LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 8/15 lup. 21-25
  • Omanyi Bulungi Okwogera “Olulimi Olulongoofu”?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omanyi Bulungi Okwogera “Olulimi Olulongoofu”?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Olulimi Oluggya era Olulongoofu
  • Okuyiga Olulimi Olulongoofu
  • Okwogera Obulungi Olulimi Olulongoofu
  • Ffenna Tutendereza Yakuwa mu Lulimi Olulongoofu
  • “Ensi Yonna Yalina Olulimi Lumu”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Okweyongera Okubuulira Abantu Aboogera Olulimi Olugwira
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 8/15 lup. 21-25

Omanyi Bulungi Okwogera “Olulimi Olulongoofu”?

“Mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabirire erinnya lya [Yakuwa].”​—ZEF. 3:9.

1. Kirabo ki eky’omuwendo Yakuwa kye yatuwa?

OKWOGERA ennimi kirabo ekyava eri Yakuwa Katonda eyatonda omuntu, so tekyava mu bantu. (Kuv. 4:11, 12) Katonda yakola omuntu eyasooka Adamu ng’asobola okwogera, era ng’asobola n’okuyiiya ebigambo ebipya okugaziya olulimi lwe. (Lub. 2:19, 20, 23) Nga kino kyali kirabo kya muwendo nnyo! Ekirabo kino kisobozesa abantu okwogera ne Kitaabwe ow’omu ggulu n’okutendereza erinnya lye ery’ekitiibwa.

2. Lwaki abantu tebakyayogera lulimi lumu?

2 Ebyasa 17 ebyasooka ng’omuntu atondeddwa, abantu bonna baali boogera olulimi lumu era baalina “enjogera emu.” (Lub. 11:1) Bwe waayita ekiseera, abantu beewaggula mu biseera bya Nimuloodi. Nga bawakanya ebiragiro bya Yakuwa, baakuŋŋaanira mu kifo oluvannyuma ekyatuumibwa Baberi, nga kye bagenderera kwe kubeera awamu bonna. Baatandika okuzimba omunaala omunene ennyo, nga baagala ‘beekolere erinnya.’ Yakuwa yatabulatabula olulimi lwa bakyewaggula abo ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo. N’ekyavaamu, baasaasaana mu nsi yonna.​—Soma Olubereberye 11:4-8.

3. Kiki ekyaliwo Yakuwa bwe yatabulatabula olulimi lwa bakyewaggula e Baberi?

3 Leero, ennimi nkumi na nkumi zoogerwa mu nsi, era abamu bagamba nti zisuuka mu 6,800. Buli lulimi lwogerwa mu ngeri ya njawulo. N’olw’ensonga eyo, kirabika nti Yakuwa Katonda bwe yatabulatabula olulimi bakyewaggula abo lwe baali boogera, yalubeerabiriza ddala. Teyakoma ku kubawa bigambo bipya, naye yakyusa engeri gye balowoozaamu ne gye basengekamu ebigambo nga boogera. Tekyewuunyisa nti ekifo awaali omunaala ogwo kyatuumibwa Baberi, ekitegeeza “Okutabulwatabulwa.” (Lub. 11:9) Baibuli ye yokka ennyonnyola ensonga abantu kwe baava okwogera ennimi ez’enjawulo.

Olulimi Oluggya era Olulongoofu

4. Kiki Yakuwa kye yalagula nti kyandibaddewo mu kiseera kyaffe?

4 Wadde ng’ebyo ebyaliwo e Baberi nga Katonda atabuddetabudde olulimi byewuunyisa, waliwo ekintu ekiwuniikiriza okusingako awo ekibaddewo mu kiseera kyaffe. Ng’ayitira mu nnabbi we Zeffaniya, Yakuwa yalagula nti: “Mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabirire erinnya lya [Yakuwa], okumuweereza n’omwoyo gumu.” (Zef. 3:9) “Olulimi olulongoofu” olwo lwe luluwa, era tuyinza tutya okuyiga okulwogera obulungi?

