LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 1/1 lup. 25
  • Kitaffe Atenkanika

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kitaffe Atenkanika
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Similar Material
  • Yakuwa Kitaffe Atwagala Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Engeri gy’Oyinza Okuba Taata Omulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Yakuwa Omutwala nga Kitaawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • ‘Omwana Ayagala Okumanyisa Abantu Ebikwata ku Kitaawe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 1/1 lup. 25

Semberera Katonda

Kitaffe Atenkanika

Matayo 3:16, 17

“TAATA” Ebigambo bitono ebireetera omuntu okuwulira obulungi okusinga ekyo. Taata ayagala ennyo abaana be abakuza bulungi. Waliwo ensonga ennungi lwaki Baibuli Yakuwa Katonda emuyita “Kitaffe.” (Matayo 6:9) Yakuwa Taata wa ngeri ki? Okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twetegereze ebigambo Yakuwa bye yagamba Yesu ng’abatizibwa. Engeri taata gy’ayogera n’abaana be eraga ky’ali ng’omuzadde.

Awo nga mu Okitobba 29 C.E., Yesu yagenda ku Mugga Yoludaani okubatizibwa. Baibuli etubuulira ebyaliwo: “Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n’alaba [o]mwoyo gwa Katonda [nga gukka] ng’ejjiba, ng’ajja ku ye; laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”a (Matayo 3:16, 17) Ebigambo ebyo Yakuwa bye yayogera bituyamba okutegeera ky’ali nga Taata. Weetegereze ebintu bisatu Yakuwa bye yagamba Omwana we.

Ekisooka, Yakuwa bwe yagamba nti “oyo ye Mwana wange,” mu ngeri endala yali agamba nti, ‘Mutabani, nkwenyumiririzaamu.’ Taata ow’amagezi akimanya nti abaana baagala nnyo okufiibwako. Abaana baagala okulagibwa nti ba mugaso mu maka. Teeberezaamu Yesu bwe yawulira​—wadde nga yali mukulu​—okuwulira Kitaawe ng’amwogerako bw’atyo!

Ekyokubiri, bwe yayogera ku Mwana we nti “gwe njagala,” Yakuwa yakiraga lwatu nti ayagala nnyo Yesu. Mu ngeri endala, Kitaawe yali amugamba nti, ‘Nkwagala.’ Taata omulungi abuulira abaana be nti abaagala nnyo. Ebigambo ng’ebyo​—bwe kugenderako ebikolwa ebiraga okwagala​—biyamba abaana okukula obulungi. Nga Yesu alina okuba nga yasanyuka okuwulira Kitaawe ng’amugamba nti amwagala nnyo!

Ekyokusatu, ebigambo “gwe nsanyukira,” biraga nti Yakuwa yali asiima Omwana we. Mu ngeri endala Yakuwa yali agamba nti, ‘Mwana wange, ky’okoze kinsanyusizza.’ Taata omwagazi akozesa buli kakisa okugamba abaana be nti musanyufu olw’ebintu ebirungi bye boogera oba bye bakola. Abaana baddamu amaanyi okuwulira ng’abazadde babasiima. Kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Yesu amaanyi okuwulira nga Kitaawe amusiima!

Ddala, Yakuwa ye Kitaffe atenkanika. Wandyagadde okuba n’omuzadde ng’oyo? Bwe kiba kityo, kimanye nti osobola okuba n’enkolagana ne Yakuwa. Singa oyiga ebimukwatako era n’okola by’ayagala, ajja kufuuka mukwano gwo. Baibuli egamba: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Eriyo ekiyinza okukuwa obukuumi okusinga okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda, Kitaffe atenkanika?

[Obugambo obuli wansi]

a Ng’eyogera ku nsonga y’emu, Enjiri ya Lukka eraga nti Yakuwa yagamba nti: “Gwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.”​—Lukka 3:22.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share