LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 10/15 lup. 3-7
  • “Amaaso” ga Yakuwa Geetegereza Byonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Amaaso” ga Yakuwa Geetegereza Byonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yakuwa Alaba Omutima
  • Atwetegereza mu Ngeri ya Kwagala
  • Yakuwa Alaba Byonna era Akola Ekiba Kyetaagisa
  • Teri Kibi kya Nkiso
  • Kuuma Obwesigwa Buli Kiseera
  • Weemalire ku Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
  • Ab’Oluganda Abaalina Endowooza ez’Enjawulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Obusungu Bwamuleetera Okutta
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • “Katonda Yasiima” Ebirabo Byabwe
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • Omwana Omulungi, n’Omwana Omubi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 10/15 lup. 3-7

“Amaaso” ga Yakuwa Geetegereza Byonna

“Amaaso [ga Yakuwa] geetegereza abaana b’abantu.”—ZAB. 11:4, NW.

1. Bantu ba ngeri ki be twagala babe mikwano gyaffe?

OTWALA otya abantu abalaga nti ddala bakulumirirwa? Nga bw’obaako ky’obabuuzizza bakuddamu mu bwesimbu. Nga bw’oba olina kye weetaaga, bakuyamba n’omutima gumu. Nga bwe kiba kyetaagisa okukuwabula, bakikola mu ngeri ya kwagala. (Zab. 141:5; Bag. 6:1) Abantu ng’abo si be wandyagadde babe mikwano gyo? Yakuwa n’Omwana we nabo bwe batyo bwe bafaanana. Mu butuufu, bakulumirirwa okusinga omuntu omulala yenna, era bakikola ku lwa bulungi bwo; baagala kukuyamba ‘onyweze obulamu obwa nnamaddala.’—1 Tim. 6:19; Kub. 3:19.

2. Yakuwa abaweereza be abafaako kwenkana wa?

2 Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yalaga nti Yakuwa atufaako nnyo bwe yagamba nti: “Amaaso [ga Yakuwa] galaba, era amaaso ge geetegereza abaana b’abantu.” (Zab. 11:4, NW) Yee, Katonda tatutunuulira butunuulizi; atwetegereza. Dawudi era yawandiika nti: “Weeteregeza omutima gwange, wajja gye ndi ekiro . . . Ojja kukizuula nti siri wa nkwe.” (Zab. 17:3, NW) Awatali kubuusabuusa, Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa amufaako nnyo. Era yali akimanyi nti okulowooza ebintu ebibi oba okuba n’omutima ogw’enkwe kyandinyiizizza Yakuwa n’amubonereza. Naawe Yakuwa omutwala nga wa ddala nga Dawudi?

Yakuwa Alaba Omutima

3. Kiki ekiraga nti Yakuwa ategeera obutali butuukirivu bwaffe?

3 Yakuwa ky’asinga okufaako ye muntu ow’omunda—ekyo ddala kye tuli mu mutima. (Zab. 19:14; 26:2) Olw’okuba atwagala, teyeesiba ku nsobi entono ze tukola. Ng’ekyokulabirako, Saala muka Ibulayimu bwe yeegaana kye yali akoze, malayika yakiraba nti nsonyi na kutya bye byamuleetera okukola atyo, era teyamunenya nnyo. (Lub. 18:12-15) Eky’okuba nti Yobu “yeeyita omutuukirivu so si Katonda” tekyagaana Yakuwa kumuwa mukisa, kubanga yakimanya nti Setaani yali amubonyaabonyezza nnyo. (Yobu 32:2; 42:12) Mu ngeri y’emu, Yakuwa teyanyiigira nnamwandu w’e Zalefaasi olw’ebigambo bye yayogerera nnabbi Eriya. Katonda yakitegeera nti yali mu nnaku ya maanyi olw’okufiirwa omwana we yekka gwe yalina.—1 Bassek. 17:8-24.

4, 5. Yakuwa yalaga atya Abimereki obusaasizi?

4 Olw’okuba Yakuwa yeetegereza omutima, asaasira n’abatali bakkiriza. Lowooza ku ngeri gye yakwatamu Abimereki, kabaka w’ekibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gerali. Abimereki yatwala Saala abeere mukazi we nga tategedde nti yali muka Ibulayimu. Kyokka, Abimereki yali tannakwata ku Saala, Yakuwa n’amugamba mu kirooto nti: “Maanyi nga wakola ekyo ng’olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako. Kale nno zzaayo mukazi w’omusajja: kubanga ye nnabbi, naye alikusabira, naawe oliba mulamu.”—Lub. 20:1-7.