5. Olulimi olulongoofu lwe luluwa, era kiki ekivudde mu kwogera olulimi olwo?

5 Olulimi olulongoofu ge mazima agakwata ku Yakuwa Katonda n’ebigendererwa bye ebiri mu Kigambo kye Baibuli. “Olulimi” olwo luzingiramu okutegeera obulungi amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, n’engeri Obwakabaka obwo gye bujja okutukuza erinnya lya Yakuwa, gye bujja okulaga nti y’asaanidde okufuga, n’engeri gye bujja okuleetera abantu abeesigwa emikisa egy’olubeerera. Okutandika okwogera olulimi luno olupya kivaamu ki? Baibuli etugamba nti abantu bajja ‘kukaabirira erinnya lya Yakuwa’ era bajja ‘kumuweereza n’omwoyo gumu.’ Obutafaananako ebyo ebyaliwo e Baberi, okwogera olulimi luno olulongoofu kiviiriddeko erinnya lya Yakuwa okutenderezebwa, n’abantu be okubeera obumu.

Okuyiga Olulimi Olulongoofu

6, 7. (a) Okuyiga olulimi olupya kizingiramu ki, era kino kirina kakwate ki n’okuyiga olulimi olulongoofu? (b) Tugenda kwetegereza ki?

6 Omuntu bw’aba ayagala okuyiga okwogera olulimi olulala, takoma ku kukwata bigambo bipya. Okuyiga olulimi olupya kitwaliramu okuyiga okulowooza mu ngeri endala. Engeri abantu gye basengekamu ebigambo ne gye basaagamu mu lulimi olulala eyinza okuba ey’enjawulo ennyo. Okusobola okwatula obulungi ebigambo ebipya kikwetaagisa okukozesa mu ngeri endala ebitundu by’omubiri ebikuyamba okwogera, gamba ng’olulimi. Tulina kukola kye kimu nga twagala okuyiga olulimi olulongoofu olw’amazima ga Baibuli. Okumanya enjigiriza za Baibuli ezisookerwako kyokka tekimala. Okuyiga okwogera obulungi olulimi luno olulongoofu kizingiramu okukyusa endowooza zaffe.​—Soma Abaruumi 12:2; Abaefeso 4:23.

7 Kiki ekinaatuyamba okutegeera olulimi olwo olulongoofu n’okulwogera obulungi? Nga bwe kiba ng’omuntu ayiga olulimi olulala lwonna, waliwo ebintu ebisobola okutuyamba okwogera obulungi olulimi lw’amazima ga Baibuli. Ka twetegerezeeyo ebimu ku bintu ebiyamba omuntu ng’ayiga olulimi olupya, tulabe engeri gye bisobola okutuyamba okuyiga olulimi luno olupya olw’akabonero.

Okwogera Obulungi Olulimi Olulongoofu

8, 9. Tulina kukola ki okusobola okuyiga olulimi olulongoofu, era lwaki ekyo kikulu?

8 Wuliriza bulungi. Omuntu bw’abaako n’olulimi olupya lw’ayagala okuyiga, mu kusooka luba terutegeerekeka. (Is. 33:19) Naye bw’assaayo omwoyo, atandika okutegeera ebigambo ebimu n’engeri gye bikozesebwamu. Mu ngeri y’emu, naffe tujjukizibwa nti: “Kitwetaagisa okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, tuleme kuwaba kuva mu kukkiriza.” (Beb. 2:1, NW) Emirundi mingi Yesu yakubiriza abagoberezi be nti: “Alina amatu ag’okuwulira, awulire.” (Mat. 11:15; 13:43; Mak. 4:23; Luk. 14:35) Yee, twetaaga ‘okuwulira n’okutegeera’ bye tuyigirizibwa tusobole okukulaakulana mu kwogera olulimi olulongoofu.​—Mat. 15:10; Mak. 7:14.

