Goberera Enkola Eyaweebwa Bakabaka
“Alyewandiikira etteeka lino mu kitabo . . . era kinaabeeranga gy’ali, era anaakisomangamu ennaku zonna ez’obulamu bwe.”—EKYAMATEEKA 17:18, 19.
1. Omukristaayo yandibadde ng’ani?
OYINZA obuteegeraageranya ku kabaka. Mukristaayo ki omwesigwa oba omuyizi wa Baibuli eyandyetutte okubeera n’obuyinza ng’obwa kabaka, gamba nga bakabaka abaali abalungi, Dawudi, Yosiya, Keezeekiya oba Yekosofaati? Kyokka, osobola era osaanidde okuba nga bo, waakiri mu ngeri emu ey’enjawulo. Ngeri ki eyo? Era lwaki wandyagadde okubeera nga bo mu ngeri eyo?
2, 3. Kiki Yakuwa kye yategeererawo ekikwata ku bakabaka, era kabaka yandikoze ki?
2 Mu kiseera kya Musa, nga Katonda tannaba kukkiriza Baisiraeri kufugibwa kabaka, yakimanyirawo nti abantu Be bajja kwagala okubeera ne kabaka. N’olwekyo, yaluŋŋamya Musa okuwandiika obulagirizi obukwata ku nsonga eyo mu ndagaano y’Amateeka. Obwo bwali bulagirizi eri bakabaka.
3 Katonda yagamba: “Bw’oliba ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, . . . n’oyogera nti N[n]assaawo kabaka okunfuga, era nga n’amawanga gonna aganneetoolodde; tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katonda wo gw’alyeroboza. . . . Awo olulituuka bw’alituula ku ntebe y’obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo . . . era kinaabeeranga gy’ali, era anaakisomangamu ennaku zonna ez’obulamu bwe: ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby’etteeka lino n’ebiragiro bino okubikolanga.”—Ekyamateeka 17:14-19.
4. Obulagirizi Katonda bwe yawa bakabaka bwazingiramu ki?
4 Mazima ddala, kabaka Yakuwa gwe yandirondedde abasinza be yali wa kukoppolola ebyawandiikibwa ebiri mu Baibuli yo. Oluvannyuma, kabaka yali wa kubisomanga buli lunaku, enfunda n’enfunda. Ekigendererwa tekyabanga kwegera bwegezi busobozi bwe obw’okujjukira, wabula kwali kuyiga kwennyini era kwalina ekigendererwa nga kya muganyulo. Kabaka eyandibadde asiimibwa Yakuwa, kyali kimwetaagisa okweyigiriza bw’atyo asobole okukulaakulanya era n’okubeera n’endowooza ennungi mu mutima. Era kyali kimwetaagisa okuyiga ebyawandiikibwa ebyo ebyaluŋŋamizibwa okusobola okubeera kabaka ow’amagezi era omulungi.—2 Bassekabaka 22:8-13; Engero 1:1-4.
Yiga nga Kabaka
5. Bitabo ki eby’omu Baibuli Kabaka Dawudi bye yalina okukoppolola n’okusoma, era ekyo yakitwala atya?
5 Olowooza ekyo Dawudi kyandimwetaagisizza kukola ki ng’afuuse kabaka wa Isiraeri? Yandikoppolodde ebiri mu bitabo ebitaano ebisooka mu Baibuli (Olubereberye, Okuva, Eby’Abaleevi, Okubala, ne Ekyamateeka). Lowooza ku ngeri Dawudi gye yandikwatiddwako ennyo mu birowoozo ne mu mutima ng’akozesa amaaso ge n’emikono gye okukoppolola Amateeka. Kirabika nti Musa era ye yawandiika ekitabo kya Yobu ne Zabbuli 90 ne 91. Ebyo nabyo Dawudi yandibadde abikoppolola? Oboolyawo. Era kirabika nti yalina n’ekitabo kya Yoswa, Ekyabalamuzi, n’ekya Luusi. Kati nno osobola okulaba nti Dawudi yalina ekitundu kinene ekya Baibuli eky’okusoma n’okufumiitirizaako. Era olina n’ensonga kw’osinziira okukkiriza nti ddala bw’atyo bwe yakola kuba weetegereze ebigambo bye yayogera ku Mateeka ga Katonda mu Zabbuli 19:7-11.
