Yakuwa Omutwala nga Kitaawo?
OMU ku bayigirizwa ba Yesu bwe yamugamba nti: “Mukama waffe, tuyigirize engeri y’okusabamu.” Yesu yaddamu nti: “Buli lwe musabanga mugambe nti ‘Kitaffe, erinnya lyo litukuzibwe.’” (Luk. 11:1, 2) Ng’ayogera ku Yakuwa, Yesu yali asobola okukozesa ebitiibwa gamba nga ‘Omuyinza w’Ebintu Byonna,’ “Omuyigiriza Omukulu,” “Omutonzi,” ‘Omukadde eyaakamala ennaku ennyingi,’ oba “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” (Lub. 49:25; Is. 30:20; 40:28, NW; Dan. 7:9; 1 Tim. 1:17) Naye yasalawo okukozesa ekitiibwa “Kitaffe.” Lwaki? Ayinza okuba nga yali ayagala tutuukirire Oyo asingayo ekitiibwa mu butonde bwonna ng’omwana omuwombeefu bw’atuukirira kitaawe ow’okwagala.
Kyokka abantu abamu bakisanga nga kizibu okutwala Katonda nga Kitaabwe. Mwannyinaffe omu ayitibwa Atsukoa agamba nti, “Oluvannyuma lw’okubatizibwa, kyantwalira ebbanga okusemberera Yakuwa n’okwogera naye nga Kitange.” Ng’awa ensonga lwaki kyali kityo, agamba nti, “Nkuze kitange tandaga kwagala.”
Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, bataata bangi tebalaga baana baabwe ‘kwagala.’ (2 Tim. 3:1, 3) Bwe kityo, tekyewuunyisa nti abantu bangi balina endowooza ng’eya Atsuko. Wadde kiri kityo, waliwo ensonga nnyingi ezandituleetedde okutwala Yakuwa nga Kitaffe ow’okwagala.
Yakuwa—Kitaffe Omugabi
Bwe tuba ab’okutwala Yakuwa nga Kitaffe, tulina okumumanya obulungi. Yesu yagamba nti: “Tewali amanyi bulungi Mwana wabula Kitaawe, era tewali amanyi bulungi Kitaawe wabula Omwana, n’omuntu yenna Omwana gw’aba ayagala okumanyisa Kitaawe.” (Mat. 11:27) Ekinaatuyamba okumanya obulungi Yakuwa era ne tumutwala nga Kitaffe kwe kufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayigiriza ku Katonda ow’amazima. Biki Yesu bye yayigiriza ku Kitaawe?
Ng’ayogera ku Yakuwa ng’Ensibuko y’obulamu bwe, Yesu yagamba nti: ‘Ndi mulamu ku bwa Kitange.’ (Yok. 6:57) Naffe tuliwo ku bwa Kitaffe oyo. (Zab. 36:9; Bik. 17:28) Kiki ekyaleetera Yakuwa okutuwa obulamu? Kwali kwagala. Bwe kityo, naffe tusaanidde okwagala Kitaffe ow’omu ggulu olw’ekirabo ekyo kye yatuwa.
Katonda yayoleka okwagala kwe okw’ekitalo eri abantu ng’awaayo Yesu ng’ekinunulo. Ekinunulo ekyo kisobozesa abantu aboonoonyi okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa okuyitira mu Mwana we omwagalwa. (Bar. 5:12; 1 Yok. 4:9, 10) Ate era olw’okuba Kitaffe ow’omu ggulu bulijjo atuukiriza ebisuubizo bye, tuli bakakafu nti ekiseera kijja kutuuka abo bonna abamwagala era abamugondera bafune “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.”—Bar. 8:21.
Okugatta ku ekyo, Kitaffe ow’omu ggulu ‘atwakisiza omusana gwe’ buli lunaku. (Mat. 5:45) Tuyinza n’okukiraba ng’ekiteetaagisa kusaba Katonda kwakisa musana, kyokka ng’ate tugwetaaga nnyo. Wadde kiri kityo, Kitaffe Omugabi amanyi bulungi ebintu bye twetaaga nga tetunnaba na kubimusaba. N’olwekyo, tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri Kitaffe ow’omu ggulu gy’alabiriramu ebitonde bye.—Mat. 6:8, 26.
Kitaffe—‘Omukuumi ow’Ekisa’
Obunnabbi bwa Isaaya buwa abantu ba Katonda obukakafu nti: “Ensozi zirivaawo n’obusozi buliggibwawo; naye okwagala kwange gy’oli tekulivaawo so n’endagaano yange ey’emirembe teriggibwawo, bw’ayogera omukuumi wo ow’ekisa Yakuwa.” (Is. 54:10, The Bible in Living English) Bwe yali ng’asaba mu kiro kye ekyasembayo ku nsi, Yesu yakiraga nti ddala Yakuwa ye ‘mukuumi ow’ekisa.’ Yasabira abayigirizwa be ng’agamba nti: “Bo bali mu nsi era nze nzija gy’oli. Kitange Omutuukirivu, bakuume olw’erinnya lyo.” (Yok. 17:11, 14) Yakuwa akuuma abagoberezi ba Yesu.
