Weeyongere Okufuna Okumanya Okutuufu “n’Omwoyo Omwangu”
ABAWEEREZA ba Yakuwa bonna baagala okumusanyusa. Olw’ensonga eyo, tufuba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okumuweereza n’obunyiikivu. Kyokka, omutume Pawulo ayogera ku kintu ekiyinza okututuukako, nga bwe kyatuuka ku Bayudaaya abamu ab’omu kiseera kye: “Banyiikira okuweereza Katonda; naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.” (Bar. 10:2, NW) Kyeyoleka bulungi nti okukkiriza kwaffe n’okusinza kwaffe tebirina kusinziira ku ngeri gye twewuliramu. Twetaaga okuba n’okumanya okutuufu okukwata ku Mutonzi waffe n’eby’ayagala.
Mu bbaluwa ze endala, Pawulo yakwataganya enneeyisa Katonda gy’asiima n’okwagala ennyo okufuna okumanya okutuufu. Yasabira abagoberezi ba Kristo ‘bajjuzibwe okumanya okutuufu’ okukwata ku Katonda by’ayagala ‘basobole okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa bamusanyusize ddala,’ nga bwe ‘beeyongera okubala ebibala mu buli mulimu omulungi era nga beeyongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda.’ (Bak. 1:9, 10, NW) Lwaki kikulu nnyo okufuna “okumanya okutuufu”? Era lwaki tusaanidde okweyongera okufuna okumanya ng’okwo?
Ekisumuluzo ky’Okukkiriza
Okukkiriza kwaffe kwesigamye ku kumanya okutuufu okukwata ku Katonda ne by’ayagala nga bwe biragibwa mu Baibuli. Bwe tutaba na kumanya ng’okwo okwesigika, okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa kuba ng’ennyumba ey’ebipapula esobola okufuuyibwa n’egwa essaawa yonna. Pawulo atukubiriza tuweereze Katonda ‘n’amagezi’ gaffe era ‘tufuule amagezi gaffe amaggya.’ (Bar. 12:1, 2) Okusoma Baibuli obutayosa kijja kutuyamba mu kino.
Ewa, payoniya owa bulijjo abeera mu Poland, agamba nti: “Singa nnali sseesomesa Kigambo kya Katonda obutayosa, ssandyongedde kufuna kumanya kutuufu kukwata ku Yakuwa. Nnandiddiridde mangu mu by’omwoyo, era okukkiriza kwe nnina mu Katonda kwandinafuye—nandibadde njolekedde okufiirwa enkolagana yange ne Katonda.” Ekyo tetulina kukikkiriza kututuukako. Lowooza ku kyokulabirako ky’omusajja omu eyayongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa ne kimuviiramu okusiimibwa mu maaso Ge.
“Amateeka Go nga Ngaagala!”
Zabbuli 119 eraga engeri omuwandiisi wa zabbuli eyo gye yali atwalamu amateeka ga Yakuwa, okutegeeza kwe, ebiragiro bye, n’emisango gye. Yagamba nti: “N[n]aasanyukiranga amateeka go. . . . Bye wategeeza bye nsanyukira.” Yayongera n’agamba nti: “Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.”—Zab. 119:16, 24, 47, 48, 77, 97.
Ekigambo “Nnaasanyukiranga” ne “nfumiitiriza” biraga nti kyetaagisa okulowooza ennyo ku Kigambo kya Katonda n’okukyagala. Ebigambo ebyo era biraga nti omuwandiisi wa zabbuli yali ayagala nnyo okusoma amateeka ga Katonda. Okwagala kuno okwali mu mutima gwe kwali kwa nnamaddala, so yali takwatiddwa kinyegenyege. Yali afuba ‘okufumiitiriza’ ku mateeka ago asobole okutegeera obulungi ebigambo bya Yakuwa. Ekyo kiraga nti yali ayagala nnyo okufuna okumanya okukwata ku Katonda awamu n’ebigendererwa bye.
Kyeyoleka bulungi nti okwagala omuwandiisi wa zabbuli kwe yalina eri Ekigambo kya Katonda kwali kuviira ddala ku ntobo y’omutima gwe. Tuyinza okwebuuza: ‘Nange bwe ntyo bwe mpulira? Kimpa essanyu okusoma n’okwekenneenya Baibuli buli lunaku? Nneeteekateeka bulungi era ne nsaba nga ŋŋenda okusoma Ekigambo kya Katonda?’ Bwe tuba nga tusobola okuddamu nti yee, kiba kitegeeza nti ‘tweyongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda.’
