LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 4/1/05 lup. 23-28
  • Abazadde, Mukuume eky’Obusika Kyammwe eky’Omuwendo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abazadde, Mukuume eky’Obusika Kyammwe eky’Omuwendo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Obuyambi bwa Katonda Bwetaagibwa mu Kiseera Kino
  • Okuyigiriza Okuyamba Omwana Okutegeera
  • Okufuba Okukubirizibwa Okwagala
  • Emiganyulo Egivaamu
  • Ebintu Ebirina Okuyigirizibwa Abaana mu Kiseera Kino
  • Kivaamu Emiganyulo
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Abaana Bye Beetaaga Okuva eri Abazadde
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Abaana Baffe—Busika bwa Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Muyigirize Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 4/1/05 lup. 23-28

Abazadde, Mukuume eky’Obusika Kyammwe eky’Omuwendo

“Amagezi kigo . . . gakuuma obulamu bwa nnyini go.”​—OMUBUULIZI 7:12.

1. Lwaki abazadde banditutte abaana baabwe ng’ebirabo?

ABAZADDE bazaala abaana abalinga bo. Abaana abo Baibuli ebayita ‘obusika okuva eri Yakuwa.’ (Zabbuli 127:3) Olw’okuba Yakuwa ye Nsibuko y’Obulamu, abaana abo b’awa abazadde abalinako obwannannyini. (Zabbuli 36:9, NW) Kati olwo, abazadde mutwala mutya ekirabo ekyo eky’omuwendo Katonda ky’abawadde?

2. Manowa yakola ki bwe yakitegeera nti agenda kufuna omwana?

2 Awatali kubuusabuusa ekirabo ng’ekyo twandikisiimye era ne tukitwala nga kya muwendo. Emyaka egisukka mu 3,000 emabega, Omuisiraeri ayitibwa Manowa ekyo kye yakola malayika bwe yagamba mukyala we nti ajja kuzaala omwana. Bwe yafuna amawulire ago amalungi, Manowa yasaba: “Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye tuli olw’okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.” (Ekyabalamuzi 13:8) Abazadde, kiki kye muyinza okuyigira ku Manowa?

Lwaki Obuyambi bwa Katonda Bwetaagibwa mu Kiseera Kino

3. Lwaki mu kiseera kino abazadde we basingira ddala okwetaaga obuyambi bwa Katonda mu kukuza abaana?

3 Mu kiseera kino, abazadde we basingira ddala okwetaaga obuyambi bwa Yakuwa mu kukuza abaana. Lwaki? Kubanga Setaani Omulyolyomi ne balubaale be baasuulibwa ku nsi. Baibuli etulabula: “Zisanze ensi . . . kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:7-9, 12) Ate era, Baibuli egamba nti Setaani alinga ‘empologoma ewuluguma ng’anoonya gw’anaalya.’ (1 Peetero 5:8) Emirundi egisinga, empologoma zitera okukwata ensolo ezisingayo okuba ennafu, naddala ezo ezikyali ento. N’olw’ensonga eyo, abazadde Abakristaayo batunuulira Yakuwa okubawa obulagirizi ku ngeri y’okukuumamu abaana baabwe. Ofuba kyenkana wa okukuuma abaana bo?

4. (a) Abazadde bwe bakitegeera nti waliwo empologoma etaayaayiza mu kitundu, kibaleetera kukola ki? (b) Kiki abaana kye beetaaga okusobola okufuna obukuumi?

4 Singa okitegeera nti waliwo empologoma etaayaayiza mu kitundu kyammwe, ekintu kye wandisoose okukola kwe kukuuma abaana bo. Setaani alinga empologoma. Ayagala okukyamya abantu ba Katonda babeere nga tebakyasiimibwa gy’ali. (Yobu 2:1-7; 1 Yokaana 5:19) Ate bwe kituuka ku baana, kuba kumenya mu jjenje kkalu. N’olwekyo, okusobola okuvvuunuka obutego bw’Omulyolyomi, abaana balina okumanya Yakuwa n’okumugondera. Kino kibeetaagisa okufuna okumanya kwa Baibuli. Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Abaana era beetaaga amagezi, kwe kugamba, obusobozi bw’okutegeera n’okukolera ku ebyo bye bayiga. Okuva “amagezi [bwe] gakuuma obulamu bwa nnyini go,” abazadde mwetaaga okuyigiriza abaana bammwe amazima nga mubatuukira ddala ku mitima. (Omubuulizi 7:12) Kino muyinza kukola mutya?