5 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yali asobola okubonereza Abimereki eyali asinza bakatonda ab’obulimba. Naye yakiraba nti omusajja oyo kye yali akoze ku olwo yali takikoze mu mutima mubi. Yakuwa bw’atyo yalaga kabaka oyo engeri y’okufunamu ekisonyiwo ‘asigale nga mulamu.’ Katonda afaanana bw’atyo si gwe wandyagadde okusinza?

6. Yesu yakoppa atya Kitaawe?

6 Ng’akoppera ddala Kitaawe, Yesu yatunuuliranga ngeri za bayigirizwa be ennungi era yabasonyiwanga ensobi zaabwe. (Mak. 10:35-45; 14:66-72; Luk. 22:31, 32; Yok. 15:15) Ekyo kituukana n’ebigambo bye ebiri mu Yokaana 3:17: “Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere [mu] ye.” Yee, okwagala Yakuwa ne Yesu kwe balina gye tuli kwa maanyi era tekukendeera. Kino kyeyolekera mu kuba nti baagala tufune obulamu obutaggwawo. (Yobu 14:15) Okwagala ng’okwo kulaga ensonga lwaki Yakuwa atwetegereza, era kulaga engeri gy’atutunuuliramu ne gy’atukwatamu ng’alina ky’alabye.—Soma 1 Yokaana 4:8, 19.

Atwetegereza mu Ngeri ya Kwagala

7. Yakuwa aba na kigendererwa ki okutwetegereza?

7 Nga kiba kikyamu nnyo okulowooza nti Yakuwa alinga owa poliisi ali eyo waggulu ng’atutaddeko eriiso asobole okutukwatiriza nga tukola ensobi! Setaani y’atutunuulira mu ngeri eyo ng’anoonya w’asinziira okutusiiga enziro. (Kub. 12:10) Asobola n’okutwogerako ebintu ebitali bituufu! (Yobu 1:9-11; 2:4, 5) Omuwandiisi wa zabbuli yawandiika bw’ati ku Katonda: “Singa wali otunuulira nsobi, Ai Ya, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira?” (Zab. 130:3, NW) Awatali kubuusabuusa, tewali muntu n’omu yandisobodde! (Mub. 7:20) Yakuwa atutunuuliza kisa ng’omuzadde bw’akuuma omwana we gw’ayagala ennyo aleme kutuukibwako kabi. Atulaga obunafu bwaffe n’obutali butuukirivu bwaffe tusobole okwewala okugwa mu mitawaana.—Zab. 103:10-14; Mat. 26:41.

8. Yakuwa awabula atya abaweereza be era abayigiriza atya?

8 Okwagala kwa Katonda kweyolekera mu ngeri gy’atuyigirizaamu ne gy’atuwabulamu ng’ayitira mu Byawandiikibwa ne mu mmere ey’eby’omwoyo etuweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45; Beb. 12:5, 6) Yakuwa era atuyamba ng’ayitira mu kibiina Ekikristaayo ne mu ‘birabo mu bantu.’ (Bef. 4:8) Ate era Yakuwa atutunuulira alabe engeri gye tutwalamu by’atuyigiriza, asobole okutuyamba we kiba kyetaagisa. Zabbuli 32:8 wagamba nti: ‘Nnaakuyigirizanga era nnaakuluŋŋamyanga mu kkubo ly’oyitamu, era nnaakuteesezanga ebigambo ng’eriiso lyange liri ku ggwe.’ N’olwekyo, kikulu nnyo okuwuliriza Yakuwa bulijjo! Tulina okuba abeetoowaze mu maaso ge olw’okuba ye Muyigiriza waffe era Kitaffe ow’okwagala.—Soma Matayo 18:4.

9. Ngeri ki ze tusaanidde okwewala, era lwaki?

9 Ku luuyi olulala, tetusaanidde kufuuka bakakanyavu olw’amalala, olw’obutaba na kukkiriza, oba ‘olw’obulimba bw’ekibi.’ (Beb. 3:13; Yak. 4:6) Engeri ezo embi zitera kuva ku kuba nti omuntu alina ebirowoozo ebibi mu mutima gwe. Ayinza n’okutuuka okusambajja okubuulira okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. N’ekisinga obubi, bw’aguggubira ku ndowooza ye oba ku ngeri ze embi kiyinza okumuleetera okufuuka omulabe wa Katonda—ekintu ekya kabi ennyo! (Nge. 1:22-31) Lowooza ku kyokulabirako kya Kayini, mutabani wa Adamu ne Kaawa omubereberye.

Yakuwa Alaba Byonna era Akola Ekiba Kyetaagisa

10. Lwaki Yakuwa teyasiima kiweebwayo kya Kayini, era Kayini yakola ki?

10 Kayini ne Abbeeri bwe baawaayo ebiweebwayo gy’ali, Yakuwa teyakoma ku kutunuulira buli omu ky’awaddeyo, naye yatunuulira n’ekyo ekyabali mu mutima. Okwo kwe yasinziira okusiima ekiweebwayo kya Abbeeri, ekyali kyoleka okukkiriza, ate ekya Kayini n’atakisiima olw’okuba kyali tekiraga kukkiriza. (Lub. 4:4, 5; Beb. 11:4) Mu kifo ky’okukozesa omukisa ogwo akyuse endowooza ye, Kayini yasunguwalira muganda we.—Lub. 4:6.