6. Tuyinza tutya okukakasa nti okufaananako jjajjaawe Dawudi, Yesu yali ayagala nnyo okusoma Ebyawandiikibwa?
6 Dawudi Asinga Obukulu—Yesu, Muzzukulu wa Dawudi, naye yagoberera enkola y’emu. Yali mpisa ya Yesu okugendanga mu kkuŋŋaaniro buli wiiki. Ng’ali eyo, yawuliranga Ebyawandiikibwa nga bisomebwa era nga binnyonnyolwa. Okwongereza ku ekyo, olumu Yesu kennyini yasomanga Ekigambo kya Katonda mu lujjudde era n’annyonnyola amakulu gaakyo. (Lukka 4:16-21) Kyangu okutegeera nti yali amanyi bulungi nnyo Ebyawandiikibwa. Soma busomi Enjiri era weetegereze engeri Yesu gye yateranga okugamba nti “kyawandiikibwa” oba engeri gye yajulizangamu Ebyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi okusangibwa mu Matayo, Yesu yajuliza mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi 21.—Matayo 4:4-10; 7:29; 11:10; 21:13; 26:24, 31; Yokaana 6:31, 45; 8:17.
7. Yesu yayawukana atya ku bakulembeze b’eddiini?
7 Yesu yagoberera okubuulirira okuli mu Zabbuli 1:1-3: “Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, . . . naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro. . . . Na buli ky’akola, akiweerwako omukisa.” Nga yali wa njawulo nnyo ku bakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye, abaali “batudde ku ntebe ya Musa naye abaanyoomanga “etteeka lya Katonda”!—Matayo 23:2-4.
8. Lwaki abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abaasomanga Baibuli baalemererwa okufuna omuganyulo?
8 Kyokka, abamu balina ekyawandiikibwa ekibatabula omutwe, nga bakitwala nti Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo, yali tasemba kusoma Baibuli. Mu Yokaana 5:39, 40, tusoma ebigambo Yesu bye yagamba abantu abamu mu kiseera kye: “Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo [mwe muli] obulamu obutaggwaawo; n’ebyo bye [binjogerako]; era temwagala kujja gye ndi okubeera n’obulamu.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali takubiriza Bayudaaya abaali bamuwuliriza okulekera awo okusoma Ebyawandiikibwa. Wabula yali ayanika obunnanfuusi bwabwe. Baali bakimanyi nti Ebyawandiikibwa bisobola okubayamba okufuna obulamu obutaggwaawo, naye era Ebyawandiikibwa ebyo bye baali beekenneenya, byandibadde bibasobozesa okutegeera Masiya, Yesu. Wadde kyali kityo, baagaana okumukkiriza. N’olwekyo, okubisoma tekwabaganyula kubanga tebaali beesimbu era nga tebayigirizikika.—Ekyamateeka 18:15; Lukka 11:52; Yokaana 7:47, 48.
9. Kyakulabirako ki ekirungi abatume ne bannabbi abaasooka kye bassaawo?
9 Ng’abayigirizwa ba Yesu nga mw’otwalidde n’abatume be baali ba njawulo nnyo! Baayiga ‘ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okugeziwaza omuntu okusobola okufuna obulokozi.’ (2 Timoseewo 3:15) Mu kukola ekyo baali bafaanana bannabbi abaasooka ‘abaanoonyerezanga ennyo era ne beekenneenya ebyawandiikibwa.’ Bannabbi abo tebaanoonyereza okumala emyezi oba emyaka emitonotono. Omutume Peetero yagamba nti ‘baanoonyerezanga’ ebikwata ku Kristo na byonna ebyali bizingirwamu mu kulokola abantu. Mu bbaluwa ye eyasooka, Peetero yajuliza emirundi 34 mu bitabo kkumi ebiri mu Baibuli.—1 Peetero 1:10, 11.
