo zaffe.” Ebigambo ebyo byayamba bitya abantu ba Yuda? Byabayamba okuba abavumu. Bayibuli egamba nti: “Abantu ne banywerera ku bigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.” (2 Byom. 32:7, 8) Ebigambo ng’ebyo bisobola okutuzzaamu amaanyi awamu ne bakkiriza bannaffe nga tuyigganyizibwa.

13. Obadiya yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuvumu?

13 Ebiseera ebimu twoleka obuvumu nga tugaana okubaako ebintu bye twogera. Mu kyasa eky’ekkumi E.E.T., Obadiya eyali omuwanika wa Kabaka Akabu yayoleka obuvumu n’akweka bannabbi ba Yakuwa kikumi mu mpuku baleme okuttibwa Yezeberi. (1 Bassek. 18:4) Okufaananako Obadiya, ne leero waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi aboolese obuvumu nga bagaana okuwaayo ebikwata ku bakkiriza bannaabwe eri abo abatuyigganya.

ESEZA YAYOLEKA OBUVUMU

14, 15. Nnaabakyala Eseza yayoleka atya obuvumu n’okukkiriza, era biki ebyavaamu?

14 Mu kyasa eky’okutaano E.E.T., Nnaabakyala Eseza yayoleka obuvumu n’okukkiriza okw’amaanyi omusajja omubi Kamani bwe yali ayagala okutta Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwa Buperusi. Abayudaaya bwe baawulira nti Kamani yali ayagala kubatta, baakungubaga era ne basiiba. Bateekwa okuba nga baasaba ne Katonda okuviira ddala ku mutima. (Es. 4:1-3) Nnaabakyala Eseza naye yanakuwala nnyo. Moluddekaayi yaweereza Eseza ekiwandiiko omwali etteeka eryali liragira Abayudaaya okuttibwa era n’amugamba agende mu maaso ga kabaka amwegayirire okuyamba Abayudaaya. Kyokka, omuntu yenna eyagendanga mu maaso ga kabaka nga tayitiddwa, yalinanga okuttibwa.​—Es. 4:4-11.

15 Moluddekaayi yagamba Eseza nti bw’atandigenze eri kabaka, Yakuwa yandikozesezza engeri endala okununula Abayudaaya. Moluddekaayi era yagamba nti Eseza ayinza okuba nga yali afuuse nnaabakyala asobole okuyamba abantu ba Yakuwa. Eseza yagamba Moluddekaayi akuŋŋaanye Abayudaaya mu Susani basiibe ku lulwe. Era yagamba nti: “Nange n’abawala bange tunaasiiba bwe tutyo: bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka: era bwe ndizikirira, ndizikirira.” (Es. 4:12-17) Eseza yayoleka obuvumu, era ng’ekitabo kya Eseza bwe kiraga, Katonda yanunula abantu be. Ne leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe ab’endiga endala booleka obuvumu ng’obwo nga boolekagana n’embeera enzibu, era Yakuwa, oyo “awulira okusaba,” bulijjo abayamba.​—Soma Zabbuli 65:2; 118:6.

BA MUVUMU

16. Yesu yateerawo atya abaana baffe abato ekyokulabirako ekirungi?

16 Yesu bwe yali nga wa myaka 12, bazadde be baamusanga mu yeekaalu, “ng’atudde n’abayigiriza, ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo.” ‘Abo bonna abaali bamuwuliriza beewuunya nnyo olw’okutegeera kwe, n’olw’ebyo bye yali addamu.’ (Luk. 2:41-50) Wadde nga yali akyali muto, Yesu yayoleka obuvumu n’okukkiriza n’asobola okubuuza ebibuuzo abayigiriza ab’omu yeekaalu abaali abakulu mu myaka. Ekyokulabirako kya Yesu ekyo kisobola okuyamba abaana baffe abato mu kibiina okukozesa buli kakisa ke bafuna ‘okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyabwe.’​—1 Peet. 3:15.