11. Kayini yayoleka atya omutima omubi, era ekyo tukiyigamu ki?

11 Yakuwa yakiraba nti obusungu bwali busobola okuleetera Kayini emitawaana, era bw’atyo yayogera naye n’amulaga nti yali ajja kusiimibwa bwe yandikoze obulungi. Eky’ennaku, Kayini yasambajja okubuulirira kw’Omutonzi we era bw’atyo yatta muganda we. Omutima gwa Kayini omubi gweyolekera ne mu ngeri gye yayanukula Katonda ng’amubuuzizza nti: “Muganda wo Abbeeri aluwa?” Kayini yaddamu nti: “Simanyi: nze mukuumi wa muganda?” (Lub. 4:7-9, NW) Ng’omutima tegwesigika—gusobola n’okuleetera omuntu okusambajja amagezi agavudde obutereevu eri Katonda! (Yer. 17:9) Ekyo kituyigiriza nti ebirowoozo ebibi n’okwegomba okubi tusaanidde okubyeggyamu amangu ddala. (Soma Yakobo 1:14, 15.) Bwe tuweebwa amagezi agesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, ka tugakkirize era tujjukire nti eyo y’emu ku ngeri Yakuwa gy’atulagamu okwagala.

Teri Kibi kya Nkiso

12. Yakuwa akwata atya omuntu ng’akoze ekibi?

12 Abamu balowooza nti bwe bakola ekibi nga tewali abalabye tebajja kubonerezebwa. (Zab. 19:12) Naye ekituufu kiri nti teri kibi kya nkiso. “Ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g’oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.” (Beb. 4:13) Yakuwa ye Mulamuzi eyeetegereza buli ekiri mu mitima gyaffe, era bwe wabaawo akoze ekibi, amukwata mu ngeri ya bwenkanya. Ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” Kyokka, abo abagaana okwenenya ‘talibaggyako musango n’akatono’ nga ‘boonoonye mu bugenderevu’ oba nga bakwese ebibi byabwe. (Kuv. 34:6, 7; Beb. 10:26) Kino kyeyolekera mu ngeri Yakuwa gye yakwatamu Akani, ne gye yakwatamu Ananiya ne Safira.

13. Kiki ekyaleetera Akani okwonoona?

13 Akani yajeemera ekiragiro kya Katonda bwe yatwala omunyago okuva mu kibuga Yeriko n’agukweka mu weema ye, nga kirabika nti n’ab’omu maka ge baakitegeerako. Akani yalaga nti yali amanyi obunene bw’ekibi kye yali akoze, kubanga bwe kyayanikibwa yagamba nti: “Nnyonoonye eri Mukama.” (Yos. 7:20) Okufaananako Kayini, Akani yali afunye omutima omubi. Omululu gwe gwasinga okuleetera Akani okwonoona. Olw’okuba omunyago gw’omu Yeriko gwali gwa Yakuwa, Akani bye yabba byali bya Katonda, era kino kyamuviiramu okuttibwa wamu n’ab’omu maka ge.—Yos. 7:25.

14, 15. Lwaki Katonda yabonereza Ananiya ne Safira, era ekyo kituyigiriza ki?

14 Ananiya ne mukazi we Safira baali mu kibiina Ekikristaayo eky’omu Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka. Nga Pentekoote eya 33 E.E. ewedde, waateekebwawo ensawo eyambeko mu kulabirira abakkiriza abapya mu Yerusaalemi abaali bavudde mu bitundu eby’ewala. Ssente ezaagendanga mu nsawo eyo zaaweebwangayo kyeyagalire. Ananiya yatunda ennimiro ye n’awaayo kitundu butundu ku ssente ezaali zivuddemu, nga kino ne mukazi we yali akitegeddeko. Kyokka, yagamba nti ssente zonna ezaavaamu yali aziwaddeyo. Tewali kubuusabuusa nti abafumbo bano baali baagala beekolere erinnya eddungi mu kibiina. Naye baali bakola kikyamu. Mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yamanyisa omutume Peetero nti baali balimbye, era Peetero yabuuza Ananiya lwaki yali akoze ekintu ekibi bwe kityo. Ananiya olwakiwulira n’agwa eri n’afa. Waayita akaseera katono, ne Safira n’afa.—Bik. 5:1-11.