5. (a) Omwana ayinza atya okuyambibwa okutegeera ekintu? (b) Ekitabo ky’engero kinnyonnyola kitya obukulu bw’okufuna amagezi?

5 Osaanidde okusomera abaana bo Ekigambo kya Katonda. Kyokka, okusobola okubayamba okwagala Yakuwa n’okumugondera kisingawo ku kubasomera obusomezi. Kibeetaagisa okutegeera obulungi by’obasomera. Ng’ekyokulabirako: Omwana ayinza okugambibwa nti, si kirungi kusala luguudo nga tasoose kutunula ku njuuyi zombi. Kyokka, abaana abamu bayinza obutakikola. Lwaki? Kyandiba nga tebannyonnyolwa bulungi ebyo ebiyinza okubatuukako nga bakooneddwa emmotoka, ekyandibayambye okweggyamu “obusirusiru” obuyinza okubaviirako okugwa ku kabenje. Okusobola okuyamba omwana okutegeera ekintu, kitwala ekiseera era kyetaagisa obugumiikiriza. Naye ng’amagezi g’afuna gaba ga muwendo nnyo ng’omuyigiriza! Baibuli egoogerako bw’eti: “Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, n’eŋŋendo zaago zonna mirembe. Ago gwe muti ogw’obulamu eri abo abagakwata: era alina omukisa buli muntu abeera nago.”​—Engero 3:13-18; 22:15.

Okuyigiriza Okuyamba Omwana Okutegeera

6. (a) Lwaki emirundi mingi abaana bakola ebintu ebikyamu? (b) Lutalo ki olugenda mu maaso?

6 Emirundi mingi abaana bakola ebintu ebikyamu, si lwa kuba nti baba tebayigiriziddwa kituufu, naye lwa kuba bye baba bayigiriziddwa biba tebibatuuse ku mitima. Omulyolyomi alwana bwezizingirire okuwangula emitima gy’abaana. Afuba okulaba nga batwalirizibwa ensi ye embi. Ate era olw’okuba abaana baasikira okwegomba okw’okukola ekibi, Setaani yeeyambisa obunafu obwo. (Olubereberye 8:21; Zabbuli 51:5) Abazadde beetaaga okukimanya nti Setaani afuba butaweera okukyusa emitima gy’abaana baabwe.

7. Lwaki okugamba obugambi omwana ekituufu n’ekikyamu tekimala?

7 Abazadde batera okubuulira omwana ekituufu n’ekikyamu, nga balowooza nti bamuyigirizza empisa. Bayinza okumugamba nti kikyamu okulimba, okubba, oba okwetaba n’omuntu gw’otofumbiriganwanga naye. Kyokka, omwana talina kwewala bintu ebyo lwa kuba abazadde be bamulagidde. Alina okukimanya nti ago mateeka ga Yakuwa. Omwana alina okukimanya nti eky’amagezi kwe kugondera amateeka ga Katonda.​—Engero 6:16-19; Abaebbulaniya 13:4.

8. Biki ebiyinza okuyigirizibwa omwana n’asobola okweyisa mu ngeri ey’amagezi?

8 Ebintu ebyewuunyisa ebiri mu bwengula, ebiramu eby’enjawulo n’okukyukakyuka kw’ebiseera mu mwaka​—biyinza okuyamba omwana okutegeera nti waliwo Omutonzi asingiridde amagezi. (Abaruumi 1:20; Abaebbulaniya 3:4) Ate era, omwana alina okuyigirizibwa nti Katonda amwagala, era nti yawaayo Omwana We nga ssaddaaka asobole okufuna obulamu obutaggwaawo, era nti asobola okusanyusa Katonda ng’agondera by’agamba. Bw’okola bw’otyo, omwana ayinza okusalawo okuweereza Yakuwa wadde nga Setaani agezaako okumuziyiza.​—Engero 22:6; 27:11; Yokaana 3:16.

9. (a) Okuyigiriza okukuuma abaana kwetaagisa ki? (b) Bataata bakubirizibwa kukola ki, era kino kizingiramu ki?

