LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/1 lup. 10-13
  • Engeri gy’Oyinza Okuba Taata Omulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri gy’Oyinza Okuba Taata Omulungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abaana Beetaaga Okulagibwa Okwagala
  • Abaana Beetaaga Ekyokulabirako Ekirungi
  • Beetaaga Embeera ey’Essanyu
  • Beetaaga Okuyigirizibwa eby’Omwoyo
  • Beetaaga Okukangavvulwa
  • Beetaaga Okukuumibwa
  • Noonya Obulagirizi bwa Katonda
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Engeri y’Okutendekamu Abaana Bammwe
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Kitaffe Atenkanika
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Okuzimba Amaka Amanywevu mu by’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/1 lup. 10-13

Engeri gy’Oyinza Okuba Taata Omulungi

“Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.”​—Abakkolosaayi 3:21.

TAATA ayinza atya okwewala okunyiiza abaana be? Alina okukitegeera nti obuvunaanyizibwa bwe nga taata kintu kikulu nnyo. Magazini emu egamba nti: “Okubeera taata buvunaanyizibwa bwa njawulo nnyo, era butwaliramu ebintu bingi ebikwata ku nneewulira z’abaana n’okutegeera kwabwe.”

Taata alina buvunaanyizibwa ki? Mu maka mangi, taata okusinga y’alina obuvunaanyizibwa okukangavvula abaana. Bamaama batera okugamba abaana baabwe nga bakoze ebikyamu nti, ‘Linda kitaawo akomewo olabe!’ Kituufu nti abaana beetaga okukangavvulwa n’okulagibwa ekituufu basobole okukula nga ba mpisa. Naye okuba taata omulungi tekikoma awo.

Kya nnaku nti bataata bangi baakuzibwa nga tebalina muntu gwe balabirako kituufu. Abamu baakulira mu maka omutali muzadde musajja. Ate abalala baakuzibwa bataata abakambwe era abakakanyavu, era nabo ne bakuza abaana baabwe mu ngeri y’emu. Taata afaanana bw’atyo ayinza atya okutereeza engeri ze n’akuza bulungi abaana?

Waliwo ensibuko y’amagezi amalungi era ageesigika agasobola okuyamba omuntu okufuuka taata omulungi. Baibuli y’erimu amagezi agasingayo obulungi agakwata ku bulamu bw’amaka. Amagezi geewa gakola era omuntu bw’akolera ku bulagirizi bwayo tebuyinza kumuviiramu kabi konna. Baibuli erimu birowoozo by’oyo Eyagiwandiika, Yakuwa Katonda, Eyatandikawo amaka. (Abaefeso 3:14, 15) Bw’oba oli taata, kijja kukuyamba nnyo okwetegereza Baibuli ky’egamba ku kukuza abaana.a

Okuba taata omulungi kiyamba nnyo mu kukula kw’abaana mu by’omubiri, mu by’omwoyo ne mu nneewulira zaabwe. Omwana alina enkolagana ennungi ne kitaawe ayinza okwanguyirwa okuteekawo enkolagana ennungi ne Katonda. Ggwe ate oba Baibuli eraga nti Omutonzi waffe, Yakuwa, tumuyita Kitaffe. (Isaaya 64:8) Ka twetegereze ebintu mukaaga abaana bye beetaaga ku bakitaabwe. Mu buli kimu ku byo, tugenda kulaba engeri taata gy’ayinza okutuukirizaamu abaana bye beetaaga ng’akolera ku misingi gya Baibuli.

Abaana Beetaaga Okulagibwa Okwagala

Nga Taata, Yakuwa ateekawo ekyokulabirako ekituukiridde. Baibuli eyogera bw’eti ku ngeri Katonda gy’atunuuliramu Yesu, Omwana we omubereberye: “Kitaffe ayagala Omwana.” (Yokaana 3:35; Abakkolosaayi 1:15) Emirundi egisukka mu gumu, Yakuwa kennyini yayogera nti ayagala nnyo Omwana we era amusiima. Yesu bwe yabatizibwa, Yakuwa yasinziira mu ggulu n’agamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.” (Lukka 3:22) Yesu yali akimanyi bulungi nti Kitaawe amwagala nnyo. Kiki taata ky’ayinza okuyigira ku kyokulabirako kya Katonda?

Tolonzalonzanga kugamba baana bo nti obaagala nnyo. Kelvin alina abaana abataano agamba: “Nnafubanga okulaga abaana bange okwagala nga nkibagamba bulijjo era nga buli omu mufaako. Nnenyigiranga mu kubanaaza ne mu kubakyusiza nappi.” Ng’oggyeko ekyo, abaana bo beetaaga okumanya nti bye bakola obisiima. N’olwekyo, weewale okubeera ng’obagolola mu buli kiseera. Mu kifo ky’ekyo, fuba okubeebaza n’okubasiima buli lwe babaako ekirungi kye bakoze. Donizete alina abawala abatiini babiri awa amagezi gano, “Taata alina okufuba okulaba nti afuna by’asinziirako okwebaza abaana be.” Abaana bwe bamanya nti bye bakola obisiima kibaleetera okuwulira nti ba mugaso. Kino kiyinza okubayamba mu kufuna enkolagana ennungi ne Katonda.