9 Wadde ng’okuwuliriza kyetaagisa okussaayo ennyo omwoyo, kivaamu emiganyulo mingi. (Luk. 8:18) Bwe tuba mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, tussaayo omwoyo ku biba biyigirizibwa, oba twesanga nga tulowooza ku bintu birala? Kikulu nnyo okufuba okussaayo omwoyo ku biba byogerwa. Bwe tutakola tutyo, tuyinza okwesanga nga tufuuse baggavu b’amatu.​—Beb. 5:11.

10, 11. (a) Ng’oggyeko okuwuliriza obulungi, kiki kye tulina okukola? (b) Kiki ekirala ekizingirwa mu kwogera olulimi olulongoofu?

10 Koppa abo abalwogera obulungi. Abantu abayiga olulimi olupya tebakubirizibwa kuwuliriza bulungi kyokka, naye balina n’okugezaako okukoppa engeri abo abalutegeera obulungi gye balwogeramu. Kino kiyamba abayiga olulimi olwo okwewala okwatula obubi ebigambo, oluvannyuma ne kibaviirako okulwogera mu ngeri etetegeerekeka. Mu ngeri y’emu, naffe tusaanidde okuyigira ku abo ‘abayigiriza’ obulungi olulimi luno olupya. (2 Tim. 4:2) Basabe bakuyambe, era kkiriza bwe bakugolola ng’okoze ensobi.​—Soma Abaebbulaniya 12:5, 6, 11.

11 Okwogera olulimi olulongoofu tekikoma ku kukkiriza mazima na kuyigiriza balala kyokka, naye kizingiramu n’okutuukanya enneeyisa yaffe n’amateeka ga Katonda awamu n’emisingi gye. Okusobola okukola kino, kitwetaagisa okukoppa abo abeeyisa obulungi. Kino kitwaliramu okukoppa okukkiriza kwabwe awamu n’obunyiikivu bwabwe. Kizingiramu n’okukoppa obulamu bwa Yesu bwonna. (1 Kol. 11:1; Beb. 12:2; 13:7) Bwe tufuba okukola tutyo, kijja kutuyamba okuba obumu ng’abantu ba Katonda, n’okwogera olulimu olulongoofu mu ngeri efaanagana.​—1 Kol. 4:16, 17.

12. Okukwata bye tuyiga kiyinza kitya okutuyamba nga tuyiga olulimi oluppya?

12 Kwata by’oyiga. Abantu abayiga olulimi balina okukwata ebintu ebipya bingi. Mu bino mwe muli okukwata ebigambo ebipya. Bwe baba ab’okuyiga obulungi olulimi olulongoofu, Abakristaayo balina okukwata bye bayize. Ng’ekyokulabirako, kiba kirungi okukwata amannya g’ebitabo bya Baibuli n’engeri gye biddiriŋŋanamu. Abamu bakifudde kiruubirirwa kyabwe okubaako ebyawandiikibwa bye bakwata mu mutwe. Abalala bakisanze nga kya muganyulo okukwata ennyimba z’Obwakabaka, ebibala by’omwoyo, amannya g’ebika bya Isiraeri n’ag’abatume 12. Mu biseera eby’edda, Abaisiraeri bangi baakwatanga zabbuli mu mutwe. Mu kiseera kyaffe, waliwo omulenzi omu eyakwata obukusu ennyiriri z’omu Baibuli ezisukka 80 nga wa myaka mukaaga gyokka. Naffe tusobola okukozesa ekitone ekyo obulungi nga tukwata bye tuyiga?

13. Lwaki kikulu okwejjukanya bye tuyize?

13 Okwejjukanya kituyamba okukwata ekintu, era okujjukizibwa entakera kituganyula nnyo nga tuyigirizibwa ng’Abakristaayo. Omutume Peetero yagamba nti: “Njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina.” (2 Peet. 1:12) Lwaki twetaaga okujjukizibwa? Kubanga kituyamba okwongera okutegeera bye tuyize, okugaziya ku bye tumanyi, n’okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. (Zab. 119:129) Okwejjukanya emitindo n’emisingi gya Katonda kituyamba okwekebera n’okwewala okufuuka ‘abawulizi abeerabira.’ (Yak. 1:22-25) Bwe tutejjukanya, emitima gyaffe gijja kutwalirizibwa ebintu ebirala, oboolyawo tulekere awo n’okwogera obulungi olulimi olulongoofu.