9 Okuyigiriza okusobola okukuuma omwana era okuyinza okumukubiriza okukola ekituufu kwetaagisa ebiseera, okufaayo n’enteekateeka ennungi. Kino kyetaagisa abazadde okugoberera obulagirizi bwa Katonda. Baibuli egamba: “Nammwe, bakitaabwe, . . . [abaana bammwe] mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abaefeso 6:4) Kino kitegeeza ki? Mu Luyonaani olwasooka, ekigambo ‘okubuulirira’ kirina amakulu ‘ag’okuyigiriza.’ N’olwekyo, wano bataata bakubirizibwa okuyigiriza abaana baabwe endowooza ya Yakuwa. Ng’ekyo kiba kya bukuumi nnyo gye bali! Singa abaana bafuna endowooza ya Katonda kijja kubakuuma obutakola bikyamu.

Okufuba Okukubirizibwa Okwagala

10. Okusobola okuyigiriza omwana wo obulungi, biki by’oteekwa okumanya?

10 Okusobola okukuza obulungi omwana wo, olina okukikola n’okwagala. Kikulu nnyo okuba n’empuliziganya ennungi n’omwana wo. Manya ebimweraliikiriza n’endowooza ye ku nsonga ezitali zimu. Nga muli mu biseera eby’eggandaalo, baako by’omubuuza mu ngeri ey’amagezi. Oluusi by’ayogera biyinza okukuggya enviiri ku mutwe. Fuba okulaba nga tova mu mbeera. Wabula, wuliriza bulungi era olage okufaayo.

11. Omuzadde ayinza atya okuyigiriza omwana endowooza ya Katonda?

11 Kyo kituufu nti oyinza okuba nga wasomerako abaana bo amateeka ga Katonda agali mu Baibuli agavumirira ebikolwa eby’obukaba, oboolyawo nga wakikola enfunda n’enfunda. (1 Abakkolinso 6:18; Abaefeso 5:5) Kino kiyinza okuba nga ky’abayamba okutegeera ebyo ebisanyusa Yakuwa n’ebitamusanyusa. Kyokka, okusobola okuyigiriza abaana endowooza ya Yakuwa kisingawo ku kubasomera obusomezi. Beetaaga okuyambibwa okusobola okulaba obukulu bw’okugondera amateeka ga Yakuwa. Beetaaga okukikakasa nti amateeka ga Katonda matuufu era ga muganyulo, era nti okugagoberera kye kiraga nti tumwagala. Engeri yokka gy’oyinza ‘okuyigirizaamu’ abaana bo endowooza ya Katonda, kwe kubannyonnyola obulungi ebyawandiikibwa ne basobola okumanya engeri Katonda gy’atunuuliramu ebintu.

12. Omuzadde ayinza atya okuyamba omwana we okuba n’endaba entuufu ku by’okwetaba?

12 Bwe muba mwogera ku by’okwetaba, oyinza okubuuza omwana, “Olowooza omuntu bw’agondera etteeka lya Katonda, n’ateetaba na muntu gw’atafumbiriganwanga naye, aba alina ky’asubwa?” Mukubirize akuwe endowooza ye. Bw’omala okwogera naye ku nteekateeka ya Katonda ey’okuzaala abaana, oyinza okumubuuza, “Olowooza Katonda ow’okwagala ayinza okututeerawo amateeka agatukugira okufuna essanyu mu bulamu? Oba olowooza amateeka ge galiwo lwa kutukuuma na kutuwa essanyu?” (Zabbuli 119:1, 2; Isaaya 48:17) Muleke akubuulire ky’alowooza ku nsonga eyo. Oluvannyuma oyinza okumubuulira ku byokulabirako eby’abantu abaafuna emitawaana egy’amaanyi olw’okwenyigira mu bugwenyufu. (2 Samwiri 13:1-33) Bw’okubaganya ebirowoozo n’omwana wo era n’ategeera bulungi engeri Katonda gy’atunuuliramu ebintu, ojja kuba okoze kinene nnyo mu kumuyigiriza endowooza ya Katonda. Kyokka, waliwo n’ekintu ekirala ky’oyinza okukola.