10. Lwaki buli omu ku ffe yandiyize Baibuli?
10 Kyeyoleka kaati nti okuyiga Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza gwali mulimu ogwali guweereddwa bakabaka ba Isiraeri ey’edda. Yesu naye yagoberera enkola eno. Era n’abo abandifugidde awamu ne Kristo mu ggulu, baalina okukisoma. (Lukka 22:28-30; Abaruumi 8:17; 2 Timoseewo 2:12; Okubikkulirwa 5:10; 20:6) Leero, bonna abeesunga ebintu ebirungi mu nsi wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka, beetaaga okugoberera enkola eyagobererwanga bakabaka.—Matayo 25:34, 46.
Obuvunaanyizibwa bwa Bakabaka era Obubwo
11. (a) Kabi ki akayinza okujjawo singa Abakristaayo tebeeyigiriza? (b) Kyandibadde kirungi twebuuze bibuuzo ki?
11 Tusobola okukiggumiza era n’okukyogerako mu bwesimbu nti buli Mukristaayo ow’amazima asaanidde okwekenneenya Baibuli. Ekyo si kye kintu ky’okukola obukozi nga wakatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Buli omu ku ffe alina okuba omumalirivu obutabeera ng’abamu abaddirira mu kweyigiriza bokka mu kiseera ky’omutume Pawulo. Baayiga ‘ebisookerwako eby’ekigambo kya Katonda,’ nga ‘ebigambo eby’olubereberye ebikwata ku Kristo.’ Kyokka, tebeeyongerayo kuyiga, era mu ngeri eyo, ‘tebaakula mu by’omwoyo.’ (Abaebbulaniya 5:12–6:3) N’olwekyo, naffe tuyinza okwebuuza: ‘Mpulira ntya ku ky’okweyigiriza Ekigambo kya Katonda, ka kibe nti nnaakatandika okukolagana n’ekibiina Ekikristaayo oba nga mmaze ebbanga ddene? Pawulo yasaba nti Abakristaayo ab’omu kiseera kye “beeyongerenga okumanya Katonda.” Nange nkiraga nti ekyo kye nneegomba?’—Abakkolosaayi 1:9, 10, NW.
12. Lwaki kikulu okwagalanga Ekigambo kya Katonda?
12 Ekinaakusobozesa okubeera n’enkola ennungi ey’okweyigiriza, kwe kwagala Ekigambo kya Katonda. Zabbuli 119:14-16 ziraga nti, ekinaatuyamba okwagala Ekigambo kya Katonda, kwe kukifumiitirizaako obutayosa. Era ekyo bwe kisaanidde okubeera k’obeere ng’omaze bbanga ki ng’oli Mukristaayo. Nga tuggumiza ensonga eyo, jjukira ekyokulabirako kya Timoseewo. Wadde ng’omukadde ono Omukristaayo yali yatandika dda okuweereza nga “omulwanyi omulungi owa Kristo,” Pawulo yamukubiriza okufuba ennyo ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’ (2 Timoseewo 2:3, 15; 1 Timoseewo 4:15) Kya lwatu, ‘okufuba ennyo’ kizingiramu okubeera n’enkola ennungi ey’okweyigiriza obutayosa.
13. (a) Ebiseera ebirala eby’okuyiga Baibuli biyinza kufunika bitya? (b) Nkyukakyuka ki z’oyinza okukola gwe kinnoomu okusobola okufuna ebiseera ebirala eby’okuyiga?