Ewa agamba: “Nfuba okulaba nti nnongoosa mu ngeri gye nneesomesaamu. Okuva lwe twafuna akatabo ‘Laba Ensi Ennungi,’ kumpi buli lwe nsoma nkakozesa. Ngezaako okunoonyereza ku bye nsoma nga nneeyambisa Insight on the Scriptures n’ebitabo ebirala.”
Lowooza ne ku kyokulabirako ky’oluganda Wojciech ne mukyala we Małgorzata, abalina obuvunaanyizibwa obungi mu maka. Basobola batya okufuna ekiseera eky’okusoma Baibuli ng’ate balina eby’okukola bingi? “Buli omu ku lulwe afuba nga bw’asobola okusoma Ekigambo kya Katonda. Kati bwe tuba tusoma ng’amaka oba nga tunyumya, twogera ku bye twasomyeko ebyatunyumidde.” Okusoma ennyo bwe batyo kibaleetera essanyu lingi era kubayamba ‘okweyongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda.’
Ssaayo Omwoyo ng’Osoma
Ng’Abakristaayo, tukkiriza nti Katonda ayagala “abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.” (1 Tim. 2:3, 4) Ekyo kiraga nti kikulu nnyo okusoma Baibuli n’okufuba ‘okutegeera’ bye tusoma. (Mat. 15:10) Ekimu ku bituyamba okutegeera obulungi kwe kussaayo omwoyo nga tuyiga. Abantu b’omu Beroya eky’edda bwe batyo bwe baakola nga Pawulo ababuulidde amawulire amalungi: “Bakkiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.”—Bik. 17:11.
Okoppa ekyokulabirako ky’abantu b’omu Beroya abaalina omwoyo ogwagala okuyiga nga weewala ebintu ebiyinza okukuwugula ng’osoma? Omukristaayo asobola okukoppa ekyokulabirako ky’ab’e Beroya, ne bw’aba ng’emabega yali tanyumirwa kusoma. Ate era, abantu abamu bakendeeza okusoma bwe bagenda bakaddiwa, naye Omukristaayo tasaanidde kuba bw’atyo. Omuntu k’abe n’emyaka emeka, asobola okuyiga okwewala ebimuwugula. Bw’oba osoma, kiba kirungi okufunayo ebintu by’oyinza okubuulirako abalala. Ng’ekyokulabirako, oyinza okubuulirangako munno mu bufumbo oba mukwano gwo Omukristaayo ebintu by’oyize ng’osoma? Okukola bw’otyo kikuyamba okusigala ng’obijjukira, n’okubikozesa okuyamba abalala.
Buli lw’oba ogenda okusoma, kola ng’omuweereza wa Katonda Ezera ‘eyateekateeka omutima gwe okunoonya amateeka ga Yakuwa.’ (Ezer. 7:10, NW) Kino oyinza kukikola otya? Kakasa nti tewaba kikutaataaganya ng’ogenda okusoma. Kati olwo osobola okutuula awamu n’osaba Yakuwa akuwe amagezi n’obulagirizi. (Yak. 1:5) Weebuuze, ‘Nsuubira kuyiga ki nga nsoma ku mulundi guno?’ Bw’oba osoma, fuba okulaba ensonga enkulu. Oyinza okubaako w’oziwandiika, oba w’owandiika ebintu bye wandyagadde okujjukira. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okukozesaamu ebintu ebyo ng’obuulira, ng’olina by’osalawo, oba ng’ozzaamu bakkiriza banno amaanyi. Bw’oba omaliriza okusoma, wejjukanye by’osomye mu bufunze. Kino kijja kukuyamba obutabyerabira.
Ewa agamba nti: “Bwe mba nsoma Baibuli, nkozesa ebyawandiikibwa ebiri mu miwaatwa, Watch Tower Publications Index, ne Watchtower Library eri ku kompyuta. Bye njagala okukozesa mu buweereza bw’ennimiro mbiwandiika.”
Abamu bamaze ebbanga ddene nga basoma ebikwata ku Katonda. (Nge. 2:1-5) Naye, beesanze nga balina obuvunaanyizibwa bungi era nga bazibuwalirwa okufuna ebiseera eby’okusoma. Embeera yo bw’eba efaananako bw’etyo, oyinza kukola nkyukakyuka ki?
Nnyinza Ntya Okufuna Ebiseera?
Tewali kubuusabuusa nti oyanguyirwa okufuna ebiseera okukola ekintu ekikunyumira. Bangi bakizudde nti basobola okussaawo enteekateeka y’okusoma bwe beeteerawo ekiruubirirwa ekyangu okutuukako, gamba ng’okusoma Baibuli yonna. Kituufu nti oyinza obutayanguyirwa kusoma nkalala za buzaale empanvu, kalonda yenna akwata ku yeekaalu ey’edda, oba okusoma ku bunnabbi obulabika ng’obutalina kakwate na bulamu bwa bulijjo. Kola ebintu ebinaakuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ogenda okusoma ekitundu mu Baibuli ekirabika nga kizibu, oyinza okusooka okunoonyereza ku ebyo ebikirimu n’ensonga lwaki kya muganyulo. Ebintu ng’ebyo bisangibwa mu kitabo “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial,” ekiri mu nnimi nga 50.
