Yamba Omwana Wo Okugumira Ennaku
NG’ALI mu dduuka ly’ebitabo, omukyala omu eyali omunyiivu yagamba eyali akolamu nti: “Edduuka lyammwe lijjudde ebitabo naye temuli na kimu kiyinza kuyamba mwana wange!” Omukyala oyo yali ayagala kitabo kinaayamba mutabani we omuto okuguma olw’omuntu waabwe eyali afudde.
Ensonga y’omukyala oyo ddala yalimu eggumba. Nga kiba kya nnaku nnyo omwana okufiirwa omuntu gw’abadde ayagala! Abaana bawulira bulungi nnyo nga bali n’ab’omu maka gaabwe, naye bayisibwa bubi omwagalwa waabwe bw’afa. Ng’omuzadde, oyinza otya okuyamba omwana wo ng’omuntu ng’oyo afudde oba ng’agenda kufa?
Kya lwatu nti bwe mufiirwa omwagalwa, naawe oyinza okuba mu nnaku ey’amaanyi era ng’oli mu birowoozo. Naye teweerabira nti omwana wo gwe olina okumugumya. Akatabo akagabibwa mu ddwaliro erimu ery’omu Minnesota mu Amerika kagamba nti: “Ebintu ebimu abaana bye bawulira nga byogerwa bayinza okubitegeera obubi bwe watabaawo abayamba.” Era kagamba nti: “Kirungi okubuulira abaana ekituufu.” N’olwekyo, kiyinza okuba eky’amagezi okutegeeza abaana ekituufu kyennyini ekibaddewo, okusinziira mu myaka gyabwe. Kino si kyangu kubanga buli mwana aba n’obusobozi bw’okutegeera bwa njawulo.—1 Abakkolinso 13:11.
Engeri y’Okunnyonnyolamu Okufa
Abanoonyereza abamu bagamba nti omuzadde bw’aba annyonnyola omwana we ekituuka ku muntu ng’afudde, si kirungi kugamba nti “yeebase,” “yabuze,” oba nti “alina gye yalaze.” Bw’okozesa ebigambo ng’ebyo n’otobinnyonnyola bulungi, omwana ayinza okubuzaabuzibwa. Kituufu nti Yesu okufa yakwogerako ng’okwebaka. Naye, jjukira nti yali tayogera n’abaana bato. Ate era, yannyonnyola kye yali ategeeza. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase.” Abayigirizwa be abo abaali abantu abakulu ‘baalowooza nti yali ayogera ku kwebaka tulo.’ Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagattako nti: “Lazaalo afudde.” (Yokaana 11:11-14) Obanga abantu abakulu baali beetaaga okunnyonnyola, ate olwo abaana abato!
Mary Ann Emswiler ne James P. Emswiler abawandiisi b’ebitabo bagamba nti: “Omuzadde ayinza okuba ng’ayagala annyonnyole omwana ebikwata ku kufa ng’akozesa ebigambo ebitatiisa, ate ne yeesanga ng’amuleetedde okulowooza ekintu ekirala ennyo oba eky’akabi.” Ng’ekyokulabirako, okugamba omwana nti omuntu afudde yeebase bwebasi kiyinza okumuleetera okutya okwebaka ekiro ng’alowooza nti tajja kuzuukuka. Ate okumugamba nti omufu “alina gye yalaze,” kiyinza okuleetera omwana okulowooza nti yamwabulidde oba nti yamukyaye.
Abazadde bangi bakizudde nti kyangu okunnyonnyola abaana ne bategeera ebikwata ku kufa bwe bakozesa ebigambo ebyangu era ebitegeerekeka obulungi, mu kifo ky’okuyita ebbali. (1 Abakkolinso 14:9) Abakugu bagamba nti kirungi okukubiriza omwana wo okubuuza kyonna ky’ayagala n’okwogera ekimweraliikiriza. Bw’oyogera n’omwana wo, oyinza okumuyamba okutegeera ekituufu era osobola okulaba n’engeri endala mw’oyinza okuyita okumugumya.
Ensibuko y’Obulagirizi Obwesigika
Mu kiseera ky’okukungubaga, omwana wo aba atunuulidde gwe okumukumaakuma n’okuddamu ebibuuzo bye. Kati olwo ebintu ebituufu ebikwata ku kufa oyinza kubiggya wa? Bangi bakizudde nti Baibuli esobola okubudaabuda omuntu n’okumuwa essuubi erya nnamaddala. Eraga bulungi engeri okufa gye kwaggyamu, embeera y’abafu, n’essuubi eribaawo ng’omuntu afudde. Okuba nti “abafu tebaliiko kye bamanyi,” kiyamba omwana okutegeera nti omuntu afudde tali mu kubonaabona. (Omubuulizi 9:5) Ate era, Baibuli eraga nti, Katonda ajja kuzuukiza abaagalwa baffe abaafa tuddemu okubalaba mu lusuku lwe ku nsi.—Yokaana 5:28, 29.
Bw’okozesa Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, oba oyamba omwana wo okukimanya nti Baibuli erimu obubaka obubudaabuda n’obulagirizi obwesigika. Era omwana wo ajja kukiraba nti gwe ng’omuzadde obulagirizi bwe weetaaga mu bulamu obuggya mu Kigambo kya Katonda.—Engero 22:6; 2 Timoseewo 3:15.