13 Okusobola okubeera n’enkola ennungi ey’okweyigiriza, kwe kussaawo ebiseera eby’okuyiga Baibuli obutayosa. Obadde okola otya mu nsonga eyo? Ekibuuzo ekyo k’obeere ng’okizzeemu mu ngeri ki, olowooza oyinza okuganyulwa singa okozesa ebiseera ebisingawo mu kweyigiriza? Oyinza okugamba, ‘Ebiseera nnaabiggya wa?’ Abamu bongedde ku biseera byabwe eby’okuyiga Baibuli nga bazuukuka manguko ku makya. Bayinza okusoma Baibuli okumala eddakiika 15 oba ebintu ebirala. Ekintu ekirala ky’oyinza okulowoozaako, lwaki tokyusaamu katonotono mu nteekateeka yo ey’ebintu by’olina okukola buli wiiki? Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’olina empisa ey’okusoma amawulire kumpi buli lunaku oba okugalaba ku ttivi, osobola okwosaamu, waakiri olunaku lumu lwokka buli wiiki? Ekiseera ekyo oyinza okukikozesa mu kuyiga Baibuli. Singa owaayo eddakiika nga 30 z’obadde okozesa ku mawulire olunaku lumu n’ozikozesa mu kweyigiriza, wandibadde ofuna essaawa endala ezisukka mu 25 buli mwaka. Ng’oyinza okufuna emiganyulo mingi mu kukozesa essaawa ezo 25 mu kusoma n’okweyigiriza Baibuli! Ekirowoozo ekirala: Wiiki ejja, weekenneenye by’okola ku buli nkomerero y’olunaku. Gezaako okulaba oba nga waliwo ekintu kyonna ky’oyinza okuggirawo ddala oba okukendeezaako osobole okufuna ebiseera ebisingawo eby’okuyiga n’okusoma Baibuli.—Abaefeso 5:15, 16.
14, 15. (a) Lwaki kikulu okussaawo ebiruubirirwa mu kweyigiriza? (b) Biruubirirwa ki by’oyinza okussaawo ebikwata ku kusoma Baibuli?
14 Kiki ekinaayamba okuyiga kwo okubeerera okwangu era nga kunyuma? Okubeera n’ebiruubirirwa. Biruubirirwa ki eby’okuyiga by’oyinza okussaawo? Abasinga obungi, ekiruubirirwa kye basooka okussaawo kwe kusoma Baibuli yonna. Oboolyawo, waliwo ebitundu ebimu eby’omu Baibuli by’omaze okusoma era ng’obifunyeemu emiganyulo mingi. Kati oyinza okuluubirira okusoma Baibuli yonna? Okusooka oyinza okusoma ebitabo ebina eby’Enjiri, awo n’olyoka ozzaako okusoma ebyawandiikibwa ebirala eby’Ekikristaayo. Bw’ofuna obumativu n’emiganyulo, ekiruubirirwa kyo ekirala kiyinza okuba okusoma ebitabo bya Musa, okutuukira ddala ku kitabo kya Eseza. Bw’onoomala okubisoma, ojja kulaba nga kya magezi okusoma Baibuli yonna. Omukyala omu eyalina emyaka nga 65 we yafuukira Omukristaayo, yawandiika ku lupapula olw’omunda mu Baibuli ye ennaku z’omwezi lwe yatandikirako okugisoma era ne lwe yagimalako. Kati Baibuli yaakagisoma emirundi etaano ng’agimalako! (Ekyamateeka 32:45-47) Mu kifo ky’okugisomera ku komputya oba ku mpapula endala, yasomanga Baibuli yennyini.