17. Lwaki Yesu yakubiriza abayigirizwa be okuba abavumu, era lwaki twetaaga okuba abavumu?

17 Yesu yakubirizanga abalala ‘okuguma,’ oba okuba abavumu. (Mat. 9:2, 22) Yagamba abayigirizwa be nti: “Laba! Mazima ddala, ekiseera kijja era kituuse musaasaane buli omu n’adda ewuwe, era mujja kundeka nzekka; naye siri nzekka, kubanga Kitange ali nange. Mbabuulidde ebintu bino musobole okuba n’emirembe okuyitira mu nze. Mu nsi mulina ennaku, naye mugume! Nze mpangudde ensi.” (Yok. 16:32, 33) Okufaananako abayigirizwa ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naffe ensi etukyawa. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kuba ba nsi. Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu kisobola okutuyamba okuba abavumu ne twewala okwonoonebwa ensi eno embi. Yesu yawangula ensi, era naffe tusobola okugiwangula.​—Yok. 17:16; Yak. 1:27.

18, 19. Omutume Pawulo yayoleka atya obuvumu n’okukkiriza?

18 Omutume Pawulo yayolekagana n’ebizibu bingi. Lumu Abayudaaya baali bagenda kumutta, naye abasirikale Abaruumi ne bamutaasa. Ekiro, Mukama waffe yamugamba nti: “Beera mugumu! Nga bw’obadde ompaako obujulirwa mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’oteekwa okumpaako obujulirwa mu Rooma.” (Bik. 23:11) Ekyo kyennyini Pawulo kye yakola.

19 Bwe yali awandiikira Abakkolinso, Pawulo yayoleka obuvumu ng’anenya ‘abatume baabwe abakulu’ abaali baagala okwonoona ekibiina. (2 Kol. 11:5; 12:11) Abatume abo baali ba bulimba. Obutafaananako batume abo, ye Pawulo yali asobola okuwa obukakafu obulaga nti yali atumiddwa Yesu. Yayogera ku bizibu ebingi bye yali ayiseemu, gamba nga okusibibwa, okukubibwa, okulumwa enjala n’ennyonta, okusula nga teyeebase, awamu n’okweraliikirira olwa bakkiriza banne. (Soma 2 Abakkolinso 11:23-28.) Ekyokulabirako ekirungi Pawulo kye yateekawo mu kwoleka obuvumu n’okukkiriza bukakafu bwa maanyi obulaga nti amaanyi ge gaali gava eri Katonda.

20, 21. (a) Kyakulabirako ki ekiraga nti twetaaga okuba abavumu okusobola okwolekagana n’embeera enzibu? (b) Mbeera ki mwe tuyinza okwetaagira okwoleka obuvumu, era tuli bakakafu ku ki?

20 Tekiri nti buli Mukristaayo yenna ajja kwolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Wadde kiri kityo, Abakristaayo bonna beetaaga okuba abavumu okusobola okwolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omu mu Brazil yali mu kibinja ky’abamenyi b’amateeka. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yakiraba nti yali yeetaaga okwekutula ku kibinja ekyo, naye buli eyeekutulanga ku kibinja ekyo banne baamuttanga. Omuvubuka oyo yasaba Yakuwa era n’akozesa ebyawandiikibwa okulaga omukulu w’ekibinja ekyo ensonga lwaki yali agenda kukyekutulako. Baamukkiriza okuva mu kibinja ekyo era n’afuuka omubuulizi w’amawulire amalungi ag’Obwakabaka.

21 Ffenna twetaaga okuba abavumu okusobola okubuulira amawulire amalungi. Abavubuka beetaaga okuba abavumu okusobola okusigala nga beesigwa eri Yakuwa nga bali ku ssomero. Abakozi nabo beetaaga okuba abavumu okusobola okusaba bakama baabwe olukusa babakkirize okubaawo mu nkuŋŋaana ennene ennaku zonna. Waliwo n’embeera endala nnyingi mwe twetaagira okwoleka obuvumu. Kyokka, ka tube nga twolekagana na mbeera ki, Yakuwa ajja kuwulira ‘okusaba kwaffe okw’okukkiriza.’ (Yak. 5:15) Ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe ‘okuba abavumu era ab’amaanyi.’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Enoka yabuulira n’obuvumu mu nsi y’abantu abatatya Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Yayeeri yayoleka obuvumu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share