Leero, Katonda atukuuma eri enkwe za Sitaani ng’atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Kikulu nnyo okulya emmere eyo bwe tuba ‘ab’okwambala eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda.’ Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ‘ngabo ennene ey’okukkiriza,’ gye tusobola okukozesa “okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” (Bef. 6:11, 16) Okukkiriza kwe tuba nakwo kutukuuma ne tutatuukibwako kabi mu by’omwoyo era kulaga nti twesiga Kitaffe okutukuuma.
Tusobola okwongera okumanya ekisa kya Kitaffe ow’omu ggulu nga twetegereza engeri Omwana we gye yeeyisaamu ng’ali ku nsi. Lowooza ku ebyo ebiri mu Makko 10:13-16. Mu nnyiriri ezo Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi.” Abaana abo abato bwe bajja gyali, Yesu yabawambaatira era n’abawa omukisa. Nga kino kiteekwa okuba nga kyabasanyusa nnyo! Olw’okuba Yesu yagamba nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange,” kino kitegeeza nti Katonda ow’amazima ayagala tumusemberere.—Yok. 14:9.
Yakuwa Katonda y’Ensibuko y’okwagala. Ye Mugabi era Omukuumi atageraageranyizika, ayagala tumusemberere. (Yak. 4:8) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ye Kitaffe asingayo obulungi!
Tuganyulwa Nnyo
Bwe tussa obwesige bwaffe mu Yakuwa Kitaffe ow’okwagala kituganyula nnyo. (Nge. 3:5, 6) Yesu yaganyulwa nnyo bwe yassa obwesige bwe bwonna mu Kitaawe. Kristo yagamba abayigirizwa be nti: “Siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.” (Yok. 8:16) Yesu yalinga mukakafu nti alina obuwagizi bwa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali abatizibwa, Kitaawe yagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.” (Mat. 3:15-17) Ate era ng’ebula akaseera katono afe, Yesu yagamba nti: “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” (Luk. 23:46) Obwesige Yesu bwe yalina mu Kitaawe tebwaddirira n’akatono.
Mu ngeri y’emu, naffe bwe twesiga Yakuwa, tetubaako kintu kyonna kye tutya. (Zab. 118:6) Atsuko, eyayogeddwako ku ntandikwa, ebizibu bye yafunanga yabyemaliranga yekka. Kyokka yatandika okusoma ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, era n’afumiitiriza ku nkolagana ey’oku lusegere Yesu gye yalina ne Kitaawe ow’omu ggulu. Biki ebyavaamu? Atsuko agamba nti: “Nnayiga kye kitegeeza omuntu okubeera ne Kitaawe era ng’amwesiga.” Agattako nti: “Nnafuna essanyu erya nnamaddala n’emirembe. Mazima ddala, tewali kintu kyonna kyanditweraliikirizza.”
Waliwo n’omuganyulo omulala oguli mu kutwala Yakuwa nga Kitaffe? Abaana bulijjo baagala nnyo bazadde baabwe era baagala okubasanyusa. Olw’okuba yali ayagala nnyo Kitaawe, Yesu ‘bulijjo yakolanga ebintu ebimusanyusa.’ (Yok. 8:29) Mu ngeri y’emu, okwagala kwe tulina eri Kitaffe ow’omu ggulu, kutukubiriza okweyisa mu ngeri ey’amagezi era ‘n’okumutendereza mu lujjudde.’—Mat. 11:25; Yok. 5:19.
Kitaffe ‘Atukwata ku Mukono Gwaffe Ogwa Ddyo’
Kitaffe ow’omu ggulu era atuwadde “omuyambi”—omwoyo gwe omutukuvu. Yesu yagamba nti omwoyo omutukuvu ‘gwandituwadde obulagirizi, ne gutuyamba okutegeerera ddala amazima.’ (Yok. 14:15-17; 16:12, 13) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gutuyamba okweyongera okutegeera Kitaffe. Gusobola okutuyamba okusiguukulula “ebintu ebyasimba amakanda,” kwe kugamba enjigiriza n’endowooza enkyamu abantu bye balina, bwe kityo ne “tuwangula buli kirowoozo ne tukifuula kiwulize eri Kristo.” (2 Kol. 10:4, 5) N’olwekyo, ka tusabe Yakuwa atuwe “omuyambi” gwe yatusuubiza, nga tuli bakakafu nti ‘Kitaffe ow’omu ggulu ajja kuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Luk. 11:13) Era tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okwongera okumusemberera.
Omwana omuto awulira ng’alina obukuumi, era tabaako ky’atya bw’aba atambula ne kitaawe. Naawe bw’oba nga Yakuwa omutwala nga Kitaawo, akusuubiza nti: “Nze [Yakuwa] Katonda wo n[n]aakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze n[n]aakuyambanga.” (Is. 41:13) Osobola okufuna enkizo ey’amaanyi, “okutambula” ne Katonda emirembe gyonna. (Mi. 6:8) Bw’oneeyongera okukola by’ayagala, ojja kufuna essanyu, Yakuwa ajja kukukuuma, era ajja kukwagala olw’okuba omutwala nga Kitaawo.
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya likyusiddwa.