13. Kiki omwana ky’asaanidde okumanya ekinaamukubiriza okugondera Yakuwa?

13 Tojja kukoma ku kubuulira mwana wo ebyo byokka ebiva mu kujeemera Yakuwa, naye era ojja kumubuulira n’engeri enneeyisa yaffe gy’emukwatako. Laga omwana wo mu Baibuli nti Yakuwa alumwa bwe tulemererwa okukola by’ayagala. (Zabbuli 78:41) Oyinza okumubuuza, “Lwaki toyagala kunyiiza Yakuwa?” era oluvannyuma n’omunnyonnyola nti: “Omulabe wa Katonda, Setaani, agamba nti tuweereza Yakuwa lwa kuba twenoonyeza byaffe ku bwaffe, so si lwa kuba tumwagala.” Mulage engeri Yobu gye yasanyusaamu Yakuwa bwe yakuuma obugolokofu ne kiraga nti ekyo Setaani kye yayogera kya bulimba. (Yobu 1:9-11; 27:5) Omwana wo yeetaaga okukimanya nti enneeyisa ye eyinza okusanyusa Katonda oba okumunyiiza. (Engero 27:11) Bino byonna n’ebirala bingi osobola okubiyigiriza abaana ng’okozesa ekitabo Learn From the Great Teacher.a

Emiganyulo Egivaamu

14, 15. (a) Ssuula ki mu kitabo Teacher ezikutte ku baana? (b) Miganyulo ki gy’ofunye mu kukozesa ekitabo kino?

14 Jjajja omu ow’omu nsi eyitibwa Croatia, asoma ne kazzukulu ke ak’emyaka omusanvu mu kitabo Teacher, yawandiika ebyo bye kaamugamba: “Maama alina kye yantuma okukola, kyokka nga ssaagala. Bwe nnajjukira essuula egamba, ‘Obuwulize Bukukuuma,’ nnaddayo ne mmugamba nti nja kukola kye wagambye.” Bwe baali boogera ku ssuula egamba, “Ensonga Lwaki Tetusaanidde Kulimba,” omugogo gw’abafumbo mu Florida, Amerika, baagamba: “Erimu ebibuuzo ebireetera abaana okwogera ekibali ku mutima n’okukkiriza ensobi ze batandikkirizza.”

15 Ekitabo Teacher kirimu ebifaananyi ebisukka mu 230, era nga buli kimu kiriko obugambo obukyogerako. Maama omu agamba: “Emirundi mingi mutabani wange ayinza okwetegereza ekifaananyi nga tayagala mbikkule na ku lupapula lulala. Ebifaananyi bino tebikoma ku kulabika bulabisi bulungi kyokka naye era birina kye biyigiriza oba okuleetera abaana okubaako ebibuuzo bye beebuuza. Bwe yalaba ekifaananyi ky’omwana alaba ttivi mu kisenge ekikutte ekizikiza, mutabani wange yambuuza mu ddoboozi eriraga ng’amanyi nti omwana oyo ky’akola kikyamu ng’agamba, ‘Maama, ono akola ki?’” Obugambo obuli wansi w’ekifaananyi ekyo bugamba: “Ani ayinza okulaba byonna bye tukola?”

Ebintu Ebirina Okuyigirizibwa Abaana mu Kiseera Kino

16. Bintu ki ebikulu ennyo abaana bye balina okutegeezebwa mu kiseera kino, era lwaki?

16 Abaana beetaaga okumanya obulungi engeri entuufu ebitundu byabwe eby’ekyama gye bisaanidde okukozesebwamu. Kyokka, tekitera kuba kyangu kwogera ku bintu ng’ebyo. Omuwandiisi w’olupapula olumu olw’amawulire yagamba nti ekiseera we yakulira, kyali kyesisiwaza okwogera amannya g’ebitundu eby’ekyama. Ku bikwata ku kuyigiriza abaana be yawandiika: “Nnina okweggyamu ensonyi.” Ekituufu kiri nti, abazadde bwe beewala okwogera n’abaana baabwe ku by’okwetaba, olw’okuba kibakwasa ensonyi, baba tebabayambye. Abo abakwata abaana n’abo abazannyisa ebitundu byabwe eby’ekyama, bakozesa akakisa ako okuboonoona olw’okuba tebalina kye bamanyi. Ekitabo Learn From the Great Teacher kyogera ku by’okwetaba mu ngeri etaweebuula. Okubuulira abaana ku by’okwetaba si kye kiboonoona wabula singa olemererwa okukikola, awo baba bajja kwonooneka.

