EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 9-11
“Ensi Yonna Yalina Olulimi Lumu”
Ku munaala gw’e Babeeri, Yakuwa yatabulatabula olulimi lw’abantu abaali bamujeemedde, ne kibaviirako okusaasaana. Leero akuŋŋaanya ekibiina ky’abantu okuva mu mawanga gonna n’ennimi era abayigiriza “olulimi olulongoofu” basobole ‘okukoowoola erinnya lya Yakuwa, era bamuweereze nga bali bumu.’ (Zef 3:9; Kub 7:9) “Olulimi olulongoofu” ge mazima agakwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, agasangibwa mu Byawandiikibwa.
Okuyiga olulimi olulala kisingawo ku kuyiga obuyizi ebigambo ebipya. Kizingiramu okuyiga okulowooza mu ngeri endala. Mu ngeri y’emu, bwe tuyiga olulimi olulongoofu oba amazima agali mu Kigambo kya Katonda, endowooza yaffe ekyusibwa. (Bar 12:2) Ekyo tuba tulina okweyongera okukikola, era kye kiviirako abantu ba Katonda okuba obumu.—1Ko 1:10.