14. Kiki ekinaatuyamba nga tuyiga olulimi olulongoofu?

14 Soma mu ddoboozi eriwulikika. (Kub. 1:3, NW) Abantu abamu bagezaako okuyiga olulimi olupya mu kasirise nga bali bokka. Naye kino tekibaganyula nnyo. Bwe tuba tuyiga olulimi olulongoofu kiyinza okutwetaagisa okusoma mu ddoboozi erya wansi tusobole okussaayo omwoyo. Bw’atyo omuwandiisi wa zabbuli agamba nti: “Amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza [“mw’asoma mu ddoboozi erya wansi”, NW] emisana n’ekiro.” (Zabbuli 1:2.) Okukola tutyo kituyamba okutegeera obulungi bye tuba tusoma. Ebigambo by’Olwebbulaniya ebyavvuunulwa “okusoma mu ddoboozi erya wansi” bikwataganako n’okufumiitiriza. Ng’emmere bw’erina okugaayibwa obulungi esobole okutuganyula, twetaaga okufumiitiriza ku bye tusoma tusobole okubitegeera obulungi. Tuwaayo ekiseera ekimala okufumiitiriza ku bye tusoma? Bwe tuba tumaze okusoma Baibuli, tuteekwa okulowooza ennyo ku bye tuba tusomye.

15. Lwaki kyetaagisa okuyiga “amateeka agafuga” olulimi olulongoofu?

15 Wekkaanye amateeka g’olulimi. Ekiseera kituuka ne tuba nga tulina okuyiga amateeka agafuga olulimi olwo olupya, n’engeri ebigambo gye birina okugattibwamu. Kino kitusobozesa okulutegeerera ddala, n’okulwogera obulungi. Nga buli lulimi bwe luba n’ensengeka yaalwo ey’ebigambo, n’olulimi olulongoofu olw’amazima ga Baibuli lulina “ensengeka y’ebigambo eby’obulamu.” (2 Tim. 1:13, NW) Tulina okukoppa “ensengeka y’ebigambo” eyo.

16. Kiki kye tusaanidde okwewala, era tuyinza kukola ki okukyewala?

16 Weeyongere okukulaakulana. Omuntu ayinza okuyiga olulimi n’aba ng’asobola okunyumya, naye n’ateeyongera kuluyigira ddala bulungi. Kino kiyinza okutuuka ne ku abo abayiga okwogera olulimi olulongoofu. (Soma Abaebbulaniya 5:11-14.) Tuyinza kukola ki okulaba nti kino tekitutuukako? Tulina okuba abeetegefu okwongera okuyiga ebisingawo ku lulimi olwo. Baibuli egamba nti: “Kale tuleke okwogera ku bigambo eby’olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n’okukkiriza eri Katonda, okuyigiriza okw’okubatiza, n’okuteekako emikono, n’okuzuukira kw’abafu, n’omusango ogutaggwaawo.”​—Beb. 6:1, 2.

17. Lwaki kikulu okwesomesa obutayosa? Waayo ekyokulabirako.

17 Ssaawo ekiseera eky’okwesomesa. Okusomera ekiseera ekitono nga toyosa kisingira wala okusomera ekiseera ekiwanvu obw’olumu n’olumu. Somera mu kiseera ng’osobola okussaayo bulungi omwoyo era nga tewali bikutawaanya. Okuyiga olulimi olupya kiringa okukaza akakubo mu nsiko. Akakubo ako gye kakoma okuyitibwamu, gye kakoma okukala. Naye bwe kamala ekiseera nga tekayitibwamu kazika. N’olwekyo, kikulu okunyiikirira okukola ekintu bulijjo! (Dan. 6:16, 20) Kikulu nnyo okusaba n’okuba abanyiikivu “buli kiseera” nga tuyiga okwogera olulimi olulongoofu olw’amazima ga Baibuli.​—Bef. 6:18.