17. Ekitabo Teacher kiyamba kitya abazadde okuyigiriza abaana ebikwata ku by’okwetaba?

17 Essuula 10, eyogera ku bamalayika ababi abajja ku nsi ne bazaala abaana, erimu ekibuuzo ekibuuzibwa omwana, kigamba nti: “Kiki ky’omanyi ku by’okwetaba?” Ekitabo Teacher kiwa eky’okuddamu mu ngeri ennyangu era etaweebuula. Essuula 32 nayo ennyonnyola engeri omwana gy’ayinza okwerindamu abo abakwata abaana n’abo abazannyisa ebitundu byabwe eby’ekyama. Amabaluwa mangi ge tufunye gagamba nti okuyigiriza ng’okwo kukulu nnyo. Maama omu yagamba: “Wiiki ewedde, mutabani wange Javan bwe yagenda eri omusawo we, yatubuuza obanga twali tumubuulidde engeri ebitundu eby’ekyama gye bisaanidde okukozesebwamu. Omusawo we yasanyuka nnyo okukimanya nti twali twakikola dda nga tukozesa ekitabo kyaffe ekippya.”

18. Ekitabo Teacher kyogera ki ku kusinza obubonero bw’eggwanga?

18 Essuula endala eyogera ku Bebbulaniya abasatu aboogerwako mu Baibuli: Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, abaagaana okuvuunamira ekifaananyi ekyali kikiikirira Babulooni. (Danyeri 3:1-30) Abamu bayinza obutakitwala nti okukubira bendera saluti kuba kusinza bifaananyi, ng’ekitabo Teacher bwe kigamba. Naye, weetegereze omuwandiisi Edward Gaffney kye yagamba mu magazini eyitibwa U.S. Catholic. Yagamba nti olunaku muwala we lwe yasooka okugenda ku ssomero, yakomawo n’amugamba nti alina ‘essaala empya’ gy’ayize. Gaffney agamba nti bwe yamugamba okugimusabiramu, “yateeka omukono gwe mu kifuba, n’ayogerera waggulu nti, ‘Nja kuwanga bbendera ekitiibwa . . . ’” Gaffney yeeyongera n’agamba: “Amangu ago waliwo ekyanzijira mu birowoozo. Abajulirwa ba Yakuwa batuufu. Amasomero gakubiriza abaana baffe okusinza eggwanga okuva nga bakyali bato​—era ng’ekyo balina okukikola ka babeere nga baagala oba tebaagala.”

Kivaamu Emiganyulo

19. Birungi ki ebiva mu kuyigiriza abaana?

19 Mazima ddala, okuyigiriza abaana bo kivaamu emiganyulo. Maama omu abeera mu Kansas, Amerika, yeesanga ng’akulukusizza amaziga bwe yasoma ebbaluwa ya mutabani we. Yawandiika: “Nneesiimye okuba nti nnakuzibwa bulungi. Ggwe ne Taata wange mbeebaza nnyo olw’okunkuza obulungi.” (Engero 31:28) Ekitabo Learn From the Great Teacher kisobola okuyamba abazadde abalala bangi okuyigiriza abaana baabwe, basobole okukuuma eky’obusika kino eky’omuwendo.

20. Kiki abazadde kye basaanidde okujjukiranga, era ekyo kyandibaleetedde kukola ki?

20 Twetaaga okuwa abaana baffe ebiseera, okubafaako, n’okufuba okubayamba. Ebbanga lye bamala nga bato teriba ddene. Kozesa buli kakisa k’ofuna okubeerako nabo n’okubayamba. Ekyo bw’onookikola tojja kwejjusa. Bajja kukwagala nnyo. Kijjukirenga nti abaana bo birabo Katonda by’akuwadde. Ng’abaana kya busika eky’omuwendo! (Zabbuli 127:3-5) N’olw’ekyo, batwale nga ba muwendo, kubanga ovunaanyizibwa eri Katonda mu ngeri gy’obakuzaamu.

[Obugambo obuli wansi]

a Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Laba essuula 40, omutwe ogugamba, “Engeri y’Okusanyusaamu Katonda.”

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki mu kiseera kino abazadde we basingira ddala okwetaaga okukuuma abaana baabwe?

• Kuyigiriza kwa ngeri ki okuwa amagezi?

• Bintu ki ebikulu by’osaanidde okuyigiriza abaana bo mu kiseera kino?

• Ekitabo Teacher kiyambye kitya abazadde okuyigiriza abaana baabwe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Abazadde, kiki kye muyinza okuyigira ku kyokulabirako kya Manowa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Abaana, kiki kye muyinza okuyigira ku Bebbulaniya abasatu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]

Ebifaananyi ebiri mu kitabo “Teacher” n’obugambo obubyogerako bikola kinene nnyo mu kuyigiriza

Kiki Ananiya ky’alimba Peetero?

Ani ayinza okulaba byonna bye tukola?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share