Abaana Beetaaga Ekyokulabirako Ekirungi

Yokaana 5:19 wagamba nti Yesu ‘takola kintu kyonna ku lulwe nga talabidde ku Kitaawe ky’akola.’ Weetegereze nti ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yesu bye yakola yasooka kulaba nga Kitaawe ‘abikola.’ Abaana nabo bwe batyo bwe batera okukola. Ng’ekyokulabirako, taata bw’aba ayisa bulungi mukyala we era ng’amuwa ekitiibwa, kiyinza okuyamba batabani be okukula nga bassaamu abakazi ekitiibwa. Era ekyokulabirako kye kikola kinene nnyo ku ngeri bawala be batunuuliramu abasajja.

Abaana bo bakisanga nga kizibu okwetonda? Ne mu nsonga eno, kikulu okuteekawo ekyokulabirako ekirungi. Kelvin ajjukira batabani be lwe baayonoona kamera ye. Yasunguwala nnyo n’akuba emmeeza n’eyatikamu bibiri. Oluvannyuma Kelvin yawulira bubi nnyo olw’okunyiiga okutuuka awo, era yeetondera mukyala we n’ab’omu maka ge bonna. Agamba nti okuba nti yeetonda kyakwata nnyo ku baana be; tebakaluubirirwa kwetonda nga bakoze ensobi yonna.

Beetaaga Embeera ey’Essanyu

Yakuwa ye “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11, NW) Tekyewuunyisa nti Omwana we Yesu yalinga musanyufu nnyo ng’ali ne Kitaawe. Engero 8:30 walaga enkolagana eri wakati wa Yesu ne Kitaawe: “Kale nze nga ndi awo gy’ali [Kitange] ng’omukoza . . . nga njaguliza bulijjo mu maaso ge.” Ng’enkolagana eyali wakati w’Omwana ne Kitaawe yali nnungi nnyo!

Abaana bo beetaaga okubeera mu mbeera ey’essanyu. Okufuna ekiseera n’ozannyako n’abaana bo kiyamba nnyo mu kuleetawo embeera ey’essanyu mu maka. Abazadde bwe bazannyako n’abaana baabwe kiyamba mu kunyweza enkolagana yaabwe. Kino Felix akkiriziganya nakyo. Alina mutabani we omutiini era agamba nti: “Okufuna ekiseera ne nzannyako ne mutabani wange kituyambye nnyo okukolagana obulungi. Tuzannya ffenna emizannyo, tusanyukira wamu ne mikwano gyaffe, era tulambula ffenna ebifo ebisanyusa. Kino kinywezezza nnyo enkolagana yaffe ffenna mu maka.”

Beetaaga Okuyigirizibwa eby’Omwoyo

Yesu yayigirizibwa Kitaawe. Bwe kityo yali asobola okugamba nti: “Bye nnawulira gy’ali [Kitange] bye biibyo bye njogera eri ensi.” (Yokaana 8:26) Mu maaso ga Katonda, taata y’alina obuvunaanyizibwa okugunjula abaana be mu mpisa ne mu by’omwoyo. Obumu ku buvunaanyizibwa bwo nga taata kwe kuyamba abaana bo okukwata emisingi gya Baibuli. Kino kirina kutandika ng’omwana akyali muto ddala. (2 Timoseewo 3:14, 15) Felix yatandika okusomera mutabani we engero za Baibuli ng’akyali muto nnyo. Yalondangayo engero ezinyuma ennyo, nga mwe muli n’ezo eziri mu Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli.b Mutabani wa Felix bwe yagenda akula, yamufunirangayo ebitabo ebirala ebinnyonnyola Baibuli ebituukana n’emyaka gye.

Donizete agamba nti: “Okuteekateeka okusoma kw’amaka ne kuba kunyuvu si kyangu. Kikulu nnyo abazadde okulaga nti baagala eby’omwoyo, olw’okuba bwe baba nga bye bayigiriza si bye bakola, abaana bakiraba mangu.” Carlos alina abatabani abasatu agamba: “Tutuula ffenna omulungi gumu buli wiiki ne twogera ku byetaago by’amaka gaffe. Buli omu mu maka wa ddembe okuleeta ensonga gy’ayagala eyogerweko.” Kelvin yafubanga okuyigiriza abaana be ebikwata ku Katonda buli we yafuniranga akakisa nga baliko we bali oba nga balina bye bakola. Kino kitujjukiza Musa kye yayogera nti: “Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.”—Ekyamateeka 6:6, 7.