15 Ekyo Ananiya ne Safira kye baakola tebakikola mu butanwa. Baasooka kukiteesaako ne basalawo balimbe abatume. N’ekisinga obubi, ‘baalimba omwoyo omutukuvu ne Katonda.’ Yakuwa kye yakola kyalaga bulungi nti tayinza kuleka bunnanfuusi kusensera kibiina kye. Ddala “kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu”!—Beb. 10:31.

Kuuma Obwesigwa Buli Kiseera

16. (a) Setaani agezaako atya okwonoona abantu ba Katonda? (b) Setaani akozesa mitego ki okwonoona abantu mu kitundu mw’obeera?

16 Setaani afuba okulaba nti tukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa. (Kub. 12:12, 17) Ebikolwa by’obwenzi n’eby’ettemu ebicaase mu nsi eno biragira ddala nti Omulyolyomi alina ebigendererwa ebibi. Ebifaananyi eby’obugwenyufu biragibwa ku ttivi, ku kompyuta, ne ku bintu ebirala ng’ebyo. Ka tufube okulaba nga tetugwa mu mitego gya Setaani ng’egyo. Endowooza yaffe esaanidde okuba ng’ey’omuwandiisi wa zabbuli Dawudi eyawandiika nti: “N[n]aatambuliranga n’amagezi mu kkubo ettuukirivu. . . . N[n]aatambuliranga mu nnyumba yange n’omutima ogutuukiridde.”—Zab. 101:2.

17. (a) Lwaki Yakuwa atuusa ekiseera n’ayanika ebibi ebikwekeddwa? (b) Tusaanidde kuba bamalirivu kukola ki?

17 Leero, Yakuwa tayanika bibi mu ngeri ya kyamagero nga bwe yakolanga edda. Wadde kiri kityo, byonna abiraba era atuusa ekiseera n’abyanika mu ngeri ye. Pawulo yagamba: “Ebibi by’abantu abamu byeyoleka mu lujjudde ne kibaviirako okusalirwa omusango amangu ago, naye ebibi by’abalala byeyoleka luvannyuma.” (1 Tim. 5:24, NW) Okwagala ye nsonga enkulu ereetera Yakuwa okwanika ebibi. Ayagala nnyo ekibiina kye era ayagala akikuume nga kiyonjo. Ate era, alaga ekisa eri abo aboonoona, naye ne beenenya mu bwesimbu. (Nge. 28:13) N’olwekyo, ka tufube okwemalira ku Katonda n’omutima gwaffe gwonna era twewale ekintu kyonna ekiyinza okutwonoona.

Weemalire ku Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna

18. Kiki Kabaka Dawudi kye yali ayagala mutabani we amanye ku Katonda?

18 Kabaka Dawudi yagamba mutabani we Sulemaani nti: “Tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima [gwo gwonna] n’emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna era ategeera okufumiitiriza kwonna okw’ebirowoozo.” (1 Byom. 28:9) Dawudi yali ayagala mutabani we akole ekisingawo ku kukkiririza mu Katonda. Yali ayagala Sulemaani akimanye nti ddala Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza Be. Ggwe okimanyi nti Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza be?

19, 20. Okusinziira ku Zabbuli 19:7-11, kiki ekyayamba Dawudi okusemberera Katonda, era tuyinza tutya okukoppa Dawudi?

19 Yakuwa amanyi nti abantu ab’emitima emirungi basikirizibwa okujja gy’ali era nti basanyuka nnyo bwe bategeera engeri ze ennungi. N’olwekyo, Yakuwa ayagala tumumanye era tutegeere bulungi engeri ze ez’ekitalo. Kino tukituukako tutya? Tukituukako okuyitira mu kusoma Ekigambo kye ne mu kufuna emikisa gye.—Nge. 10:22; Yok. 14:9.

20 Osoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era omusaba akuyambe okussa by’osomye mu nkola? Olaba omugaso gw’okutambulira ku misingi gya Baibuli? (Soma Zabbuli 19:7-11.) Bwe kiba kityo, ojja kunyweza okukkiriza kwo mu Yakuwa, era ojja kweyongera okumwagala. Olwo naye ajja kukusemberera atambule naawe. (Is. 42:6; Yak. 4:8) Yee, Yakuwa ajja kukulaga okwagala ng’akuwa emikisa gye n’obukuumi mu by’omwoyo ng’otambulira ku kkubo ery’akanyigo erituusa mu bulamu.—Zab. 91:1, 2; Mat. 7:13, 14.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki Yakuwa atwetegereza?

• Kiki ekyaviirako abantu abamu okufuuka abalabe ba Katonda?

• Tuyinza kukiraga tutya nti Yakuwa wa ddala gye tuli?

• Tuyinza tutya okwemalira ku Katonda n’omutima gwaffe gwonna

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Yakuwa atutunuulira atya ng’omuzadde ow’ekisa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Tuyigira ki ku Ananiya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share