Ebibuuzo Byo Biddibwamu
Bw’onooba oyamba omwana wo okugumira ennaku y’okufiirwa, oluusi ojja kwesanga nga tomanyi kya kukola. Mu mbeera ng’eyo oyinza kukola ki?a Ka tulabe ebibuuzo bangi bye batera okwebuuza.
• Nnandiraze omwana wange nti ndi munakuwavu? Tewali muzadde yandyagadde mwana we kulaba kintu kimutiisa. Naye kiba kikyamu omwana okukulaba ng’okungubaga? Abazadde bangi bakizudde nti kirungi okulaga nti balina ennaku kubanga kiyamba abaana okumanya nti okunakuwala oba okukungubaga si kikyamu. Abamu boogerako n’abaana baabwe nga bakozesa ebyokulabirako ebiri mu Baibuli eby’abantu abaakungubagira mu lujjudde. Ng’ekyokulabirako, Yesu yakaaba nga mukwano gwe Lazaalo afudde. Teyakweka nnaku ye.—Yokaana 11:35.
• Kirungi okutwala omwana wange ku mikolo egibaawo ng’omuntu afudde oba mu kuziika? Omwana bw’aba ow’okugenda ku mikolo egyo, kiba kirungi okusooka okumubuulira lwaki gikolebwa, na biki ebigenda okubaayo. Kya lwatu nti abazadde bayinza okulaba nti egimu ku gyo si kirungi baana baabwe kugibeerako. Abaana bwe babaawo ku mukolo gw’okuziika ogw’Abajulirwa ba Yakuwa baganyulwa mu mboozi eweebwa eyeesigamizibwa ku Baibuli. Ng’oggyeko ekyo, ku mikolo ng’egyo wabaayo okubudaabuda, okulaga okwagala, n’okufaayo ku bafiiriddwa, era kino kiyamba n’omwana okuguma.—Abaruumi 12:10, 15; Yokaana 13:34, 35.
• Kirungi okwogera n’omwana wange ebikwata ku mwagalwa afudde? Abanoonyereza abamu bagamba nti bwe weewala okwogera ku muntu afudde, omwana wo ayinza okulowooza nti olina ky’omukweka oba nti oyagala yeerabire byonna ebikwata ku muntu afudde. Julia Rathkey, omuwandiisi w’ebitabo, agamba nti: “Kikulu okuyamba abaana okukkiriza ekiguddewo, okukigumira, n’okuggwamu okutya.” Okwogera ebikwata ku mwagalwa afudde, nga mw’otwalidde okwogera ku bulamu bwe n’ebirungi ebimukwatako, kiyamba nnyo mu kugumira ennaku. Abazadde Abajulirwa babudaabuda abaana baabwe n’essuubi lya Baibuli ery’okuzuukira mu lusuku lwa Katonda ku nsi, ewataliba kulwala wadde okufa.—Okubikkulirwa 21:4.
• Nnyinza ntya okuyamba omwana wange nga munakuwavu? Mu kiseera eky’okukungubaga, omwana wo ayinza okuwooteera, oba oluusi n’okulwala. Ayinza okunyiiga oba okwekyawa olw’obutamya kya kukola. Akyayinza n’okulowooza nti oboolyawo alina kye yakola ekyaviirako omuntu oyo okufa, era ayinza okukwesibako buli w’olaga, okutya ennyo buli lw’olwawo okudda awaka oba buli lw’olwala. Oyinza kukola ki okuyamba omwana wo ng’ali mu mbeera ng’eyo? Si kirungi mwana wo kuwulira nti tomufaako nga munakuwavu. N’olwekyo, faayo nnyo ku mbeera ye. Engeri omwana wo gy’ayisibwamu nga mufiiriddwa togitwala ng’ekintu ekitono. Fuba okumubudaabuda buli kiseera, yogera naye, era mukubirize akubuuze ng’alina ky’ayagala okumanya. Osobola okunyweza essuubi ly’omwana wo—n’eriryo—‘okuyitira mu kubudaabudibwa okuva mu Byawandiikibwa.’—Abaruumi 15:4, NW.
• Ebintu mu maka birina kuddamu ddi okukolebwa nga bwe bibadde? Abakugu bagamba nti kirungi okufuba okukola ebintu nga bw’obadde obikola bulijjo. Ekyo kiyamba nnyo mu kugumira ennaku. Abazadde Abajulirwa ba Yakuwa bakizudde nti obutagayaalirira bya mwoyo, gamba ng’okusoma Baibuli okw’amaka, n’okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kiyamba nnyo ab’omu maka bonna okuguma mu kiseera ekyo ekizibu.—Ekyamateeka 6:4-9; Abaebbulaniya 10:24, 25.
Okutuusa nga Yakuwa Katonda aggyewo okulwala n’okufa, abaana bajja kwolekagana n’ekizibu ky’okufiirwa abaagalwa baabwe. (Isaaya 25:8) Kyokka, bwe baba bayambiddwa bulungi, basobola okugumira ennaku eyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebintu ebiwandiikiddwa mu kitundu kino si mateeka buli muntu g’alina okugoberera. Kirungi okukijjukira nti ebitundu, amawanga, n’embeera mwe tuva bya njawulo.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 11]
Kubiriza omwana wo okubuuza kyonna ky’ayagala n’okwogera ekimweraliikiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Fuba okukola ebintu nga bw’obadde obikola bulijjo, nga mw’otwalidde n’okusoma Baibuli okw’amaka