15 Abamu abamaze okutuukiriza ekiruubirirwa kyabwe eky’okusoma Baibuli yonna, balina ebirala bye bakola okufuula okusoma kwabwe okulungi era okw’omuganyulo. Ekintu ekimu kye bakola, kwe kukozesa ebitabo ebirala ebiyamba mu kuyiga Baibuli. Mu bitabo nga “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial” ne Insight on the Scriptures, oyinza okusangamu bingi ebyogerwa ebikwata ku ebyo ebyaliwo edda, engeri gye byasengekebwamu era n’emiganyulo egiri mu buli kitabo ekiri mu Baibuli.a
16. Kiki kye tusaanidde okwewala nga tuyiga Baibuli?
16 Bw’oba ng’oyiga, weewale okugoberera enkola abo abeeyita abeekenneenya Baibuli gye bakozesa. Essira basinga kulissa ku makulu agali mu bigambo nga gy’obeera Baibuli yasibuka mu bantu. Abamu ku bo bagezaako okulowooza ku bantu abakwatibwako ekitabo kye baba basoma oba bagezaako okuteebereza ekigendererwa omuntu eyawandiika ekitabo ekyo kye yalina. Ekiyinza okuva mu nkola ng’eyo, kwe kutwala Baibuli ng’ekitabo obutabo eky’ebyafaayo oba ekitabo ekiyinza okukozesebwa okutandikawo eddiini. Abeekenneenya abamu beemalira ku kwekenneenya makulu ga bigambo ebiri mu Baibuli. Ebiseera byabwe babimalira nnyo mu kwekenneenya ensibuko y’ebigambo era bajuliza amakulu agali mu Lwebbulaniya ne mu Luyonaani, okusinga amakulu agali mu bubaka obuli mu Kigambo kya Katonda. Olowooza enkola ng’eyo ey’okuyiga eyinza okusobozesa omuntu okufuna okukkiriza okw’amaanyi?—1 Abassesaloniika 2:13.
17. Lwaki Baibuli twandigitutte okuba ekitabo ekirimu obubaka obukwata ku bantu bonna?
17 Ebyo abeekenneenya bye boogera bituufu? Kituufu nti buli kitabo ekiri mu Baibuli kirimu ensonga emu yokka enkulu era nti kyawandiikirwa bantu abamu bokka? (1 Abakkolinso 1:19-21) Amazima gali nti ebitabo ebiri mu Kigambo kya Katonda bisobola okuganyula abantu bonna ka babe bato oba bakulu oba nga baakulira mu mbeera ki. Wadde ng’ekitabo kiyinza okuba nga kyali kiwandiikiddwa omuntu omu, gamba nga Timoseewo oba Tito, oba ekibiina ky’abantu abamu, ka tugambe Abaggalatiya oba Abafiripi, ffenna tusobola okusoma ebitabo ebyo era ekyo kye tusaanidde okukola. Ffenna bituganyula, era ekitabo ekimu kiyinza okwogera ku nsonga nnyingi ez’enjawulo ne kiganyula abantu bangi. Mazima ddala, obubaka obuli mu Baibuli buganyula abantu mu nsi yonna era eyo ye nsonga lwaki Baibuli evvuunuddwa mu nnimi nnyingi ezoogerwa mu nsi yonna.—Abaruumi 15:4.
Emiganyulo gy’Oyinza Okufuna era n’Abalala
18. Kiki ky’osaanidde okufumiitirizaako ng’osoma Ekigambo kya Katonda?
18 Mu kuyiga kwo, ojja kukizuula nti kya muganyulo okutegeera Baibuli era n’okulaba engeri ebigirimu gye bikwataganyizibwamu. (Engero 2:3-5; 4:7) Yakuwa by’abikudde okuyitira mu Kigambo kye bikwatagana bulungi n’ekigendererwa kye. Kale bw’oba ogisoma, kwataganya ensonga enkulu n’ekigendererwa ekyo. Oyinza okufumiitiriza ku ngeri ebyaliwo, ekyogerwako oba obunnabbi gye bikwataganyizibwa n’ekigendererwa kya Yakuwa. Weebuuze: ‘Kino kintegeeza ki ku Yakuwa? Kikwataganyizibwa kitya n’ekigendererwa kya Katonda ekijja okutuukirizibwa okuyitira mu Bwakabaka bwe?’ Era oyinza okwebuuza: ‘Bino bye nsoma, nnyinza ntya okubikozesa? Nnyinza okubikozesa mu kuyigiriza oba okuwabula abalala nga nsinziira ku Byawandiikibwa?’—Yoswa 1:8.