18. Lwaki tusaanidde okwogera olulimi olulongoofu buli lwe tufuna akakisa?

18 Totya kwogera! Abamu abayiga olulimi olupya tebaagala kulwogera olw’okuba batya okukola ensobi. Ekyo kiba kibalemesa okukulaakulana. Enjogera egamba nti Addiŋŋana amawolu y’agajjamu omukkuto, etuukirawo bulungi bwe kituuka ku kuyiga olulimi olupya. Omuntu gy’akoma okwogera olulimi olupya, gy’akoma okuyiga okulwogera obulungi. Mu ngeri y’emu naffe kitwetaagisa okwogera olulimi olulongoofu buli lwe tufuna akakisa. Baibuli egamba nti: “Omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.” (Bar. 10:10) ‘Okwatula’ mu lujjudde tekukoma wali nga tugenda okubatizibwa wokka, naye era ne bwe tuba nga twogera ku Yakuwa, naddala nga tuli mu buweereza bw’ennimiro. (Mat. 28:19, 20; Beb. 13:15) Enkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo zituwa akakisa ak’okwogera mu lulimi olulongoofu.​—Soma Abaebbulaniya 10:23-25.

Ffenna Tutendereza Yakuwa mu Lulimi Olulongoofu

19, 20. (a) Kiki ekyewuunyisa Abajulirwa ba Yakuwa kye bakola leero? (b) Omaliridde kukola ki?

19 Nga kyandibadde kya ssanyu okuba mu Yerusaalemi ku Ssande ku makya nga Sivani 6, 33 Embala Eno (E.E.)! Ku olwo ku makya, ng’essaawa tezinnawera ssatu, abantu abaali bakuŋŋaanidde mu kisenge ekya waggulu ‘baatandika okwogera ennimi endala’ mu ngeri ey’ekyamagero. (Bik. 2:4) Mu kiseera kyaffe, abaweereza ba Katonda tebakyayogera mu nnimi. (1 Kol. 13:8) Wadde kiri kityo, Abajulirwa ba Yakuwa balangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nnimi ezisukka mu 430.

20 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti ffenna tuli bumu mu kwogerera olulimi olulongoofu olw’amazima ga Baibuli, wadde ng’ennimi zaffe za njawulo! Kino kyawukanira ddala ku ekyo ekyaliwo e Baberi. Nga balinga aboogera olulimi olumu, abantu ba Yakuwa baleetera erinnya lye okutenderezebwa. (1 Kol. 1:10) Ka tube bamalirivu okweyongera “okumuweereza n’omwoyo gumu” wamu n’ab’oluganda bonna okwetooloola ensi, nga bwe tufuba okuyiga okwogera obulungi olulimi olwo olumu, kiweese Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa.​—Soma Zabbuli 150:1-6.

Wandizzeemu Otya?

• Olulimi olulongoofu lwe luluwa?

• Biki ebizingirwa mu kwogera olulimi olulongoofu?

• Kiki ekinaatuyamba okwogera obulungi olulimi olulongo

[Akasanduuko akali ku lupapula 23]

Weeyongere Okwogera Obulungi Olulimi Olulongoofu nga

◆ owuliriza bulungi.

Luk. 8:18; Beb. 2:1, NW

◆ okoppa abo abalwogera obulungi.

1 Kol. 11:1; Beb. 13:7.

◆ okwata era nga wejjukanya by’oyiga.

Yak. 1:22-25; 2 Peet. 1:12

◆ osoma mu ddoboozi eriwulikika.

Zab. 1:1, 2, NW; Kub. 1:3, NW

◆ wekkaanya “amateeka g’olulimi.”

2 Tim. 1:13, NW

◆ weeyongera okukulaakulana.

Beb. 5:11-14; 6:1, 2

◆ ossaawo ekiseera eky’okwesomesa.

Dan. 6:16, 20; Bef. 6:18

◆ totya kwogera.

Bar. 10:10; Beb. 10:23-25

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]

Abantu ba Yakuwa boogerera wamu olulimi olulongoofu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share