Beetaaga Okukangavvulwa

Abaana beetaaga okukangavvulwa basobole okukula nga ba mugaso era nga ba buvunaanyizibwa. Abazadde abamu balowooza nti okukangavvula omwana kitegeeza kumukuba nnyo, kumukambuwalira, oba kumuswazaswaza. Naye okusinziira ku Baibuli, obukambwe tebwetaagisa ng’omuzadde akangavvula omwana. Mu kifo ky’ekyo, abazadde basaanidde okukangavvula abaana baabwe mu kwagala, nga Yakuwa bw’akola. (Abaebbulaniya 12:4-11) Baibuli egamba: “[Bataata], temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.”—Abaefeso 6:4.

Oluusi abaana beetaaga okubonereza. Naye balina okutegeera ensonga lwaki babonerezebwa. Omuzadde bw’abonereza omwana, tekirina kuleetera mwana kuwulira nti amukyaye. Baibuli tekkiriza kukuba mwana na bukambwe, ekintu ekiyinza okumutuusaako ebisago. (Engero 16:32) Kelvin agamba nti: “Bwe kyabanga kinneetaagisa okubonereza abaana bange nga bakoze ensobi ey’amaanyi, nnafubanga okubayamba okukiraba nti nkikola lwa kwagala.”

Beetaaga Okukuumibwa

Abaana beetaaga okuyambibwa basobole okwewala emikwano emibi n’ebintu ebiyinza okuboonoona. Kya nnaku nti ensi erimu “abantu ababi” abalina ekigendererwa eky’okwonoona abaana abato. (2 Timoseewo 3:1-5, 13) Oyinza otya okukuuma abaana bo? Baibuli ewa amagezi gano: “Omuntu omuteegevu alaba akabi ne yeekweka: naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.” (Engero 22:3) Bw’oba ow’okukuuma obulungi abaana bo, olina okwerinda ebintu eby’akabi. Fuba okumanya ebintu ebiyinza okuvaamu emitawaana era olage abaana bo eky’okukola nga bukyali. Ng’ekyokulabirako, bw’okkiriza abaana okukozesa Internet, kakasa nti bamanyi bulungi bye basaanidde okwewala. Kiyinza okuba eky’amagezi okuteeka kompyuta mu kifo w’osobola okubalabira nga bagikozesa.

Taata alina okulaga abaana be eky’okukola singa baba boolekaganye n’abantu b’ensi eno abagwenyufu. Abaana bo bannyonnyole kye balina okukola singa wabaawo omuntu yenna agezaako okubakolako ebintu eby’ensonyi?c Abaana bo balina okumanya engeri ebitundu byabwe eby’ekyama gye bitalina kukozesebwamu. Kelvin agamba: “Kino ssaakirekera balala kukikola, ka babe basomesa baabwe. Nnawulira nga buvunaanyizibwa bwange okuyigiriza abaana bange ebikwata ku kwetaba n’okubalabula ku bantu abasobya ku baana.” Abaana be bonna yasobola okubakuza obulungi era kati bafumbo.

Noonya Obulagirizi bwa Katonda

Ekirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo taata ky’ayinza okuwa abaana be kwe kubayamba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Kikulu nnyo okubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Donizete agamba nti: “Bataata balina okukiraga nti batwala enkolagana yaabwe ne Katonda nga kintu kikulu nnyo. Kino kirina okweyoleka obulungi naddala bwe baba nga boolekaganye n’ebizibu. Mu mbeera ng’eyo, taata alina okukiraga nti yeesiga Yakuwa. Bw’aba asaba n’ab’omu maka ge, okwebaza Katonda olw’ebirungi by’amukoledde kiyamba abaana okulaba obukulu bw’okufuula Katonda Mukwano gwabwe.”

Kati olwo, kiki ekiyamba omuntu okuba taata omulungi? Funa obulagirizi bw’oyo amanyi obulungi engeri abaana gye balina okukuzibwamu—Yakuwa Katonda. Singa otendeka abaana bo ng’okolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, oyinza okulaba obutuufu bw’ebigambo bino ebiri mu Engero 22:6: “Newakubadde nga mukadde talirivaamu.”

[Obugambo obuli wansi]

a Wadde ng’ekitundu kino okusinga kikwata ku bataata, emisingi gya Baibuli egikirimu gya muganyulo eri ne bamaama.

b Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

c Ebikwata ku kuyamba abaana okwerinda abantu abayinza okubasobyako, laba Awake! eya Okitobba 2007, olupapula 3–11, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Taata alina okuteerawo abaana be ekyokulabirako ekirungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Taata alina okulabirira obulungi abaana be mu by’omwoyo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Abaana beetaaga okukangavvulwa mu kwagala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share