Ddala Ennimi Ze Twogera Zaatandikira ku “Munaala gw’e Baberi”?
“Bw’atyo Mukama n’abasaasaanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga. Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi zonna.”—Olubereberye 11:8, 9.
EKINTU ekyo ekyogerwako mu Bayibuli ddala kyaliwo? Ddala abantu baatandika omulundi gumu okwogera ennimi ez’enjawulo, nga bwe kiragibwa mu kyawandiikibwa ekyo? Abamu bawakanya ekyo Bayibuli ky’egamba ku ngeri ennimi gye zaatandikibwawo n’engeri gye zaasaasaanamu. Omuwandiisi w’ebitabo omu agamba nti: “Omunaala gw’e Baberi lufumo bufumo era kye kintu ekikyasinze okuba eky’obulimba.” Waliwo n’omukulembeze w’eddiini y’Ekiyudaaya eyagamba nti “olwo lugero bugero olwagunjibwawo okugezaako okunnyonnyola engeri amawanga gye gajjawo.”
Lwaki abantu abamu bawakanya ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ebyo ebyaliwo e Baberi? Olw’okuba endowooza abamu gye balina ku ngeri ennimi gye zaggyawo ekontana n’ekyo Bayibuli ky’egamba. Ng’ekyokulabirako, abawandiisi b’ebitabo abamu bagamba nti ennimi ez’enjawulo tezaatandikawo mulundi gumu, wabula zajja zikyuka mpolampola okuva mu “lulimi lumu olwasooka.” Ate abalala bagamba nti ennimi ezitali zimu ezaasooka zaava mu bigambo ebitategeerekeka. Olw’okuba endowooza ng’ezo tezikwatagana, bangi bakkiriziganya ne profesa W. T. Fitch, eyawandiika mu kitabo kye The Evolution of Language nti: “Ekituufu kyennyini tetunnaba kukimanya.”
Biki abo abayiikuula eby’omu ttaka n’abanoonyereza bye bazudde ku nsibuko y’ennimi n’engeri gye zaasaasaanamu? Bye bazudde bikwatagana n’ebyo abantu bye bagamba, oba n’ekyo Bayibuli ky’egamba? Ka tusooke twekenneenye ekyo Bayibuli ky’egamba.
KYALIWO DDI ERA KYALI WA?
Bayibuli egamba nti okutabulwatabulwa kw’olulimi n’abantu okusaasaana mu bitundu eby’enjawulo, byaliwo mu “nsi Sinali,” oluvannyuma eyatuumibwa Babulooni. (Olubereberye 11:2) Ebyo byaliwo ddi? Bayibuli eraga nti byaliwo ku mulembe gwa Peregi, eyaliwo emyaka nga 250 emabega nga Ibulayimu tannazaalibwa. N’olwekyo ebyaliwo e Baberi byaliwo emyaka nga 4,200 egiyise.—Olubereberye 10:25; 11:18-26.
Abawandiisi b’ebitabo abamu bagamba nti ennimi ezoogerwa mu kiseera kino zaasibuka mu lulimi lumu lwe bagamba nti lwe lwasooka, era nti lwaliwo emyaka nga 100,000 egiyise.a Ate abalala bagamba nti ennimi ezoogerwa mu kiseera kino zifaananako ennimi ez’enjawulo ze bagamba nti zaaliwo emyaka nga 6,000 egiyise. Naye abo abanoonyereza ku by’ennimi bamanya batya nti waaliwo ennimi ezayogerwanga edda ezitakyaliwo mu kiseera kino? Akatabo akayitibwa Economist kagamba nti: “Ekyo kizibu okunnyonnyola. Obutafaananako abanoonyereza ku bitonde, abo abanoonyereza ku nnimi tebalina bisigalira ebisobola okubayamba okuzuula ebyaliwo mu biseera eby’edda.” Akatabo ako kagattako nti omu ku bo yagamba nti mu kunoonyereza kwe ‘ateebereza buteebereza.’
Wadde kiri kityo, waliwo ebiwandiiko eby’edda ebyazuulibwa. Biraga ki ku nsibuko y’ennimi? Ekitabo ekiyitibwa The New Encyclopædia Britannica kinnyonnyola nti: “Ebiwandiiko ebikyasinze okuba ebikadde ebisobola okutuyamba okumanya ensibuko y’ennimi byawandiikibwa emyaka nga 4,000 oba 5,000 egiyise.” Ebiwandiiko ebyo byazuulibwa wa? Byazuulibwa mu Mesopotamia, awaali ensi eyali eyitibwa Sinali.b N’olwekyo, ebyo Bayibuli by’eyogera ku ngeri ennimi ez’enjawulo gye zaatandikamu bituufu.
ENNIMI ZA NJAWULO, ENDOWOOZA ZA NJAWULO
Bayibuli eraga nti e Baberi, Katonda yatabulatabula olulimi abantu lwe baali boogera ne kiba nti buli omu yali tasobola kutegeera lulimi lwa munne. (Olubereberye 11:7) N’ekyavaamu, abakozi ‘baaleka okuzimba ekibuga’ Baberi era ne basaasaana ‘okubuna ensi yonna.’ (Olubereberye 11:8, 9) N’olwekyo, Bayibuli tegamba nti waaliwo olulimi ennimi zonna ezoogerwa leero mwe zaava. Wabula, eraga nti abantu baatandika okwogera ennimi ez’enjawulo omulundi gumu, era nga buli muntu asobola okwoleka endowooza ye n’enneewulira mu lulimi lwe.