19. Bw’obuulirako abalala ebintu by’oyize, ani aganyulwa? Nnyonnyola.
19 Okulowooza ku balala era kya muganyulo ne mu ngeri endala. Mu kuyiga kwo n’okusoma Baibuli, ojja kuyiga ebintu bingi era ojja kutegeera ebintu ebippya bingi nnyo. Gezaako okubikozesa mu mboozi zo ng’onyumya n’ab’omu maka go oba n’abantu abalala. Bw’onookola bw’otyo mu kiseera ekituufu era mu ngeri ennungi, awatali kubuusabuusa, okunyumya ng’okwo kujja kuba kwa muganyulo. Bw’onooyogera ku bintu by’oyize oba ebikusanyusizza mu bwesimbu era n’ebbugumu, ebintu ebyo bijja kuganyula abalala. N’okusingira ddala, bijja kukuganyula nnyo gwe kennyini. Mu ngeri ki? Abakugu bakyekenneenyezza nti omuntu asobola obuteerabira mangu by’ayize singa abikozesa oba abibuulirako abalala amangu ddala nga ky’ajje abiyige.b
20. Lwaki kya muganyulo okusoma Baibuli enfunda n’enfunda?
20 Buli lw’onoosoma Baibuli, awatali kubuusabuusa ojja kuyiga ebintu ebippya bingi. Ojja kuwuniikirira nnyo olw’ebintu ebippya ebitaakuwuniikiriza ku mulundi ogwasooka. Ojja kweyongera okutegeera ebintu ebyo. Kino kiraga kaati nti mu kifo ky’okubeera ebitabo by’abantu obuntu, ebitabo ebiri mu Baibuli bya muwendo nnyo gy’oli era nti osaanidde okubisoma buli kiseera osobole okubiganyulwamu. Jjukira nti, kabaka nga Dawudi, yalina “okukisoma emisana n’ekiro obulamu bwe bwonna.”
21. Miganyulo ki gy’osuubira okufuna singa weeyongera okuyiga Ekigambo kya Katonda?
21 Yee, abo abakozesa ebiseera byabwe okuyiga Baibuli bafuna emiganyulo mingi nnyo. Bafuna eby’obugagga mu by’omwoyo era n’okutegeera. Enkolagana yaabwe ne Yakuwa yeeyongera okunywera. Era babeera ba muganyulo nnyo eri ab’omu maka gaabwe, eri baganda baabwe ne bannyinaabwe mu kibiina Ekikristaayo, era n’eri abo abaagala okufuuka abasinza ba Yakuwa.—Abaruumi 10:9-14; 1 Timoseewo 4:16.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebitabo bino ebiyamba okuyiga Baibuli bikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa era biyinza okufunibwa mu nnimi nnyingi.
b Laba Watchtower aka Agusito 15, 1993, empapula 13-14.
Ojjukira?
• Kiki bakabaka ab’omu Isiraeri kye baali bateekwa okukola?
• Yesu n’abatume bassaawo kyakulabirako ki ku bikwata ku kuyiga Baibuli?
• Nkyukakyuka ki z’osobola okukola okusobola okufuna ebiseera eby’okweyigiriza?
• Wandibadde na ndowooza ki nga tonnatandika kusoma Kigambo kya Katonda?
[Akasanddko akali ku lupapula 11]
“Tusaanidde Kusoma Yo Yennyini”
“Bwe tuba twagala . . . okumanya ebigambo ebiri mu Baibuli n’engeri y’okubikozesaamu, tuyinza okukozesa Internet. Naye bwe tuba twagala okusoma Baibuli, okugiyiga, n’okugifumiitirizaako, tusaanidde kusoma yo yennyini kubanga eyo ye ngeri yokka gye tusobola okugitegeeramu obulungi.”—Gertrude Himmelfarb, profesa okuva mu City University, New York.