Yigiriza Abalala Olulimi Olulongoofu
1 Wadde nga bava mu ‘buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi,’ Abajulirwa ba Yakuwa bantu abali obumu, abali mu luganda olw’ensi yonna olwa nnamaddala. (Kub. 7:9) Kino tekisangikasangika mu nsi ya leero ejjuddemu enjawukana. Naye kino kisoboka kitya? Lwa kuba tuweereddwa ‘olulimi olulongoofu.’—Zef. 3:9.
2 Ebirungi Ebivaamu: Olulimi luno olulongoofu kye ki? Kwe kutegeerera ddala amazima agasangibwa mu Baibuli agakwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, naddala amazima agakwata ku Bwakabaka bwe. Nga Yesu bwe yalagula, amazima gano gasaasaanyizibwa okuyitira mu mukutu ogulabikako ku nsi, kwe kugamba, ‘omuddu omwesiga era ow’amagezi,’ era abantu okuva “mu nnimi zonna ez’amawanga” bajja eri okusinza okw’amazima.—Mat. 24:45; Zek. 8:23.
3 Abantu bwe bagenda bayiga olulimi olulongoofu, kibaviirako okutambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Yakuwa. Bayiga ‘okubeera obumu mu magezi ne mu kulowooza.’ (1 Kol. 1:10) Era okuyigirizibwa Katonda kubasobozesa okubeera n’empisa ennungi, enjogera ennungi, naddala ku bikwata ku kubuulira abalala amawulire amalungi. (Tito 2:7, 8; Beb. 13:15) Enkyukakyuka zino ez’ekitalo ziweesa Yakuwa ekitiibwa.
4 Ng’ekyokulabirako, omusajja omu eyabuulirwa amawulire amalungi, yalina ebibuuzo bingi, era byonna byaddibwamu okuva mu Baibuli. Olw’ebyo bye yawulira, yatandika okuyiga emirundi ebiri mu wiiki awamu n’okubeerawo mu nkuŋŋaana. Engeri ey’ebbugumu gye yayanirizibwamu ku Kizimbe ky’Obwakabaka yamwewuunyisa nnyo olw’okuba bangi ku baaliyo tebaali ba langi ye. Mu bbanga ttono, ye ne mukazi we baakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe era ne babatizibwa. Okuva ku olwo ayambye abantu abalala 40 okuweereza Yakuwa, nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda ze bangi. Newakubadde nga mulema, gye buvuddeko awo yatandika okuweereza nga payoniya.
5 Okuyigiriza Abalala: Ebiriwo mu nsi bireetedde abantu bangi abeesimbu okufumiitiriza n’okulowooza ku bulamu bwabwe. Okufaananako Yesu, twandyagadde okubayamba. Ekinaatusobozesa okuyamba abantu abeesimbu okuyiga olulimi olulongoofu, kwe kuddamu okubakyalira era n’okubayigiriza Baibuli.
6 Abantu abalina eby’okukola ebingi tusobola okukubaganyaako nabo ebirowoozo ku Baibuli nga tuli ku miryango gyabwe. (km 5/02 lup. 1) Kino okigezezzaako? Bw’oba oteekateeka okuddayo eri omuntu, londayo ennyanjula emu etuukagana n’embeera ye, okuva ku lupapula olw’omunda oluli mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002. Ennyanjula nnyingi ku lupapula luno zitegekeddwa okutwala omuntu obutereevu mu brocuwa Atwetaagisa oba akatabo Okumanya. Weegezeemu mu nnyanjula osobole okumanya engeri gy’oyinza okugikwataganyamu n’akamu ku butundu obuli mu katabo. Londayo ekyawandiikibwa kimu oba bibiri eby’okusoma n’okukubaganyaako ebirowoozo era n’ekibuuzo ky’onoofundikira nakyo. Ekyo kijja kukuyamba okutandika akatundu akaddako lw’olidda.
7 Abantu ba Yakuwa bafuna emikisa mingi olw’okuyiga olulimi olulongoofu. Ka tufube okuyamba abalala okutwegattako mu ‘kukaabirira erinnya lya Yakuwa’ era ‘n’okumuweereza n’omwoyo gumu.’—Zef. 3:9.