Ejjinja eryazuulibwa e Mesopotamia, eryawandiikibwako mu lwasa olw’okusatu, ng’embala eno tennatandika
Ennimi ezoogerwa leero, zifaanagana oba za njawulo? Munnasayansi ayitibwa Lera Boroditsky, yawandiika nti: “Abanoonyereza ku by’ennimi bwe beeyongera okwekenneenya ennimi ezoogerwa mu nsi (ennimi nga 7,000, beekenneenyaako ntono nnyo ku zo), baakizuula nti za njawulo nnyo.” Wadde ng’ennimi ezimu zaagala okufaanagana, gamba ng’Oluganda n’Olusoga, naye ate za njawulo nnyo bw’ozigeraageranya n’ennimi endala ezaagala okufaanagana, gamba ng’Olukyoli oba Olulaŋo.
Omuntu ow’olulimi olumu asobola okubaako ekintu ky’ayogera ow’olulimi olulala n’afuna makulu malala. Ng’ekyokulabirako, Omuganda bw’agamba Omusoga nti “Tuuma,” Omusoga ajja kufuna makulu ga kubuuka ate ng’Omuganda si ky’abadde ategeeza. Omu ayinza obutategeera munne ky’agamba. Eyo y’ensonga lwaki abazimbi b’e Baberi baali tebasobola kweyongera kuzimba.
ENNIMI EZAATANDIKIBWAWO E BABERI ZAALI ZITEGEEREKEKA?
Lowooza ku lulimi abantu lwe baasookera ddala okwogera. Bayibuli eraga nti Adamu, omuntu eyasooka okutondebwa yasobola okuyiiya ebigambo ebipya bwe yali atuuma ebisolo n’ebinyonyi amannya. (Olubereberye 2:20) Ate era, Adamu yayiiya ekitontome okusobola okwoleka enneewulira gye yalina olw’okufuna omukazi. N’omukazi yannyonnyola bulungi ekyo Katonda kye yali abagaanye okukola n’ebyandivudde mu kumujeemera. (Olubereberye 2:23; 3:1-3) N’olwekyo olulimi abantu lwe baasooka okwogera lwali lubasobozesa okuwuliziganya obulungi n’okwoleka enneewulira yaabwe.
Katonda bwe yatabulatabula olulimi lw’abantu e Baberi, baali tebakyasobola kuwuliziganya. Naye, ennimi zaabwe empya zaali zitegeerekeka bulungi ng’olulimi olwasooka. Mu byasa bitono ebyaddirira, abantu baazimba ebibuga ebinene, baakola amagye ag’amanyi, era baatandikawo obusuubuzi wakati w’amawanga. (Olubereberye 13:12; 14:1-11; 37:25) Ebyo byandisobose singa ennimi ze baali boogera zaali tezitegeerekeka? Okusinziira ku Bayibuli, olulimi abantu lwe basookera ddala okwogera n’ennimi empya ze baatandika okwogera e Baberi, zaali zitegeerekeka bulungi.
Okunoonyereza okukoleddwa mu biseera bino kukakasa ensonga eyo. Ekitabo ekiyitibwa The Cambridge Encyclopedia of Language kigamba nti: “Buli ggwanga eryanoonyerezebwako, ka libe nga ‘linyoomebwa,’ lirina olulimi lwalyo olwemalirira era olutegeerekeka obulungi okufaanako ennimi ezoogerwa mu mawanga ge bayita ‘agaakula edda.’” Mu ngeri y’emu, mu kitabo kye The Language Instinct, Profesa Steven Pinker ow’omu Harvard College agamba nti: ‘Tewali lulimi luteemalirira era lutategeerekeka.’
OLULIMI MU BISEERA EBY’OMU MAASO
Okuva bwe kiri nti waliwo ebiwandiiko eby’edda ebyazuulibwa, nti waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’ennimi, era nti ennimi ezaayogerwanga edda zaali zitegeerekeka bulungi, bangi bakakasizza nti ebyo Bayibuli by’egamba nti byaliwo e Baberi, bituuufu.
Bayibuli eraga nti Katonda yatabulatabula olulimi lw’abantu e Baberi kubanga baamujeemera. (Olubereberye 11:4-7) Wadde kyali kityo yasuubiza nti ‘alikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakoowoole erinnya lya Yakuwa, era bamuweereza n’omwoyo gumu.’ (Zeffaniya 3:9) “Olulimi olulongoofu,” nga ge mazima agali mu Kigambo kya Katonda, gayamba abantu mu nsi yonna okuba obumu. Ekyo kitulaga nti ne mu biseera eby’omu maaso, Katonda ajja kuwa abantu olulimi lumu abe ng’aggyewo ekyo ekyaliwo e Baberi.
a Abo abagamba nti ennimi zajja zikyuka mpolampola basinziira ku njigiriza egamba nti abantu baava mu nkobe. Ku bikwata ku njigiriza eyo, laba olupapula 27-29 mu katabo The Origin of Life—Five Questions Worth Asking, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Abayiikuula eby’omu ttaka baazuula yeekaalu eziwerako ezaazimbibwa ng’eminaala okumpi ne Sinali. Bayibuli egamba nti abazimbi b’omunaala gw’e Baberi baazimbisa matofaali mu kifo ky’amayinja’. (Olubereberye 11:3, 4) Ekitabo ekiyitibwa The New Encyclopædia Britannica, kigamba nti mu Mesopotamia, ‘amayinja gaali matono.’