Kirungi nnyo okusoma Baibuli ng’ossaayo omwoyo. Ekyo kikuyamba okufuna ekifaananyi ky’abantu wamu n’ebintu by’osomako. Bw’onookolera ku magezi ago, ojja kunyumirwa by’osoma era obiganyulwemu. Ojja kuba mwetegefu okuteekawo ekiseera eky’okusomeramu. Era kijja kukwanguyira okunywerera ku nteekateeka gy’okoze ey’okusoma Baibuli buli lunaku.
Wadde ng’amagezi ago gasobola okuyamba omuntu okusoma ku lulwe, kiri kitya eri ab’omu maka abalina eby’okukola ebingi? Lwaki temutuula wamu mwenna ne mwogera ku miganyulo egiri mu kuyiga ng’amaka? Ekyo kiyinza okubayamba okulaba eky’okukola, gamba ng’okukeerako buli lunaku, oba ennaku ezimu, ne musoma Baibuli. Oba muyinza okukiraba nga kyetaagisa okukyusakyusa mu ngeri ebintu gye bikolebwamu awaka. Ng’ekyokulabirako, ab’omu maka agamu bakisanze nga kibanguyira okwekenneenya ekyawandiikibwa ekya buli lunaku oba okusoma Baibuli nga baakamala okulya. Bakozesa eddakiika 10 oba 15 ne bakubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa oba ne basoma ekitundu mu Baibuli ng’amaka. Mu kusooka kino tekiba kyangu. Naye mu bbanga ttono kifuuka kintu kya bulijjo mu maka era kireeta essanyu lingi.
Wojciech ne mukyala we Małgorzata bannyonnyola ekyabayamba mu maka gaabwe: “Edda twamaliranga ebiseera bingi ku bintu ebitali bikulu. Twasalawo okukendeeza ku biseera bye twali tumala ku Internet nga tuwandiika amabaluwa. Twasala ne ku biseera by’okwesanyusaamu, era ne tussaawo ekiseera eky’enkalakkalira eky’okusomeramu.” Ab’omu maka ago tebejjusangako kukola nkyukakyuka ezo, era ne mu maka go bwe kityo bwe kiggya okuba.
Okwongera Okufuna Okumanya Okutuufu Kigasa!
Okusoma ennyo Ekigambo kya Katonda kuvaamu ‘ebibala mu buli kikolwa ekirungi.’ (Bak. 1:10) Ekyo bwe kinaagenda nga kituukirira mu bulamu bwo, okukulaakulana kwo kujja kuba kweyoleka bulungi eri bonna. Ojja kufuuka omuntu ow’eby’omwoyo ategeera obulungi amazima ga Baibuli. Ojja kuba osalawo ebintu mu ngeri ey’amagezi era ojja kuba osobola okuwa abalala amagezi amalungi, obutafaananako abo abatalina kye bamanyi. N’ekisinga byonna obukulu, ojja kusemberera Yakuwa. Ojja kuba otegeera bulungi engeri ze, era kino kijja kweyoleka ng’oyigiriza abalala ebimukwatako.—1 Tim. 4:15; Yak. 4:8.
K’obe ng’oli wa myaka emeka oba ng’olina bumanyirivu ki, fuba okulaba nti osanyukira okusoma ennyo Ekigambo kya Katonda era nti ossaayo omwoyo ng’okisoma. Ba mukakafu nti Yakuwa tajja kwerabira kufuba kwo. (Beb. 6:10) Ajja kukuwa emikisa ntoko.
[Akasanduuko akali ku lupapula 13]
BWE ‘TWEYONGERA OKUFUNA OKUMANYA OKUTUUFU’. . .
Kituyamba okunyweza okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa n’okutambula mu ngeri emuweesa ekitiibwa.—Bak. 1:9, 10
Tufuna okutegeera ne tuba nga tusobola okusalawo ebintu mu ngeri ey’amagezi.—Zab. 119:99
Kituleetera okwagala okuyamba abalala okufuna enkolagana ne Yakuwa.—Mat. 28:19, 20
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]
Si kyangu kufuna ekifo ekirungi eky’okusomeramu, naye kyetaagisa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Ab’omu maka agamu basoma Baibuli nga baakamala okulya